Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

B1

Obubaka Obuli mu Bayibuli

Yakuwa Katonda y’agwanidde okuba omufuzi. Engeri gy’afugamu y’esingayo obulungi. Ekigendererwa kye eri ensi n’abantu kijja kutuukirira.

Oluvannyuma lw’omwaka 4026 E.E.T.

“Omusota” guleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga. Yakuwa asuubiza okussaawo “ezzadde,” erijja okubetenta omusota oba Sitaani. (Olubereberye 3:1-5, 15, obugambo obuli wansi) Naye Yakuwa asooka n’aleka abantu beefuge nga bakulemberwa Sitaani.

1943 E.E.T.

Yakuwa agamba Ibulayimu nti “ezzadde” eryasuubizibwa lya kuva mu lunyiriri lwe.—Olubereberye 22:18.

Oluvannyuma lw’omwaka 1070 E.E.T.

Yakuwa akakasa Kabaka Dawudi, n’oluvannyuma mutabani we Sulemaani nti “ezzadde” eryasuubizibwa lya kuva mu lunyiriri lwabwe.—2 Samwiri 7:12, 16; 1 Bassekabaka 9:3-5; Isaaya 9:6, 7.

29 E.E.

Yakuwa alaga nti Yesu lye ‘zzadde’ eryasuubizibwa era nti ye Musika w’entebe ya Dawudi ey’obwakabaka.—Abaggalatiya 3:16; Lukka 1:31-33; 3:21, 22.

33 E.E.

Yesu bw’attibwa, omusota (Sitaani) guba gubetense ekisinziiro ‘ky’ezzadde.’ Yakuwa azuukiza Yesu, era Yesu bw’agenda mu ggulu, Yakuwa akkiriza omuwendo gwa ssaddaaka ye, era nga ku ssaddaaka eyo Yakuwa kw’asinziira okusonyiwa ebibi bya bazzukulu ba Adamu n’okubawa obulamu obutaggwaawo.—Olubereberye 3:15; Ebikolwa 2:32-36; 1 Abakkolinso 15:21, 22.

Awo nga mu 1914 E.E.

Yesu asuula omusota oba Sitaani ku nsi, abeereko okumala akaseera katono.—Okubikkulirwa 12:7-9, 12.

Mu biseera eby’omu maaso

Yesu asiba Sitaani okumala emyaka 1,000 era oluvannyuma n’amubetenta omutwe oba n’amuzikiriza. Ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi n’abantu kituukirira, erinnya lye litukuzibwa, n’obufuzi bwe bugulumizibwa.—Okubikkulirwa 20:1-3, 10; 21:3, 4.