Danyeri 2:1-49

  • Kabaka Nebukadduneeza aloota ekirooto ekimweraliikiriza (1-4)

  • Abagezigezi balemwa okubuulira kabaka ekirooto (5-13)

  • Danyeri asaba Katonda amuyambe (14-18)

  • Atendereza Katonda olw’okumubikkulira ekyama (19-23)

  • Danyeri abuulira kabaka ekirooto (24-35)

  • Amakulu g’ekirooto (36-45)

    • Ejjinja erikiikirira obwakabaka lya kubetenta ekifaananyi (44, 45)

  • Kabaka awa Danyeri ebitiibwa (46-49)

2  Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwe, Nebukadduneeza yaloota ebirooto ebiwerako, ne yeeraliikirira* nnyo+ era n’abulwa n’otulo.  Awo kabaka n’alagira bayite bakabona abakola eby’obufumu, n’abalaguzi, n’abalogo, n’Abakaludaaya,* bamubuulire ebirooto bye. Awo ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka.+  Kabaka n’abagamba nti: “Nnaloose ekirooto, era ndi* mweraliikirivu nnyo; njagala okutegeera kye nnaloose.”  Abakaludaaya ne bagamba kabaka mu lulimi Olulamayiki*+ nti: “Ai kabaka, wangaala emirembe n’emirembe. Buulira abaweereza bo ekirooto kyo, naffe tujja kukubuulira amakulu gaakyo.”  Kabaka n’agamba Abakaludaaya nti: “Kino kye nsazeewo: Bwe mutambuulire kirooto kyange n’amakulu gaakyo, mujja kutemebwatemebwa era n’ennyumba zammwe zifuulibwe kaabuyonjo eza lukale.*  Naye bwe munambuulira ekirooto kyange n’amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n’empeera, era nja kubafuula ba kitiibwa nnyo.+ Kale mumbuulire ekirooto kyange n’amakulu gaakyo.”  Ne bamuddamu omulundi ogw’okubiri nti: “Kabaka abuulire abaweereza be ekirooto kye, naffe tujja kumubuulira amakulu gaakyo.”  Awo kabaka n’abagamba nti: “Nkimanyi bulungi nti mugezaako kutwaliriza biseera, olw’okuba mumanyi kye nsazeewo.  Bwe mutambuulire kirooto kyange, mmwenna mugenda kufuna ekibonerezo kye kimu. Naye mweteesezza okumbuulira ekintu ekikyamu era eky’obulimba nga musuubira nti nnaakyusa ekirowoozo. Kale mumbuulire ekirooto kyange, awo nja kumanya nti musobola okunnyonnyola amakulu gaakyo.” 10  Abakaludaaya ne bagamba kabaka nti: “Tewali muntu n’omu ku nsi* asobola kukola ekyo kabaka ky’asaba, kubanga tewali kabaka oba gavana ow’ekitiibwa ennyo eyali asabye bakabona abakola eby’obufumu, abalaguzi, oba Abakaludaaya, okukola ekintu ng’ekyo. 11  Kabaka ky’asaba kizibu nnyo era tewali muntu n’omu ayinza kukimubuulira okuggyako bakatonda, ate nga bakatonda tebabeera mu bantu.” 12  Awo kabaka n’asunguwala nnyo era n’alagira bazikirize abasajja abagezigezi bonna ab’omu Babulooni.+ 13  Ekiragiro bwe kyayisibwa era ng’abasajja abagezigezi banaatera okuttibwa, ne banoonya ne Danyeri ne banne, nabo battibwe. 14  Awo Danyeri, mu ngeri ey’amagezi era ey’obwegendereza, n’ayogera ne Aliyoki, omukulu w’abakuumi ba kabaka, eyali agenda okutta abasajja b’omu Babulooni abagezigezi. 15  N’abuuza Aliyoki omukungu wa kabaka nti: “Lwaki kabaka ayisizza ekiragiro ekikakali bwe kityo?” Aliyoki n’abuulira Danyeri ebyali bibaddewo.+ 16  Danyeri n’agenda eri kabaka n’amusaba amuweemu ekiseera asobole okumubuulira amakulu g’ekirooto kye. 17  Oluvannyuma Danyeri n’agenda mu nnyumba ye n’abuulira Kananiya, Misayeri, ne Azaliya, ebyali bibaddewo. 