Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu

A B D E F G I J K L M N O P S T U W Y Z

A

  • Abaana ba Alooni.

    Bazzukulu ba Alooni, muzzukulu wa Leevi, eyasooka okulondebwa okuba kabona asinga obukulu wansi w’Amateeka ga Musa. Abaana ba Alooni baakolanga emirimu gy’obwakabona mu weema entukuvu ne mu yeekaalu.​—1By 23:28.

  • Abafalisaayo.

    Akabiina k’eddiini y’Ekiyudaaya akaali kamanyiddwa ennyo akaaliwo mu kyasa ekyasooka E.E. Baali tebava mu kika kya bakabona, naye baali bakwata butiribiri Amateeka, era baali bagoberera obulombolombo bungi bwe baali batwala okuba obukulu ng’amateeka. (Mat 23:23) Baawakanyanga obuwangwa bw’Abayonaani, era olw’okuba baali bakenkufu mu Mateeka n’obulombolombo, baalina obuyinza bungi nnyo ku bantu. (Mat 23:2-6) Abamu ku bo baali mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Baawakanyanga Yesu ku bikwata ku Ssabbiiti, ku bulombolombo bwabwe, ne ku ky’okuba nti Yesu yateranga okubeera awamu n’aboonoonyi era n’abasolooza omusolo. Abamu ku bo baafuuka Bakristaayo, nga mw’otwalidde ne Sawulo ow’e Taluso.​—Mat 9:11; 12:14; Mak 7:5; Luk 6:2; Bik 26:5.

  • Abafirosoofo Abasutoyiiko.

    Abafirosoofo Abayonaani abaali bakkiriza nti essanyu erya nnamaddala lyesigamye ku kuba nti omuntu akozesa obusobozi bwe obw’okulowooza n’okumanya amateeka agafuga obutonde. Era nti omuntu ow’amagezi y’oyo ateefiirayo ne bwe waba nga waliwo ennaku oba essanyu.​—Bik 17:18.

  • Abafirosoofo Abepikuliyo.

    Baali bagoberezi b’omufirosoofo Omuyonaani eyali ayitibwa Epikuliyo (341-​270 E.E.T.). Obufirosoofo bwabwe bwali bwesigamye ku ndowooza egamba nti ekisinga obukulu mu bulamu bw’omuntu kwe kuba omusanyufu.​—Bik 17:18.

  • Abagoberezi ba Kerode.

    Kibiina ky’abantu abaali bawagira enteekateeka za Bakerode abaalondebwanga Abaruumi. Kirabika abamu ku Basaddukaayo nabo baali mu kibiina kino. Abagoberezi ba Kerode beegatta ku Bafalisaayo ne bayigganya Yesu.​—Mak 3:6.

  • Abakaludaaya.

    Mu kusooka, be bantu abaabeeranga mu bitundu ebyali biriraanye omugga Tiguliisi ne Fulaati; oluvannyuma abantu bonna abaabeeranga mu Babulooni baayitibwanga Bakaludaaya. “Abakaludaaya” era bamanyiddwa ng’abantu abaali abayivu; abaasoma ebya saayansi, ebyafaayo, ennimi, ebikwata ku mmunyeenye, enjuba, n’omwezi. Baakolanga eby’obufuusa, era baalaguzisanga emmunyeenye.​—Ezr 5:12; Dan 4:7; Bik 7:4.

  • Abakristaayo.

    Erinnya Katonda lye yawa abagoberezi ba Yesu Kristo.​—Bik 11:26; 26:28.

  • Abalamuzi.

    Abasajja Yakuwa be yalondanga okununula abantu be, ng’Abayisirayiri tebannatandika kufugibwa bakabaka.​—Bal 2:16.

  • Abameedi; Bumeedi.

    Abantu abaasibuka mu mutabani wa Yafeesi eyali ayitibwa Madayi; baabeeranga mu kitundu ky’ensozi ekya Iraani era ekyayitibwanga Bumeedi. Abameedi beegatta ku Babulooni ne bawangula Bwasuli. Mu kiseera ekyo Buperusi lyali ssaza lya Bumeedi, naye Kuulo yeewaggula era Bumeedi ne yeegatta ku Buperusi ne bakola obwakabaka bwa Bumeedi ne Buperusi obwawangula obwakabaka bwa Babulooni mu 539 E.E.T. Abameedi baaliwo mu Yerusaalemi ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. (Dan 5:28, 31; Bik 2:9)​—Laba Ebyong. B9.

  • Abanefuli.

    Baali bantu abakambwe ennyo bamalayika be baazaala mu bawala b’abantu ng’amataba tegannabaawo.​—Lub 6:4.

  • Abanesinimu.

    Abaweereza b’omu yeekaalu abataali Bayisirayiri. Ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kiva kitegeeza “Abo Abaweereddwayo,” kwe kugamba, abaweereddwayo okukola emirimu gy’omu yeekaalu. Kirabika Abanesinimu abasinga obungi baali bazzukulu b’Abagibiyoni Yoswa be yafuula “abasennyi b’enku era abakimi b’amazzi g’ekibiina n’ag’ekyoto kya Yakuwa.”​—Yos 9:23, 27; 1By 9:2; Ezr 8:17.

  • Abasaddukaayo.

    Akabiina k’eddiini y’Ekiyudaaya akaali kamanyiddwa ennyo. Kaalimu abagagga ab’ebitiibwa ne bakabona era baalina obuyinza bungi nnyo ku bintu ebyakolebwanga mu yeekaalu. Baali tebagoberera bulombolombo bw’Abafalisaayo obungi awamu n’enjigiriza zaabwe endala. Baali tebakkiririza mu kuzuukira era nga tebakkiriza nti eriyo bamalayika. Baawakanya Yesu.​—Mat 16:1; Bik 23:8.

  • Abasamaliya.

    Erinnya lino mu kusooka lyakozesebwanga ku Bayisirayiri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi obw’ebukiikakkono, naye oluvannyuma lw’Abaasuli okuwamba Samaliya mu 740 E.E.T., n’abagwira Abaasuli be baasenza mu Samaliya baali bayitibwa Basamaliya. Mu kiseera kya Yesu, erinnya lino teryakwataganyizibwanga na ggwanga oba na bya bufuzi, wabula lyakwataganyizibwanga n’ekibiina ky’eddiini ekyali okumpi n’e Sekemu eky’edda ne Samaliya. Eddiini eno yalina enzikiriza ezaali zaawukanira ddala n’ez’eddiini y’Ekiyudaaya.​—Yok 8:48.

  • Abibu.

    Erinnya eryasooka okuweebwa omwezi ogusooka ku kalenda y’Abayudaaya, era nga gwe mwezi ogw’omusanvu ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Litegeeza “Ebirimba (eby’Emmere ey’Empeke)” era gwavanga mu makkati ga Maaki okutuuka mu makkati ga Apuli. Abayudaaya bwe baava mu buwaŋŋanguse e Babulooni, gwatandika okuyitibwa Nisaani. (Ma 16:1)​—Laba Ebyong. B15.

  • Abu.

    Erinnya ly’omwezi ogw’okutaano ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’ekkumi n’ogumu ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Jjulaayi okutuuka mu makkati ga Agusito. Erinnya lino terisangibwa mu Bayibuli; mu Bayibuli guyitibwa “omwezi ogw’okutaano.” (Kbl 33:38; Ezr 7:9)​—Laba Ebyong. B15.

  • Adali.

    Erinnya ly’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’omukaaga ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Febwali okutuuka mu makkati ga Maaki. (Es 3:7)​—Laba Ebyong. B15.

  • Akabiina.

    Abantu abagoberera enjigiriza oba omukulembeze era nga balina enzikiriza ezaabwe ku bwabwe. Ekigambo kino kikozesebwa ku bubiina obubiri obw’Eddiini y’Ekiyudaaya obwali bumanyiddwa ennyo, ak’Abafalisaayo n’ak’Abasaddukaayo. Abantu abataali Bakristaayo, baayitanga Abakristaayo “akabiina” oba “akabiina k’Abannazaaleesi,” oboolyawo nga bakitwala nti Abakristaayo beekutula ku ddiini y’Ekiyudaaya. Oluvannyuma ekibiina Ekikristaayo kyekutulamu obubiina; ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku “kabiina ka Nikolaawo.”​—Bik 5:17; 15:5; 24:5; 28:22; Kub 2:6; 2Pe 2:1.

  • Akabonero akatukuvu ak’okwewaayo.

    Kaali kabaati akamasamasa akaakolebwa mu zzaabu omulongoofu era nga kaawandiikibwako ebigambo by’Olwebbulaniya ebivvuunulwa nti, “Obutukuvu bwa Yakuwa.” Kaabeeranga ku kiremba kya kabona asinga obukulu. (Kuv 39:30)​—Laba Ebyong. B5.

  • Akabonero.

    Ekintu ekyakozesebwanga okwola ku kintu (ng’eky’ebbumba) okulaga obwannannyini, endagaano eyabanga ekoleddwa, oba nti ekintu ekyo kituufu. Obubonero obwakozesebwanga bwabangako akantu akagumu (ejjinja, essanga, oba akati) era nga kooleddwako ebigambo. Kakozesebwa mu ngeri ey’akabonero okulaga nti ekintu kikakasiddwa nti kituufu, okulaga obwannannyini, oba okulaga nti ekintu kikwekeddwa oba kya kyama.​—Kuv 28:11; Nek 9:38; Kub 5:1; 9:4.

  • Akaya.

    Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, lye ssaza ly’Abaruumi eryali mu bukiikaddyo bwa Buyonaani era Kkolinso kye kyali ekibuga kyalyo ekikulu. Essaza lya Akaya lyali litwaliramu ebitundu byonna ebya Peroponnesi n’ekitundu eky’omu masekkati ga Buyonaani. (Bik 18:12)​—Laba Ebyong. B13.

  • Akubiriza.

    Mu Zabbuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “akubiriza” kirabika kitegeeza omuntu eyateekateekanga ennyimba era n’azikubiriza, eyatendekanga Abaleevi abayimbi, era eyakulemberanga abayimbi ku mikolo emitongole. Enkyusa ezimu eza Bayibuli zikozesa ebigambo “omuyimbi omukulu,” nga zivvuunula ekigambo kino.​—Zb 4:0; 5:0.

  • Alaguzisa emmunyeenye.

    Omuntu eyeekenneenya entambula y’enjuba, omwezi, n’emmunyeenye asobole okulagula ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.​—Dan 2:27; Mat 2:1.

  • Alamosi.

    Ekigambo ekyakozesebwanga mu by’okuyimba ekitegeeza “Abawala,” oboolyawo nga kitegeeza eddoboozi erya waggulu abawala lye bakozesa nga bayimba. Kiyinza okuba kyakozesebwanga okutegeeza nti oluyimba lwandiyimbiddwa mu ddoboozi erya waggulu, oba nti ekivuga kyandikubiddwa mu ddoboozi erya waggulu.​—1By 15:20; Zb 46:0.

  • Alamu; Abaalameeya.

    Bazzukulu ba Alamu mutabani wa Seemu. Ekitundu kye baabeerangamu kyali kiva mu nsozi z’e Lebanooni okutuuka e Mesopotamiya n’okuva mu nsozi z’e Tolasi ebukiikakkono okutuukira ddala e Ddamasiko n’okweyongerayo ebukiikaddyo. Ekitundu kino ekyali kiyitibwa Alamu mu Lwebbulaniya, oluvannyuma kyayitibwanga Busuuli, era abatuuze baamu baayitibwanga Basuuli.​—Lub 25:20; Ma 26:5; Kos 12:12.

  • Aleyopaago.

    Akasozi akawanvu ak’omu Asene, akaali ebukiikakkono w’ebugwanjuba bwa Akulopolisi. Ate era lye lyali erinnya ly’olukiiko olwakuŋŋaaniranga mu kifo ekyo. Abafirosoofo Abasutoyiiko n’Abepikuliyo baatwala Pawulo mu Aleyopaago annyonnyole enzikiriza ze.​—Bik 17:19.

  • Alufa ne Omega.

    Ennukuta esooka n’esembayo mu walifu y’Oluyonaani. Ebigambo ebyo bikozesebwa wamu emirundi esatu mu kitabo ky’Okubikkulirwa ng’ekitiibwa kya Katonda. Mu nnyiriri ezo zonna, ebigambo ebyo bitegeeza “ow’olubereberye era asembayo” oba “entandikwa era enkomerero.”​—Kub 1:8; 21:6; 22:13.

  • Amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.

    Ekiseera ekisembayo enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, oba ensi efugibwa Sitaani eryoke etuuke. Amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu n’okubeerawo kwa Kristo bibaawo mu kiseera kye kimu. Nga bakolera ku bulagirizi bwa Yesu, bamalayika “bajja kwawula abantu ababi okuva mu batuukirivu” era babazikirize. (Mat 13:40-​42, 49) Abayigirizwa ba Yesu baayagala nnyo okumanya ekiseera ekyo lwe kyanditandise. (Mat 24:3) Yesu bwe yali tannaddayo mu ggulu, yasuubiza abagoberezi be nti yandibadde nabo okutuusa mu kiseera ekyo.​—Mat 28:20.

  • Amagedoni.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya Har Meghid·dohnʹ, ekitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo.” Ekigambo kino kikwataganyizibwa “n’olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna” nga “bakabaka b’ensi yonna” bakuŋŋaanye okulwanyisa Yakuwa. (Kub 16:14, 16; 19:11-​21)​—Laba EKIBONYOOBONYO EKINENE.

  • Amateeka ga Musa.

    Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri ng’ayitira mu Musa. Yagabaweera mu ddungu lya Sinaayi mu mwaka gwa 1513 E.E.T. Emirundi egimu, ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli biyitibwa Amateeka.​—Yos 23:6; Luk 24:44.

  • Amateeka.

    Bwe kitandika n’ennukuta ennene, emirundi mingi kiba kitegeeza Amateeka ga Musa oba ebitabo bya Bayibuli ebitaano ebisooka. Bwe kitandika n’ennukuta entono, kiyinza okuba nga kitegeeza erimu ku mateeka mu Mateeka ga Musa oba omusingi oguli mu tteeka.​—Kbl 15:16; Ma 4:8; Mat 7:12; Bag 3:24.

  • Amawulire amalungi.

    Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ge mawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku bulokozi obufunibwa okuyitira mu kukkiririza mu Yesu Kristo.​—Luk 4:18, 43; Bik 5:42; Kub 14:6.

  • Amayembe g’ekyoto.

    Ebintu ebyali bifaanana ng’amayembe ebyabanga waggulu ku nsonda ennya ez’ebyoto ebimu. (Lev 8:15; 1Sk 2:28)​—Laba Ebyong. B5 ne B8.

  • Amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja.

    Ebintu ebigumu ng’amayinja ebibeera mu nnyanja era nga biva mu magumba g’ebitonde ebitono ennyo ebibeera mu nnyanja. Agamu ku mayinja gano ga langi mmyufu, njeru, nzirugavu ne langi endala. Amayinja ago gaali mangi nnyo mu Nnyanja Emmyufu. Mu biseera eby’edda, amayinja amamyufu gaali ga muwendo nnyo era baagakolangamu embira n’amajolobero amalala.​—Nge 8:11.

  • Amiina.

    “Kibeere bwe kityo.” Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ʼa·manʹ, ekitegeeza “okuba omwesigwa.” Ekigambo “amiina” omuntu yakikozesanga okulaga nti akkiriziganyizza n’ekirayiro, essaala, oba ekyabanga kyogeddwa. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, kikozesebwa ng’ekitiibwa kya Yesu.​—Ma 27:26; 1By 16:36; Kub 3:14.

  • Aselgeia

    .​—Laba OBUGWAGWA.

  • Asiya.

    Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, lye linnya ly’essaza lya Rooma eryali litwaliramu ekitundu kya Butuluuki eky’ebugwanjuba, n’ebizinga gamba nga Samosi ne Patumo. Ekibuga kyalyo ekikulu kya kiyitibwa Efeso. (Bik 20:16; Kub 1:4)​—Laba Ebyong. B13.

  • Asutoleesi.

    Katonda omukazi ow’Abakanani era mukazi wa Bbaali. Yali katonda wa ntalo n’oluzaalo.​—1Sa 7:3.

  • Awasinga Obutukuvu.

    Ekisenge ekyali kisingayo okuba munda, ekya weema entukuvu n’ekya yeekaalu, ssanduuko y’endagaano mwe yateekebwanga. Ng’oggyeeko Musa, kabona asinga obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyingira Awasinga Obutukuvu, era yayingirangayo ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi lwokka olwabangawo buli mwaka.​—Kuv 26:33; Lev 16:2, 17; 1Sk 6:16; Beb 9:3.

  • Awatukuvu.

    Ekisenge ekyali kisooka era ekyali kisinga obugazi mu weema entukuvu ne mu yeekaalu, ng’okigeraageranyizza n’ekisenge ekyali kisinga okuba eky’omunda, Awasinga Obutukuvu. Awatukuvu mu weema entukuvu mwalimu ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu, ekyoto eky’okwotererezaako obubaani ekya zzaabu, emmeeza ey’emigaati egy’okulaga, n’ebibya ebya zzaabu; Awatukuvu mu yeekaalu mwalimu ekyoto ekya zzaabu, ebikondo kkumi eby’ettaala eza zzaabu, n’emmeeza kkumi ez’emigaati egy’okulaga. (Kuv 26:33; Beb 9:2)​—Laba Ebyong. B5 ne B8.

  • Azazeri.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya oboolyawo ekitegeeza, “Embuzi Ebulawo.” Ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi, embuzi eyalondebwanga okuba eya Azazeri yasindikibwanga mu ddungu, mu ngeri ey’akabonero, n’etwala ebibi by’Abayisirayiri eby’omwaka oguwedde.​—Lev 16:8, 10.

B

  • Badayimooni.

    Bitonde eby’omwoyo ebitalabika ebibi ennyo, era birina amaanyi agasinga ag’abantu. Mu Olubereberye 6:2 bayitibwa “abaana ba Katonda ow’amazima,” ate mu Yuda 6 bayitibwa “bamalayika.” Tebaatondebwa nga babi, wabula beefuula abalabe ba Katonda mu kiseera kya Nuuwa bwe baajeemera Katonda, bwe batyo ne beegatta ku Sitaani mu kujeemera Katonda.​—Ma 32:17; Luk 8:30; Bik 16:16; Yak 2:19.

  • Bakerubi.

    Bamalayika abali ku ddaala erya waggulu era abaweereza Katonda mu ngeri ey’enjawulo. Ba njawulo ku basseraafi.​—Lub 3:24; Kuv 25:20; Is 37:16; Beb 9:5.

  • Bamalayika.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya mal·ʼakhʹ n’eky’Oluyonaani agʹge·los. Ebigambo byombi bitegeeza “omubaka” naye bwe bivvuunulwa “malayika” biba bitegeeza ababaka ab’omwoyo. (Lub 16:7; 32:3; Yak 2:25; Kub 22:8) Bamalayika bitonde bya mwoyo eby’amaanyi era Katonda yabatonda dda nnyo nga tannatonda bantu. Ate era mu Bayibuli bayitibwa “abatukuvu mitwalo na mitwalo,” “abaana ba Katonda,” ne “emmunyeenye ez’oku makya.” (Ma 33:2; Yob 1:6; 38:7) Tebaatondebwa nga balina obusobozi bw’okuzaala, wabula buli malayika yatondebwa butondebwa. Basukka mu bukadde kikumi. (Dan 7:10) Bayibuli eraga nti bamalayika balina amannya n’engeri ez’enjawulo, era tebakkiriza kusinzibwa. Abasinga obungi tebaabuulira bantu mannya gaabwe. (Lub 32:29; Luk 1:26; Kub 22:8, 9) Balina ebitiibwa bya njawulo era n’obuvunaanyizibwa bwa njawulo, nga mw’otwalidde okuweereza mu maaso g’entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka, okutegeeza abantu obubaka bwa Katonda, okulwanirira abantu ba Yakuwa, okutuukiriza emisango Katonda gy’aba asaze, n’okuwagira omulimu gw’okubuulira. (2Sk 19:35; Zb 34:7; Luk 1:30, 31; Kub 5:11; 14:6) Mu kiseera eky’omu maaso, bajja kuyambako Yesu mu kulwana olutalo Amagedoni.​—Kub 19:14, 15.

