Abebbulaniya 10:1-39

  • Ssaddaaka ez’ensolo tezisobola kuggyako muntu bibi (1-4)

    • Amateeka gaali kisiikirize (1)

  • Kristo yawaayo ssaddaaka emu emirembe n’emirembe (5-18)

  • Ekkubo eddamu era eriggya (19-25)

    • Obutalekaayo kukuŋŋaana wamu(24, 25)

  • Balabulwa beewale okwonoona mu bugenderevu (26-31)

  • Kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza okusobola okugumiikiriza (32-39)

10  Okuva Amateeka bwe gali ekisiikirize obusiikirize+ eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja,+ so si ebintu ebyo byennyini, tegasobola* kufuula abo abasinza Katonda okuba abatuukiridde+ okuyitira mu kuwangayo ssaddaaka ze zimu buli mwaka.  Singa kyali bwe kityo, ssaddaaka zandibadde tezaakoma dda okuweebwayo, olw’okuba abo abazireeta * bandibadde baatukuzibwa omulundi gumu nga tebakyemanyiiko kibi?  Naye ssaddaaka ezo zijjukiza abantu ebibi buli mwaka,+  kubanga omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.  N’olwekyo, bw’ajja mu nsi agamba nti: “‘Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala, naye wanteekerateekera omubiri.  Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi tewabisiima.’+  Awo ne ŋŋamba nti, ‘Laba! Nzize (kyampandiikibwako mu muzingo*) okukola by’oyagala, Ai Katonda.’”+  Oluvannyuma lw’okugamba nti: “Tewayagala era tewasiima ssaddaaka, n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ekibi”—ssaddaaka eziweebwayo okusinziira ku Mateeka—  agamba nti: “Laba! Nzize okukola by’oyagala.”+ Aggyawo ekisooka asobole okussaawo eky’okubiri. 10  Olw’ebyo Katonda ‘by’ayagala,’+ tutukuziddwa okuyitira mu kuweebwayo kw’omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.+ 11  Era buli kabona ayimirira mu kifo kye buli lunaku okuweereza+ n’okuwaayo ssaddaaka ze zimu emirundi mingi,+ ezitasobola kuggirawo ddala bibi.+ 12  Naye ye yawaayo ssaddaaka emu olw’ebibi emirembe n’emirembe, n’alyoka atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ 13  era okuva olwo alindirira okutuusa abalabe be lwe balifuulibwa ng’entebe y’ebigere bye.+ 14  Kubanga okuyitira mu ssaddaaka emu eyaweebwayo, afudde abo abatukuzibwa okuba abatuukiridde+ emirembe n’emirembe. 15  Ate era, omwoyo omutukuvu nagwo gutuwa obujulirwa, kubanga bwe gumala okugamba nti: 16  “‘Eno ye ndagaano gye ndikola nabo oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu mitima gyabwe, era ndigawandiika mu birowoozo byabwe.’”+ 17  Era gugamba nti: “Siriddamu kujjukira bibi byabwe n’ebikolwa byabwe eby’obujeemu.”+ 18  Bwe kityo, ebyo bwe biba nga bibasonyiyiddwa, kiba tekikyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ekibi. 19  Kale ab’oluganda, okuyitira mu musaayi gwa Yesu tetutya kukozesa kkubo eriyingira mu kifo ekitukuvu,+ 20  ekkubo lye yatuggulirawo,* eriggya, eddamu, era eriyita mu lutimbe,+ kwe kugamba, omubiri gwe, 21  era okuva bwe tulina kabona omukulu ennyo bw’atyo akulira ennyumba ya Katonda,+ 22  ka tutuukirire Katonda nga tulina emitima egy’amazima era nga tulina okukkiriza okw’amaanyi, okuva emitima gyaffe bwe gimansiddwako ne giggibwako omuntu ow’omunda omubi+ era n’emibiri gyaffe ne ginaazibwa amazzi amayonjo.+ 23  Ka tunywerere ku kwatula essuubi lyaffe mu lujjudde awatali kuddirira,+ kubanga eyasuubiza mwesigwa. 24  Era ka buli omu ku ffe alowoozenga* ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi,+ 25  nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu+ ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi,+ naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.+ 26  Bwe tukola ekibi mu bugenderevu oluvannyuma lw’okutegeerera ddala amazima,+ waba tewakyaliwo ssaddaaka ndala eweebwayo olw’ebibi byaffe,+ 27  naye wabaawo entiisa ey’okulindirira okusalirwa omusango, era wabaawo obusungu obubuubuuka obugenda okusaanyaawo abalabe ba Katonda.+ 28  Omuntu yenna amenya Amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa, kasita wabaawo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu.+ 29  Mulowooza omuntu alinnyiridde Omwana wa Katonda, atatutte musaayi gw’endagaano+ ogwamutukuza ng’ogw’omuwendo, era anyoomodde omwoyo ogw’ekisa eky’ensusso,+ taaweebwe ekibonerezo ekisingawo obunene? 30  Kubanga tumumanyi Oyo eyagamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula.” Era nti: “Yakuwa* aliramula abantu be.”+ 31  Kya ntiisa nnyo okugwa mu mikono gya Katonda omulamu. 32  Naye mujjukirenga ennaku ezaayita ze mwafuniramu ekitangaala,+ ne mugumiikiriza ensiitaano ey’amaanyi n’okubonaabona. 33  Oluusi mwafuukanga ng’ekyerolerwa nga muvumibwa era nga mubonyaabonyezebwa, ate oluusi mwabanga* wamu n’abo abaabanga boolekagana n’ebintu ng’ebyo. 34  Kubanga mwalumirirwa abo abali mu kkomera era ne mukkiriza okunyagibwako ebintu byammwe naye ne musigala nga muli basanyufu,+ nga mukimanyi nti mulina eky’obusika ekisingawo obulungi era eky’olubeerera.+ 35  N’olwekyo, temulekangayo kuba bavumu,* kubanga ekyo kijja kubaweesa empeera ennene.+ 36  Mwetaaga okugumiikiriza+ musobole okufuna ekyo kye yasuubiza nga mumaze okukola Katonda by’ayagala. 37  Kubanga wasigaddeyo “akaseera katono nnyo,”+ era “oyo ow’okujja ajja era tajja kulwa.”+ 38  “Naye omutuukirivu wange anaabanga mulamu lwa kukkiriza,”+ era “bw’adda ennyuma simusanyukira.”+ 39  Tetuli abo abadda ennyuma mu kuzikirira,+ wabula tuli abo abalina okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu.

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “abantu tebasobola.”
Oba, “abo abeenyigira mu buweereza obutukuvu.”
Obut., “mu muzingo gw’ekitabo.”
Obut., “lye yatongoza ku lwaffe.”
Oba, “afeeyo; asseeyo omwoyo.”
Oba, “mwayimiriranga.”
Obut., “kwogera na buvumu.”