Abaruumi 12:1-21

  • Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu (1, 2)

  • Ebirabo bya njawulo naye omubiri gumu (3-8)

  • Engeri Omukristaayo gy’alina okweyisaamu (9-21)

12  N’olwekyo ab’oluganda, mbeegayirira olw’obusaasizi bwa Katonda, okuwaayo emibiri gyammwe+ nga ssaddaaka ennamu, entukuvu,+ era esiimibwa Katonda, musobole okutuukiriza obuweereza obutukuvu nga mukozesa obusobozi bwammwe obw’okulowooza.+  Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno,* naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya,+ mulyoke mwekakasize+ ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.  Okuyitira mu kisa eky’ensusso ekyandagibwa, ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo,+ naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde.+  Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi ku mubiri ogumu,+ naye nga tebikola mulimu gwe gumu,  era naffe wadde tuli bangi, tuli omubiri gumu mu Kristo, naye kinnoomu tuli bitundu bya mubiri, nga buli kimu kyetaaga kinnaakyo.+  Kale, okuva bwe tulina ebirabo eby’enjawulo okusinziira ku kisa eky’ensusso ekyatulagibwa,+ bwe kiba kirabo kya kwogera bya bunnabbi, ka twogere eby’obunnabbi okusinziira ku kukkiriza okwatuweebwa;  bwe kuba kuweereza, ka tweyongere okuweereza; oyo ayigiriza yeeyongere okuyigiriza;+  oyo azzaamu abalala amaanyi* yeeyongere okubazzaamu amaanyi;*+ oyo agaba agabenga n’omutima gumu;+ oyo awa obulagirizi* abuwenga n’obunyiikivu;+ oyo asaasira asaasirenga n’omutima gwonna.+  Okwagala kwammwe ka kulemenga kuba kwa bunnanfuusi.+ Mukyawe ebintu ebibi,+ munywerere ku birungi. 10  Mu kwagalana ng’ab’oluganda, buli omu ayagalenga nnyo munne. Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.+ 11  Temuba bagayaavu,+ wabula mubeerenga bakozi nnyo.* Omwoyo ka gubaleetere okuba abanyiikivu.+ Muweereze Yakuwa* ng’abaddu.+ 12  Musanyukenga olw’essuubi lye mulina. Mugumiikirizenga nga mubonaabona.+ Munyiikirenga okusaba.+ 13  Mugabanenga bye mulina n’abatukuvu ng’obwetaavu bwabwe bwe buli.+ Musembezenga abagenyi.+ 14  Abo ababayigganya mubasabirenga emikisa;+ musabirenga abalala emikisa era temukolimanga.+ 15  Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabire wamu n’abo abakaaba. 16  Mufe ku balala nga bwe mwefaako; temwegulumizanga, naye mubeerenga beetoowaze.+ Temwetwalanga kuba ba magezi.+ 17  Temukolanga muntu n’omu kibi olw’okuba abakoze ekibi.+ Mufeeyo ku bintu abantu bonna bye balaba nti bye bisaana. 18  Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna.+ 19  Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga, naye muleke Katonda y’aba ayoleka obusungu bwe+ kubanga kyawandiikibwa nti: “‘Okuwoolera eggwanga kwange; nze ndisasula,’ Yakuwa bw’agamba.”*+ 20  Naye, “omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe eky’okulya; bw’aba alumwa ennyonta muwe eky’okunywa; kubanga bw’okola bw’otyo ojja kuba otuuma amanda agaaka ku mutwe gwe.”*+ 21  Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.+

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Oba, “atwala obukulembeze.”
Oba, “okubakubiriza.”
Oba, “akubiriza abalala.”
Oba, “banyiikivu.”
Kwe kugamba, okuleetera omuntu okugonda n’alekera awo okuba omukakanyavu.