  • Basi.

    Ekipimo eky’ebintu ebifukibwa. Okusinziira ku banoonyereza ku bintu eby’edda, ekipimo kino kyali kigyaamu lita nga 22. Ebintu ebisinga obungi, ebifukibwa n’ebikalu, baabipimanga nga basinziira ku kipimo kya basi. (1Sk 7:38; Ezk 45:14)​—Laba Ebyong. B14.

  • Basseraafi.

    Ebitonde eby’omwoyo ebyetoolodde entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka mu ggulu. Ekigambo ky’Olwebbulaniya sera·phimʹ obutereevu kitegeeza “abo abaaka omuliro.”​—Is 6:2, 6.

  • Baterafi.

    Baali bakatonda ab’omu maka, oba ebifaananyi ebyole oluusi ebyebuuzibwangako okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Ezk 21:21) Baterafi abamu baali benkana abantu obunene era nga babafaanana, naye abalala baali batono ddala. (Lub 31:34; 1Sa 19:13, 16) Ebyo abanoonyereza ku bintu eby’edda bye baazuula mu Mesopotamiya biraga nti omuntu eyabanga n’ebifaananyi bya baterafi yali asobola okufuna eby’obusika by’omu maka. (Kino kiyinza okutuyamba okumanya ensonga lwaki Laakeeri yatwala baterafi ba kitaawe.) Kirabika bwe kityo si bwe kyali mu Isirayiri, wadde ng’okusinza baterafi kwaliwo mu biseera by’abalamuzi n’ebya bakabaka, era nga baterafi bye bimu ku bintu Kabaka Yosiya eyali omwesigwa bye yazikiriza.​—Bal 17:5; 2Sk 23:24; Kos 3:4.

  • Bbaali.

    Yali katonda w’Abakanani eyatwalibwanga okuba nnannyini ggulu era nti ye yatonnyesanga enkuba n’okubaza ebirime. Ne bakatonda abalala nabo baayitibwanga “Bbaali.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kiva kitegeeza “Nnannyini.”​—1Sk 18:21; Bar 11:4.

  • Beeruzebuli.

    Kigambo ekikozesebwa ku Sitaani, omufuzi wa badayimooni. Oboolyawo kyava mu linnya Bbaali-zebubi, nga ye Bbaali Abafirisuuti gwe baasinzizanga mu Ekulooni.​—2Sk 1:3; Mat 12:24.

  • Bufirisuuti; Abafirisuuti.

    Ensi eyali mu bukiikaddyo bwa Isirayiri oluvannyuma eyayitibwa Bufirisuuti. Abantu b’e Kuleete abaasengukira mu nsi eno baayitibwanga Bafirisuuti. Dawudi yabawangula, naye baasigala balabe ba Isirayiri. (Kuv 13:17; 1Sa 17:4; Am 9:7)​—Laba Ebyong. B4.

  • Buperusi; Abaperusi.

    Ensi n’abantu abatera okwogerwako awamu n’Abameedi, era abalina akakwate nabo. Mu kusooka, ekitundu ky’Abaperusi kyali bukiikaddyo w’ebugwanjuba bwa Iraani. Mu bufuzi bwa Kuulo Omukulu (era ng’okusinziira ku bamu ku bannabyafaayo ab’edda, taata we yali Muperusi ate maama we yali Mumeedi), Abaperusi baali ba maanyi okusinga Abameedi, wadde ng’obwakabaka bwabwe bwali bukyali bumu. Kuulo yawangula Obwakabaka bwa Babulooni mu mwaka gwa 539 E.E.T., era n’akkiriza Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse okuddayo mu nsi yaabwe. Obwakabaka bwa Buperusi bwali buva ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’Omugga Indus ne butuuka ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’Ennyanja Aegean. Abayudaaya baafugibwanga Buperusi okutuusa Alekizanda Omukulu lwe yawangula Buperusi mu mwaka gwa 331 E.E.T. Mu kwolesebwa, nnabbi Danyeri yalaba Obwakabaka bwa Buperusi, era obwakabaka buno bwogerwako ne mu kitabo kya Ezera, Nekkemiya, ne Eseza. (Ezr 1:1; Dan 5:28; 8:20)​—Laba Ebyong. B9.

  • Busuuli; Abasuuli.​—

  • Buuli.

    Erinnya ly’omwezi ogw’omunaana ku kalenda y’Abayudaaya, era nga gwe mwezi ogw’okubiri ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Liva mu kigambo ekitegeeza “amakungula,” era gwavanga mu makkati ga Okitobba okutuuka mu makkati ga Noovemba. Abayudaaya bwe baava mu buwaŋŋanguse e Babulooni, gwatandika okuyitibwa Kesuvani. (1Sk 6:38)​—Laba Ebyong. B15.

D

  • Dagoni.

    Yali katonda w’Abafirisuuti. Ensibuko y’erinnya lino temanyiddwa, naye abamu bagamba nti lyava mu kigambo ky’Olwebbulaniya, dagh ekitegeeza ekyennyanja.​—Bal 16:23; 1Sa 5:4.

  • Daliki.

    Kyali kinusu kya Buperusi ekya zzaabu ekyali kizitowa gramu 8.4. (1By 29:7)​—Laba Ebyong. B14.

  • Ddamula.

    Omuggo kabaka gw’akwata, era kaba kabonero akooleka obuyinza bw’alina.​—Lub 49:10; Beb 1:8.

  • Dekapoli.

    Ebibuga by’Abayonaani, mu kusooka ebyali ekkumi (kiva mu bigambo by’Oluyonaani deʹka, ekitegeeza “kkumi,” ne poʹlis, ekitegeeza “ekibuga”). Ekitundu omwali ebibuga ebisinga obungi ku ebyo, ekyali ebuvanjuba w’Ennyanja y’e Ggaliraaya n’Omugga Yoludaani nakyo kyali kiyitibwa Dekapoli. Mu bibuga ebyo mwe mwali musinga okusangibwa eby’obuwangwa by’Abayonaani era nga bakoleramu nnyo eby’obusuubuzi. Yesu yayita mu kitundu ekyo, naye Ebyawandiikibwa tebiraga nti yagenda mu kimu ku bibuga ebyo. (Mat 4:25; Mak 5:20)​—Laba Ebyong. A7 ne B10.

  • Dulakima.

    Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo kino kitegeeza ekinusu kya Buyonaani ekya ffeeza ekyali kizitowa gramu 3.4. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byogera ku dulakima eya zzaabu eyakozesebwanga mu kiseera ky’obufuzi bwa Buperusi era nga yali yenkanankana ne daliki. (Nek 7:70; Mat 17:24)​—Laba Ebyong. B14.

E

  • Ebibala ebibereberye.

    Ebibala ebisookera ddala okukungulwa; ebyo ebiba bisoose okufunibwa oba okuva mu kintu kyonna. Yakuwa yalagira Abayisirayiri okuwaayo gy’ali ebintu byabwe ebibereberye, k’abe muntu, nsolo, oba ebirime. Abayisirayiri bonna ng’eggwanga, baawangayo eri Katonda ebibala byabwe ebibereberye ku Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ne ku mbaga ya Pentekooti. Ebigambo “ebibala ebibereberye” era bikozesebwa mu ngeri ey’akabonero ku Kristo ne ku bagoberezi be abaafukibwako amafuta.​—1Ko 15:23; Kbl 15:21; Nge 3:9; Kub 14:4.

  • Ebibuga eby’okuddukiramu.

    Ebibuga by’Abaleevi, oyo eyabanga asse omuntu mu butanwa gye yaddukiranga aleme okuttibwa oyo awoolera eggwanga olw’omuntu eyabanga attiddwa. Yakuwa yalagira Musa n’oluvannyuma n’alagira Yoswa okulonda ebibuga mukaaga eby’okuddukiramu mu bitundu ebitali bimu mu nsi ensuubize. Omuntu eyabanga addukidde mu kibuga ekyo bwe yatuukanga ku mulyango gwakyo, yabuuliranga abakadde b’omu kibuga ekyo ensonga ze ne balyoka bamukkiriza okuyingira. Okusobola okulemesa omuntu eyabanga asse omuntu mu bugenderevu okuddukira mu kibuga ekyo, omuntu oyo eyabanga addukidde mu kibuga ekyo yazzibwangayo mu kibuga gye yattira omuntu n’awozesebwa okukakasa nti teyamutta mu bugenderevu. Bwe kyakakasibwanga nti teyamutta mu bugenderevu, yazzibwangayo mu kibuga eky’okuddukiramu n’abeera omwo obulamu bwe bwonna, oba okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa.​—Kbl 35:6, 11-​15, 22-​29; Yos 20:2-8.

  • Ebibukutu.

    Engoye ezaakolebwangamu obudeeya oba ensawo, gamba ng’ezo ezaaterekebwangamu emmere ey’empeke. Baasinganga kuziruka mu byoya by’embuzi ebiddugavu era lwe lugoye abakungubazi lwe baayambalanga.​—Lub 37:34; Luk 10:13.

  • Ebigenge; Omugenge.

    Endwadde ey’olususu ey’amaanyi. Ebigenge ebyogerwako mu Bayibuli byawukanamu ku ebyo bye tumanyi leero mu ngeri nti byo tebyakwatanga bantu bokka wabula byakwatanga n’engoye era n’amayumba. Omugenge ye muntu alina obulwadde bw’ebigenge.​—Lev 14:54, 55; Luk 5:12.

  • Ebisusunku.

    Ebikuta ebiva ku birime eby’empeke nga babiwuula oba nga babiwewa. Ekigambo “ebisusunku” kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero okulaga nti ekintu tekirina mugaso era tekyagalibwa.​—Zb 1:4; Mat 3:12.

  • Ebizikiza omuliro.

    Ebintu ebyakolebwa mu zzaabu oba ekikomo, ebyakozesebwanga mu weema entukuvu ne mu yeekaalu. Biyinza okuba nga byali bifaanana nga makansi ze baakozesanga okusala entambi z’ettaala.​—2Sk 25:14.

  • Eby’obulogo.

    Okukozesa amaanyi agava eri emyoyo emibi.​—2By 33:6.

  • Eby’obusamize.

    Enzikiriza nti omuntu bw’afa omwoyo gwe gusigala mulamu era nti gusobola okwogera n’abalamu, naddala okuyitira mu muntu omulala (omusamize) alowoozebwa nti asobola okukolagana n’emyoyo gy’abafu. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “okukola eby’obusamize” kiri phar·ma·kiʹa, ekitegeeza “okukozesa ebiragalalagala.” Ekigambo kino kyakwataganyizibwanga n’eby’obusamize kubanga mu biseera eby’edda abasamize baakozesanga ebiragalalagala okufuna amaanyi ga badayimooni basobole okukola eby’obusamize.​—Bag 5:20; Kub 21:8.

  • Eby’Okulwanyisa.

    Abasirikale baayambalanga sseppeewo, eky’omu kifuba, eby’oku magulu, beesibanga mu kiwato, era baabanga n’engabo.​—1Sa 31:9; Bef 6:13-​17.

  • Ebyamagero; Ebikolwa eby’amaanyi.

    Ebintu ebyewuunyisa omuntu by’atasobola kukola mu busobozi bwe. Bikolebwa amaanyi ag’enjawulo agatali ga buntu. Oluusi mu Bayibuli ebigambo “obubonero,” “ebyamagero,” ne “ebyewuunyo,” birina amakulu ge gamu.​—Kuv 4:21; Beb 2:4.

  • Ebyawandiikibwa.

    Ekigambo kya Katonda ekiri mu buwandiike. Ekigambo kino kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani mwokka.​—Luk 24:27; 2Ti 3:16.

  • Ebyombo by’e Talusiisi.

    Mu kusooka byali byombo ebyagendanga mu Talusiisi eky’edda (nga ye Sipeyini mu kiseera kino). Naye kirabika oluvannyuma ebyombo byonna ebyali bisobola okutambula eŋŋendo empanvu byayitibwanga ebyombo by’e Talusiisi. Sulemaani ne Yekosafaati baakozesanga ebyombo ng’ebyo mu by’obusuubuzi.​—1Sk 9:26; 10:22; 22:48.

  • Ebyoterezo.

    Ebintu ebyakolebwanga mu zzaabu, mu ffeeza, oba mu kikomo. Baabyotererezangako obubaani mu weema entukuvu ne mu yeekaalu, era byakozesebwanga okuyoola evvu mu kyoto kye baayokerangako ssaddaaka n’okuggya evvu ly’entambi ku kikondo ky’ettaala ekya zzaabu.​—Kuv 37:23; 2By 26:19; Beb 9:4.

  • Eddinaali.

    Kyali kinusu ky’Abaruumi ekya ffeeza ekyali kizitowa gramu nga 3.85 era ku ludda olumu kyaliko ekifaananyi kya Kayisaali. Ye mpeera omuntu gye yakolereranga olunaku era gwe “musolo” Abaruumi gwe baggyanga ku Bayudaaya. (Mat 22:17; Luk 20:24)​—Laba Ebyong. B14.

  • Edomu.

    Erinnya eddala eryatuumibwa Esawu, mutabani wa Isaaka. Bazukkulu ba Esawu (Edomu) baawamba ekitundu kya Seyiri, ekitundu eky’ensozi ekyali wakati w’Ennyanja Enfu n’ekyondo ky’e Akaba. Oluvannyuma ekitundu ekyo kyayitibwanga Edomu. (Lub 25:30; 36:8)​—Laba Ebyong. B3 ne B4.

  • Efa.

    Ekipimo ky’ebintu ebikalu oba ekintu kyennyini kye baabanga bakipimiddemu. Kyali kyenkana n’ekipimo ky’ebintu ebifukibwa ekya basi era nakyo kyali kigyaamu lita 22. (Kuv 16:36; Ezk 45:10)​—Laba Ebyong. B14.

  • Efodi.

    Ekyambalo ekyali ng’ekikubiro bakabona kye baayambalanga. Kabona asinga obukulu yayambalanga efodi ey’enjawulo, era yaliko eky’omu kifuba ekyaliko amayinja 12 ag’omuwendo. (Kuv 28:4, 6)​—Laba Ebyong. B5.

  • Efulayimu.

    Erinnya lya mutabani wa Yusufu ow’okubiri; oluvannyuma ekimu ku bika by’Abayisirayiri kyatuumibwa erinnya lino. Eggwanga lya Isirayiri bwe lyayawulibwamu, ebika byonna ekkumi byayitibwanga Efulayimu, kubanga ekika kya Efulayimu kye kyasinga okwatiikirira mu bika ekkumi.​—Lub 41:52; Yer 7:15.

  • Eggaali.

    Ekidduka ekyabangako nnamuziga bbiri, nga kisikibwa embalaasi era ng’okusingira ddala kyakozesebwanga mu ntalo.​—Kuv 14:23; Bal 4:13; Bik 8:28.

  • Ejjembe.

    Kitegeeza ejjembe ly’ensolo. Baaganywerangamu, baagateekangamu amafuta, langi, eby’akaloosa, baagakozesanga mu kuyimba era baagafuuwanga okulabula oba okukunga abantu. (1Sa 16:1, 13; 1Sk 1:39) Era ekigambo “ejjembe” kitera okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza amaanyi, n’obuwanguzi mu lutalo.​—Ma 33:17; Mi 4:13; Zek 1:19.

  • Ejjinja ery’oku nsonda.

    Ejjinja eryateekebwanga ku nsonda ebisenge by’ennyumba ebiriri we byegattira, era lyakozesebwanga okugatta ebisenge ebyo wamu. Ejjinja eryali lisinga okuba ekkulu lye jjinja ery’omusingi ery’oku nsonda; ejjinja eggumu ennyo lye lyakozesebwanga okuzimba ebizimbe ebyakuŋŋaanirwangamu abantu abangi oba bbugwe w’ekibuga. Ebigambo “ejjinja ery’oku nsonda” bikozesebwa mu ngeri ey’akabonero ku ngeri ensi gye yatondebwamu, era Yesu ayitibwa ‘ejjinja ery’omusingi ery’oku nsonda’ ery’ekibiina Ekiristaayo, ekigeraageranyizibwa ku nnyumba ey’eby’omwoyo.​—Bef 2:20; Yob 38:6.

  • Ekibiina.

    Ekibinja ky’abantu abakuŋŋaanye awamu olw’ekigendererwa ekimu oba okukola omulimu ogumu. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, okutwalira awamu kitegeeza ggwanga lya Isirayiri. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, kitegeeza ebibiina by’Abakristaayo kinnakimu naye okusinga kitegeeza ekibiina Ekikristaayo okutwalira awamu.​—1Sk 8:22; Bik 9:31; Bar 16:5.

  • Ekibonyoobonyo ekinene.

    Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “ekibonyoobonyo” kirina amakulu ag’okuba mu buyinike oba okubonaabona ennyo olw’embeera ebaawo. Yesu yayogera ku “kibonyoobonyo ekinene” ekyandituuse ku Yerusaalemi n’ekyandituuse ku bantu bonna mu biseera eby’omu maaso ‘ng’azze mu kitiibwa.’ (Mat 24:21, 29-​31) Pawulo yayogera ku kibonyoobonyo kino ng’ekikolwa kya Katonda eky’obutuukirivu ekyolekezeddwa “abo abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera mawulire malungi” agakwata ku Yesu Kristo. Okubikkulirwa essuula 19 walaga nga Yesu akulembeddemu eggye ery’omu ggulu okulwanyisa “ensolo ne bakabaka b’ensi n’amagye gaabwe.” (2Se 1:6-8; Kub 19:11-​21) “Ekibiina ekinene” kyogerwako ng’ekiwonyeewo mu kibonyoobonyo ekinene. (Kub 7:9, 14)​—Laba AMAGEDONI.

  • Ekibuga kya Dawudi.

    Erinnya eryatuumibwa ekibuga Yebusi nga Dawudi amaze okukiwamba n’akizimbamu olubiri lwe. Era kiyitibwa Sayuuni. Kyali mu bukiikaddyo w’ebuvanjuba bwa Yerusaalemi, era kye kitundu kya Yerusaalemi ekisingayo obukadde.​—2Sa 5:7; 1By 11:4, 5.

  • Ekifaananyi; Okusinza ebifaananyi.

    Ekifaananyi kye kintu abantu kye basinza ekikiikirira ekintu ekiriyo ddala oba kye bateebereza obuteebereza. Okusinza ebifaananyi kwe kwagala ennyo ebifaananyi oba okubisinza.​—Zb 115:4; Bik 17:16; 1Ko 10:14.

  • Ekifo ekigulumivu.

    Ekifo eky’okusinzizaamu ekyabeeranga ku kasozi oba ku lusozi, oba ekituuti ekyakolebwa abantu. Wadde ng’ebifo ebimu ebigulumivu baabisinzizangamu Katonda ow’amazima, emirundi egisinga birina akakwate n’okusinza bakatonda ab’obulimba.​—Kbl 33:52; 1Sk 3:2; Yer 19:5.

  • Ekifo ekitukuvu.

    Okutwalira awamu, kye kifo ekyawuliddwawo okusinzizaamu. Naye emirundi egisinga kikozesebwa ku weema entukuvu oba yeekaalu eyali mu Yerusaalemi. Ekigambo kino era kikozesebwa ne ku kifo Katonda ky’abeeramu mu ggulu.​—Kuv 25:8, 9; 1By 28:10; Kub 11:19.

  • Ekifuba.

    Ekipimo ekyakozesebwanga okupima obuwanvu bw’amazzi, era kyali kyenkanankana mita 1.8 (ffuuti 6). (Bik 27:28)​—Laba Ebyong. B14.

  • Ekifunvu.

    Mu Lwebbulaniya, “Millo.” Kiva mu kigambo ekitegeeza “okujjuza.” Mu nkyusa ya Septuagint kiyitbwa “kigo.” Kyali mu kibuga kya Dawudi era kirabika kyakolebwa bantu oba kyali kya mu butonde, naye tewali amanyidde ddala ngeri gye kyali kifaananamu.​—2Sa 5:9; 1Sk 11:27.

