Okuva 23:1-33

  • Amateeka eri Isirayiri (1-19)

    • Ku kuba omwesigwa n’okuba omwenkanya (1-9)

    • Ku ssabbiiti n’embaga endala (10-19)

  • Malayika akulemberamu Abayisirayiri (20-26)

  • Ensi n’ensalo zaayo (27-33)

23  “Tosaasaanyanga eby’obulimba.+ Teweekobaananga n’omuntu omubi n’oba omujulizi ow’ettima.+  Togobereranga abangi okukola ebintu ebibi; tovanga ku bwenkanya n’owa obujulizi obw’obulimba olw’okuba abangi kye bakoze.  Tobangako ludda lwe weekubiirako mu nkaayana z’omwavu.+  “Bw’osanganga ente oba endogoyi y’omulabe wo ng’ebuze, ogizzangayo gy’ali.+  Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala ng’egudde n’omugugu gwayo togiyitangako buyisi. Omuyambanga n’ogiggyako omugugu.+  “Tosalirizanga ng’osala omusango+ gw’omwavu ali mu mmwe.  “Weewalenga okuwaayiriza,* era tottanga muntu atalina musango era n’omutuukirivu, kubanga omubi sirimuyita mutuukirivu.*+  “Tokkirizanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’abantu abalaba obulungi era esobola okukyamya ebigambo by’abatuukirivu.+  “Tonyigirizanga mugwira. Mumanyi kye kitegeeza okuba omugwira,* kubanga mwali bagwira mu nsi ya Misiri.+ 10  “Onoosiganga ensingo mu nnimiro yo era n’okungula ebirime byo okumala emyaka mukaaga.+ 11  Naye mu mwaka ogw’omusanvu togirimanga; ogirekanga n’ewummula. Abaavu mu bantu bo be banaalyanga ebyamu, bye banaalekangamu binaaliibwanga ensolo ez’omu nsiko. Bw’otyo bw’onookolanga ennimiro yo ey’emizabbibu n’ey’emizeyituuni. 12  “Onookolanga emirimu gyo okumala ennaku mukaaga naye ku lunaku olw’omusanvu tookolenga, ente yo n’endogoyi yo bisobole okuwummula, era n’omwana w’omuzaana wo n’omugwira nabo bawummule.+ 13  “Mufubenga okukola byonna bye mbagambye+ era temukoowoolanga mannya ga bakatonda balala; tegawulirwanga ku mimwa gyammwe.*+ 14  “Onookwatanga embaga zange emirundi esatu buli mwaka.+ 15  Onookwatanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.+ Mu kiseera ekigereke mu mwezi gwa Abibu,*+ onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bwe nnakulagira, kubanga ekyo kye kiseera kye waviiramu e Misiri. Tewabanga n’omu ajja mu maaso gange ngalo nsa.+ 16  Era onookwatanga Embaga ey’Amakungula* g’ebibala ebibereberye eby’emirimu gyo, ag’ebyo bye wasiga mu nnimiro;+ n’Embaga ey’Ensiisira ku nkomerero y’omwaka bw’onookungulanga ebibala eby’emirimu gyo mu nnimiro.+ 17  Emirundi esatu mu mwaka, abasajja bo bonna bajja kulabikanga mu maaso ga Yakuwa, Mukama ow’amazima.+ 18  “Omusaayi gwa ssaddaaka yange toguweerangayo wamu n’ekintu kyonna ekirimu ekizimbulukusa. Bw’owangayo ssaddaaka ez’amasavu ku mbaga zange, tezisigalangawo okutuusa enkeera. 19  “Oleetanga ebibala ebibereberye ebisingayo obulungi eby’ennimiro yo mu nnyumba ya Yakuwa Katonda wo.+ “Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina waagwo.+ 20  “Ntuma malayika okukukulemberamu+ akukuume mu kkubo era akutuuse mu kifo kye ntegese.+ 21  Muwulirize era mugondere. Tomujeemera kubanga tajja kubasonyiwa byonoono byammwe,+ olw’okuba ajjira mu linnya lyange. 22  Naye bw’onoomugonderanga era n’okola byonna bye ŋŋamba, nja kuba mulabe eri abalabe bo era nnwanyise abo abakulwanyisa. 23  Malayika wange ajja kukukulemberamu akutuuse eri Abaamoli, Abakiiti, Abaperizi, Abakanani, Abakiivi, n’Abayebusi, era nja kubasaanyaawo.+ 24  Tovunnamiranga bakatonda baabwe era tosendebwasendebwanga kubaweereza, era tokoppanga bikolwa byabwe.+ Naye onoobazikiriza era n’omenyaamenya empagi zaabwe ze basinza.+ 25  Muweerezenga Yakuwa Katonda wammwe,+ era anaawanga omukisa emmere yammwe n’amazzi gammwe.+ Nja kuggya endwadde mu mmwe.+ 26  Abakazi b’omu nsi yo tebaavengamu mbuto era tebaabenga bagumba,+ era nja kukuwangaaza. 27  “Nja kusindika entiisa yange mu maaso go,+ era nja kutabulatabula abantu bonna b’onoosanga, era nja kuleetera abalabe bo bonna okukudduka nga bawanguddwa.*+ 28  Nja kusindika entiisa+ ekukulemberemu, era ejja kugoba Abakiivi, Abakanani, n’Abakiiti mu maaso go.+ 29  Sijja kubagoba mu maaso go mu mwaka gumu, ensi ereme kufuuka matongo n’ensolo ez’omu nsiko zireme kweyongera bungi ne zikukola akabi.+ 30  Nja kubagoba mpolampola mu maaso go okutuusa lw’oliyala ensi yonna n’eba yiyo.+ 31  “Nja kussaawo ensalo zo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja y’Abafirisuuti, n’okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga;*+ abantu b’omu nsi eyo nja kubawaayo mu mukono gwo era ojja kubagoba mu maaso go.+ 32  Tokolanga ndagaano nabo oba ne bakatonda baabwe.+ 33  Tebabeeranga mu nsi yo baleme okukuleetera okwonoona mu maaso gange. Bw’onooweereza bakatonda baabwe, kijja kuba kyambika gy’oli.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ekigambo eky’obulimba.”
Oba, “sirimwejjeereza.”
Oba, “Mumanyi obulamu bw’omugwira.”
Obut., “ku kamwa kammwe.”
Era eyitibwa Pentekooti.
Oba, “okukukuba amabega.”
Omugga Fulaati.