Matayo 22:1-46

  • Olugero lw’embaga ey’obugole (1-14)

  • Katonda ne Kayisaali (15-22)

  • Ekibuuzo ekikwata ku kuzuukira (23-33)

  • Amateeka abiri agasinga obukulu (34-40)

  • Kristo mwana wa Dawudi? (41-46)

22  Yesu n’ayogera nabo nate ng’akozesa engero, n’abagamba nti:  “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa ku kabaka eyategekera omwana we ekijjulo ky’embaga ey’obugole.+  N’atuma abaddu be okuyita abo abaali bayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole, naye ne batayagala kujja.+  N’atuma nate abaddu abalala, n’abagamba nti, ‘Mugambe abo abayitiddwa nti: “Laba! Ntegese eky’emisana, nzise ente ennume n’ensolo eza ssava era ebintu byonna biwedde okuteekateeka. Mujje ku kijjulo.”’  Naye ne batafaayo, omu n’agenda mu nnimiro ye, n’omulala n’agenda okusuubula;+  ate abalala ne bakwata abaddu be, ne babayisa bubi era ne babatta.  “Kabaka n’asunguwala, n’atuma amagye ge ne gatta abatemu abo era ne gookya ekibuga kyabwe.+  N’agamba abaddu be nti, ‘Ekijjulo ky’embaga ey’obugole kiwedde okuteekaateeka naye abo abayitiddwa tebagwanira kukibaako.+  N’olwekyo, mugende mu nguudo eziva mu kibuga, era muyite bonna be munaasanga bajje ku kijjulo.’+ 10  Awo abaddu ne bagenda mu nguudo ne bayita abo bonna be baasanga, abalungi n’ababi, ekisenge omwali embaga ne kijjula abagenyi.* 11  “Kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n’alaba omusajja eyali tayambadde kyambalo kya mbaga ya bugole. 12  N’amugamba nti, ‘Ssebo, wayingidde otya wano nga toyambadde kyambalo kya mbaga?’ N’abulwa eky’okuddamu. 13  Kabaka n’agamba abaweereza be nti, ‘Mumusibe emikono n’amagulu, mumusuule ebweru mu kizikiza. Eyo gy’anaakaabira era n’aluma obugigi.’ 14  “Kubanga bangi abayitibwa naye abalondebwamu batono.” 15  Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaamukwasaamu mu by’ayogera.+ 16  Ne bamusindikira abayigirizwa baabwe nga bali wamu n’abagoberezi ba Kerode,+ ne bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti oli wa mazima era nti oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima, era nti totwalirizibwa ndowooza ya muntu yenna kubanga totunuulira ndabika ya kungulu. 17  Kale tubuulire, olowooza otya? Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” 18  Naye Yesu bwe yategeera olukwe lwabwe, n’abagamba nti: “Lwaki munkema mmwe bannanfuusi? 19  Mundage essente y’omusolo.” Ne bamuleetera eddinaali.* 20  N’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” 21  Ne bamugamba nti: “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”+ 22  Bwe baawulira ekyo ne beewuunya nnyo, ne bamuviira ne bagenda. 23  Ku lunaku olwo, Abasaddukaayo abagamba nti teri kuzuukira,+ bajja ne bamubuuza nti:+ 24  “Omuyigiriza, Musa yagamba nti: ‘Singa omuntu afa nga tazadde baana, muganda we ateekwa okuwasa mukyala we amuzaalire abaana.’+ 25  Ewaffe waaliyo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa naye n’afa nga talina mwana era muganda we n’awasa mukyala we. 26  Bwe kityo bwe kyali ku w’okubiri, era ne ku w’okusatu, okutuukira ddala ku w’omusanvu. 27  Oluvannyuma omukazi naye yafa. 28  Kati olwo mu kiseera eky’okuzuukira, aliba mukyala w’ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.” 29  Yesu n’abagamba nti: “Mwabula, kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda;+ 30  kubanga mu kiseera eky’okuzuukira, abantu tebaliwasa era tebalifumbirwa, naye baliba nga bamalayika mu ggulu.+ 31  Ku bikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yayogera bwe yabagamba nti: 32  ‘Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo’?+ Si Katonda wa bafu naye wa balamu.”+ 33  Abantu bwe baawulira ebyo ne beewuunya engeri gye yali ayigirizaamu.+ 34  Abafalisaayo bwe baawulira nti asirisizza Abasaddukaayo, ne beekuŋŋaanya wamu ne bajja. 35  Omu ku bo eyali omukenkufu mu Mateeka n’amubuuza ng’amukema nti: 36  “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?”+ 37  N’amugamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa* Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’+ 38  Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. 39  Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.’+ 40  Ku mateeka gano abiri Amateeka gonna ne Bannabbi kwe byesigamye.”+ 41  Awo Abafalisaayo bwe baali nga bakuŋŋaanye wamu, Yesu n’ababuuza nti:+ 42  “Kiki kye mulowooza ku Kristo? Mwana w’ani?” Ne bamuddamu nti: “Wa Dawudi.”+ 43  N’ababuuza nti: “Kati olwo, lwaki Dawudi yaluŋŋamizibwa+ okumuyita Mukama we, ng’agamba nti, 44  ‘Yakuwa* yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo”’?+ 45  Dawudi bw’aba ng’amuyita Mukama we, kati olwo aba atya omwana we?”+ 46  Ne watabaawo muntu yenna eyayinza okumuddamu, era okuva ku lunaku olwo tewaaliwo muntu yeetantala kuddamu kumubuuza kintu kirala.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abatudde ku mmeeza.”
Laba obugambo obuli wansi ku Mat 5:43.