  • Ekikoligo.

    Emiti egyasibibwanga ku bibegaabega by’omuntu n’asitulirako obuzito ku buli luuyi, oba omuti ogwasibibwanga ku nsingo z’ensolo bbiri ezisibiddwa awamu (okusingira ddala ente) nga zirima. Olw’okuba abaddu baakozesanga ekikoligo okusitula ebintu ebizito, ekigambo “ekikoligo” kyakozesebwanga mu ngeri ey’akabonero okutegeeza okuba mu buddu oba okuba wansi w’obuyinza bw’omuntu omulala, okutulugunyizibwa, n’okubonaabona. Okuggyawo oba okumenya ekikoligo kyategeezanga okununula omuntu mu buddu, mu kubonaabona, ne mu kunyigirizibwa.​—Lev 26:13; Mat 11:29, 30.

  • Ekikondo ekisinzibwa.

    Ekigambo ky’Olwebbulaniya (ʼashe·rahʹ ) kitegeeza (1) ekikondo ekisinzibwa ekikiikirira Asera, katonda omukazi ow’oluzaalo ow’Abakanani (2) ekibumbe kya katonda omukazi Asera. Ebikondo bino biyinza okuba nga byayimirizibwanga busimba era ng’ekitundu ekimu kyakolebwa mu miti. Era biyinza n’okuba nga byali bikondo ebitakoleddwamu kintu kirala kyonna, oba emiti.​—Ma 16:21; Bal 6:26; 1Sk 15:13.

  • Ekimu eky’ekkumi.

    Ekitundu kimu eky’ekkumi, oba ebitundu 10 ku buli kikumi, ekyaweebwangayo oba ekyasasulwanga ng’omusolo, naddala ku nsonga ezikwataganyizibwa n’okusinza. (Mal 3:10; Ma 26:12; Mat 23:23) Wansi w’Amateeka ga Musa, ekimu eky’ekkumi eky’ebirime n’ekimu eky’ekkumi eky’ebisolo byaweebwanga Abaleevi buli mwaka okukola ku byetaago byabwe. Abaleevi nabo baatoolanga ekimu eky’ekkumi ku ebyo ebyabaweebwanga ne bakiwa bakabona okukola ku byetaago byabwe. Waaliwo ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebirala ekyaweebwangayo. Abakristaayo tekibeetaagisa kuwaayo kimu kya kkumi.

  • Ekinunulo.

    Omuwendo ogusasulwa okusobola okununula omuntu oba ekintu mu buwambe, mu kibi, mu kubonaabona, obutabonerezebwa, oba okuggibwako obuvunaanyizibwa. Omuwendo guno tegwabanga gwa ssente zokka. (Is 43:3) Ekinunulo kyetaagisanga mu mbeera ez’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, abaana bonna ab’obulenzi ababereberye oba ebisolo ebibereberye ebirume mu Isirayiri byabanga bya Yakuwa era ekinunulo kyalinanga okusasulwa okusobola okubinunula bireme kukozesebwa mu buweereza bwa Yakuwa bwokka. (Kbl 3:45, 46; 18:15, 16) Ente enkambwe eyabanga tesibiddwa bwe yattanga omuntu, nnannyini yo yalinanga okusasula ekinunulo aleme okuttibwa ng’amateeka bwe gaali galagira. (Kuv 21:29, 30) Kyokka, ekinunulo ky’omuntu eyabanga asse munne mu bugenderevu tekyakkirizibwanga. (Kbl 35:31) Ate era Bayibuli eyogera ku kinunulo ekisinga obukulu Kristo kye yasasula ng’awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okununula abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa.​—Zb 49:7, 8; Mat 20:28; Bef 1:7.

  • Ekirayiro.

    Ebigambo ebyogerwa okukakasa nti ekintu kituufu, oba ekisuubizo omuntu ky’akola okukakasa nti ajja kukola ekintu ekimu oba tajja kukikola. Okusingira ddala bwe bweyamo omuntu bw’akola eri oyo amusinga obuyinza, naddala eri Katonda. Yakuwa yalayira okusobola okunyweza endagaano gye yali akoze ne Ibulayimu.​—Lub 14:22; Beb 6:16, 17.

  • Ekiremba.

    Olugoye olwasibibwanga ku mutwe. Kabona asinga obukulu yasibanga ekiremba ekya kitaani omulungi ku mutwe, nga mu maaso gaakyo kiriko akabaati aka zzaabu nga kasibiddwa n’akaguwa aka bbulu. Kabaka yasibanga ekiremba ku mutwe n’alyoka assaako engule. Yobu yageraageranya ebikolwa bye eby’obwenkanya ku kiremba.​—Kuv 28:36, 37; Yob 29:14; Ezk 21:26.

  • Ekirongoofu.

    Mu Bayibuli, ekigambo kino tekitegeeza buyonjo bwa mubiri kyokka, naye era kitegeeza okukuuma ekintu oba okukizzaawo mu mbeera gye kibaddemu ne kiba nga tekiriiko bbala oba kamogo, era nga tekisobola kwonoonebwa mu ngeri yonna. Mu Mateeka ga Musa, ekigambo kino kikozesebwa ku kintu ekiyonjo.​—Lev 10:10; Zb 51:7; Mat 8:2; 1Ko 6:11.

  • Ekisa eky’ensusso.

    Ekigambo ky’Oluyonaani mwe kiva kiwa amakulu ag’ekintu ekikkirizibwa era ekisikiriza. Ekigambo ekyo kitera okukozesebwa ku birabo ebigabibwa oluvannyuma lw’okukwatirwa abalala ekisa. Ebyawandiikibwa bwe byogera ku kisa kya Katonda eky’ensusso, biba bitegeeza ekirabo Katonda ky’agaba nga tasuubira kusasulwa. N’olwekyo kiraga okwagala okungi n’ekisa Katonda by’alina eri abantu. Oyo alagibwa ekisa eky’ensusso aba takikoleredde era kiba tekimugwanira. Oyo akiraga yeekubiriza yekka okukiraga.​—2Ko 6:1; Bef 1:7.

  • Ekitali kirongoofu.

    Kiyinza okutegeeza obutaba muyonjo mu mubiri oba obutagoberera mitindo gya mpisa. Naye mu Bayibuli, ebigambo bino bitera kutegeeza ekintu ekitakkirizibwa, oba ekitali kiyonjo, okusinziira ku Mateeka ga Musa. (Lev 5:2; 13:45; Bik 10:14; Bef 5:5)​—Laba EKIRONGOOFU.

  • Ekitoogo.

    Ekimera ekiringa olumuli ekibeera awali amazzi ekyakozesebwanga okukola ebintu ng’ebisero, n’amaato. Kyakolebwangamu ebintu eby’okuwandiikako ebiringa empapula era baakikolamu emizingo mingi.​—Kuv 2:3.

  • Ekiweebwayo ekiwuubibwa.

    Mu kuwaayo ekiweebwayo kino, kirabika kabona yassanga emikono gye wansi w’emikono gy’omuntu eyabanga akutte ekiweebwayo n’awuuba omuntu oyo awamu n’ekiweebwayo kye; oba kabona kennyini yawuubanga ekiweebwayo. Ekikolwa kino kyakiikiriranga okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa.​—Lev 7:30.

  • Ekiweebwayo eky’eby’okunywa.

    Ekiweebwayo eky’omwenge ekyafukibwanga ku kyoto era kyaweebwangayo awamu n’ebiweebwayo ebisinga obungi. Pawulo yakozesa ebigambo ebyo mu ngeri ey’akabonero okulaga nti yali mwetegefu okuweereza Bakristaayo banne.​—Kbl 15:5, 7; Baf 2:17.

  • Ekiweebwayo eky’obweyamo.

    Ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekyaweebwangayo oluvannyuma lw’okukola ekirayiro.​—Lev 23:38; 1Sa 1:21.

  • Ekiweebwayo eky’okwebaza.

    Ssaddaaka ey’emirembe omuntu gye yawangayo okutendereza Katonda olw’ebyo Katonda by’amukolera n’olwokwagala kwe okutajjulukuka. Ennyama y’ekiweebwayo kino awamu n’omugaati omuzimbulukuse n’ogutali muzimbulukuse byaliibwanga. Ennyama yalinanga okuliibwa ku lunaku olwo lwennyini.​—2By 29:31.

  • Ekiweebwayo ekyokebwa.

    Ssaddaaka y’ensolo eyayokebwanga ku kyoto ng’ekiweebwayo ekiramba eri Katonda; tewali kitundu kyonna eky’ensolo eyo (ente ennume, endiga ennume, embuzi ennume, ejjiba, oba enjiibwa) ekyatwalibwanga oyo eyabanga awaddeyo ekiweebwayo ekyo.​—Kuv 29:18; Lev 6:9.

  • Ekiweebwayo olw’ekibi.

    Ssaddaaka omuntu gye yawangayo olw’okukola ekibi mu butali bugenderevu olw’obutali butuukiruvu bwe. Ssaddaaka ne bwe yabanga ya nte nnume oba ya kinyonyi gamba ng’enjiibwa, yakkirizibwanga okusinziira ku kifo n’obusobozi bw’omuntu eyabanga ayagala ebibi bye okutangirirwa.​—Lev 4:27, 29; Beb 10:8.

  • Ekiweebwayo olw’omusango.

    Ssaddaaka omuntu gye yawangayo olw’ebibi bye. Yali eyawukanako ku biweebwayo ebirala ebyaweebwangayo olw’ekibi mu ngeri nti omuntu eyabanga yeenenyezza yagiwangayo asobole okuddamu okufuna enkizo ze yabanga afiiriddwa olw’ekibi kye yabanga akoze era asobole okusonyiyibwa.​—Lev 7:37; 19:22; Is 53:10.

  • Ekiwonvu.

    Ekifo omugga we gukulukutira naye nga wabeera wakalu mu biseera ebitali bya nkuba; ekigambo kino era kiyinza okutegeeza omugga gwennyini. Emigga egimu gyakulukutanga ekiseera kyonna olw’amazzi agaavanga mu nsulo ne geegatta ku migga egyo.​—Lub 26:19; Kbl 34:5; Ma 8:7; 1Sk 18:5; Yob 6:15.

  • Ekizimbulukusa.

    Ekintu ekyassibwanga mu ŋŋaano gye bamaze okukanda esobole okuzimbulukuka oba mu by’okunywa okubifuula omwenge. Kitera okukozesebwa mu Bayibuli mu ngeri ey’akabonero okutegeeza ekibi n’okwonooneka, era kikozesebwa ku kintu ekibi ekigenda kyeyongera mu ngeri enneekusifu.​—Kuv 12:20; Mat 13:33; Bag 5:9.

  • Ekkondeere.

    Ekivuga ekifuuyibwa ekyakolebwa mu kyuma, ekyakozesebwanga okuyita abantu babeeko ebintu ebibategeezebwa, oba mu kuyimba. Okusinziira ku Okubala 10:2, Yakuwa yalagira Musa okukola amakondeere abiri aga ffeeza agandikozeseddwanga okuyita abantu okukuŋŋaana, okubalagira okusimbula we baabanga basiisidde, n’okulangirira olutalo. Kirabika amakondeere ago gaali matereevu, okwawukana ku “ŋŋombe” ezeewetamu ezaakolebwanga mu mayembe g’ebisolo. Waliwo n’amakondeere ag’ekikula ekirala agaali mu bivuga ebyakozesebwanga okukuba ennyimba mu yeekaalu. Mu ngeri ey’akabonero, amakondeere gafuuyibwa nga waliwo omusango oguvudde eri Yakuwa ogulangirirwa oba nga waliwo ekintu ekirala ekikulu Yakuwa ky’akola.​—2By 29:26; Ezr 3:10; 1Ko 15:52; Kub 8:7–​11:15.

  • Ekkubo.

    Mu Byawandiikibwa, ekigambo kino kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza enkola y’ebintu oba enneeyisa esanyusa Yakuwa oba etamusanyusa. Abantu abaafuuka abagoberezi ba Yesu Kristo baayitibwanga “ab’Ekkubo,” kubanga engeri gye baali batambuzaamu obulamu bwabwe yali eraga nti bakkiririza mu Yesu Kristo, era nti bagoberera ekyokulabirako kye.​—Bik 19:9.

  • Ekkuŋŋaaniro.

    Kitegeeza “okuleeta awamu; olukuŋŋaana,” naye emirundi egisinga, kitegeeza ekizimbe oba ekifo Abayudaaya we baakuŋŋaaniranga okusoma Ebyawandiikibwa, okuyigirizibwa, okubuulira, n’okusaba. Yesu we yabeerera ku nsi, buli kabuga kaalimu ekkuŋŋaaniro, ate mu bibuga ebinene mwalimu agasukka mu limu.​—Luk 4:16; Bik 13:14, 15.

  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.

    Ekijjulo kino kibaako mugaati ogutali muzimbulukuse n’envinnyo ebikiikirira omubiri gwa Kristo n’omusaayi gwe; ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu. Okuva bwe kiri nti Abakristaayo balagirwa mu Byawandiikibwa okukwatanga omukolo guno, kituukirawo okuguyita “Ekijjukizo.”​—1Ko 11:20, 23-​26.

  • Eky’okubikkako.

    Ekyabikkanga ku ssanduuko y’endagaano, era nga mu maaso gakyo kabona asinga obukulu we yamansiriranga omusaayi gwa ssaddaaka ey’ekibi ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi. Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okubikka ku (kibi)” oba “okusangula (ekibi).” Kyakolebwa mu zzaabu era kungulu kyaliko bakerubi babiri, ng’omu ali ku ludda olumu ate ng’omulala ali ku ludda olulala. (Kuv 25:17-​22; Beb 9:5)​—Laba Ebyong. B5.

  • Eky’omu kifuba.

    Olugoye olwaliko amayinja ag’omuwendo kabona wa Isirayiri asinga obukulu lwe yayambalanga mu kifuba buli lwe yayingiranga Awatukuvu. Kyayitibwanga “eky’omu kifuba eky’okulamuzisa” kubanga kyalimu Ulimu ne Sumimu, ebyakozesebwanga okumanya ekyo Yakuwa kye yabanga asazeewo. (Kuv 28:15-​30)​—Laba Ebyong. B5.

  • Ekyama ekitukuvu.

    Kikwatagana n’ekigendererwa kya Katonda; takibikkula okutuusa ng’ekiseera kye ekigereke kituuse, era akibikkulira abo bokka b’aba ayagala bakimanye.​—Mak 4:11; Bak 1:26.

  • Ekyokero.

    Mwe baasaanuusizanga ebyuma; era baayokerangamu ensuwa n’ebibya ebirala eby’ebbumba. Mu biseera by’edda, ebyokero byakolebwanga mu matoffaali oba mu mayinja.​—Dan 3:17; Kub 9:2.

  • Ekyoto.

    Ekintu ekigulumivu ekyakolebwanga mu ttaka, oba mu mayinja, oba mu mbaawo nga kibikkiddwako zzaabu oba ekikomo, kwe baaweerangayo ssaddaaka oba obubaani. Mu kisenge ekisooka ekya weema entukuvu n’ekya yeekaalu, waaliwo “ekyoto ekya zzaabu” ekitono kwe baayotererezanga obubaani. Kyali kyakolebwa mu mbaawo era nga kibikkiddwako zzaabu. Ate era waaliwo “ekyoto eky’ekikomo” ekinene wabweru mu luggya lwa yeekaalu. (Kuv 27:1; 39:38, 39; Lub 8:20; 1Sk 6:20; 2By 4:1; Luk 1:11)​—Laba Ebyong. B5 ne B8.

  • Emagombe.

    Ekifo abafu bonna gye bali. Kyogerwako mu Bayibuli ng’ekifo eky’akabonero oba embeera awatali mulimu gwonna wadde okutegeera.​—Mub 9:10; Bik 2:31.

  • Embaga ey’Amakungula.​—

    Laba PENTEKOOTI.

  • Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.

    Embaga eyasookanga okubaawo ku mbaga essatu enkulu Abayisirayiri ze baabanga nazo buli mwaka. Yatandikanga nga Nisaani 15, ku lunaku olwaddiriranga olunaku olw’Okuyitako, era yamalanga ennaku musanvu. Baalyanga migaati egitali mizimbulukuse gyokka, nga bajjukira lwe baava e Misiri.​—Kuv 23:15; Mak 14:1.

  • Embaga ey’Ensiisira.

    Yabangawo mu mwezi gwa Esanimu okuva nga 15 okutuuka nga 21. Ku mbaga eno, Abayisirayiri baajaguzanga olw’ebirime bye baabanga bakungudde mu mwaka; baasanyukanga era beebazanga Yakuwa olw’okubaza ebirime byabwe. Ku mbaga eno, abantu baasulanga mu nsiisira, okujjukira ekiseera kye baaviiramu e Misiri. Y’emu ku mbaga essatu abasajja ze baalinanga okukwata e Yerusaalemi.​—Lev 23:34; Ezr 3:4.

  • Embaga ey’Okuzza Obuggya.

    Embaga eyabangawo buli mwaka ey’okujjukirirako olunaku yeekaalu lwe yatukuzibwa oluvannyuma lwa Antiyokasi Epifanesi okugyonoona. Embaga eno yatandikanga mu mwezi gwa Kisulevu nga 25, era yamalanga ennaku munaana.​—Yok 10:22.

  • Emigaati egy’okulaga.

    Emigaati kkumi n’ebiri egyapangibwanga mu mbu bbiri nga buli lubu luliko emigaati mukaaga. Gyateekebwanga ku mmeeza eyali Awatukuvu, mu weema entukuvu ne mu yeekaalu. Era giyitibwa “emigaati egipangibwa.” Ku buli Ssabbiiti baagiggyangamu ne bateekamu emipya. Emigaati gye baggyangamu bakabona bokka be baagiryanga. (2By 2:4; Mat 12:4; Kuv 25:30; Lev 24:5-9; Beb 9:2)​—Laba Ebyong. B5.

  • Emizingo egy’amaliba.

    Amaliba g’endiga, ag’embuzi, oba eg’ente agaakolebwangamu eby’okuwandiikako. Gyali migumu okusinga egy’ebitoogo era baagiwandiikangako Ebyawandiikibwa ebitukuvu. Emizingo Pawulo gye yagamba Timoseewo okumutwalira giyinza okuba nga gyalimu ebimu ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Egimu ku Mizingo gy’Ennyanja Enfu gyali gya maliba.​—2Ti 4:13.

  • Emmaanu.

    Emmere Abayisirayiri gye baasinga okulya mu myaka 40 gye baamala mu ddungu. Yakuwa ye yagibawa. Yalabikanga ku ttaka buli ku makya, okuggyako ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abayisirayiri lwe baasooka okugiraba, baagamba nti, “Kino kiki?” oba mu Lwebbulaniya, “man huʼ?” (Kuv 16:13-​15, 35) Mu nnyiriri endala, eyitibwa “emmere ey’omu ggulu” (Zb 78:24), “emmere okuva mu ggulu” (Zb 105:40), ne “emmere ey’ab’amaanyi” (Zb 78:25). Yesu naye yayogera ku mmaanu mu ngeri ey’akabonero.​—Yok 6:49, 50.

  • Emmunyeenye ey’oku makya.

    Ye mmunyeenye esembayo okuvaayo ebuvanjuba ng’enjuba tennavaayo, ekiba kiraga nti obudde bukedde.​—Kub 22:16; 2Pe 1:19.

  • Empagi esinzibwa.

    Empagi eno yabanga eyimiriziddwa busimba, era yateranga kuba ya mayinja. Kirabika yali efaanana ng’ekitundu ky’omusajja eky’ekyama era kaali kabonero ka Bbaali oba aka bakatonda abalala ab’obulimba.​—Kuv 23:24.

  • Empagi.

    Ekintu ekiba kisimbiddwa okuwanirira ekintu ekirala. Empagi ezimu zaazimbibwanga okujjukirirako ebintu ebikulu ebyaliwo mu byafaayo. Mu yeekaalu ne mu mbiri Sulemaani ze yazimba mwalimu empagi. Abantu abaali batasinza Yakuwa baasimbanga empagi ez’okusinza, era n’Abayisirayiri oluusi beenyigiranga mu kusinza okwo.​—Bal 16:29; 1Sk 7:21; 14:23.

