Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 13

Bayibuli Eyogera Ki ku Kukola?

“Olabye omusajja eyakuguka mu mulimu gwe? Ajja kuyimirira mu maaso ga bakabaka; tajja kuyimirira mu maaso g’abantu aba bulijjo.”

Engero 22:29

“Omubbi alekere awo okubba, wabula afube okukola emirimu, ng’akola emirimu emirungi n’emikono gye asobole okubaako ky’ayinza okuwa omuntu ali mu bwetaavu.”

Abeefeso 4:28

“Buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.”

Omubuulizi 3:13