Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 5

Bubaka Ki Obukulu Obuli mu Bayibuli?

“Nja kuteekawo obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lye. Alikubetenta omutwe era naawe olimubetenta ekisinziiro.”

Olubereberye 3:15

“Amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.”

Olubereberye 22:18

“Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”

Matayo 6:10

“Mu kiseera kitono, Katonda agaba emirembe ajja kubetenta Sitaani wansi w’ebigere byammwe.”

Abaruumi 16:20

“Ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye alyessa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.”

1 Abakkolinso 15:28

“Ebisuubizo byategeezebwa Ibulayimu ne muzzukulu we . . . , nga ye Kristo. Ate era, bwe kiba nti muli ba Kristo, ddala muli zzadde lya Ibulayimu.”

Abaggalatiya 3:16, 29

“Obwakabaka bw’ensi bufuuse Bwakabaka bwa Mukama waffe era bwa Kristo we, era ajja kufuga nga kabaka emirembe n’emirembe.”

Okubikkulirwa 11:15

“Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”

Okubikkulirwa 12:9

“N’akwata ogusota, omusota ogw’edda, Omulyolyomi era Sitaani, n’amusiba okumala emyaka 1,000.”

Okubikkulirwa 20:2