  • Empeta eramba.

    Empeta eyateekebwanga ku lugalo oba eyasibibwanga ku kaguwa n’eyambalwa mu bulago. Kaali kabonero akooleka obuyinza bw’omufuzi oba obw’omukungu. (Lub 41:42)​—Laba AKABONERO.

  • Endagaano.

    Enzikiriziganya eba mu buwandiike, eri wakati wa Katonda n’abantu oba wakati w’abantu, ng’ekwata ku kukola ekintu ekimu oba obutakikola. Emirundi egimu oludda olumu lwe lwavunaanyizibwanga okutuukiriza ebiri mu ndagaano eyabanga ekoleddwa. Emirundi emirala, enjuyi zombi zaavunaanyizibwanga okutuukiriza ebiri mu ndagaano. Ng’oggyeeko endagaano ezaabangawo wakati wa Katonda n’abantu, Bayibuli era eyogera ku ndagaano ezaabangawo wakati w’abantu, ebika, amawanga, n’ebibiina by’abantu. Ezimu ku ndagaano ezaasinga okuganyula abantu abangi z’ezo Katonda ze yakola ne Ibulayimu, ne Dawudi, era n’eggwanga lya Isirayiri (Endagaano y’Amateeka), era ne Isirayiri wa Katonda (endagaano empya).​—Lub 9:11; 15:18; 21:27; Kuv 24:7; 2By 21:7.

  • Enkomamawanga.

    Ekibala ekyakula nga apo, era nga ku ludda olumu kiriko akantu akalinga engule. Ekikuta kyakyo kiba kigumu era nga munda mulimu obusigo obumyukirivu obubikkiddwa akabubi akalimu omubisi. Ku lukugiro lw’ekizibaawo ekya bbulu ekitaaliko mikono ekya kabona asinga obukulu kwaliko amajolobero agaakula ng’enkomamawanga, era n’emitwe egyali waggulu w’empagi, Yakini ne Bowaazi, ezaali ku kisasi kya yeekaalu gyaliko obuntu obwakula ng’enkomamawanga.​—Kuv 28:34; Kbl 13:23; 1Sk 7:18.

  • Ennaku ez’enkomerero.

    Ebigambo bino n’ebigambo ebirala gamba nga “ennaku ezisembayo,” bikozesebwa mu bunnabbi bwa Bayibuli okutegeeza ekiseera ebintu ebikulu ennyo mu byafaayo lwe byandituuse ku ntikko yaabyo. (Ezk 38:16; Dan 10:14; Bik 2:17) Okusinziira ku bunnabbi, ekiseera kino kiyinza okumala emyaka mitono oba mingi. Ebigambo bino bikozesebwa mu Bayibuli naddala okutegeeza “ennaku ez’enkomerero” ez’ensi eno efugibwa Sitaani, mu kiseera eky’okubeerawo kwa Yesu.​—2Ti 3:1; Yak 5:3; 2Pe 3:3.

  • Ennyanja ey’omuliro.

    Kifo kya kabonero ekirimu ‘omuliro ogwaka,’ era kitegeeza “okufa okw’okubiri.” Ababi abateenenya, Sitaani, okufa, n’amagombe byonna bisuulibwa mu nnyanja eno. Okuva bwe kiri nti ennyanja eno esuulibwamu n’ebintu ebitasobola kuggya muliro, gamba ng’ekitonde eky’omwoyo, okufa, n’amagombe, kitegeeza nti ya kabonero. N’olwekyo, kino si kifo abantu gye babonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe, wabula kitegeeza okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe.​—Kub 19:20; 20:14, 15; 21:8.

  • Ensawo z’omwenge ez’amaliba.

    Ensawo zino zaakolebwanga mu maliba g’ebisolo, gamba ng’embuzi oba endiga, era baaziteekangamu omwenge. Omwenge gwateekebwanga mu nsawo z’amaliba empya, kubanga bwe gwakulanga, gwavangamu omukka ne guzimbya ensawo ezo. Ensawo empya zaagaziwanga, naye enkadde zaayabikanga.​—Yos 9:4; Mat 9:17.

  • Ensozi za Lebanooni.

    Ezimu ku nsozi ezaali mu kitundu kya Lebanooni. Ensozi zino zaali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ate endala eziyitibwa ensozi za Amaani zaali ku luuyi olw’ebuvanjuba. Ekiwonvu ekiwanvu era ekigimu kyawula ensozi za Lebanooni n’eza Amaani. Ensozi za Lebanooni kumpi zitandikira ku lubalama lw’ennyanja Meditereniyani. Okutwalira awamu obugulumivu bw’ensozi ezo buli wakati wa mita 1,800 ne 2,100 (oba ffuuti 6,000 ne 7,000). Mu biseera by’edda, ekitundu kya Lebanooni kyalimu emiti gy’entolokyo eminene egyali gyagalibwa ennyo amawanga agaali galiraanyeewo. (Ma 1:7; Zb 29:6; 92:12)​—Laba Ebyong. B7.

  • Entaana ey’ekijjukizo.

    Ekifo oba entaana we baatekanga omulambo. Ekigambo ky’Oluyonaani mwe kiva kiyinza okutegeeza okujjukira omuntu eyafa, nga kiraga nti abantu abalala era ne Katonda bajjukira omuntu oyo aba afudde.​—Yok 5:28, 29; obugambo obuli wansi.

  • Entebe ey’okusalirako omusango.

    Okusinga kyabanga kituuti ekyabeeranga ebweru, era nga balinnya madaala okukituukako; abakungu kwe baatuulanga okwogera eri abantu n’okubabuulira ebyabanga bisaliddwawo. Ebigambo “entebe ya Katonda ey’okusalirako omusango” ne “entebe ya Kristo kw’asalira omusango,” bya kabonero era bitegeeza enteekateeka ya Yakuwa ey’okusalira abantu omusango.​—Bar 14:10; 2Ko 5:10; Yok 19:13.

  • Enteekateeka y’ebintu.

    Kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani ai·onʹ nga kitegeeza embeera eriwo kati oba ebintu ebyawulawo ekiseera ekimu oba omulembe ogumu ku mulala. Bayibuli eyogera ku “nteekateeka eno ey’ebintu,” ng’etegeeza ebigenda mu maaso mu nsi okutwalira awamu n’engeri abantu b’ensi gye beeyisaamu. (2Ti 4:10) Okuyitira mu ndagaano y’Amateeka, Katonda yatandikawo enteekateeka y’ebintu abamu gye basobola okuyita omulembe gw’Abayisirayiri oba ogw’Abayudaaya. Okuyitira mu ssaddaaka ye, Yesu Kristo yakozesebwa Katonda okutandikawo enteekateeka y’ebintu endala, erimu Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Kino kyatandikawo omulembe omuggya, endagaano y’Amateeka gwe yali esongako. Oluusi ebigambo “enteekateeka y’ebintu” bitegeeza enteekateeka z’ebintu ezitali zimu, embeera eriwo, eyaliwo, oba ejja okubaawo.​—Mat 24:3; Mak 4:19; Bar 12:2; 1Ko 10:11.

  • Envuba.

    Ekintu kye baakozesanga okusiba omuntu oba okumubonereza. Envuba ezimu baaziteekangamu bigere byokka, ate endala baaziteekangamu ebigere, emikono, n’ensingo, omuntu n’aba nga tasobola kwekyusa.​—Yer 20:2; Bik 16:24.

  • Envuumuulo.

    Akaguwa akaalukibwanga mu ddiba oba mu byoya by’ebisolo. Wakati wabanga wagazi era we baateekanga ejjinja ery’okukasuka. Oludda olumu olw’envuumuulo baalusibanga ku mukono, era omukono gwe gumu gwe gwakwatanga oludda olulala. Envuumuulo baagiwuubanga era bwe baatanga oludda olumu, ng’ejjinja liva mu nvuumuulo. Edda amawanga gaakozesanga envuumuulo mu ntalo.​—Bal 20:16; 1Sa 17:50.

  • Enzige.

    Biwuka ebyakula ng’amayanzi naye byo bitambulira mu bibinja binene. Amateeka Katonda ge yawa Musa gaali gakkiriza abantu okuzirya. Bwe zaagwanga mu kitundu ne zirya buli kimu, kyayitibwanga kibonyoobonyo.​—Kuv 10:14; Mat 3:4.

  • Eruli.

    Erinnya ly’omwezi ogw’omukaaga ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Agusito okutuuka mu makkati ga Ssebutemba. (Nek 6:15)​—Laba Ebyong. B15.

  • Esanimu.

    Erinnya ly’omwezi ogw’omusanvu ku kalenda y’Abayudaaya era nga gwe mwezi ogusooka ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Ssebutemba okutuuka mu makkati ga Okitobba. Abayudaaya bwe baava mu buwaŋŋanguse e Babulooni, gwatandika okuyitibwa Tisiri. (1Sk 8:2)​—Laba Ebyong. B15.

  • Esiyopiya.

    Ensi edda eyali mu bukiikaddyo bwa Misiri. Yali ezingiramu ekitundu eky’ebukiikaddyo ekya Misiri ey’omu kiseera kino, ne Sudan ey’omu kiseera kino. Kikozesebwa ne ku kitundu ekiyitibwa “Kuusi.”​—Es 1:1.

  • Essogolero.

    Okusinga byabanga binnya bibiri ebyakolebwa mu jjinja, ng’ekimu kiri wansi ate ng’ekirala kiri waggulu, era nga wakati waabyo waliwo omukutu. Bwe baasogoleranga ezzabbibu mu kinnya ekya waggulu, ng’omubisi gukulukutira mu kinnya ekya wansi. Ekigambo kino kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza omusango Katonda gw’aba asaze.​—Is 5:2; Kub 19:15.

  • Ezobu.

    Akati akaaliko amatabi n’ebikoola akaakozesebwanga okumansira omusaayi oba amazzi ku mikolo egy’okutukuza. Mu Yokaana 19:29, kayinza okuba nga ke kaateekebwako ekisuumwa ekyali kinnyikiddwa mu mwenge omukaatuufu gwe baali baagala okuwa Yesu kubanga akatabi kaako kaabanga kawanvu era kaali kasobola okutuuka ku mumwa gwa Yesu.​—Kuv 12:22; Zb 51:7.

F

  • Falaawo.

    Ekitiibwa ekyaweebwanga bakabaka ba Misiri. Bayibuli erimu amannya ga bafalaawo bataano (Sisaki, So, Tiraka, Neeko, ne Kofera), naye abalala amannya gaabwe tegaliimu mu Bayibuli, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo mu kiseera kya Ibulayimu, Musa, ne Yusufu.​—Kuv 15:4; Bar 9:17.

  • Fulaati.

    Omugga ogusinga obuwanvu era ogusinga okuba ogw’omugaso mu bukiikaddyo bw’ebugwanjuba bwa Asiya, era ogumu ku migga ebiri egisinga obunene mu Mesopotamiya. Gusooka kwogerwako mu Olubereberye 2:14 ng’ogumu ku migga ena egyali mu Edeni. Gutera kuyitibwa “Omugga.” (Lub 31:21) Ensalo ya Isirayiri ey’ebukiikakkono yali eyitira ku mugga guno. (Lub 15:18; Kub 16:12)​—Laba Ebyong. B2.

G

  • Gera.

    Ekipimo ky’obuzito ekyali kizitowa gramu 0.57, era ng’obuzito bwakyo bwenkana 1/20 ekya sekeri. (Lev 27:25)​—Laba Ebyong. B14.

  • Ggeyeena.

    Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani ekitegeeza Ekiwonvu kya Kinomu, ekyali ebukiikaddyo era n’ebukiikaddyo w’ebugwanjuba bwa Yerusaalemi. (Yer 7:31) Mu bunnabbi, kyayogerwako ng’ekifo emirambo we gyandisuuliddwa. (Yer 7:32; 19:6) Tewali bukakafu bulaga nti abantu oba ebisolo byasuulibwanga mu Ggeyeena ne byokebwa oba ne bibonyaabonyezebwa nga biramu. N’olwekyo Ggeyeena si kifo ekitalabika abantu gye babonyaabonyezebwa emirembe n’emirembe mu muliro ogutazikira. Yesu n’abayigirizwa be baakozesa ekigambo “Ggeyeena” nga bategeeza “okufa okw’okubiri,” kwe kugamba, okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe.​—Kub 20:14; Mat 5:22; 10:28.

  • Gireyaadi.

    Ekitundu ekigimu ekyali ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani era nga kituukira ddala ebukiikaddyo n’ebukiikakkono bw’Ekiwonvu kya Yabboki. Oluusi kikozesebwa ku kitundu kyonna ekya Isirayiri ekyali ebuvanjuba wa Yoludaani, nga kye kitundu ekyalimu ekika kya Lewubeeni, Gaadi, n’ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase. (Kbl 32:1; Yos 12:2; 2Sk 10:33)​—Laba Ebyong. B4.

  • Gittisu.

    Ekigambo ekikozesebwa mu by’okuyimba. Amakulu gaakyo tegamanyiddwa naye kirabika kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya gath. Abamu balowooza nti luyinza okuba oluyimba olukwataganyizibwa n’okukola envinnyo, okuva bwe kiri nti ekigambo gath kitegeeza essogolero ly’envinnyo.​—Zb 81:0.

I

  • Iruliko.

    Essaza lya Rooma eryali ebukiikakkono w’ebugwanjuba bwa Buyonaani. Pawulo yatuuka mu kitundu kino naye tekiragibwa obanga yakibuuliramu oba yagendayo bugenzi. (Bar 15:19)​—Laba Ebyong. B13.

  • Isirayiri.

    Erinnya Katonda lye yawa Yakobo. Oluvannyuma bazzukulu ba Yakobo bonna baayitibwanga Isirayiri. Bazzukulu ba batabani ba Yakobo 12 baayitibwanga abaana ba Isirayiri, ab’ennyumba ya Isirayiri, abantu ba Isirayiri, oba Abayisirayiri. Ate era Isirayiri lyali linnya ery’obwakabaka obw’ebika ekkumi obw’ebukiikakkono obwekutula ku bwakabaka obw’ebika ebibiri obw’ebukiikaddyo, era oluvannyuma Abakristaayo abaafukibwako amafuta nabo baatandika okuyitibwa “Isirayiri wa Katonda.”​—Bag 6:16; Lub 32:28; 2Sa 7:23; Bar 9:6.

J

  • Jjubiri.

    Buli mwaka ogw’amakumi ataano, okuva Abayisirayiri lwe baayingira mu Nsi Ensuubize. Ensi teyalinanga kulimibwa mu mwaka gwa Jjubiri, era n’abaddu Abayudaaya baalinanga okuteebwa. Ettaka ery’obusika eryabanga litundiddwa lyaddizibwanga bannannyini lyo. Mu ngeri endala, omwaka gwa Jjubiri gwonna gwabanga gwa kujaguza, omwaka eggwanga lwe lyaddangamu okuba mu mirembe nga bwe lyali nga Katonda yaakalissaawo.​—Lev 25:10.

K

  • Kaabu.

    Ekipimo eky’ebintu ebikalu ekyali kigyaamu lita 1.22, era baakipimanga nga basinziira ku kipimo kya basi. (2Sk 6:25)​—Laba Ebyong. B14.

  • Kabona asinga obukulu.

    Mu Mateeka ga Musa, ye kabona eyakuliranga bakabona abalala. Era ayitibwa “kabona omukulu.” (2By 26:20; Ezr 7:5) Ye yekka eyakkirizibwanga okuyingira Awasinga Obutukuvu, mu weema entukuvu era oluvannyuma mu yeekaalu. Ekyo yakikolanga ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi lwokka olwabeerangawo buli mwaka. Ebigambo “kabona asinga obukulu” bikozesebwa ne ku Yesu Kristo.​—Lev 16:2, 17; 21:10; Mat 26:3; Beb 4:14.

  • Kabona omukulu.

    Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ayitibwa “kabona asinga obukulu.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebigambo “bakabona abakulu” bikozesebwa ku basajja ab’ekitiibwa abaali mu lulyo lwa bakabona, oboolyawo nga mw’otwalidde ne bakabona abasinga obukulu abaabanga baggiddwa ku bwakabona wamu n’abo abaali bakulira ebibinja 24 ebya bakabona.​—2By 26:20; Ezr 7:5; Mat 2:4; Mak 8:31.

  • Kabona.

    Omusajja eyakiikiriranga Katonda eri abantu, ng’abayigiriza ebikwata ku Katonda n’amateeka ge. Bakabona era baakiikiriranga abantu eri Katonda, nga babaweerayo ssaddaaka era nga basaba Katonda n’okumwegayirira ku lw’abantu. Katonda bwe yali tannawa Bayisirayiri Mateeka, omutwe gw’amaka ye yakolanga nga kabona mu maka ge. Wansi w’Amateeka ga Musa, abasajja okuva mu kika kya Leevi, ab’omu lunyiriri lwa Alooni, be baakolanga nga bakabona. Abasajja abalala bonna Abaleevi baayambangako bakabona. Endagaano empya bwe yatongozebwa, Isirayiri ow’omwoyo ye yafuuka eggwanga lya bakabona, era nga Yesu Kristo ye Kabona Asinga Obukulu.​—Kuv 28:41; Beb 9:24; Kub 5:10.

  • Kanani.

    Muzzukulu wa Nuuwa, era omwana wa Kaamu ow’okuna. Ebika ekkumi n’ekimu ebyasibuka mu Kanani oluvannyuma byatuula mu kitundu ekiri ebuvanjuba w’ennyanja Meditereniyani wakati wa Misiri ne Busuuli. Ekitundu ekyo kyali kiyitibwa “ensi ya Kanani.” (Lev 18:3; Lub 9:18; Bik 13:19)​—Laba Ebyong. B4.

  • Kasiya.

    Ebyakaloosa ebyaggibwanga mu bikuta by’omuti oguyitibwa kasiya, era ng’omuti ogwo gwa kika kye kimu n’omudalasiini. Kasiya yakozesebwanga nga kalifuuwa oba ng’ekirungo mu mafuta amatukuvu agaafukibwanga ku muntu oba ku kintu okukitongoza.​—Kuv 30:24; Zb 45:8; Ezk 27:19.

  • Katonda ow’amazima.

    Emirundi egisinga ebigambo bino bikozesebwa okwawula Yakuwa, Katonda omu yekka ow’amazima, ku bakatonda ab’obulimba. Ebigambo “Katonda ow’amazima” biggyayo bulungi amakulu g’ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kyava.​—Lub 5:22, 24; 46:3; Ma 4:39.

  • Kayisaali.

    Erinnya ery’ab’enju emu ey’Abaruumi oluvannyuma eryafuuka ekitiibwa kya ba empula ba Rooma. Agusito, Tiberiyo, ne Kulawudiyo be bamu ku bakayisaali aboogerwako mu Bayibuli, era wadde nga Nero tayogerwako mu Bayibuli, naye yalina ekitiibwa kino. Ekigambo “kayisaali” era kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani okutegeeza ab’obuyinza, oba gavumenti.​—Mak 12:17; Bik 25:12.

  • Kemosi.

    Yali katonda omukulu ow’Abamowaabu.​—1Sk 11:33.

  • Kerode.

    Erinnya ly’ab’enju emu abaalondebwanga Abaruumi okufuga Abayudaaya. Eyasooka yali ayitibwa Kerode Omukulu, ajjukirwa ennyo olw’okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi n’olw’okulagira abaana battibwe ng’ayagala ne Yesu afe. (Mat 2:16; Luk 1:5) Kerode Alukerawo ne Kerode Antipasi, abaali batabani ba Kerode Omukulu, baaweebwa okufuga ebimu ku bitundu kitaabwe bye yali afuga. (Mat 2:22) Antipasi yali afuga kimu kya kuna ekya Buyudaaya, era yayitibwanga “kabaka.” Ye yali afuga mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu Yesu gye yamala mu buweereza bwe wano ku nsi, era ebyo ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume essuula 12 we byabeererawo, yali akyafuga. (Mak 6:14-​17; Luk 3:1, 19, 20; 13:31, 32; 23:6-​15; Bik 4:27; 13:1) Oluvannyuma malayika wa Katonda yatta Kerode Agulipa I, muzzukulu wa Kerode Omukulu, nga yaakafugira ekiseera kitono. (Bik 12:1-6, 18-​23) Mutabani we, Kerode Agulipa II, n’atandika okufuga mu kifo kye okutuusa mu kiseera Abayudaaya lwe baajeemera Abaruumi.​—Bik 23:35; 25:13, 22-​27; 26:1, 2, 19-​32.

