Engero 8:1-36

  • Amagezi googera (1-36)

    • ‘Nze ow’olubereberye mu mirimu gya Katonda’ (22)

    • ‘Nnali ne Katonda ng’omukozi omukugu’ (30)

    • “Nnayagala nnyo abaana b’abantu” (31)

8  Amagezi tegakoowoola? N’okutegeera tekwogerera waggulu?+   Amagezi gayimirira ku bifunvu+ ku mabbali g’ekkubo,Ne mu masaŋŋanzira.   Ku miryango gy’ekibuga,Ku nzigi awayingirirwa,Gakoowoola nti:+   “Mmwe abantu, mbayita;Nkoowoola buli omu.*   Mmwe abatalina bumanyirivu, muyige okubeera ab’amagezi;+Mmwe abasirusiru, mufune omutima omutegeevu.   Muwulirize, kubanga bye njogera bikulu,Emimwa gyange bye gyogera bituufu;   Akamwa kange bye koogera bya mazima,Emimwa gyange gikyayira ddala ebintu ebibi.   Byonna akamwa kange bye koogera bya butuukirivu. Tewali na kimu ku byo kinyooleddwanyooleddwa oba kikyamye.   Bitegeerekeka bulungi eri abategeevu,Era bituufu eri abo abafunye okumanya. 10  Mu kifo kya ffeeza, mulondewo bye mbayigiriza,Ne mu kifo kya zzaabu asinga obulungi, mulondewo okumanya,+ 11  Kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja;*Ebintu ebirala byonna ebyegombebwa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago. 12  Nze amagezi mbeera wamu n’okutegeera;Nfunye okumanya n’obusobozi bw’okulowooza obulungi.+ 13  Okutya Yakuwa kwe kukyawa ebintu ebibi.+ Nkyawa okwegulumiza, amalala,+ ekkubo ebbi, n’ebigambo ebitasaana.+ 14  Mbuulirira bulungi era nnina amagezi;+Okutegeera+ n’amaanyi+ byange. 15  Nnyamba bakabaka okufuga,Nnyamba abakungu okuteekawo amateeka ag’obutuukirivu.+ 16  Nnyamba abafuzi okufuga,Era nnyamba abakungu okulamula mu butuukirivu. 17  Njagala abo abanjagala,N’abo abannoonya bajja kunzuula.+ 18  Nnina obugagga n’ekitiibwa,Era nnina eby’obugagga eby’olubeerera n’obutuukirivu. 19  Ebyo bye ngaba bisinga zzaabu, wadde oyo alongooseddwa,Era ebirabo bye mbawa bisinga ffeeza asinga obulungi.+ 20  Mu kkubo ery’obutuukirivu mwe ntambulira,Wakati mu mpenda ez’obwenkanya; 21  Abanjagala mbawa eby’obusika eby’omuwendo,Era nzijuza amaterekero gaabwe. 22  Yakuwa yasooka kutonda nze,+Nze ow’olubereberye mu mirimu gye egy’edda.+ 23  Nnassibwawo dda nnyo,+Ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.+ 24  Nnateekebwawo nga tewannabaawo nnyanja,+Wadde ensulo ezijjudde amazzi. 25  Nnateekebwawo ng’ensozi tezinnassibwawo,Era nga n’obusozi tebunnateekebwawo, 26  Nga tannatonda nsi n’ettale,N’ettaka ly’oku nsi eryasooka. 27  Bwe yali ateekateeka eggulu+ nnaliwo;Bwe yateekerawo amazzi ensalo,*+ 28  Bwe yassaawo* ebire,Bwe yassaawo ensulo z’ennyanja, 29  Bwe yateerawo ennyanja ekiragiroEreme kusukka nsalo ze yateekawo,*+Bwe yassaawo emisingi gy’ensi,* 30  Nnali awo ku lusegere lwe ng’omukozi omukugu.+ Nze gwe yayagalanga ennyo;+Nnasanyukiranga mu maaso ge bulijjo;+ 31  Nnasanyukira ensi ye ebeerekamu,Era okusingira ddala nnayagala nnyo abaana b’abantu.* 32  Kale baana bange, mumpulirize;Balina essanyu abo abatambulira mu makubo gange. 33  Muwulirize bye mbayigiriza+ mubenga n’amagezi,Temubivangako. 34  Alina essanyu oyo ampuliriza. Akeera okujja* ku nzigi zange buli lunaku,N’alindira ku myango gy’enzigi zange; 35  Kubanga oyo anzuula ajja kufuna obulamu,+Era asiimibwa Yakuwa. 36  Naye oyo anneesamba yeerumya yekka;N’abo abankyawa baagala okufa.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abaana b’abantu.”
Laba Awanny.
Obut., “enkulungo.”
Obut., “Bwe yanyweza.”
Oba, “Ereme kusukka kiragiro kye.”
Oba, “Bwe yalagira wabeewo emisingi gy’ennyanja.”
Oba, “olulyo lw’omuntu.”
Oba, “Asigala ng’atunula.”