Yokaana 6:1-71

  • Yesu aliisa abantu 5,000 (1-15)

  • Atambulira ku mazzi (16-21)

  • Yesu ye “mmere ey’obulamu” (22-59)

  • Bangi beesittala olw’ebigambo bya Yesu (60-71)

6  Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu yagenda emitala w’Ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa Tiberiya.+  Ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera+ kubanga baali balaba ebyamagero bye yali akola ng’awonya abalwadde.+  Awo Yesu n’agenda ku lusozi n’atuula eyo n’abayigirizwa be.  Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako+ yali enaatera okutuuka.  Yesu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba ekibiina ky’abantu kinene nga kijja gy’ali, n’agamba Firipo nti: “Tunaagula wa emigaati abantu bano gye banaalya?”+  Kyokka, kino yakyogera kumugezesa, kubanga yali amanyi kye yali anaatera okukola.  Firipo n’amuddamu nti: “Emigaati egya ddinaali* 200 tegiyinza kubamala, buli muntu ne bw’aba wa kulyako katono.”  Omu ku bayigirizwa be ayitibwa Andereya, muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti:  “Wano waliwo omulenzi alina emigaati gya ssayiri etaano n’obwennyanja bubiri. Naye bino binaagasa ki ku bantu abangi bwe bati?”+ 10  Yesu n’abagamba nti: “Mutuuze abantu.” Olw’okuba waaliwo omuddo mungi abantu ne batuula wansi, era mu kibiina ekyo mwalimu abasajja nga 5,000.+ 11  Yesu n’akwata emigaati ne yeebaza, n’agigabira abo abaali batudde, era n’akola kye kimu ku bwennyanja, bonna ne bafuna ebibamala. 12  Bwe bakkuta, n’agamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.” 13  Ne bakuŋŋaanya obutundutundu bw’emigaati etaano egya ssayiri obwafikkawo nga bamaze okulya, ne bujjuza ebisero 12. 14  Abantu bwe baalaba ekyamagero kye yakola ne bagamba nti: “Ddala ono ye nnabbi eyali ow’okujja mu nsi.”+ 15  Yesu bwe yamanya nti baali banaatera okujja okumukwata bamufuule kabaka,+ n’addayo ku lusozi n’abeera eyo yekka.+ 16  Bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja,+ 17  ne balinnya eryato ne boolekera Kaperunawumu ekyali emitala w’ennyanja. Mu kiseera ekyo obudde bwali buzibye, era Yesu yali tannajja gye bali.+ 18  Awo ennyanja n’etandika okusiikuuka kubanga omuyaga ogw’amaanyi gwali gukunta.+ 19  Naye bwe baali baakasaabalako mayiro nga ssatu oba nnya,* ne balaba Yesu ng’atambulira ku nnyanja era ng’ajja asemberera eryato, ne batya nnyo. 20  Naye n’abagamba nti: “Ye nze; temutya!”+ 21  Awo ne bamutwalako mu lyato, era mu kaseera katono eryato ne ligoba ku lukalu gye baali balaga.+ 22  Ku lunaku olwaddako, ekibiina ky’abantu abaali basigadde emitala w’ennyanja, baalaba nga tewali maato okuggyako akaato kamu akatono, era nga Yesu yali tagenze na bayigirizwa be mu lyato, wabula nga bagenze bokka. 23  Bwe baalaba amaato agaali gava e Tiberiya nga gazze okumpi n’ekifo we baaliira emigaati nga Mukama waffe amaze okwebaza, 24  ne bagendayo naye ne balaba nga Yesu n’abayigirizwa be tebaliiwo, ne balinnya amaato gaabwe ne bagenda e Kaperunawumu okunoonya Yesu. 25  Bwe baamusanga emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti: “Labbi,+ watuuse ddi eno?” 26  Yesu n’abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti munnoonya, si lwa kuba mwalaba ebyamagero, wabula lwa kuba mwalya emigaati ne mukkuta.+ 27  Temukolerera mmere eggwaawo, wabula mukolerere emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo,+ Omwana w’omuntu gy’alibawa; kubanga oyo Kitaffe, Katonda kennyini, amutaddeko akabonero okulaga nti amusiima.”+ 28  Awo ne bamugamba nti: “Tukole ki okutuukiriza Katonda by’ayagala?” 29  Yesu n’abaddamu nti: “Kino Katonda ky’ayagala, mmwe okukkiririza mu oyo gwe yatuma.”+ 30  Ne bamugamba nti: “Kati olwo, kyamagero ki ky’onookola,+ tukirabe tulyoke tukukkirize? Kiki ky’onookola? 31  Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu,+ nga bwe kyawandiikibwa nti: ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’”+ 32  Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Musa teyabawa mmere okuva mu ggulu, naye Kitange y’abawa emmere eya ddala okuva mu ggulu. 33  Kubanga emmere eva ewa Katonda y’oyo ava mu ggulu n’awa ensi obulamu.” 