Lukka 3:1-38

  • Yokaana atandika omulimu gwe (1, 2)

  • Yokaana abuulira ku kubatizibwa (3-20)

  • Okubatizibwa kwa Yesu (21, 22)

  • Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu (23-38)

3  Mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bwa Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, nga Kerode*+ ye w’essaza ly’e Ggaliraaya, nga Firipo muganda we ye w’essaza ly’e Ituliya ne Tirakoniti, era nga Lusaniya ye w’essaza ly’e Abireeni,  mu biseera bya Anaasi kabona omukulu n’ebya Kayaafa,+ ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana+ mutabani wa Zekkaliya ng’ali mu ddungu.+  Awo n’atambula mu kitundu kyonna ekiriraanye Yoludaani, ng’abuulira abantu babatizibwe ng’akabonero akalaga nti beenenyezza okusobola okusonyiyibwa ebibi,+  nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti: “Eddoboozi ery’omwanguka ery’oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Muteeketeeke ekkubo lya Yakuwa!* Mutereeze amakubo ge.+  Buli kiwonvu kirina okujjuzibwa, na buli lusozi era na buli kasozi birina okufuulibwa eby’omuseetwe; amakubo agaakyama galina okutereezebwa, n’ag’ebisirikko galina okuseetezebwa;  era abantu bonna bajja kulaba Katonda bw’alokola.’”+  Awo n’agamba abantu abaagendanga gy’ali okubatizibwa nti: “Mmwe abaana b’emisota egy’obusagwa, ani abalabudde okudduka obusungu obugenda okujja?+  Kale nno, mubale ebibala ebiraga nti mwenenyezza. Temugamba nti, ‘Ibulayimu ye kitaffe.’ Kubanga mbagamba nti Katonda asobola okufunira Ibulayimu abaana okuva mu mayinja gano.  Mazima embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. N’olwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwa gusuulibwe mu muliro.”+ 10  Abantu ne bamubuuza nti: “Kati olwo tukole ki?” 11  N’abaddamu nti: “Oyo alina ebyambalo ebibiri, ekimu akiwe oyo atalina, n’oyo alina emmere aweeko atalina.”+ 12  Abasolooza omusolo nabo ne bajja okubatizibwa+ ne bamubuuza nti: “Omuyigiriza, kiki kye tusaanidde okukola?” 13  N’abagamba nti: “Temusolooza musolo gusukka ku ogwo ogwagerekebwa.”+ 14  Abasirikale nabo ne bamubuuza nti: “Ffe tusaanidde kukola ki?” N’abagamba nti: “Temuyisanga muntu yenna bubi* era temuwaayirizanga muntu yenna,+ naye mubeerenga bamativu n’empeera gye mufuna.” 15  Abantu baali basuubira okujja kwa Kristo era nga beebuuza mu mitima gyabwe ebikwata ku Yokaana nti: “Yandiba nga ye Kristo?”+ 16  Yokaana n’abaddamu bonna ng’agamba nti: “Nze mbabatiza na mazzi, naye ansinga obuyinza ajja, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.+ Ajja kubabatiza n’omwoyo omutukuvu n’omuliro.+ 17  Olugali lwe luli mu mukono gwe, okulongooseza ddala egguuliro lye era akuŋŋaanyize eŋŋaano mu tterekero lye, naye byo ebisusunku abyokye omuliro ogutayinza kuzikizibwa.” 18  Ate era waliwo n’ebintu ebirala bingi bye yabagamba, era ne yeeyongera okubuulira abantu amawulire amalungi. 19  Naye yanenya Kerode ow’essaza olwa Kerodiya muka muganda we n’olw’ebikolwa ebibi byonna bye yali akoze, 20  ate ku bikolwa ebyo Kerode yayongerako na kino: Yaggalira Yokaana mu kkomera.+ 21  Awo abantu bonna bwe baali babatizibwa, Yesu naye n’abatizibwa.+ Bwe yali asaba, eggulu ne libikkuka,+ 22  omwoyo omutukuvu ne gumukkako nga gulinga ejjiba, era eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.”*+ 23  Yesu+ we yatandikira omulimu gwe, yali aweza emyaka nga 30,+ era okusinziira ku ekyo abantu kye baali balowooza, yali mwanawa Yusufu,+omwana wa Keri, 24  omwana wa Mattati,omwana wa Leevi,omwana wa Mereki,omwana wa Yanayi,omwana wa Yusufu, 25  omwana wa Mattasiya,omwana wa Amosi,omwana wa Nakkumu,omwana wa Esuli,omwana wa Naggayi, 26  omwana wa Maasi,omwana wa Mattasiya,omwana wa Semeyini,omwana wa Yoseki,omwana wa Yoda, 27  omwana wa Yowanani,omwana wa Lesa,omwana wa Zerubbaberi,+omwana wa Seyalutyeri,+omwana wa Neeri, 28  omwana wa Mereki,omwana wa Addi,omwana wa Kosamu,omwana wa Erumadamu,omwana wa Eli, 29  omwana wa Yesu,omwana wa Eriyeza,omwana wa Yolimu,omwana wa Mattati,omwana wa Leevi, 30  omwana wa Simiyoni,omwana wa Yuda,omwana wa Yusufu,omwana wa Yonamu,omwana wa Eriyakimu, 31  omwana wa Mereya,omwana wa Menna,omwana wa Mattasa,omwana wa Nasani,+omwana wa Dawudi,+ 32  omwana wa Yese,+omwana wa Obedi,+omwana wa Bowaazi,+omwana wa Salumooni,+omwana wa Nakusoni,+ 33  omwana wa Amminadaabu,omwana wa Aluni,omwana wa Kezulooni,omwana wa Pereezi,+omwana wa Yuda,+ 34  omwana wa Yakobo,+omwana wa Isaaka,+omwana wa Ibulayimu,+omwana wa Teera,+omwana wa Nakoli,+ 35  omwana wa Serugi,+omwana wa Leewu,+omwana wa Peregi,+omwana wa Eberi,+omwana wa Seera,+ 36  omwana wa Kayinaani,omwana wa Alupakusaadi,+omwana wa Seemu,+omwana wa Nuuwa,+omwana wa Lameka,+ 37  omwana wa Mesuseera,+omwana wa Enoka,omwana wa Yaledi,+omwana wa Makalaleeri,+omwana wa Kayinaani,+ 38  omwana wa Enosi,+omwana wa Seezi,+omwana wa Adamu,+omwana wa Katonda.

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, Kerode Antipasi. Laba Awanny.
Oba, “Temunyaganga ssente ku muntu yenna.”
Oba, “nkusiima.”