  • Kerume.

    Katonda w’Abayonaani, mutabani wa Zewu. Mu Lusitula, Pawulo yayitibwa Kerume, kubanga kyali kigambibwa nti katonda oyo ye mubaka wa bakatonda era nti mwogezi mulungi.​—Bik 14:12.

  • Kiggayoni.

    Ekigambo ekyakozesebwanga mu by’okuyimba. Nga bwe kikozesebwa mu Zabbuli 9:16, kirabika kitegeeza eddoboozi eryavanga mu ntongooli eyakubibwanga mu ddoboozi ery’ekimpoowooze oba nga bwe basiriikiriramu mu ngeri esobozesa omuntu okufumiitiriza.

  • Kisulevu.

    Erinnya ly’omwezi ogw’omwenda ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’okusatu ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Noovemba okutuuka mu makkati ga Ddesemba. (Nek 1:1; Zek 7:1)​—Laba Ebyong. B15.

  • Kkomero.

    Ekipimo ky’ebintu ebikalu ekyali kigyaamu lita 2.2, oba kimu kya kkumi ekya efa. (Kuv 16:16, 18)​—Laba Ebyong. B14.

  • Kolebu; Olusozi Kolebu.

    Ekitundu eky’ensozi ekyali kyetoolodde Olusozi Sinaayi. Erinnya eddala ery’Olusozi Sinaayi. (Kuv 3:1; Ma 5:2)​—Laba Ebyong. B3.

  • Komeri.

    Kyali kipimo eky’ebintu ebikalu ekyali kyenkana ne koro. Okusinziira ku kipimo ekya basi, komeri yali egyaamu lita 220. (Lev 27:16)​—Laba Ebyong. B14.

  • Koro.

    Ekipimo ky’ebintu ebikalu n’ebifukibwa. Kyali kigyaamu lita 220, era nga bakipima okusinziira ku kipimo kya basi. (1Sk 5:11)​—Laba Ebyong. B14.

  • Kristo.

    Ekitiibwa kya Yesu ekiva mu kigambo ky’Oluyonaani Khri·stosʹ, era nga kirina amakulu ge gamu n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “Masiya,” oba “Eyafukibwako Amafuta.”​—Mat 1:16; Yok 1:41.

L

  • Lakabu.

    Ekigambo ekikozesebwa mu ngeri ey’akabonero mu kitabo kya Yobu, Zabbuli, ne Isaaya (si ye mukazi ayitibwa Lakabu ayogerwako mu kitabo kya Yoswa). Mu kitabo kya Yobu, ennyiriri ezimu zituyamba okutegeera nti Lakabu gusolo gwa mu nnyanja; mu nnyiriri endala, ogusolo guno ogw’omu nnyanja gukiikirira Misiri.​—Yob 9:13; Zb 87:4; Is 30:7; 51:9, 10.

  • Leevi; Omuleevi.

    Mutabani wa Yakobo ow’okusatu gwe yazaala mu Leeya; era ekimu ku bika by’Abayisirayiri kyatuumibwa erinnya lye. Batabani be abasatu be baasibukamu ebibinja ebisatu ebya bakabona Abaleevi. Emirundi egimu, ekigambo “Abaleevi” kitegeeza ekika kyonna, naye emirundi egisinga tekitwaliramu bakabona bazzukulu ba Alooni. Ekika kya Leevi tekyafuna ttaka mu Nsi Ensuubize naye kyaweebwa ebibuga 48 mu bitundu ebyaweebwa ebika ebirala.​—Ma 10:8; 1By 6:1; Beb 7:11.

  • Leputoni.

    Mu kiseera we baawandiikira Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, kyali kinusu ky’Abayudaaya eky’ekikomo ekyali kisinga obutono. (Mak 12:42; Luk 21:2; obugambo obuli wansi.)​—Laba Ebyong. B14.

  • Leviyasani.

    Kirabika kisolo kya mu mazzi. Mu Yobu 3:8 ne 41:1, kirabika ggoonya oba ekisolo ekirala eky’omu nnyanja ekinene era ekirina amaanyi amangi. Mu Zabbuli 104:26, kirabika kitegeeza ekika ekimu ekya lukwata. Awalala kikozesebwa mu ngeri ya kabonero era tekikwataganyizibwa na kisolo kyonna.​—Zb 74:14; Is 27:1.

  • Logu.

    Ekipimo ky’ebintu ebifukibwa ekisingayo obutono ekyogerwako mu Bayibuli. Mu kitabo ky’Abayudaaya eky’amateeka (Talmud), kigambibwa nti logu yali yenkana 1/12 ekya yini. Okusinziira ku ekyo, logu yali egyaamu lita 0.31. (Lev 14:10)​—Laba Ebyong. B14.

M

  • Magalo.

    Ebintu ebyakolebwanga mu zzaabu, bye baakozesanga okuzikiza omuliro gw’ettaala mu weema entukuvu ne mu yeekaalu.​—Kuv 37:23.

  • Makalasi.

    Ekigambo ekyakozesebwanga mu by’okuyimba ekiri mu bugambo obuli waggulu wa Zabbuli 53 ne 88. Kiyinza okuba nga kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okuggwaamu amaanyi; okulwala,” ekiraga nti zabbuli ezo ebbiri zaayimbibwa mu ddoboozi ery’ennaku, era ng’ekyo kitwatagana bulungi n’obubaka obw’ennaku obuzirimu.

  • Masedoniya.

    Ekitundu ekyali mu bukiikakkono bwa Buyonaani ekyayatiikirira ennyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Alekizanda Omukulu era ekyasigala nga kyetwala kyokka okutuusa Abaruumi lwe baakiwamba. Masedoniya lyali ssaza lya Rooma mu kiseera omutume Pawulo we yasookera okugenda mu Bulaaya. Pawulo yagenda mu kintu ekyo emirundi esatu. (Bik 16:9)​—Laba Ebyong. B13.

  • Malaaya.

    Omuntu eyeegatta n’omuntu omulala atali munne mu bufumbo, naddala ng’ayagala okufuna ssente. (Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “malaaya,” porʹne, kiva mu kigambo ekitegeeza “okutunda.”) Ekigambo kino kitera kukozesebwa ku bakazi, wadde nga Bayibuli eyogera ne ku bamalaaya abasajja. Amateeka Katonda ge yawa Musa gaavumirira obwamalaaya, era empeera ya malaaya teyakkirizibwanga kuweebwayo mu yeekaalu, era ng’ekyo kyali kyawukana ku nkola ey’ekikaafiiri ey’okufuna ssente mu bamalaaya ab’omu yeekaalu. (Ma 23:17, 18; 1Sk 14:24) Bayibuli era ekozesa ekigambo kino mu ngeri ey’akabonero okutegeeza abantu, amawanga, oba ebibiina by’abantu abasinza ebifaananyi ng’ate beeyita abasinza Katonda. Ng’ekyokulabirako, amadiini ag’obulimba agayitibwa “Babulooni Ekinene” googerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa nga malaaya kubanga gakolagana n’abafuzi b’ensi eno okwefunira obuyinza n’eby’obugagga.​—Kub 17:1-5; 18:3; 1By 5:25.

  • Malayika Omukulu.

    Kitegeeza “akulira bamalayika.” “Malayika omukulu” ali omu yekka. Bayibuli eraga nti erinnya lya malayika omukulu ye Mikayiri.​—Dan 12:1; Yud 9; Kub 12:7.

  • Malukamu.

    Kiyinza okuba nga kye kimu ne Moleki, eyali katonda omukulu ow’Abaamoni. (Zef 1:5)​—Laba MOLEKI.

  • Masiya.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “eyafukibwako amafuta” oba “oyo eyafukibwako amafuta.” “Kristo” ekiva mu kigambo ky’Oluyonaani nakyo kirina amakulu ge gamu.​—Dan 9:25; Yok 1:41.

  • Masukiri.

    Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekiri mu bugambo obuli waggulu wa zabbuli ez’enjawulo 13, era amakulu gaakyo tegamanyiddwa. Kiyinza okuba nga kitegeeza “ekitontome eky’okufumiitiriza.” Abamu bagamba nti ekigambo ekikifaanana ekivvuunulwa ‘weereza n’amagezi,’ kiyinza okuba nga kirina amakulu ge gamu nakyo.​—2By 30:22; Zb 32:0.

  • Mayiro.

    Ekipimo ky’olugendo. Kyogerwako omulundi gumu gwokka mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani mu Matayo 5:41, oboolyawo nga kitegeeza mayiro y’Abaruumi eyali yenkana mita 1,479.5 (ffuuti 4,854). Ekigambo “mayiro” kikozesebwa emirundi emirala esatu; mu Lukka 24:13, Yokaana 6:19, ne Yokaana 11:18, era ng’emirundi egyo gyonna kitegeeza mayiro eyakyusibwa okuva mu kipimo ekiyitibwa sitadiya ekyali mu biwandiiko ebyasooka.​—Laba Ebyong. B14.

  • Merodaaki.

    Yali katonda omukulu ow’omu kibuga Babulooni. Oluvannyuma lwa Kamulabi kabaka wa Babulooni era omuteesi w’amateeka okufuula Babuuloni ekibuga ekikulu eky’ensi ya Babulooni, Merodaaki yafuuka katonda mukulu nnyo era nga y’asinga bakatonda ba Babulooni abalala bonna abaasooka. Ng’ekiseera kiyiseewo, ekitiibwa “Beru” (“Nannyini”), kye kyadda mu kifo ky’erinnya Merodaaki, era Merodaaki yali asinga kuyitibwa Beri.​—Yer 50:2.

  • Miira.

    Amasanda agawunya akaloosa agaggibwanga mu muti ogw’ekika ekimu ogw’amaggwa oba mu buti obutono obw’ekika ekiyitibwa Commiphora. Miira kye kimu ku bintu ebyatabulwanga mu mafuta agaafukibwanga ku muntu oba ku kintu okukitongoza. Miira yateekebwanga mu bintu ng’engoye oba obuliri okusobola okubiwunyisa akawoowo, era yateekebwanga mu mafuta ag’okukozesa masaagi oba ag’okwesiiga. Miira era yakozesebwanga mu kuteekateeka omulambo nga gugenda kuziikibwa.​—Kuv 30:23; Nge 7:17; Yok 19:39.

  • Mikutamu.

    Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekiri mu bugambo obuli waggulu wa zzabuli mukaaga ez’enjawulo (Zb 16, 56-​60). Amakulu g’ekigambo kino tegamanyiddwa, naye kiyinza okuba nga kikwataganyizibwa n’ebigambo “ekintu ekiyoleddwa.”

  • Mina.

    Era eyitibwa maane mu Ezeekyeri. Kyali kipimo eky’obuzito era eky’omuwendo gwa ssente. Okusinziira ku ebyo abanoonyereza ku bintu eby’edda bye baazuula, mina yenkanankana sekeri 50, ate nga sekeri yali ezitowa gramu 11.4. Ekyo kitegeeza nti mina eyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya yali ezitowa gramu 570. Wayinza okuba nga waaliwo mina ey’omu lubiri, nga bwe kyali ne ku kipimo eky’omukono. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, mina yali yenkana dulakima 100 era yali ezitowa gramu 340. Mina 60 zaali zenkana ttalanta emu. (Ezr 2:69; Luk 19:13)​—Laba Ebyong. B14.

  • Mirukomu.

    Katonda Abaamoni gwe baasinzanga, ayinza okuba nga y’omu ne katonda eyali ayitibwa Moleki. (1Sk 11:5, 7) Ku nkomerero y’obufuzi bwe, Sulemaani yazimbira katonda ono ebifo ebigulumivu.​—Laba MOLEKI.

  • Moleki.

    Yali katonda w’Abaamoni; kirabika y’omu ne Malukamu, Mirukomu, ne Moloki. Kiyinza okuba nga kitiibwa so si linnya lya katonda. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, oyo yenna eyawangayo omwana we eri Moleki yalinanga okuttibwa.​—Lev 20:2; Yer 32:35; Bik 7:43.

  • Moloki.​—

    Laba MOLEKI.

  • Musulabbeni.

    Ekigambo ekiri mu bugambo obuli waggulu wa Zabbuli 9. Kyategeezanga, “ebikwata ku kufa kw’omwana.” Abamu bagamba nti lyali linnya lya luyimba olwali lumanyiddwa oba ebigambo ebisooka mu luyimba olwo, ebyakozesebwanga mu kuyimba zabbuli eno.

N

  • Naludo.

    Amafuta ag’akaloosa agaali ag’omuwendo omungi agaali aga langi emmyukirivu agaggibwanga mu muti oguyitibwa spikenard (Nardostachys jatamansi ). Olw’okuba gaali ga muwendo mungi, emirundi egisinga gaatabulwangamu amafuta amalala agataali ga muwendo, era oluusi baatundanga ga bicupuli. Makko ne Yokaana baawandiika nti amafuta ga naludo agaafukibwa ku Yesu gaali ‘tegatabuddwamu kintu kyonna.’​—Mak 14:3; Yok 12:3.

  • Nekira.

    Ekigambo ekitamanyiddwa makulu gaakyo, ekiri mu bugambo obuli waggulu wa Zabbuli 5. Abamu bagamba nti kyali kivuga ekifuuyibwa, nga bakikwataganya n’ekigambo ky’Olwebbulaniya cha·lilʹ (endere). Kyokka, kiyinza n’okutegeeza oluyimba.

  • Nisaani.

    Erinnya eryaweebwa omwezi gwa Abibu oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Gwe mwezi ogusooka ku kalenda y’Abayudaaya era gwe mwezi ogw’omusanvu ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Maaki okutuuka mu makkati ga Apuli. (Nek 2:1)​—Laba Ebyong. B15.

  • Nnaabakyala w’Eggulu.

    Ekitiibwa ekyaweebwanga katonda omukazi Abayisirayiri bakyewaggula gwe baasinzanga mu biseera bya Yeremiya. Abamu bagamba nti ye katonda omukazi ow’Abababulooni ayitibwa Ishtar (Astarte). Erinnya Inanna, erya katonda omukazi ow’Abasumeriya eyamusookawo nalyo litegeeza “Nnaabakyala w’Eggulu.” Ng’oggyeeko okuba nti akwataganyizibwa n’eggulu, yali katonda omukazi ow’oluzaalo. Astarte era ayitibwa “Omumbejja w’Eggulu” mu bigambo ebyayolebwa ku jjinja eryazuulibwa e Misiri.​—Yer 44:19.

  • Nnabbi.

    Omuntu Katonda gw’akozesa okumanyisa ebigendererwa bye. Bannabbi baali boogezi ba Katonda, era tebaakomanga ku kulanga ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naye era baategeezanga abantu Yakuwa by’ayagala bayige, n’ebyo ebikwata ku mateeka ge n’ebiragiro bye.​—Am 3:7; 2Pe 1:21.

O

  • Obubaani obweru.

    Amasanda g’ebika ebimu eby’emiti agaabanga gakaziddwa. Bwe gaayokebwanga, gaawunyanga akaloosa. Obubaani buno bwe bumu ku bintu ebyatabulwanga mu bubaani obutukuvu obwakozesebwanga mu weema entukuvu ne mu yeekaalu. Nabwo bwaweebwangayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke era bwateekebwanga ku buli lubu lw’emigaati egy’okulaga egyateekebwanga Awatukuvu.​—Kuv 30:34-​36; Lev 2:1; 24:7; Mat 2:11.

  • Obubaani.

    Amasanda ag’akawoowo agaatabulwangamu basamu. Bwe baagookyanga gaavangamu akaloosa. Obubaani obw’enjawulo obwakozesebwanga mu weema entukuvu ne mu yeekaalu bwatabulwangamu ebintu bina. Baabwokeranga ku kyoto eky’okwotererezaako obubaani ekyali Awatukuvu, ku makya n’ekiro, ate ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, baabwokeranga Awasinga Obutukuvu. Kaali kabonero akaali kalaga nti Katonda akkirizza essaala z’abaweereza be abeesigwa. Abakristaayo tekibeetaagisa kubukozesa.​—Kuv 30:34, 35; Lev 16:13; Kub 5:8.

  • Obugwagwa.

    Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani a·selʹgei·a, era kitegeeza ebikolwa ebibi ennyo ebimenya amateeka ga Katonda era ebyoleka obutaba na nsonyi; omuntu abikola aba tassa kitiibwa mu ba buyinza, mu mateeka, era aba tafaayo ku mitindo gya mpisa. Ekigambo kino tekikozesebwa ku bibi bitali bya maanyi nnyo.​—Bag 5:19; 2Pe 2:7.

  • Obugwenyufu.

    Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa, ekitegeeza okwegatta okutakkirizibwa mu maaso ga Katonda. Kizingiramu obwenzi, obwamalaaya, abantu okwegatta nga si bafumbo, okulya ebisiyaga, n’okwegatta n’ebisolo. Kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero mu kitabo ky’Okubikkulirwa ku malaaya ayitibwa “Babulooni Ekinene” okulaga engeri gy’akolaganamu n’abafuzi b’ensi eno okwefunira obuyinza n’eby’obugagga. (Kub 14:8; 17:2; 18:3; Mat 5:32; Bik 15:29; Bag 5:19)​—Laba MALAAYA.

  • Obujulirwa.

    Ekigambo “Obujulirwa” emirundi egisinga kitegeeza Amateeka Ekkumi agaawandiikibwa ku bipande ebibiri eby’amayinja ebyaweebwa Musa.​—Kuv 31:18.

  • Obululu.

    Obuyinja obutono obwekulungirivu oba obuti ebyakozesebwanga mu kusalawo. Bwateekebwanga mu kikondoolo oba mu kibya ne bunyeenyezebwa. Akaavangamu ne kagwa oba akaggibwangamu ke kaabanga akalulu akalondeddwa. Ebiseera ebisinga baakikolanga bamaze kusaba Katonda.​—Yos 14:2; Nge 16:33; Mat 27:35.

  • Obunnabbi.

    Obubaka obuluŋŋamiziddwa Katonda, nga bulaga ekigendererwa kye oba nga bukimanyisa. Obunnabbi buyinza okuba enjigiriza eruŋŋamiziddwa Katonda, ekintu Katonda ky’aba alagidde oba omusango gw’aba asaze, oba okwogera ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.​—Ezk 37:9, 10; Dan 9:24; Mat 13:14; 2Pe 1:20, 21.

  • Obunnya.

    Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani aʹbys·sos, ekitegeeza “ekiwanvu ennyo” oba “ekitakoma.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, kikozesebwa okutegeeza ekifo oba embeera ey’okusibibwa. Kiyinza n’okutegeeza entaana.​—Luk 8:31; Bar 10:7; Kub 20:3.

  • Obutukuvu.

    Engeri Yakuwa gy’abadde nayo okumala ebbanga lyonna oba embeera ey’okuba omuyonjo mu mpisa era omulongoofu. (Kuv 28:36; 1Sa 2:2; Nge 9:10; Is 6:3) Bwe kikozesebwa ku bantu (Kuv 19:6; 2Sk 4:9), ensolo (Kbl 18:17), ebintu (Kuv 28:38; 30:25; Lev 27:14), ebifo (Kuv 3:5; Is 27:13), ebiseera (Kuv 16:23; Lev 25:12), n’emirimu (Kuv 36:4), ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kiva kirina amakulu ag’okwawulibwawo, oba okutukuzibwa eri Katonda omutukuvu; ekintu ekyawuliddwawo okukozesebwa mu kuweereza Yakuwa. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ebigambo ebivvuunulwa “omutukuvu” oba “obutukuvu” nabyo bitegeeza omuntu oba ekintu ekyawuliddwawo okuba ekya Katonda. Ebigambo bino era bitegeeza omuntu okuba omuyonjo mu mpisa.​—Mak 6:20; 2Ko 7:1; 1Pe 1:15, 16.

