Yokaana 1:1-51

  • Kigambo yafuuka omuntu (1-18)

  • Obujulirwa Yokaana Omubatiza bwe yawa (19-28)

  • Yesu, Omwana gw’Endiga owa Katonda (29-34)

  • Abayigirizwa ba Yesu abaasooka (35-42)

  • Firipo ne Nassanayiri (43-51)

1  Ku lubereberye waaliwo Kigambo.+ Kigambo yali ne Katonda,+ era Kigambo yali katonda.+  Ono ku lubereberye yali ne Katonda.  Ebintu byonna byakolebwa okuyitira mu ye,+ era w’ataali tewali kintu kyonna kyakolebwa.  Obulamu okubaawo bwayitira mu ye, era obulamu bwali kitangaala eri abantu.+  Era ekitangaala kyakira mu kizikiza,+ naye ekizikiza tekikisinzizza maanyi.  Waaliwo omusajja eyatumibwa ng’omubaka wa Katonda; yali ayitibwa Yokaana.+  Omusajja ono yajja ng’omujulirwa okusobola okuwa obujulirwa ku kitangaala,+ abantu aba buli kika basobole okukkiriza nga bayitira mu ye.  Si ye yali ekitangaala ekyo,+ naye yajja okuwa obujulirwa ku kitangaala ekyo.  Ekitangaala eky’amazima ekyakira abantu aba buli kika kyali kinaatera okujja mu nsi.+ 10  Yali* mu nsi,+ era ensi yakolebwa okuyitira mu ye,+ naye teyamumanya. 11  Yajja mu nsi ye, naye abantu be tebaamukkiriza. 12  Naye abo bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda,+ kubanga bakkiririza mu linnya lye.+ 13  Era okuzaalibwa kwabwe tekwava mu musaayi, oba mu kwagala okw’omubiri oba okw’abantu wabula kwava eri Katonda.+ 14  Kigambo yafuuka omuntu*+ n’abeera mu ffe, era twalaba ekitiibwa kye, ekitiibwa omwana eyazaalibwa omu yekka+ ky’afuna okuva eri Kitaawe; era yali ajjudde ekisa eky’ensusso n’amazima. 15  (Yokaana yamuwaako obujulirwa era yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ono gwe nnayogerako nti ‘Oyo anvaako emabega ansinga, kubanga yansooka okubaawo.’”)+ 16  Ffenna twafuna ekisa eky’ensusso kingi okuva gy’ali olw’okuba ajjudde ekisa eky’ensusso. 17  Kubanga Amateeka gaaweebwa okuyitira mu Musa,+ naye ekisa eky’ensusso+ n’amazima byo byayitira mu Yesu Kristo.+ 18  Tewali muntu yali alabye Katonda;+ omwana eyazaalibwa omu yekka alinga Katonda,*+ ali ku lusegere lwa Kitaawe,*+ y’annyonnyola ebimukwatako.+ 19  Buno bwe bujulirwa Yokaana bwe yawa, Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva e Yerusaalemi okumubuuza nti: “Ggwe ani?”+ 20  Teyagaana kwanukula, naye yayogera kaati nti: “Si nze Kristo.” 21  Ne bamubuuza nti: “Kati olwo ggwe ani? Ggwe Eriya?”+ N’abaddamu nti: “Nedda!” “Ggwe Nnabbi?”+ N’addamu nti: “Nedda!” 22  Awo ne bamugamba nti: “Ggwe ani? Tubuulire tusobole okubaako kye tuddamu abo abaatutumye. Ggwe weeyogerako otya?” 23  N’abagamba nti: “Nze ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Yakuwa,’*+ nga nnabbi Isaaya bwe yagamba.”+ 24  Abo baali batumiddwa Bafalisaayo. 25  Awo ne bamubuuza nti: “Kati olwo lwaki obatiza bw’oba nga si ggwe Kristo, oba Eriya, oba Nnabbi?” 26  Yokaana n’abaddamu nti: “Nze mbatiza mu mazzi. Waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27  y’oyo anvaako emabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”+ 28  Ebintu bino byaliwo mu Bessaniya emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yali abatiriza.