34  Ne bamugamba nti: “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo.” 35  Yesu n’abagamba nti: “Nze mmere ey’obulamu. Buli ajja gye ndi talirumwa njala n’akatono,+ era buli akkiririza mu nze talirumwa nnyonta n’akatono. 36  Naye mbagamba nti mundabye naye temunzikiriza.+ 37  Bonna Kitange b’ampa bajja kujja gye ndi, era oyo ajja gye ndi sirimugoba;+ 38  kubanga saava mu ggulu+ kukola bye njagala, wabula eby’oyo eyantuma.+ 39  Kino eyantuma ky’ayagala, ku bonna be yampa nneme kubuzaako n’omu, wabula mbazuukize+ ku lunaku olw’enkomerero. 40  Kitange ayagala buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu afune obulamu obutaggwaawo,+ era ndimuzuukiza+ ku lunaku olw’enkomerero.” 41  Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunya kubanga yali agambye nti: “Nze mmere eyava mu ggulu.”+ 42  Ne bagamba nti: “Ono si ye Yesu mutabani wa Yusufu, era nga kitaawe ne nnyina tubamanyi?+ Kati olwo, lwaki agamba nti, ‘Nnava mu ggulu’?” 43  Yesu n’abagamba nti: “Mulekere awo okwemulugunya. 44  Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise,+ era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.+ 45  Kyawandiikibwa mu biwandiiko bya Bannabbi nti: ‘Bonna baliyigirizibwa Yakuwa.’*+ Buli muntu awulirizza Kitange era n’ayiga ajja gye ndi. 46  Tewali muntu yenna eyali alabye ku Kitange,+ okuggyako oyo yekka eyava ewa Katonda; oyo ye yalaba Kitange.+ 47  Mazima ddala mbagamba nti oyo anzikiriza alina obulamu obutaggwaawo.+ 48  “Nze mmere ey’obulamu.+ 49  Bajjajjammwe baalya emmaanu mu ddungu naye ne bafa.+ 50  Eno ye mmere eva mu ggulu, buli muntu asobole okugiryako aleme okufa. 51  Nze mmere ennamu eyava mu ggulu. Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna; mazima ddala emmere gye nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.”+ 52  Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti: “Omusajja ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?” 53  Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.*+ 54  Oyo alya omubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange alina obulamu obutaggwaawo, era ndimuzuukiza+ ku lunaku olw’enkomerero; 55  kubanga omubiri gwange mmere ya ddala, n’omusaayi gwange kya kunywa kya ddala. 56  Oyo yenna alya omubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange, nze naye tuba bumu.+ 57  Nga Kitange omulamu bwe yantuma, era nga ndi mulamu ku bubwe, n’oyo alya ku mubiri gwange ajja kuba mulamu ku bwange.+ 58  Eno ye mmere eyava mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya naye ne bafa. Oyo yenna alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna.”+ 59  Ebintu bino yabyogera bwe yali ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu. 60  Bangi ku bayigirizwa be bwe baawulira ekyo ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?” 61  Yesu bwe yamanya nti abayigirizwa be baali beemulugunya olw’ebyo bye yali ayogedde, n’ababuuza nti: “Bino bibeesittaza? 62  Kati olwo bwe munaalaba Omwana w’omuntu ng’addayo gye yava?+ 63  Omwoyo gwe guwa obulamu;+ omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye mbagambye bya mwoyo era bya bulamu.+ 64  Naye waliwo abamu ku mmwe abatakkiriza.” Okuva ku lubereberye, Yesu yali amanyi abo abaali batakkiriza era n’oyo eyali ajja okumulyamu olukwe.+ 65  Era n’abagamba nti: “Eno ye nsonga lwaki mbagambye nti tewali ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange amukkirizza.”+ 66  Olw’ensonga eyo, bangi ku bayigirizwa baddira ebintu bye baali balese,+ ne balekera awo okutambula naye. 67  Awo Yesu n’agamba Ekkumi n’Ababiri nti: “Nammwe mwagala kugenda?” 68  Simooni Peetero n’amuddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani?+ Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.+ 69  Tukkirizza era tutegedde nti ggwe Mutukuvu wa Katonda.”+ 70  Yesu n’abagamba nti: “Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n’ababiri?+ Naye omu ku mmwe mulyolyomi.”+ 71  Mu butuufu yali ayogera ku Yuda mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga oyo yali agenda kumulyamu olukwe wadde nga yali omu ku Kkumi n’Ababiri.+

Obugambo Obuli Wansi

Kilomita nga 5 oba 6. Obut., “sitadiya nga 25 oba 30.” Laba Ebyong. B14.
Obut., “temulina bulamu mu mmwe.”