Okubikkulirwa 5:1-14

  • Omuzingo oguliko obubonero omusanvu (1-5)

  • Omwana gw’endiga akwata omuzingo (6-8)

  • Omwana gw’endiga agwanidde okubembula obubonero (9-14)

5  Ne ndaba omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ nga guwandiikiddwako munda ne kungulu, era nga gusibiddwa n’obubonero musanvu.  Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’alangirira n’eddoboozi ery’omwanguka nti: “Ani agwanidde okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo?”  Naye tewaali n’omu mu ggulu wadde ku nsi, wadde wansi mu ttaka eyali ayinza okwanjuluza omuzingo oba okugutunulamu.  Ne nkaaba nnyo kubanga tewaali n’omu eyali agwanira okwanjuluza omuzingo oba okugutunulamu.  Naye omu ku bakadde n’aŋŋamba nti: “Lekera awo okukaaba. Laba! Empologoma y’omu kika kya Yuda,+ ekikolo+ kya Dawudi,+ yawangula,+ n’olwekyo agwanira okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo omusanvu.”  Ne ndaba omwana gw’endiga+ ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’aw’ebiramu ebina n’aw’abakadde,+ ng’afaanana ng’eyali attiddwa.+ Yalina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, era amaaso ago gategeeza emyoyo gya Katonda omusanvu+ egitumiddwa mu nsi yonna.  N’agenda n’atoola omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka.+  Era bwe yatoola omuzingo, ebiramu ebina n’abakadde 24+ ne bavunnama mu maaso g’Omwana gw’Endiga, nga buli omu alina entongooli n’ebibya ebya zzaabu ebijjudde obubaani. (Obubaani obwo butegeeza essaala z’abatukuvu.)+  Ne bayimba oluyimba olupya+ nga bagamba nti: “Ogwanidde okutoola omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa era n’omusaayi gwo wagulira Katonda+ abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga,+ 10  n’obafuula obwakabaka+ era bakabona ba Katonda waffe,+ era bajja kufuga ensi nga bakabaka.”+ 11  Ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika bangi abaali beetoolodde entebe y’obwakabaka n’ebiramu n’abakadde, era omuwendo gwabwe gwali mitwalo na mitwalo era nkumi na nkumi,+ 12  nga boogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti: “Omwana gw’Endiga eyattibwa+ agwanidde okufuna obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ekitiibwa n’ettendo n’omukisa.”+ 13  Era ne mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka+ ne mu nnyanja, byonna ebyabirimu, nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka+ n’Omwana gw’Endiga+ baweebwe ettendo n’ekitiibwa+ n’amaanyi emirembe n’emirembe.”+ 14  Ebiramu ebina ne biddamu nti: “Amiina!” era abakadde ne bavunnama ne basinza.

Obugambo Obuli Wansi