18  N’abagamba basabe Katonda w’eggulu abakwatirwe ekisa ababikkulire ekyama ekyo, Danyeri ne banne baleme okuzikiririzibwa awamu n’abasajja b’omu Babulooni abagezigezi. 19  Awo Danyeri n’abikkulirwa ekyama ekyo ekiro mu kwolesebwa.+ Danyeri n’atendereza Katonda w’eggulu, 20  n’agamba nti: “Erinnya lya Katonda ka litenderezebwe emirembe n’emirembe,* Kubanga amagezi n’amaanyi bibye yekka.+ 21  Akyusa ebiseera n’ebiro,+Aggyawo bakabaka era ateekawo bakabaka,+Awa ab’amagezi amagezi, n’abategeevu n’abawa okumanya.+ 22  Abikkula ebintu eby’ebuziba era n’ebikwekeddwa,+Amanyi ebiri mu kizikiza,+Era w’ali we wali ekitangaala.+ 23  Nkwebaza era nkutendereza, Ai Katonda wa bajjajjange,Kubanga ompadde amagezi n’amaanyi. Era onsobozesezza okumanya ekyo kye twakusabye;Otusobozesezza okumanya ekyo ekyeraliikiriza kabaka.”+ 24  Awo Danyeri n’agenda eri Aliyoki, kabaka gwe yali alagidde okuzikiriza abasajja b’omu Babulooni abagezigezi,+ n’amugamba nti: “Abasajja b’omu Babulooni abagezigezi tobazikiriza. Ntwala mu maaso ga kabaka mmubuulire amakulu g’ekirooto.” 25  Amangu ago Aliyoki n’atwala Danyeri mu maaso ga kabaka, n’amugamba nti: “Nzudde omusajja, omu ku bawambe abaava mu Yuda,+ asobola okubuulira kabaka amakulu g’ekirooto.” 26  Kabaka n’agamba Danyeri, eyali ayitibwa Berutesazza,+ nti: “Ddala osobola okumbuulira ekirooto kye nnaloose n’amakulu gaakyo?”+ 27  Danyeri n’amuddamu nti: “Tewali n’omu ku basajja abagezigezi, abalaguzi, bakabona abakola eby’obufumu, wadde abo abalaguzisa emmunyeenye asobola okubuulira kabaka ekyama ky’ayagala okumanya.+ 28  Kyokka eriyo Katonda mu ggulu Omubikkuzi w’ebyama,+ era ategeezezza Kabaka Nebukadduneeza ebiribaawo mu nnaku ezisembayo. Kino kye kirooto kyo era bino bye walabye mu kwolesebwa bwe wabadde weebase ku kitanda kyo: 29  “Ai kabaka, bwe wabadde weebase ku kitanda kyo waloose ebintu* ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso, era Omubikkuzi w’ebyama akulaze ebiribaawo. 30  Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa lwa kuba nti ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna; wabula kimbikkuliddwa nsobole okubuulira kabaka amakulu g’ekirooto, osobole okumanya ebirowoozo ebiri mu mutima gwo.+ 31  “Ai kabaka, watunudde era n’olaba ekifaananyi* ekinene. Ekifaananyi ekyo ekyabadde ekinene era nga kyakaayakana nnyo, kyabadde kiyimiridde mu maaso go era nga kya ntiisa. 32  Omutwe gw’ekifaananyi ekyo gwabadde gwa zzaabu omulungi,+ ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza,+ olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo,+ 33  amagulu gaakyo nga ga kyuma,+ ate ebigere byakyo, awamu byabadde bya kyuma ate ng’awalala bya bbumba.+ 34  Weeyongedde okutunula okutuusa ejjinja lwe lyatemeddwa, naye si na ngalo, ne likuba ebigere by’ekifaananyi eby’ekyuma n’ebbumba ne libibetenta.+ 35  Mu kiseera ekyo, ekyuma, ebbumba, ekikomo, ffeeza, awamu ne zzaabu, byonna wamu byabetenteddwa ne bifuuka ng’ebisusunku by’omu gguuliro mu kiseera eky’omusana, era empewo n’ebitwalira ddala obutalekaawo kantu konna. Naye ejjinja eryakubye ekifaananyi lyafuuse olusozi olunene ne lujjula ensi yonna. 