  • Obutuukirivu.

    Mu Byawandiikibwa, kitegeeza ekituufu okusinziira ku mutindo gwa Katonda ogw’ekituufu n’ekikyamu.​—Lub 15:6; Ma 6:25; Nge 11:4; Zef 2:3; Mat 6:33.

  • Obuwaŋŋanguse.

    Okugobebwa mu nsi yo, emirundi egisinga ng’ensi yo ewambiddwa. Ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kiva kitegeeza “okuvaawo.” Abayisirayiri baawaŋŋangusibwa emirundi ebiri. Abaasuli baatwala mu buwaŋŋanguse abantu abaali mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi, ate oluvannyuma Abababulooni ne batwala mu buwaŋŋanguse abantu abaali mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ebibiri. Bonna abaawonawo ku abo abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse obwo obw’emirundi ebiri, Kuulo kabaka wa Buperusi yabakkiriza okuddayo mu nsi yaabwe.​—2Sk 17:6; 24:16; Ezr 6:21.

  • Obuweereza obutukuvu.

    Obuweereza, oba omulimu ogukwatagana obutereevu n’okusinza Katonda.​—Bar 12:1.

  • Obwakabaka bwa Katonda.

    Obufuzi bwa Katonda, obukulemberwa Omwana we, Kristo Yesu.​—Mat 12:28; Luk 4:43; 1Ko 15:50.

  • Obwakyewaggula.

    Ekigambo ky’Oluyonaani (a·po·sta·siʹa) kiva mu kigambo ekitegeeza “okuyimirira ewala okuva ku.” Ekigambo ekyo kirina amakulu “ag’okulekawo, okwabulira, oba okujeema.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekyo okusingira ddala kikozesebwa ku abo abava mu kusinza okw’amazima.​—Nge 11:9; Bik 21:21; 2Se 2:3.

  • Obwenzi.

    Omusajja oba omukazi omufumbo okwegatta n’omuntu atali munne mu bufumbo.​—Kuv 20:14; Mat 5:27; 19:9.

  • Obweyamo.

    Okusuubiza Katonda okubaako ky’okola, okuwaayo gy’ali ekiweebwayo oba ekirabo, okuyingira mu buweereza obumu, oba okubaako ebintu bye weerekereza naye nga tebimenya mateeka. Obweyamo bwali ng’ekirayiro.​—Kbl 6:2; Mub 5:4; Mat 5:33.

  • Okubatizibwa; Okubatiza.

    Ekigambo “okubatiza” kitegeeza “okunnyika.” Yesu yalaga nti abagoberezi be balina okubatizibwa. Ebyawandiikibwa byogera ne ku kubatiza kwa Yokaana, okubatizibwa n’omwoyo omutukuvu, n’okubatizibwa n’omuliro.​—Mat 3:11, 16; 28:19; Yok 3:23; 1Pe 3:21.

  • Okubeerawo.

    Mu nnyiriri ezimu mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo kino kitegeeza okubeerawo kwa Yesu Kristo nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Masiya okuva lwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka okutuukira ddala mu nnaku ez’enkomerero ez’enteekateeka eno ey’ebintu. Okubeerawo kwa Kristo tekitegeeza nti ajja ate oluvannyuma lw’akaseera katono n’addayo; wabula, kutwala ekiseera kiwanvu.​—Mat 24:3.

  • Okuboneka kw’omwezi.

    Olunaku olusooka olwa buli mwezi ku kalenda y’Abayudaaya, era lwali lunaku lwa kukuŋŋaana wamu, lwa mbaga, era lwa kuwaayo ssaddaaka ez’enjawulo. Oluvannyuma, olunaku luno lwafuuka lukulu nnyo eri eggwanga lyonna. Abantu baaluliirangako embaga era tebaalukolerangako mirimu.​—Kbl 10:10; 2By 8:13; Bak 2:16.

  • Okufukako amafuta.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okusiiga amafuta.” Amafuta gaafukibwanga ku muntu oba ku kintu okulaga nti kitongozeddwa okukola omulimu ogw’enjawulo. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ebigambo ebyo bikozesebwa ne ku kufuka omwoyo omutukuvu ku abo ababa balondeddwa okugenda mu ggulu.​—Kuv 28:41; 1Sa 16:13; 2Ko 1:21.

  • Okukolima.

    Okutiisatiisa oba okwogera ekintu ekibi ekigenda okutuuka ku muntu oba ku kintu. Okukolimira omuntu kya njawulo ku kumuvuma oba okumusunguwalira. Okukolima ebiseera ebisinga obungi kuba kulangirira ekintu ekibi ekigenda okubaawo. Katonda oba omuntu gw’awadde obuyinza bw’aba nga y’akolimye, kiba kya bunnabbi era kiba kirina okutuukirira.​—Lub 12:3; Kbl 22:12; Bag 3:10.

  • Okukomolebwa.

    Omusajja okusalibwako ekikuta ku kitundu kye eky’ekyama. Ibulayimu ne bazzukulu be baalina okukomolebwa, naye Abakristaayo tekibeetaagisa kukomolebwa. Ekigambo kino era kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero mu nnyiriri ezitali zimu.​—Lub 17:10; 1Ko 7:19; Baf 3:3.

  • Okukungubaga.

    Endabika eyoleka ennyiike ng’omuntu afiiriddwa oba ng’afunye ekizibu ekirala eky’amaanyi. Mu biseera eby’edda, kaali kalombolombo okukungubaga okumala ekiseera. Ng’oggyeeko okukuba ebiwoobe, abakungubazi baayambalanga mu ngeri ya njawulo, beeyiiranga evvu ku mitwe, baayuzanga ebyambalo byabwe, era beekubanga ku kifuba. Oluusi abakungubazi abakugu baayitibwanga ku nnyimbe.​—Lub 23:2; Es 4:3; Kub 21:4.

  • Okulonderera.

    Okukuŋŋaanya ebirime abakunguzi bye baalekanga emabega mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu. Amateeka ga Musa gaali galagira abantu obutakungula birime byonna ebyabanga ku nsonda z’ennimiro zaabwe n’obutakungula zzeyituuni oba zzabbibu lyonna. Abaavu, abanaku, abagwira, bamulekwa, ne bannamwandu baalina eddembe okulonderera ebirime abakunguzi bye baabanga balese mu nnimiro, era Katonda ye yabawa eddembe eryo.​—Lus 2:7.

  • Okusiiba.

    Obutalya mmere yonna okumala ekiseera ekigereke. Abayisirayiri baasiibanga ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi, mu biseera eby’obuyinike, ne mu kiseera nga baagala Katonda abawe obulagirizi. Abayudaaya baasiibanga emirundi ena mu mwaka okusobola okujjukira ebiseera ebyali ebizibu mu byafaayo byabwe. Abakristaayo tekibeetaagisa kusiiba.​—Ezr 8:21; Is 58:6; Luk 18:12.

  • Okussaako emikono.

    Emikono gyassibwanga ku muntu okumulonda okukola omulimu ogumu oba asobole okuweebwa omukisa, okuwonyezebwa, oba okuweebwa ekirabo eky’omwoyo omutukuvu. Oluusi emikono gyassibwanga ku bisolo nga tebinnassaddaakibwa.​—Kuv 29:15; Kbl 27:18; Bik 19:6; 1Ti 5:22.

  • Okutabaganya.​—

    Laba OKUTANGIRIRA.

  • Okutangirira.

    Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, kyakwataganyizibwanga ne ssaddaaka ezaaweebwangayo okusobozesa abantu okutuukirira Katonda mu kusaba n’okumusinza. Wansi w’Amateeka ga Musa, ssaddaaka zaawebwangayo naddala ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi, ne kisobozesa abantu okutabaganyizibwa ne Katonda wadde nga baali boonoonyi. Ssaddaaka ezo zaali zisonga ku ssaddaaka ya Yesu, eyasobozesa ebibi by’abantu okutangirirwa omulundi gumu, ne kiwa abantu akakisa okutabagana ne Yakuwa.​—Lev 5:10; 23:28; Bak 1:20; Beb 9:12.

  • Okuwuula; Egguuliro.

    Omulimu ogw’okuggya emmere ey’empeke mu bisusunku; ekifo we baakoleranga omulimu guno. Baakozesanga omuggo okuwuula ebirime. Ebirime bwe byabanga ebingi, baakozesanga ekintu ekizito ekiwuula ekyasikibwanga ebisolo. Ekintu ekyo baakiyisanga ku birime ebyateekebwanga ku gguuliro, era ng’egguuliro kyabanga kifo kiseeteevu ekyabanga ku kigulumu empewo w’esobola okutuuka obulungi.​—Lev 26:5; Is 41:15; Mat 3:12.

  • Okuyitako.

    Embaga eyabangawo buli mwaka ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi gwa Abibu (oluvannyuma ogwatuumibwa Nisaani), okujjukira okununulibwa kw’Abayisirayiri okuva e Misiri. Embaga eno yakwatibwanga nga basala omwana gw’endiga (oba ogw’embuzi), ennyama yaagwo ne bagyokya ne bagirya n’enva ezikaawa era n’omugaati ogutali muzimbulukuse.​—Kuv 12:27; Yok 6:4; 1Ko 5:7.

  • Okuzuukira.

    Omuntu abadde afudde okuddamu okuba omulamu. Ekigambo ky’Oluyonaani a·naʹsta·sis obutereevu kitegeeza “okuyimuka; okuyimirira.” Bayibuli eyogera ku kuzuukira kwa mirundi mwenda, nga mw’otwalidde n’okuzuukizibwa kwa Yesu. Wadde nga Eriya, Erisa, Yesu, Peetero, ne Pawulo nabo baazuukiza abantu, Katonda ye yabawa amaanyi okukola ebyamagero ebyo. Okuzuukira “kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu” okujja okubaawo ku nsi, kukulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. (Bik 24:15) Bayibuli era eyogera ku kuzuukira kw’abo abanaagenda mu ggulu, okuyitibwa okuzuukira “okusooka.” Baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta be bali mu kuzuukira kuno.​—Baf 3:11; Kub 20:5, 6; Yok 5:28, 29; 11:25.

  • Okwagala okutajjulukuka.

    Emirundi egisinga kivvuunulwa kuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya cheʹsedh. Okwagala kuno kuva mu kuba omumalirivu okunywerera ku muntu, okuba omwesigwa gy’ali, n’obutamwabulira. Kisinga kukozesebwa ku kwagala Katonda kw’alina eri abantu, naye era kisobola n’okukozesebwa ku kwagala okubaawo wakati w’abantu.​—Kuv 34:6; Lus 3:10.

  • Okwemalira ku Katonda.

    Okutya, okusinza, okuweereza Yakuwa Katonda, n’okugondera obufuzi bwe obw’obutonde bwonna.​—1Ti 4:8; 2Ti 3:12.

  • Okwenenya.

    Mu Bayibuli, kitegeeza omuntu okukyusa ebirowoozo nga kw’otadde n’okwejjusa olw’engeri gy’abadde yeeyisaamu, olw’ebibi by’abadde akola, oba olw’ekyo ky’alemereddwa okukola. Omuntu bwe yeenenya mu bwesimbu kivaamu ebibala; kimuleetera okukyusa enneeyisa ye.​—Mat 3:8; Bik 3:19; 2Pe 3:9.

  • Okwonoona; Ekyonoono.

    Okumenya etteeka; ekikolwa eky’okumenya etteeka. Mu Bayibuli, ebigambo bino birina amakulu ge gamu “n’ekibi.”​—Zb 51:3; Bar 5:14.

  • Olubengo.

    Ejjinja eddene eryetooloovu eryateekebwanga ku jjinja eddala eriryenkana ne likozesebwa okusa. Wakati w’ejjinja erya wansi waabangawo akantu ejjinja ery’okungulu kwe lyetoolooleranga nga basa. Mu biseera eby’edda, abakazi baakozesenga olubengo mu maka agasinga obungi. Okuva bwe kiri nti olubengo lwasobozesanga ab’omu maka okufuna emmere yaabwe eya buli lunaku, Amateeka ga Musa gaagaana omuntu okutwala olubengo oba enso ng’omusingo. Waaliwo emmengo ennene ezaasikibwanga ensolo.​—Ma 24:6; Mak 9:42.

  • Olugero.

    Ebigambo eby’amagezi ebiriko kye biyigiriza oba ebyoleka amazima ag’omuwendo mu bigambo bitono. Engero ezimu eza Bayibuli ziyinza okuba mu ngeri ya kikokyo. Emirundi mingi, olugero lubaamu amakulu ameekusifu. Engero ezimu zaakozesebwanga okuvumirira abantu abamu.​—Mub 12:9; 2Pe 2:22.

  • Oluggya.

    Mu kusooka, kyali kifo ekyaliko olukomera ekyali kyetoolodde weema entukuvu, era oluvannyuma kyali kimu ku bifo ebyaliko ebikomera ebyali byetoolodde yeekaalu. Ekyoto kye baaweerangako ssaddaaka kyabanga mu luggya lwa weema entukuvu ne mu luggya olw’omunda olwa yeekaalu. (Laba Ebyong. B5, B8, B11.) Bayibuli eyogera ne ku mpya z’amayumba n’ez’embiri.​—Kuv 8:13; 27:9; 1Sk 7:12; Es 4:11; Mat 26:3.

  • Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya.

    Olukiiko luno lwatuulanga mu Yerusaalemi. Mu kiseera kya Yesu lwaliko abantu 71, nga mw’otwalidde kabona omukulu n’abalala abaaliko bakabona abakulu, ab’omu maka ga bakabona abakulu, abakadde, abakulu b’ebika n’abakulu b’empya, n’abawandiisi.​—Mak 15:1; Bik 5:34; 23:1, 6.

  • Olukuubo lwa Sulemaani.

    Mu kiseera kya Yesu, kyali kifo ekiserekeddwa mwe baayitiranga ekyali ku ludda olw’ebuvanjuba olw’oluggya lwa yeekaalu olw’ebweru. Kyalowoozebwanga nti olukuubo olwo lwe lwasigalawo ku yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Yesu yaluyitamu ‘mu kiseera eky’obutiti,’ era n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalukuŋŋaanirangamu okusinza. (Yok 10:22, 23; Bik 5:12)​—Laba Ebyong. B11.

  • Olulamayiki.

    Olulimi olufaananako Olwebbulaniya, era nga n’ennukuta zaalwo zifaanana n’ez’Olwebbulaniya. Mu kusooka Abaalameeya be baalukozesanga, naye oluvannyuma ne lutandika n’okukozesebwa ng’olulimi olukulu mu by’obusuubuzi mu matwale ga Bwasuli ne Babulooni. Era lwe lwali olulimi olukulu mu ttwale lya Buperusi. (Ezr 4:7) Ebitundu ebimu eby’ebitabo bya Ezera, Yeremiya, ne Danyeri byawandiikibwa mu Lulamayiki.​—Ezr 4:8–​6:18; 7:12-​26; Yer 10:11; Dan 2:4b–7:28.

  • Olumuli olupima.

    Olumuli luno lwali lwa mikono mukaaga obuwanvu. Okusinziira ku kipimo ky’omukono ekyasinganga okukozesebwa, lwali lwa mita 2.67 (ffuuti 8.75); okusinziira ku kipimo eky’omukono omuwanvu, lwali lwa mita 3.11 (ffuuti 10.2). (Ezk 40:3, 5; Kub 11:1)​—Laba Ebyong. B14.

  • Olumuli.

    Ekigambo ekikozesebwa ku bimera ebitali bimu ebimera mu ntobazi. Emirundi egisinga ekika ky’olumuli olwogerwako kiyitibwa Arundo donax. (Yob 8:11; Is 42:3; Mat 27:29; Kub 11:1)​—Laba OLUMULI OLUPIMA.

  • Olunaku olw’Omusango.

    Olunaku oba ekiseera, Katonda lw’asalira omusango abantu abamu, amawanga, oba abantu bonna okutwalira awamu. Kiyinza okuba ekiseera abo abaliba basaliddwa ogw’okufa lwe balizikirizibwa, oba mu kiseera ekyo abamu bayinza okuwonyezebwawo ne bafuna obulamu obutaggwaawo. Yesu Kristo n’abatume be baayogera ku “Lunaku olw’Okusalirako Omusango” olujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, era nga lujja kuzingiramu abalamu n’abafu.​—Mat 12:36.

  • Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi.

    Olunaku lw’Abayisirayiri olutukuvu olwali lusingayo obukulu, era lwali luyitibwa Yom Kippur (ekiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya yohm hak·kip·pu·rimʹ, “olunaku olw’ebibikka”), olwabangawo mu mwezi gwa Esanimu nga 10. Luno lwe lunaku lwokka mu mwaka kabona asinga obukulu lwe yayingiranga Awasinga Obutukuvu mu weema entukuvu oba mu yeekaalu ng’emaze okuzimbiwa. Ng’ali eyo, yawangayo omusaayi gwa ssaddaaka olw’ebibi bye, olw’ebibi by’Abaleevi abalala, n’olw’ebibi by’abantu. Ku lunaku olwo baabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu, baasiibanga, era yali ssabbiiti; tebaakolanga mirimu.​—Lev 23:27, 28.

  • Olunaku olw’Okuteekateeka.

    Olunaku Abayudaaya kwe baateekerateekeranga ebintu ebyabanga byetaagisa, ng’enkeera Ssabbiiti. Olunaku luno lwaggwangako ku lunaku leero oluyitibwa olw’Okutaano ng’enjuba egwa, era nga ne Ssabbiiti yatandikanga mu kiseera ekyo kyennyini. Olunaku lw’Abayudaaya lwatandikanga kawungeezi era lwaggwangako kawungeezi.​—Mak 15:42; Luk 23:54.

  • Olusuku lwa Katonda.

    Ekifo ekirabika obulungi. Ekifo ng’ekyo ekyasooka kyali kiyitibwa Edeni, era Yakuwa yakiteekerateekera abantu ababiri abaasooka. Yesu bwe yali ayogera n’omu ku bamenyi b’amateeka abaali bakomereddwa okumpi naye, yalaga nti ensi yonna ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Olusuku lwa Katonda olwogerwako mu 2 Abakkolinso 12:4, lwelwo olujja okubeera ku nsi mu biseera eby’omu maaso, ate olwogerwako mu Okubikkulirwa 2:7, lwe lusuku lwa Katonda olw’omu ggulu.​—Luk 23:43.

  • Oluta.

    Ekipimo eky’obuwanvu, okuva ku mutwe gw’ekigalo ekisajja okutuukira ddala ku mutwe gwa nnasswi ng’engalo zanjuluziddwa. Okusinziira ku kipimo ky’omukono ekya sentimita 44.5 (inci 17.5), oluta lwenkana sentimita 22.2 (inci 8.75). (Kuv 28:16; 1Sa 17:4)​—Laba Ebyong. B14.

  • Olutimbe.

    Olugoye olwali lulabika obulungi olwali lutungiddwako ebifaananyi bya bakerubi. Lwayawulanga Awatukuvu n’Awasinga Obutukuvu, mu weema entukuvu ne mu yeekaalu. (Kuv 26:31; 2By 3:14; Mat 27:51; Beb 9:3)​—Laba Ebyong. B5.

  • Oluyimba olw’okukungubaga.

    Oluyimba omuntu lwe yayimbanga ng’anyoleddwa nnyo olw’okufiirwa mukwano gwe oba omwagalwa we; okukungubaga.​—2Sa 1:17; Zb 7:0.

  • Oluyimba olw’Okwambuka.

    Ebigambo ebiri waggulu wa Zabbuli 120-​134. Wadde nga waliwo endowooza za njawulo ku makulu g’ebigambo bino, bangi bagamba nti zabbuli zino ekkumi n’ettaano zaayimbibwanga Abayisirayiri abaabanga abasanyufu nga ‘bambuka’ e Yerusaalemi, ekibuga ekyali waggulu ku nsozi za Yuda, basobole okubaawo ku mbaga essatu enkulu ezaabangayo buli mwaka.

  • Oluyonaani; Omuyonaani.

