1 Peetero 3:1-22

  • Abakyala n’abaami (1-7)

  • Buli omu alumirirwe munne; munoonye emirembe (8-12)

  • Okubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu (13-22)

    • Okuba abeetegefu okuddamu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe (15)

    • Okubatizibwa; omuntu ow’omunda omulungi (21)

3  Nammwe abakazi mugonderenga babbammwe,+ bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe,+  olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu+ n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.  Era okwerungiya kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu—okulanga enviiri n’okwambala amajolobero aga zzaabu+ oba ebyambalo eby’okungulu ebirungi—  naye kubeerenga kwa muntu ow’ekyama ow’omu mutima, ayambadde ekyambalo ekitayonooneka eky’omwoyo omuteefu era omuwombeefu,+ ogw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.  Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda bwe batyo bwe beerungiyanga nga bagondera babbaabwe,  nga Saala bwe yagonderanga Ibulayimu ng’amuyita mukama we.+ Era muba baana be kasita muba nga mukola bulungi era nga temukkiriza kintu kyonna kubatiisa.+  Nammwe abaami, mubeeranga ne bakazi bammwe nga mubategeera bulungi,* nga mubassaamu ekitiibwa+ ng’ekibya ekinafu kubanga nabo basika bannammwe+ ab’ekisa eky’ensusso eky’obulamu, okusaba kwammwe kuleme okuziyizibwa.  Eky’enkomerero, mmwenna mubeere n’endowooza emu,+ buli omu alumirirwe munne, mwagalane ng’ab’oluganda, musaasiragane,+ era mube beetoowaze.+  Temukola muntu kibi olw’okuba abakoze ekibi+ era temuvuma oyo aba abavumye,+ naye mwogere naye bulungi,*+ kubanga ekyo kye mwayitirwa musobole okufuna* omukisa. 10  “Oyo ayagala obulamu n’okubeera omusanyufu, aziyizenga olulimi lwe okwogera ebintu ebibi+ n’emimwa gye okwogera eby’obulimba. 11  Yeewale ebibi+ akolenga ebirungi;+ anoonyenga emirembe era agigobererenga.+ 12  Kubanga amaaso ga Yakuwa* gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe,+ naye Yakuwa* yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”+ 13  Ddala muntu ki anaabakolako akabi bwe muba nga munyiikirira okukola ebirungi?+ 14  Kyokka ne bwe mubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu muba basanyufu.+ Naye ebyo bye batya temubityanga* era temweraliikiriranga.+ 15  Naye mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe, nga bulijjo muba beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, kyokka nga mukikola n’obukkakkamu+ era nga mumussaamu ekitiibwa.+ 16  Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi+ wadde nga baboogerako bubi, abo ababoogerako obubi balyoke baswale+ olw’empisa ennungi ze mwoleka ng’abagoberezi ba Kristo.+ 17  Kubanga kirungi okubonaabona olw’okukola ebirungi,+ Katonda bw’aba ng’akikkirizza, okusinga okubonaabona olw’okukola ebintu ebibi.+ 18  Ne Kristo omutuukirivu yafa omulundi gumu olw’ebibi+ by’abantu abatali batuukirivu+ asobole okubaleeta eri Katonda.+ Yattibwa mu mubiri+ naye n’afuulibwa mulamu mu mwoyo.+ 19  Ng’ali mu mbeera eyo, yagenda n’abuulira emyoyo egiri mu kkomera,+ 20  egyajeema Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza* mu kiseera kya Nuuwa,+ eryato bwe lyali lizimbibwa,+ era mu lyato eryo abantu batono, kwe kugamba, abantu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.+ 21  Ekyo ekifaanana n’ekyo kaakano kibalokola, nga kuno kwe kubatizibwa (si kuggyawo obucaafu bw’omubiri, wabula okusaba Katonda tusobole okuba n’omuntu ow’omunda omulungi),+ okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo. 22  Ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ kubanga yagenda mu ggulu; era bamalayika n’ab’obuyinza n’ab’amaanyi baateekebwa wansi we.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “nga mubabalirira.”
Obut., “mumuwe omukisa.”
Obut., “okusikira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “temutya kutiisatiisa kwabwe.”
Obut., “obugumiikiriza bwa Katonda bwe bwali nga bulindirira.”