36  “Ekyo kye kirooto, era kati tugenda kubuulira kabaka amakulu gaakyo. 37  Ai kabaka—kabaka wa bakabaka, Katonda w’eggulu gw’awadde obwakabaka,+ obuyinza, amaanyi, n’ekitiibwa, 38  era gw’akwasizza abantu yonna gye babeera, n’ensolo ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, era gw’afudde omufuzi waabyo byonna+—ggwe mutwe ogwa zzaabu.+ 39  “Era oliddirirwa obwakabaka obulala+ obwa wansiko ku bubwo; oluvannyuma lwabwo waliddawo obwakabaka obw’okusatu, obw’ekikomo, obulifuga ensi yonna.+ 40  “Obwakabaka obw’okuna buliba bwa maanyi ng’ekyuma.+ Ng’ekyuma bwe kibetenta ne kyasaayasiza ddala ekintu, ng’ekyuma ekimementula ebintu, obwakabaka obwo bulibetenta era bulimementula obwakabaka obulala bwonna.+ 41  “Era nga bwe walabye ebigere n’obugere ng’awamu bya bbumba ery’omubumbi ate ng’awalala bya kyuma, obwakabaka obwo buliba bweyawuddeyawuddemu, naye bulibaamu obugumu obw’ekyuma, nga bwe walaba ng’ekyuma kitabuddwamu ebbumba ebbisi. 42  Era ng’obugere bwe bwabadde ng’awamu bwa kyuma ate ng’awalala bwa bbumba, obwakabaka obwo ku luuyi olumu buliba bwa maanyi, ate ku luuyi olulala buliba bunafu. 43  Nga bwe walabye ng’ekyuma kitabuddwamu ebbumba ebbisi, ebitundu byabwo ebimu biriba bitabuddwamu abantu;* naye tebiryegatta, ng’ekyuma bwe kitasobola kwegatta na bbumba. 44  “Mu biseera bya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka+ obutalizikirizibwa.+ Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna.+ Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna,+ era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe,+ 45  nga bwe walabye ng’ejjinja litemebwa ku lusozi, naye si na ngalo, era ne libetenta ekyuma, ekikomo, ebbumba, ffeeza, ne zzaabu.+ Katonda Omukulu alaze kabaka ebintu ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso.+ Ekirooto ekyo kituufu, era n’amakulu gaakyo geesigika.” 46  Awo Kabaka Nebukadduneeza n’avunnama ku ttaka mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, era n’alagira bamuwe ekirabo era bamunyookereze n’obubaani. 47  Kabaka n’agamba Danyeri nti: “Mazima ddala Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era Mukama wa bakabaka era Omubikkuzi w’ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama kino.”+ 48  Awo kabaka n’akuza Danyeri, n’amuwa ebirabo ebirungi bingi, era n’amuwa okufuga essaza lyonna erya Babulooni,+ era n’amufuula omukulu w’abasajja abagezigezi bonna ab’omu Babulooni. 49  Kabaka n’alonda Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego+ okuddukanya essaza lya Babulooni nga Danyeri bwe yamusaba, naye ye Danyeri n’aweerezanga mu lubiri lwa kabaka.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omwoyo gwe ne gweraliikirira.”
Bano baali bantu abaali abakugu mu by’obulaguzi n’okulaguzisa emmunyeenye.
Obut., “era omwoyo gwange.”
Dan 2:4b okutuuka ku 7:28 zaawandiikibwa mu Lulamayiki.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kasasiro; ntuumu ya busa.”
Oba, “lukalu.”
Oba, “okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
Obut., “ebirowoozo byo byagenze ku bintu.”
Oba, “ekibumbe.”
Oba, “abaana b’abantu,” kwe kugamba, abantu aba bulijjo.