Okubikkulirwa 4:1-11

  • Alaba Yakuwa mu kwolesebwa (1-11)

    • Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka (2)

    • Abakadde 24 nga bali ku ntebe z’obwakabaka (4)

    • Ebiramu ebina (6)

4  Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba era laba! oluggi olugguddwawo mu ggulu, era eddoboozi lye nnasooka okuwulira lyali livuga ng’ekkondeere, ne liŋŋamba nti: “Jjangu wano, era nja kukulaga ebintu ebiteekwa okubaawo.”  Amangu ago omwoyo gwa Katonda ne gumbeerako: era laba! entebe y’obwakabaka yali mu kifo kyayo mu ggulu, era waliwo eyali agituddeko.+  Eyali agituddeko yali afaanana ng’ejjinja lya yasepi n’ejjinja lya sadiyo,*+ era entebe ye yali yeetooloddwa musoke afaanana ng’ejjinja eriyitibwa zumaliidi.+  Era okwetooloola entebe y’obwakabaka eyo waaliwo entebe z’obwakabaka 24; ku ntebe ezo kwali kutuddeko abakadde 24+ nga bambadde ebyambalo ebyeru era nga ku mitwe gyabwe kuliko engule eza zzaabu.  Mu ntebe ey’obwakabaka mwali muvaamu okumyansa+ n’amaloboozi n’okubwatuka;+ era waaliwo ettaala musanvu ez’omuliro nga zaakira mu maaso g’entebe, era ettaala ezo zitegeeza emyoyo gya Katonda omusanvu.+  Mu maaso g’entebe waaliwo ennyanja eringa endabirwamu+ era eringa ejjinja erimasamasa. Era wakati w’entebe y’obwakabaka n’okugyetooloola waaliwo ebiramu bina+ nga bijjudde amaaso mu maaso n’emabega.  Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng’empologoma,+ eky’okubiri nga kifaanana ng’ente ento ennume,+ eky’okusatu+ kyalina obwenyi obulinga obw’omuntu, eky’okuna+ kyalinga empungu ebuuka.+  Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga; byali bijjudde amaaso ku njuyi zonna ne munda.+ Era emisana n’ekiro awatali kuwummula nga bigamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa*+ Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaliwo, aliwo, era agenda okujja.”+  Buli ebiramu ebyo lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka abeerawo emirembe n’emirembe+ era ne bimwebaza, 10  ng’abakadde 24+ bavunnama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka era nga basinza Oyo abeerawo emirembe n’emirembe, ate era nga basuula engule zaabwe mu maaso g’entebe, nga bagamba nti: 11  “Yakuwa,* Katonda waffe ow’amaanyi,+ ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa+ n’ettendo,+ kubanga watonda ebintu byonna,+ era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ejjinja ery’omuwendo erimyufu.”