+ 29  Olunaku olwaddako n’alaba Yesu ng’ajja gy’ali, n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga+ owa Katonda, aggyawo ebibi+ by’ensi!+ 30  Ono gwe nnayogerako nti: ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ansinga, kubanga ye yansooka okubaawo.’+ 31  Nange nnali simumanyi, naye nnajja mbatiza mu mazzi asobole okumanyibwa eri Isirayiri.”+ 32  Era Yokaana yawa obujulirwa ng’agamba nti: “Nnalaba omwoyo nga gukka ng’ejjiba okuva mu ggulu, ne gumusigalako.+ 33  Nange nnali simumanyi, naye Oyo eyantuma okubatiza mu mazzi yaŋŋamba nti, ‘Gw’onoolaba ng’omwoyo gumukkako era ne gumusigalako,+ y’oyo abatiza n’omwoyo omutukuvu.’+ 34  Ekyo nnakiraba, era mpadde obujulirwa nti ono ye Mwana wa Katonda.”+ 35  Olunaku olwaddako Yokaana yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri, 36  era bwe yalaba Yesu ng’ayitawo, n’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga+ owa Katonda!” 37  Abayigirizwa abo ababiri bwe baamuwulira ng’ayogera ekyo, ne bagoberera Yesu. 38  Yesu n’akyuka, n’abalaba nga bamugoberera, n’ababuuza nti: “Munoonya ki?” Ne bamugamba nti: “Labbi, (nga bwe kiba kivvuunuddwa kitegeeza, “Omuyigiriza”), obeera wa?” 39  N’abagamba nti: “Mujje mulabeyo.” Awo ne bagenda ne balaba gye yali abeera, ne babeera naye ku lunaku olwo; zaali ssaawa nga kkumi.* 40  Andereya+ muganda wa Simooni Peetero y’omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana bye yayogera, ne bagoberera Yesu. 41  Yasooka kusanga muganda we Simooni, n’amugamba nti: “Tuzudde Masiya”+ (nga bwe kiba kivvuunuddwa kitegeeza, “Kristo”), 42  era n’amutwala eri Yesu. Yesu bwe yamulaba n’amugamba nti: “Ggwe Simooni+ omwana wa Yokaana; ojja kuyitibwanga Keefa” (erivvuunulwa nti, “Peetero”).+ 43  Olunaku olwaddako, Yesu n’ayagala okugenda e Ggaliraaya. Awo n’asanga Firipo+ n’amugamba nti: “Beera mugoberezi wange.” 44  Firipo yali abeera Besusayida, ekibuga Andereya ne Peetero gye baali babeera. 45  Firipo n’asanga Nassanayiri+ n’amugamba nti: “Tusanze Yesu omwana wa Yusufu+ ow’e Nazaaleesi, Musa gwe yawandiikako mu Mateeka era ne Bannabbi gwe baawandiikako.” 46  Naye Nassanayiri n’amuddamu nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?” Firipo n’amugamba nti: “Jjangu olabe.” 47  Yesu bwe yalaba Nassanayiri ng’ajja gy’ali n’agamba nti: “Laba Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”+ 48  Nassanayiri n’agamba nti: “Kijja kitya okuba nti ommanyi?” Yesu n’amuddamu nti: “Nnakulabye ng’otudde wansi w’omutiini nga Firipo tannakuyita.” 49  Nassanayiri n’amuddamu nti: “Labbi, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Isirayiri.”+ 50  Yesu n’amuddamu nti: “Okkirizza olw’okuba nkugambye nti nnakulabye wansi w’omutiini? Ojja kulaba ebintu ebisinga bino.” 51  Era n’amugamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti mujja kulaba eggulu nga libikkuse, nga bamalayika ba Katonda bambuka era nga bakka eri Omwana w’omuntu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, Kigambo.
Obut., “omubiri.”
Oba, “mu kifuba kya Kitaawe.” Kino kitegeeza okuba n’enkizo ey’enjawulo.
Obut., “katonda eyazaalibwa omu yekka.”
Kwe kugamba, ssaawa nga 10 ez’olweggulo.