    Olulimi olwogerwa abantu ababeera mu Buyonaani; omutuuze wa Buyonaani oba eyasibuka mu Buyonaani. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo “Omuyonaani” kikozesebwa ne ku bantu abataali Bayudaaya oba abo abaali bamanyi Oluyonaani n’obuwangwa bw’Abayonaani.​—Yow 3:6; Yok 12:20.

  • Omubaka Omukulu.

    Ekigambo ky’Oluyonaani mwe kiva kitegeeza “Akulira Abakulembeze.” Kiraga obuvunaanyizibwa obw’amaanyi Yesu Kristo bw’alina obw’okusumulula abantu abeesigwa okuva mu kibi n’okufa n’okubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Bik 3:15; 5:31; Beb 2:10; 12:2.

  • Omubereberye.

    Okusingira ddala kitegeeza omwana ow’obulenzi asinga obukulu, ow’omusajja (so si ow’omukazi). Mu Bayibuli, omwana ow’obulenzi omubereberye yali assibwamu ekitiibwa mu maka, era ye yabanga omutwe gw’amaka nga kitaawe afudde. Ekigambo kino era kikozesebwa ne ku nsolo ennume embereberye.​—Kuv 11:5; 13:12; Lub 25:33; Bak 1:15.

  • Omubi.

    Ekigambo ekikozesebwa ku Sitaani Omulyolyomi, awakanya Katonda awamu n’emitindo gye egy’obutuukirivu.​—Mat 6:13; 1Yo 5:19.

  • Omubumbi.

    Omuntu akola ebintu eby’ebbumba, gamba ng’ensuwa, ensaka, n’ebibya ebirala. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “omubumbi” obutereevu kitegeeza “omukozi w’ebintu.” Obuyinza omubumbi bw’alina ku bbumba emirundi mingi bukozesebwa ng’ekyokulabirako okulaga obuyinza Yakuwa bw’alina ku bantu ne ku mawanga.​—Is 64:8; Bar 9:21.

  • Omugaati ogutali muzimbulukuse.

    Omugaati ogutateekeddwamu kizimbulukusa.​—Ma 16:3; Mak 14:12; 1Ko 5:8.

  • Omukadde.

    Omuntu omukulu mu myaka, naye mu Byawandiikibwa, kitegeeza omusajja alina obuyinza era alina obuvunaanyizibwa mu kitundu oba mu ggwanga. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ekigambo kino kikozesebwa ne ku bitonde eby’omwoyo ebiri mu ggulu. Ekigambo ky’Oluyonaani pre·sbyʹte·ros bwe kivvuunulwa “omukadde” kiba kitegeeza oyo atwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo.​—Kuv 4:29; Nge 31:23; 1Ti 5:17; Kub 4:4.

  • Omukono.

    Ekipimo ekyakozesebwanga okupima obuwanvu oba obugazi bw’ekintu. Obuwanvu bwakyo bwali buva ku lukokola okutuuka olugalo olwa wakati we lukoma. Ekipimo eky’omukono Abayisirayiri kye baasinganga okukozesa kyabanga kya sentimita nga 44.5 (inci 17.5), naye era baakozesanga n’ekipimo ky’omukono ekiwanvuko ekyabanga ekya sentimita nga 51.8 (inci 20.4). (Lub 6:15; Luk 12:25)​—Laba Ebyong. B14.

  • Omukuumi.

    Oyo eyakuumanga abantu obutatuukibwako bulabe oba ebintu obutayonoonebwa oba obutabbibwa, naddala mu budde obw’ekiro, era yafuuwanga eŋŋombe nga waliwo akabi. Abakuumi baayimiriranga waggulu ku bbugwe w’ekibuga oba ku minaala ne basobola okulengera abaabanga bajja. Mu ngeri ey’akabonero, bannabbi baakolanga ng’abakuumi eri eggwanga lya Isirayiri, nga babalabula ku kuzikirizibwa okwali kuboolekedde.​—2Sk 9:20; Ezk 3:17.

  • Omukyufu.

    Omuntu akyuse. Mu Byawandiikibwa, ono yali muntu eyabanga akyuse n’adda mu ddiini y’Ekiyudaaya, era bwe yabanga omusajja, kyali kizingiramu okukomolebwa.​—Mat 23:15; Bik 13:43.

  • Omulaawe.

    Omusajja eyaggibwamu enjagi. Emirundi egisinga, abasajja ng’abo baaweerezanga mu lubiri lwa kabaka oba baalabiriranga nnaabakyala n’abazaana ba kabaka. Ekigambo kino era kyakozesebwanga ne ku mukungu eyakolanga emirimu egy’enjawulo mu lubiri lwa kabaka naye nga si mulaawe. Kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero ku muntu ‘omulaawe olw’Obwakabaka,’ kwe kugamba, oyo abaako bye yeerekereza asobole okuweereza Katonda mu bujjuvu.​—Mat 19:12; Es 2:15; Bik 8:27.

  • Omulabe wa Kristo.

    Ekigambo ky’Oluyonaani mwe kiva kirina amakulu ga mirundi ebiri. Kitegeeza oyo aziyiza Kristo. Era kiyinza n’okutegeeza Kristo ow’obulimba, oba oyo eyeeyita Kristo. Abantu, oba ebibiina by’abantu abeetwala okuba nti bakiikirira Kristo oba abeeyita Masiya oba abo abaziyiza Kristo n’abayigirizwa be, baba balabe ba Kristo.​—1Yo 2:22.

  • Omulabi.

    Omuntu Katonda gwe yasobozesanga okutegeera ebigendererwa bye, oyo eyali asobola okulaba oba okutegeera ebintu abantu abalala bye baali batasobola kulaba oba kutegeera. Ekigambo ky’Olwebbulaniya mwe kiva kitegeeza “okulaba,” n’amaaso oba mu ngeri ey’akabonero. Abantu beebuuzanga ku mulabi abawe amagezi basobole okugonjoola ebizibu bye baabanga bafunye.​—1Sa 9:9.

  • Omulabirizi.

    Omusajja alina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira n’okusumba ekibiina Ekikristaayo. Ekigambo ky’Oluyonaani mwe kiva, e·piʹsko·pos kirina amakulu ag’okulabirira n’okukuuma. Ekigambo “omulabirizi” ne “omukadde” (pre·sbyʹte·ros) bitegeeza ekifo kye kimu mu kibiina Ekikristaayo, era ng’ekigambo “omukadde” kiraga engeri oyo alondeddwa z’alina eziraga nti mukulu, ate “omulabirizi” kiraga obuvunaanyizibwa bw’alina.​—Bik 20:28; 1Ti 3:2-7; 1Pe 5:2.

  • Omulaguzi.

    Omuntu agamba nti alina obusobozi obw’okutegeeza abalala ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Bakabona abaakolanga eby’obufumu, abalubaale, abalaguzisa emmunyeene, n’abalala abali ng’abo aboogerwako mu Bayibuli bagwa mu kiti kino.​—Lev 19:31; Ma 18:11; Bik 16:16.

  • Omulubaale.

    Omuntu agamba nti asobola okwogera n’abantu abaafa.​—Lev 20:27; Ma 18:10-​12; 2Sk 21:6.

  • Omulyolyomi.

    Erinnya lya Sitaani mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, era litegeeza “Omuwaayiriza.” Sitaani ayitibwa Omulyolyomi kubanga y’asingayo okuwaayiriza Yakuwa n’okwogera eby’obulimba ku kigambo kye ne ku linnya lye ettukuvu.​—Mat 4:1; Yok 8:44; Kub 12:9.

  • Omunaziri.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Oyo Alondeddwa,” “Oyo Aweereddwayo,” “Oyo Ayawuliddwawo.” Waaliwo Abanaziri ba biti bibiri: abo abeewangayo kyeyagalire n’abo abaalondebwanga Katonda. Omusajja oba omukazi yeeyamanga eri Katonda okubeera Omunaziri okumala ekiseera ekigereke. Abo abeewangayo kyeyagalire okubeera Abanaziri baalina ebintu bisatu bye baalina okutuukiriza: tebaalina kunywa kitamiiza kyonna wadde okulya ekintu kyonna ekikoleddwa mu zzabbibu, tebaalina kusala nviiri zaabwe, era tebaalina kukwata ku mulambo. Abo abaalondebwanga Katonda baabeeranga Banaziri obulamu bwabwe bwonna, era Katonda yabawanga ebiragiro eby’okugoberera.​—Kbl 6:2-7; Bal 13:5.

  • Omunnazaaleesi.

    Erinnya eryaweebwa Yesu, olw’okuba yali ava mu kibuga ky’e Nazaaleesi. Liyinza okuba nga lirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikozesebwa mu Isaaya 11:1, ekitegeeza “ensibuka.” Oluvannyuma lyakozesebwa ne ku bagoberezi ba Yesu.​—Mat 2:23; Bik 24:5.

  • Okuwasa nnamwandu wa muganda wo.

    Akalombolombo, oluvannyuma akaagattibwa ku Mateeka ga Musa. Omusajja yawasanga muka muganda we, singa muganda we yabanga afudde tazadde mwana wa bulenzi, olunyiriri lwa muganda we luleme kusaanawo.​—Lub 38:8; Ma 25:5.

  • Omunyago.

    Ebintu eby’omu nju, ebisolo, oba ebintu ebirala ebiba binyagiddwa ku abo ababa bawanguddwa mu lutalo.​—Yos 7:21; 22:8; Beb 7:4.

  • Omusingo.

    Ekintu omuntu ky’awaayo eri oyo amuwoze okukakasa nti ajja kumusasula. Amateeka Katonda ge yawa Musa gaalimu obukwakkulizo obukwata ku musingo obwasobozesanga okukuuma ebintu by’Abayisirayiri abaavu n’abatalina mwasirizi abaabanga beewoze.​—Kuv 22:26; Ezk 18:7.

  • Omusolo.

    Ssente oba ebintu ensi emu oba omufuzi waayo bye yawangayo eri omufuzi omulala ng’akabonero akalaga nti amugondera, okusobola okukuuma emirembe oba okufuna obukuumi. (2Sk 3:4; 18:14-​16; 2By 17:11) Era kitegeeza omusolo abantu kinnoomu gwe baasasulanga.​—Nek 5:4; Bar 13:7.

  • Omususa.

    Kika kya muti ogukaawa ennyo era oguwunya akaloosa. Omususa gukozesebwa mu Bayibuli mu ngeri ey’akabonero okulaga akabi akali mu bikolwa eby’obugwenyufu, mu kufugibwa ekintu, mu butali bwenkanya, ne mu bwakyewaggula.​—Ma 29:18; Nge 5:4; Yer 9:15.

  • Omutabaganya.

    Omuntu asobozesa enjuyi ebbiri okutabagana. Mu Byawandiikibwa, Musa ye yali omutabaganya w’endagaano y’Amateeka ate Yesu ye mutabaganya w’endagaano empya.​—Bag 3:19; 1Ti 2:5.

  • Omuti gw’entolokyo.

    Emiti gy’entolokyo, naddala egy’omu Lebanooni, gyali gimanyiddwa nnyo mu biseera eby’edda era Kabaka Sulemaani yagikozesa nnyo mu kuzimba yeekaalu. Emiti gy’entolokyo egy’e Lebanooni gyali gisobola okukula ne gigejja era ne giwanvuwa mita nga 37, era gyalina emirandira eminywevu.​—Kbl 24:6; 1Sk 6:9.

  • Omuti ogw’obulamu.

    Omuti ogwali mu lusuku Edeni. Bayibuli teraga nti ebibala by’omuti ogwo byalimu ebirungo ebiwa obulamu; wabula, abo Katonda be yandikkirizza okulya ku bibala byagwo yandibawadde obulamu obutaggwaawo.​—Lub 2:9; 3:22.

  • Omuti ogw’okubonaabona.

    Kivvuunulwa kuva mu kigambo ky’Oluyonaani stau·rosʹ, ekitegeeza omuti oba ekikondo ekiri obusimba, ng’ekyo Yesu kwe yakomererwa. Tewali bukakafu bulaga nti ekigambo ky’Oluyonaani stau·rosʹ, kitegeeza omusaalaba, ng’ogwo abakaafiiri gwe baakozesanga ng’akabonero ak’okusinza okumala ebyasa bingi nga Yesu tannajja ku nsi. Ebigambo “omuti ogw’okubonaabona” biggyayo bulungi amakulu agali mu kigambo stau·rosʹ, era ne Yesu yakozesa ekigambo kino okulaga okutulugunyizibwa, okubonaabona, n’okuswazibwa abagoberezi be bye bandyolekaganye nabyo. (Mat 16:24; Beb 12:2)​—Laba OMUTI; OGUWANIKIBWAKO.

  • Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi.

    Omuti ogwali mu lusuku Edeni Katonda gwe yakozesa ng’akabonero okulaga obuyinza bw’alina obw’okuteerawo abantu omutindo ogukwata ku ‘kirungi n’ekibi.’​—Lub 2:9, 17.

  • Omuti oguwanikibwako.

    Ekikondo ekyasimbibwanga ne bawanikako omuntu. Gwakozesebwanga mu mawanga agamu okuttirako omuntu oba okuwanikako omulambo gw’omuntu okusobola okulabula abalala oba okumuswaza mu lujjudde. Abaasuli baali bakambwe nnyo, era bwe baawambanga omuntu mu lutalo, baamufumitanga omuti omusongovu mu lubuto ne gufulumira mu kifuba ne balyoka bagusimba ng’ali kuli. Naye mu mateeka g’Abayudaaya, abantu abaakolanga ebibi eby’amaanyi gamba ng’okuvvoola oba obwenzi, baasookanga kukubibwa mayinja ne bafa oba okuttibwa mu ngeri endala, ne balyoka babawanika ku miti, okusobola okulabula abalala. (Ma 21:22, 23; 2Sa 21:6, 9) Emirundi egimu Abaruumi baasibanga omuntu ku muti ne bamulekako okumala ennaku eziwera okutuusa lwe yafanga obulumi, ennyonta, enjala, n’akasana. Emirundi emirala, omuntu baamukomereranga emikono n’amagulu ku muti, nga Yesu bwe yakomererwa. (Luk 24:20; Yok 19:14-​16; 20:25; Bik 2:23, 36)​—Laba OMUTI OGW’OKUBONAABONA.

  • Omutume.

    Kitegeeza “oyo atumiddwa,” era kikozesebwa ku Yesu ne ku bamu ku abo abaatumibwanga okuweereza abalala. Emirundi egisinga, ekigambo ekyo kikozesebwa ku batume 12 Yesu be yeerondera okumukiikirira.​—Mak 3:14; Bik 14:14.

  • Omuwandiisi.

    Omukoppolozi w’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Yesu we yabeerera ku nsi, kyali kikozesebwa ku basajja abaali abakugu mu Mateeka. Baawakanya Yesu.​—Ezr 7:6, obugambo obuli wansi.; Mak 12:38, 39; 14:1.

  • Omuweereza.

    Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani di·aʹko·nos, ekitera okuvvuunulwa “omuweereza.” “Omuweereza mu kibiina” y’oyo ayambako abakadde mu kibiina Ekikristaayo. Alina okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Bayibuli n’alyoka aweebwa enkizo eno ey’obuweereza.​—1Ti 3:8-​10, 12.

  • Omuwunda.

    Omuggo omuwanvu ogwabangako ekyuma ekisongovu abalimi gwe baakozesanga okusindiikiriza ensolo etambule. Omuwunda gugeraageranyizibwa ku bigambo by’omuntu ow’amagezi ebireetera omuntu okukolera ku kubuulirira kw’amuwadde. Ebigambo “okusamba emiwunda” biva ku kuba nti ente yasambanga omuwunda nga teyagala kutambula ne yeerumya.​—Bik 26:14; Bal 3:31.

  • Omuyudaaya.

    Ekigambo kino kyakozesebwanga ku muntu ow’omu kika kya Yuda oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. (2Sk 16:6) Oluvannyuma kyakozesebwanga ku Bayisirayiri ab’omu bika eby’enjawulo abaakomawo mu Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (Ezr 4:12) Era oluvannyuma kyakozesebwanga mu nsi yonna okwawula Abayisirayiri ku bantu ab’amawanga amalala. (Es 3:6) Omutume Pawulo yakozesa ekigambo kino mu ngeri ey’akabonero okunnyonnyola nti eggwanga ly’omuntu si kye kikulu mu kibiina Ekikristaayo.​—Bar 2:28, 29; Bag 3:28.

  • Omuzingo.

    Ebitoogo oba amaliba agaawandiikibwangako. Ebiseera ebisinga baabizinganga ku buti eruuyi n’eruuyi era ebigambo byawandiikibwanga ku ludda lumu. Ebyawandiikibwa ebitukuvu bwe byali biwandiikibwa era nga bikoppololwa, emizingo gyakozesebwa nnyo.​—Yer 36:4, 18, 23; Luk 4:17-​20; 2Ti 4:13.

  • Omwana w’omuntu.

    Ebigambo bino bikozesebwa emirundi nga 80 mu bitabo by’Enjiri. Bikozesebwa ku Yesu Kristo era biraga nti bwe yazaalibwa wano ku nsi, yali muntu wa ddala so si kitonde eky’omwoyo ekyali kifuuse omuntu. Ebigambo ebyo era biraga nti Yesu ye yandituukirizza obunnabbi obuli mu Danyeri 7:13, 14. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebigambo ebyo bikozesebwa ku Ezeekyeri ne Danyeri, okulaga enjawulo ey’amaanyi eyaliwo wakati waabwe ne Katonda eyabawa obubaka bwe baalangiriranga.​—Ezk 3:17; Dan 8:17; Mat 19:28; 20:28.

  • Omwana wa Dawudi.

    Ebigambo ebitera okukozesebwa ku Yesu Kristo, okukiraga nti ye Musika w’endagaano y’Obwakabaka eyali ey’okutuukirizibwa omuntu eyandivudde mu lunyiriri lwa Dawudi.​—Mat 12:23; 21:9.

  • Omwebbulaniya; Olwebbulaniya.

    Erinnya eryasooka okuweebwa Ibulaamu (Ibulayimu), okumwawula ku baliraanwa be Abaamoli. Oluvannyuma bazzukulu ba Ibulayimu abaava mu Yakobo baayitibwanga Abebbulaniya era olulimi lwe baayogeranga lwali Lwebbulaniya. Mu kiseera kya Yesu, olulimi luno lwalimu ebigambo bingi eby’Olulamayiki era Kristo n’abayigirizwa be lwe baakozesa.​—Lub 14:13; Kuv 5:3; Bik 26:14.

  • Omwoyo omutukuvu.

    Amaanyi agatalabika Katonda g’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye. Omwoyo ogwo mutukuvu kubanga guva eri Yakuwa, asingirayo ddala okuba omuyonjo era omutukuvu, era kubanga Katonda gw’akozesa okukola eby’obutuukirivu.​—Luk 1:35; Bik 1:8.

  • Omwoyo.

    Ekigambo ruʹach eky’Olwebbulaniya n’ekigambo pneuʹma eky’Oluyonaani ebitera okuvvuunulwa “omwoyo,” birina amakulu agatali gamu. Byombi biwa amakulu ag’ekintu abantu kye batasobola kulaba naye ng’amaanyi gaakyo geeyolekera mu bintu bye kikola. Ebigambo ebyo eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani bisobola okutegeeza (1) empewo, (2) obulamu obuli mu bintu ebiramu ebiri ku nsi, (3) enneewulira ebeera mu mutima gw’omuntu ogw’akabonero emuleetera okwogera oba okukola ebintu mu ngeri emu oba endala, (4) ebigambo ebiruŋŋamiziddwa amaanyi agatalabika, (5) ebitonde eby’omwoyo, ne (6) amaanyi Katonda g’akozesa, oba omwoyo omutukuvu.​—Kuv 35:21; Zb 104:29; Mat 12:43; Luk 11:13.

  • Ow’eddembe; Afuna eddembe.

    Mu kiseera ky’Obufuzi bw’Abaruumi, “ow’eddembe” ye muntu eyazaalibwa nga si muddu era ng’alina obutuuze bw’Abaruumi. Ku luuyi olulala, “afuna eddembe” yabanga muntu gwe batadde okuva mu buddu. Omuddu eyabanga asumuluddwa mu butongole yaweebwanga obutuuze bw’Abaruumi, naye yali takkirizibwa kulondebwa ku bukulembeze. Wadde ng’omuntu ng’oyo yabanga takyali muddu, teyabanga na ddembe mu bujjuvu.​—1Ko 7:22.

