Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 8

Katonda y’Aleetera Abantu Okubonaabona?

“Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!”

Yobu 34:10

“Omuntu yenna bw’agezesebwanga tagambanga nti: ‘Katonda y’angezesa.’ Kubanga Katonda tayinza kugezesebwa na bintu bibi era ye kennyini tagezesa muntu yenna.”

Yakobo 1:13

“Nga mumukwasa byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.”

1 Peetero 5:7

“Yakuwa talwisa kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza, naye abagumiikiriza mmwe, kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”

2 Peetero 3:9