Matayo 2:1-23

  • Abalaguzisa emmunyeenye bajja (1-12)

  • Baddukira e Misiri (13-15)

  • Kerode atta abaana ab’obulenzi (16-18)

  • Baddayo e Nazaaleesi (19-23)

2  Yesu bwe yamala okuzaalibwa mu Besirekemu+ eky’e Buyudaaya mu nnaku za Kabaka Kerode,+ abalaguzisa emmunyeenye baava Ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,  ne babuuza nti: “Kabaka w’Abayudaaya+ eyazaalibwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli Ebuvanjuba era tuzze okumuvunnamira.”  Kabaka Kerode bwe yakiwulira n’atya, era n’abantu b’omu Yerusaalemi bonna ne batya.  Awo n’akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna n’abawandiisi, n’ababuuza Kristo* gye yali ow’okuzaalibwa.  Ne bamugamba nti: “Mu Besirekemu+ eky’e Buyudaaya; kubanga okuyitira mu bannabbi kyawandiikibwa nti:  ‘Ggwe Besirekemu eky’omu nsi ya Yuda, si ggwe asembayo mu bakulembeze ba Yuda; kubanga mu ggwe mwe muliva omukulembeze anaalunda abantu bange, Isirayiri.’”+  Awo Kerode n’ayita abalaguzisa emmunyeenye mu kyama n’ababuuza ekiseera emmunyeenye we yalabikira.  N’abatuma e Besirekemu n’abagamba nti: “Mugende munoonye omwana era bwe mumuzuula mukomewo mumbuulire, nange ŋŋende mmuvunnamire.”  Kabaka bwe yamala okubagamba bw’atyo, ne bagenda; emmunyeenye gye baalaba nga bali Ebuvanjuba+ n’ebakulembera okutuusa lwe yayimirira waggulu mu kifo awaali omwana. 10  Bwe baalaba emmunyeenye ne basanyuka nnyo. 11  Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng’ali ne Maliyamu nnyina, ne bamuvunnamira. Ne basumulula ensawo zaabwe ezaalimu ebintu byabwe eby’omuwendo ne bamutonera ebirabo: zzaabu, obubaani obweru, n’eby’akaloosa ebiyitibwa miira. 12  Kyokka, olw’okuba Katonda yabalabula mu kirooto+ obutaddayo wa Kerode, baddayo mu nsi yaabwe nga bayitira mu kkubo eddala. 13  Bwe baamala okugenda, malayika wa Yakuwa* n’alabikira Yusufu mu kirooto+ n’amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina muddukire e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo, kubanga Kerode anaatera okunoonya omwana okumutta.” 14  Ekiro ekyo Yusufu n’asitukiramu n’atwala omwana ne nnyina e Misiri, 15  n’abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Kino kyali bwe kityo Yakuwa* kye yayogera okuyitira mu nnabbi kiryoke kituukirire, ekigamba nti: “Nnayita omwana wange okuva e Misiri.”+ 16  Awo Kerode bwe yalaba ng’abalaguzisa emmunyeenye bamutebuse, n’asunguwala nnyo, n’alagira batte abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu ne mu bitundu ebiriraanyeewo ab’emyaka ebiri n’okukka wansi, ng’asinziira ku kiseera abalaguzisa emmunyeenye kye baamugamba.+ 17  Ebigambo ebyayogerwa okuyitira mu nnabbi Yeremiya ne bituukirira, ebigamba nti: 18  “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, okukaaba n’okukuba ebiwoobe. Laakeeri+ yali akaabira abaana be era nga tayagala kubudaabudibwa, kubanga tebakyaliwo.”+ 19  Kerode bwe yafa, malayika wa Yakuwa* n’alabikira Yusufu mu kirooto+ ng’ali e Misiri, 20  n’amugamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina mu Isirayiri kubanga abaali baagala okutta omwana baafa.” 21  Awo n’agolokoka, ye n’omwana ne nnyina ne baddayo mu Isirayiri. 22  Naye bwe yawulira nti Alukerawo y’afuga nga kabaka mu Buyudaaya mu kifo kya kitaawe Kerode, n’atya okuddayo. Ate era, Katonda bwe yamulabula mu kirooto,+ yagenda mu kitundu ky’e Ggaliraaya+ 23  n’abeera mu kibuga ekiyitibwa Nazaaleesi,+ ebigambo ne bituukirira ebyayogerwa okuyitira mu bannabbi nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”*+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Masiya; Eyafukibwako Amafuta.”
Oboolyawo kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “omutunsi.”