  • Ow’essaza.

    Ye yali gavana w’essaza eryabanga wansi w’Olukiiko lw’Abaruumi. Yabanga n’obuyinza okulamula era nga munnamagye, era wadde yali avunaanyizibwa eri Olukiiko lw’Abaruumi, yalinanga obuyinza obw’enkomeredde mu ssaza ly’atwala.​—Bik 13:7; 18:12.

P

  • Pentekooti.

    Embaga ey’okubiri ku mbaga essatu enkulu abasajja Abayudaaya ze baalinanga okugendako e Yerusaalemi. Ekigambo Pentekooti, ekitegeeza “(Olunaku) olw’Amakumi Ataano,” kye kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani era nga kye kimu n’Embaga ey’Amakungula eyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Embaga eno yakwatibwanga ku lunaku olw’amakumi ataano nga babala okuva nga Nisaani 16.​—Kuv 23:16; 34:22; Bik 2:1.

  • Pimu.

    Ekipimo ky’obuzito era ssente Abafirisuuti ze baasasulwanga nga bawagadde ebintu ebitali bimu eby’ekyuma. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula amayinja agatali gamu mu Isirayiri agaaliko ennukuta ensirifu ez’Olwebbulaniya ez’ekigambo “pimu”; okutwalira awamu gazitowa gramu 7.8, ezenkana nga bibiri bya kusatu ebya sekeri.​—1Sa 13:20, 21.

  • Porneia.​—

    Laba OBUGWENYUFU.

  • Pulimu.

    Embaga eyabangawo buli mwaka nga 14 ne 15 mu mwezi gwa Adali. Yali ya kujjukirirako okununulibwa kw’Abayudaaya mu kiseera kya Nnaabakyala Eseza. Ekigambo pu·rimʹ ekitali kya Lwebbulaniya kitegeeza “obululu.” Embaga eno yatuumibwa Embaga ya Pulimu, oba Embaga ey’Obululu, kubanga Kamani yakuba Puli (Akalulu) asobole okumanya olunaku lwe yandizikirizza Abayudaaya.​—Es 3:7; 9:26.

S

  • Samaliya.

    Kyali kibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi obw’ebukiikakkono okumala emyaka nga 200, era lye lyali erinnya ly’ekitundu kyonna eky’obwakabaka obwo. Olusozi ekibuga kino kwe kyazimbibwa nalwo lwali luyitibwa Samaliya. Mu kiseera kya Yesu, Samaliya lyali linnya lya ssaza eryali wakati wa Ggaliraaya ebukiikakkono ne Buyudaaya ebukiikaddyo. Yesu teyateranga kubuulira mu kitundu kino, naye oluusi bwe yabanga akiyitamu yabuuliranga abantu baamu. Peetero yakozesa ekisumuluzo ky’Obwakabaka eky’okubiri Abasamaliya bwe baafuna omwoyo omutukuvu. (1Sk 16:24; Yok 4:7; Bik 8:14)​—Laba Ebyong. B10.

  • Sayuuni; Olusozi Sayuuni.

    Erinnya ly’ekibuga ky’Abayebusi ekyaliko bbugwe ekyali mu Yebusi e bukiikaddyo w’ebuvanjuba bw’akasozi k’e Yerusaalemi. Dawudi bwe yamala okukiwamba yakizimbamu olubiri, era ne kitandika okuyitibwa “Ekibuga kya Dawudi.” (2Sa 5:7, 9) Sayuuni kyafuuka kibuga kya Katonda ekitukuvu oluvannyuma lwa Dawudi okutwalayo Ssanduuko y’endagaano. Oluvannyuma Sayuuni kyali kizingiramu ekitundu ekyalimu yeekaalu ku Lusozi Moliya, oba ekibuga Yerusaalemi kyonna. Emirundi egisinga kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani.​—Zb 2:6; 1Pe 2:6; Kub 14:1.

  • Sebati.

    Erinnya ly’omwezi ogw’ekkumi n’ogumu ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’okutaano ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Jjanwali okutuuka mu makkati ga Febwali. (Zek 1:7)​—Laba Ebyong. B15.

  • Seera.

    Ekigambo ekyakozesebwanga mu by’okuyimba ekisangibwa mu kitabo kya Zabbuli n’ekya Kaabakuuku. Kiyinza okuba nga kitegeeza okusiriikiriramu nga bayimba oba nga bakuba ebivuga, oba nga bakola byombi, basobole okufumiitiriza, oba ebigambo ebyabanga byakayimbibwa bisobole okuvaayo obulungi. Mu Septuagint ey’Oluyonaani kivvuunulwa di·aʹpsal·ma, ekitegeeza “okusiriikiriramu mu luyimba.”​—Zb 3:4; Kab 3:3.

  • Sekeri.

    Ekipimo ky’obuzito bw’ebintu n’eky’omuwendo gwa ssente Abayudaaya kye baasinganga okukozesa. Kyali kyenkana gramu 11.4. Ebigambo “sekeri ey’omu kifo ekitukuvu” biyinza okuba byakozesebwanga okulaga nti sekeri eyo yalinanga okuba entuufu oba nga yenkanankana n’eyo eyaterekebwanga mu weema entukuvu. Wayinza okuba nga waaliwo ne sekeri ey’omu yeekaalu (eyali ey’enjawulo ku sekeri eya bulijjo) oba sekeri eyaterekebwanga mu lubiri.​—Kuv 30:13.

  • Seminisi.

    Ekigambo ekyakozesebwanga mu by’okuyimba era ng’obutereevu kitegeeza “ery’omunaana.” Bwe kikozesebwa ku kivuga, kiyinza okuba nga kitegeeza ekivuga ekifulumya eddoboozi eddene. Bwe kikozesebwa ku nnyimba, kiyinza okuba nga kitegeeza ennyimba ezaayimbibwanga mu ddoboozi erya wansi nga bwe bakuba ebivuga ebigenderako.​—1By 15:21; Zb 6:0; 12:0.

  • Seya.

    Ekipimo eky’ebintu ebikalu. Okusinziira ku kipimo kya basi, seya yali egyaamu lita 7.33. (2Sk 7:1)​—Laba Ebyong. B14.

  • Sitaani.

    Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Omuziyiza.” Kikozesebwa ku Mulyolyomi, era omulabe wa Katonda omukulu.​—Yob 1:6; Mat 4:10; Kub 12:9.

  • Sivaani.

    Erinnya ery’omwezi ogw’okusatu ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’omwenda ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Maayi okutuuka mu makkati ga Jjuuni. (Es 8:9)​—Laba Ebyong. B15.

  • Sokamu.

    Ejjinja eggumu eritaali lya muwendo nnyo, eryakolebwangamu amajolobero, era liba lya langi za njawulo. Ejjinja lya sokamu lirina embu enjeru ezigenda ziddiriŋŋana n’olubu oludduggavu, olwa kikuusikuusi, olumyufu, olwa kitaka, n’olwa kiragala. Baagateekanga ku byambalo bya kabona asinga obukulu.​—Kuv 28:9, 12; 1By 29:2; Yob 28:16.

  • Ssabbiiti.

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okuwummula; okulekera awo.” Lwe lunaku olw’omusanvu olwa wiiki y’Abayudaaya (okuva ku Lwokutaano ng’enjuba emaze okugwa okutuuka ku Lwomukaaga ng’enjuba emaze okugwa). Ennaku endala enkulu mu mwaka, nga kw’otadde omwaka ogw’omusanvu n’ogw’amakumi ataano, nazo zaayitibwanga ssabbiiti. Olunaku lwa Ssabbiiti terwakolerwangako mulimu gwonna, okuggyako emirimu egyakolebwanga bakabona mu kifo ekitukuvu. Mu myaka gya Ssabbiiti, ensi teyalimibwanga era Abayudaaya tebaawalirizanga Bayudaaya bannaabwe kubasasula mabanja. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, amateeka ga Ssabbiiti tegaali makakali, naye abakulembeze b’eddiini baagenda bagongerako obulombolombo, ne kiba nti mu kiseera kya Yesu abantu baali bazibuwalirwa nnyo okugatuukiriza.​—Kuv 20:8; Lev 25:4; Luk 13:14-​16; Bak 2:16.

  • Ssaddaaka ey’emirembe.

    Ssaddaaka omuntu gye yawangayo eri Yakuwa ng’ayagala okutabagana naye. Omuntu eyaleetanga ssaddaaka, ab’omu maka ge, kabona eyagiwangayo, ne bakabona bonna abaabanga baweereza ku lunaku olwo baagiryangako. Yakuwa yasiimanga evvumbe eddungi eryavanga mu masavu agookebwa. Omusaayi ogukiikirira obulamu nagwo gwaweebwangayo gy’ali. Omuyisirayiri oyo, ab’omu maka ge, bakabona, ne Yakuwa bonna baali ng’abatudde ku kijjulo mu mirembe era nga basanyufu.​—Lev 7:29, 32; Ma 27:7.

  • Ssaddaaka.

    Ekiweebwayo omuntu kye yawangayo eri Katonda okumwebaza, okwenenya ebibi bye, n’okuzzaawo enkolagana ye ne Katonda. Okuviira ddala ku Abbeeri, abantu baawangayo ebiweebwayo ebya kyeyagalire, nga kw’otadde ne ssaddaaka ez’ebisolo, okutuusa endagaano y’Amateeka ga Musa lwe yakifuula etteeka. Yesu bwe yamala okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka etuukiridde, kyali tekikyetaagisa kuwaayo ssaddaaka za bisolo. Wadde kiri kityo, Abakristaayo bakyawaayo eri Katonda ssaddaaka ez’eby’omwoyo.​—Lub 4:4; Beb 13:15, 16; 1Yo 4:10.

  • Ssanduuko y’endagaano.

    Ssanduuko eyakolebwa mu mbaawo z’omuti gwa sita n’ebikkibwako zzaabu. Mu kusooka yateekebwanga Awasinga Obutukuvu mu weema entukuvu, oluvannyuma yateekebwa Awasinga Obutukuvu mu yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Ekyagibikkangako kyali kyakolebwa mu zzaabu era kyaliko bakerubi babiri abatunuuliganye. Yalimu ebipande bibiri eby’amayinja ebyaliko Amateeka Ekkumi. (Ma 31:26; 1Sk 6:19; Beb 9:4)​—Laba Ebyong. B5 ne B8.

  • Siyatisi.

    Ebyondo bibiri ebigazi ng’amazzi gaabyo si mawanvu nnyo, ebiri ku lubalama lwa Libiya mu bukiikakkono bwa Afirika, abalunnyanja bye baatyanga ennyo olw’okuba obuwanvu bw’amazzi gaabyo bwali bukyukakyuka. (Bik 27:17)​—Laba Ebyong. B13.

T

  • Tammuzi.

    (1) Erinnya lya katonda abakazi Abayudaaya bakyewaggula gwe baakaabira e Yerusaalemi. Abamu bagamba nti Tammuzi lyali linnya lya kabaka abantu gwe baasinzanga oluvannyuma lw’okufa kwe. Mu biwandiiko by’Olusumeriya, Tammuzi ayitibwa Dumuzi era nti yali muganzi wa katonda omukazi ow’oluzaalo ayitibwa Innana (Ishtar ow’Abababulooni). (Ezk 8:14) (2) Erinnya ly’omwezi ogw’okuna ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukozesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’ekkumi ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Jjuuni okutuuka mu makkati ga Jjulaayi.​—Laba Ebyong. B15.

  • Tatalo.

    Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, kitegeeza embeera bamalayika abajja ku nsi mu kiseera kya Nuuwa gye baateekebwamu, ey’okuba ng’abali mu kkomera. Mu 2 Peetero 2:4, ekigambo tar·ta·roʹo (‘okusuulibwa mu Tatalo’) tekitegeeza nti “bamalayika abaayonoona” baasuulibwa mu Tatalo ayogerwako mu nfumo (kwe kugamba, ekkomera eriri wansi eyo era ekifo ekikutte ekizikiza ekirimu bakatonda aba wansi). Wabula, kitegeeza nti bamalayika abo Katonda yabaggya mu bifo bye baalimu mu ggulu era n’abaggyako n’enkizo ze baalina n’abateeka mu kizikiza eky’eby’omwoyo nga tebasobola kutegeera bigendererwa bya Katonda. Ekizikiza ekyo era kiraga nti bamalayika abo awamu n’omukulembeze waabwe, Sitaani Omulyolyomi, enkomerero yaabwe kujja kuba kuzikirira okw’olubeerera. N’olwekyo, Tatalo kitegeeza embeera esingayo okuba eya wansi bamalayika abajeemu gye balimu. Tatalo si bwe ‘bunnya’ obwogerwako mu Okubikkulirwa 20:1-3.

  • Tebesi.

    Erinnya ly’omwezi ogw’ekkumi ku kalenda y’Abayudaaya, lye baatandika okukosesa nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era nga gwe mwezi ogw’okuna ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Ddesemba okutuuka mu makkati ga Jjanwali. Emirundi egisinga guyitibwa ‘omwezi ogw’ekkumi.’ (Es 2:16)​—Laba Ebyong. B15.

  • Tisiri.​—

  • Ttalanta.

    Ekipimo ekisinga obunene Abayudaaya kye baakozesanga okupima obuzito bw’ebintu n’omuwendo gwa ssente. Yali ezitowa kilo 34.2. Ttalanta ya Buyonaani yali ntono ku eno, era nga yo ezitowa kilo nga 20.4. (1By 22:14; Mat 18:24)​—Laba Ebyong. B14.

U

  • Ulimu ne Sumimu.

    Ebintu kabona asinga obukulu bye yakozesanga mu ngeri efaananako n’okukuba akalulu okusobola okumanya endowooza ya Katonda ku nsonga enkulu ekwata ku ggwanga. Ulimu ne Sumimu zaateekebwanga mu ky’omu kifuba ekya kabona asinga obukulu ng’ayingidde mu weema entukuvu. Kirabika byalekera awo okukozesebwa Abababulooni bwe baazikiriza Yerusaalemi.​—Kuv 28:30; Nek 7:65.

W

  • Weema entukuvu.

    Weema eyakozesebwanga mu kusinza, Abayisirayiri gye baasitulanga nga bava mu kifo ekimu okudda mu kirala, nga bavudde e Misiri. Yalimu ssanduuko y’endagaano ya Yakuwa Katonda, eyali ekiikirira okubeerawo kwe, era mu weema eno mwe baaweerangayo ssaddaaka. Emirundi egimu eyitibwa “weema ey’okusisinkaniramu.” Baagikola mu fuleemu ez’embaawo, ne bagibikkako engoye eza kitaani ezitungiddwako ebifaananyi bya bakerubi. Yayawulibwamu ebisenge bibiri, ekisooka kyayitibwanga Awatukuvu, ate eky’okubiri kyayitibwanga Awasinga Obutukuvu. (Yos 18:1; Kuv 25:9)​—Laba Ebyong. B5.

  • Weema ey’okusisinkaniramu.

    Ebigambo bino bikozesebwa ku weema ya Musa era ne ku weema entukuvu eyasooka okusimbibwa mu ddungu.​—Kuv 33:7; 39:32.

Y

  • Yakobo.

    Mutabani wa Isaaka ne Lebbeeka. Oluvannyuma Katonda yamutuuma Isirayiri, era ye yali jjajja w’abantu ba Isirayiri (era abaayitibwanga Abayisirayiri, oluvannyuma baayitibwanga Abayudaaya). Batabani be 12 awamu ne bazzukulu baabwe, be baavaamu ebika 12 eby’eggwanga lya Isirayiri. Erinnya Yakobo lyeyongera okukozesebwa ku ggwanga lya Isirayiri oba ku Bayisirayiri.​—Lub 32:28; Mat 22:32.

  • Yakuwa.

    Erinnya lya Katonda eriva mu nnukuta ennya ez’Olwebbulaniya. Mu Bayibuli eno, lirimu emirundi egisukka mu 7,000.​—Laba Ebyong. A4 ne A5.

  • Yedusuni.

    Ekigambo ekiri mu bugambo obuli waggulu wa Zabbuli 39, 62, ne 77. Amakulu gaakyo tegamanyiddwa. Obugambo obubeera waggulu wa Zabbuli ezimu, kirabika bwali bulagirizi obwali bukwata ku zabbuli ezo; oboolyawo nga bulaga engeri y’okuziyimbamu oba ekivuga eky’okukozesa. Waaliwo omuyimbi Omuleevi eyali ayitibwa Yedusuni, n’olwekyo engeri eno ey’okuyimba oba ekivuga kino kirabika kyali kikwataganyizibwa naye oba n’abaana be.

  • Yeekaalu.

    Ekizimbe eky’enkalakkalira ekyazimbibwa mu Yerusaalemi Abayisirayiri mwe baakuŋŋaaniranga okusinza. Ye yadda mu kifo kya weema entukuvu eyasitulibwanga okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Sulemaani ye yazimba yeekaalu eyasooka, Abababulooni ne bagizikiriza. Ey’okubiri Zerubbaberi ye yagizimba, oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni, era oluvannyuma Kerode Omukulu n’addamu okugizimba. Mu Byawandiikibwa, yeekaalu esinga kuyitibwa “ennyumba ya Yakuwa.” (Ezr 1:3; 6:14, 15; 1By 29:1; 2By 2:4; Mat 24:1)​—Laba Ebyong. B8 ne B11.

  • Yini.

    Ekipimo ky’ebintu ebifukibwa n’ekintu kyennyini mwe baakipimiranga. Yini yali egyaamu lita 3.67. (Kuv 29:40)​—Laba Ebyong. B14.

  • Yuda.

    Mutabani wa Yakobo ow’okuna gwe yazaala mu Leeya. Mu bunnabbi bwe yawa ng’anaatera okufa, Yakobo yalagula nti omufuzi omukulu era eyandifuze emirembe n’emirembe yandivudde mu lunyiriri lwa Yuda. Yesu yava mu lunyiriri lwa Yuda. Ekimu ku bika bya Isirayiri kyayitibwanga Yuda, n’oluvannyuma obwakabaka bwonna bwayitibwanga Yuda. Obwakabaka obwo bwali buyitibwa obwakabaka obw’ebukiikaddyo, era bwalimu ebika bibiri; ekya Yuda n’ekya Benyamini nga kw’otadde bakabona n’Abaleevi. Yuda kyali mu kitundu eky’ebukiikaddyo bwa Isirayiri era ekibuga Yerusaalemi ne yeekaalu byali mu kitundu ekyo.​—Lub 29:35; 49:10; 1Sk 4:20; Beb 7:14.

Z

  • Zabbuli.

    Oluyimba olw’okutendereza Katonda. Zabbuli zaabanga mu ngeri ya nnyimba era abantu baaziyimbanga ne mu kusinza Yakuwa Katonda mu yeekaalu e Yerusaalemi.​—Luk 20:42; Bik 13:33; Yak 5:13.

  • Zewu.

    Yali katonda omukulu ow’Abayonaani abaasinzanga bakatonda abangi. Mu Lusitula, Balunabba yayitibwa Zewu. Era mu Lusitula baazuulayo amayinja ag’edda agaayolebwako ebigambo “bakabona ba Zewu” ne “Zewu katonda ow’enjuba.” Eryato Pawulo mwe yasaabalira okuva ku kizinga ky’e Merita lyaliko akabonero akagamba nti “Abaana ba Zewu,” kwe kugamba, abalongo Kesuta ne Poluki.​—Bik 14:12; 28:11.

  • Ziivu.

    Erinnya eryasooka okuweebwa omwezi ogw’okubiri ku kalenda y’Abayudaaya, era nga gwe mwezi ogw’omunaana ku kalenda yaabwe ey’eby’obulimi. Gwavanga mu makkati ga Apuli okutuuka mu makkati ga Maayi. Guyitibwa Yiyali mu kitabo ky’Abayudaaya eky’amateeka (Talmud), ne mu bitabo ebirala ebyawandiikibwa oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (1Sk 6:37)​—Laba Ebyong. B15.