2 Timoseewo 3:1-17

  • Embeera enzibu mu nnaku ez’enkomerero (1-7)

  • Goberera butiribiri ekyokulabirako kya Pawulo (8-13)

  • “Weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga” (14-17

    • Ebyawandiikibwa byonna byaluŋŋamizibwa Katonda (16)

3  Naye tegeera kino nti mu nnaku ez’enkomerero,+ ebiseera biriba bizibu nnyo.  Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa,  nga tebaagala ba luganda lwabwe, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi,  nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda,  era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko;+ era bano beewalenga.  Mu abo mwe muva abasajja abagenda mu mayumba nga balimba abantu mu ngeri ey’obukujjukujju ne batwala mu busibe abakazi abanafu era abajjudde ebibi, abatwalirizibwa okwegomba okutali kumu,  abayiga bulijjo naye nga tebayinza kutegeerera ddala mazima.  Nga Yane ne Yambere bwe baawakanya Musa, bano nabo bawakanya amazima. Endowooza y’abasajja bano yayonoonekera ddala, era tebasiimibwa kubanga tebatambulira mu kukkiriza.  Naye tebajja kweyongera kukola bwe batyo, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kweyoleka eri abantu bonna era ng’obusirusiru bw’abasajja abo ababiri bwe bweyoleka.+ 10  Naye ggwe ogoberedde butiribiri okuyigiriza kwange, empisa zange,+ ekiruubirirwa kyange, okukkiriza kwange, obugumiikiriza bwange, okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange. 11  Ate era omanyi okubonaabona kwe nnayitamu mu Antiyokiya,+ mu Ikoniyo,+ ne mu Lusitula;+ nnagumiikiriza okuyigganyizibwa okwo kwonna, era Mukama waffe* yannunula.+ 12  Mu butuufu, abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.+ 13  Naye abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi, nga babuzaabuza abalala era nga nabo babuzaabuzibwa.+ 14  Naye ggwe, weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu,+ kubanga omanyi abantu abaabikuyigiriza, 15  era okuva mu buwere+ wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu+ ebisobola okukufuula omugezi n’ofuna obulokozi okuyitira mu kukkiririza mu Kristo Yesu.+ 16  Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda,+ era kigasa mu kuyigiriza,+ mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu,+ 17  omuntu wa Katonda abenga n’obusobozi, era ng’alina byonna bye yeetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Mukama,” mu Luyonaani, Kyʹri·os.