Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

A4

Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya

Erinnya lya Katonda mu nnukuta ez’Olwebbulaniya ezaakozesebwanga ng’Abayudaaya tebannatwalibwa mu buwambe e Babulooni

Erinnya lya Katonda mu nnukuta ez’Olwebbulaniya ezaakozesebwa oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwambe e Babulooni

Erinnya lya Katonda erikiikirirwa ennukuta ennya ensirifu ez’Olwebbulaniya יהוה, lirabika emirundi nga 7,000 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Mu nkyusa eno erinnya eryo livvuunuddwa nga “Yakuwa.” Erinnya eryo lye linnya erisinga okwogerwako mu Bayibuli. Wadde ng’abo abaaluŋŋamizibwa okuwandiika Bayibuli baakozesa ebitiibwa bingi, gamba nga “Omuyinza w’Ebintu Byonna,” “Asingayo Okuba Waggulu,” ne “Mukama” nga boogera ku Katonda, bwe baabanga boogera ku linnya lya Katonda baakozesanga ennukuta ezo ennya.

Yakuwa Katonda kennyini ye yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okukozesa erinnya lye. Ng’ekyokulabirako, yaluŋŋamya nnabbi Yoweeri okuwandiika nti: “Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.” (Yoweeri 2:32) Era Katonda yaluŋŋamya omu ku bawandiisi ba Zabbuli okuwandiika nti: “Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.” (Zabbuli 83:18) Mu butuufu, erinnya lya Katonda lisangibwa mu kitabo kya Zabbuli emirundi nga 700, ate nga zabbuli ezo abantu ba Katonda baazikwatanga mu mutwe era ne baziyimba n’okuziyimba. Kati olwo lwaki erinnya lya Katonda terisangibwa mu nkyusa za Bayibuli nnyingi? Lwaki enkyusa ya Bayibuli eno ekozesa erinnya “Yakuwa”? Era erinnya lya Katonda, Yakuwa, litegeeza ki?

Ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo kya Zabbuli mu Muzingo gw’Ennyanja Enfu ogwawandiikibwa mu kyasa ekyasooka ng’omwaka gwa 50 E.E tegunnatuuka. Ebigambo ebiri mu muzingo ogwo byawandiikibwa mu nnukuta z’Olwebbulaniya ezaakozesebwa oluvannyuma lw’Abayudaaya okuva mu buwambe e Babulooni, naye lyo erinnya lya Katonda lyawandiikibwa mu nnukuta ez’Olwebbulaniya enkadde

Lwaki mu nkyusa za Bayibuli nnyingi temuli linnya lya Katonda? Waliwo ensonga ezitali zimu. Abamu bagamba nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna teyeetaaga kuba na linnya. Abalala bayinza okuba nga bagoberera akalombolombo k’Abayudaaya abeewalanga okukozesa erinnya lya Katonda, oboolyawo nga batya nti bayinza okulivvoola. Ate abalala bagamba nti olw’okuba leero tewali n’omu amanyidde ddala ngeri linnya lya Katonda gye lyayatulwangamu, kiba kirungi okukozesa ebitiibwa bye byokka, gamba nga “Mukama” oba “Katonda.” Naye ensonga ng’ezo teziriimu ggumba nga bwe kiragibwa wammanga:

  • Abo abagamba nti Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna teyeetaaga kuba na linnya babuusa amaaso eky’okuba nti emizingo gy’Ebyawandiikibwa egy’edda, egyaliwo nga ne Kristo tannajja, mwalimu erinnya lya Katonda. Nga bwe kyalagiddwa, Katonda yaluŋŋamya abo abaawandiika Bayibuli okuteekamu erinnya lye emirundi nga 7,000. Ekyo kiraga nti Katonda ayagala tumanye erinnya lye era tulikozese.

  • Abavvuunuzi abaggya erinnya lya Katonda mu Bayibuli nga bagoberera akalombolombo k’Ekiyudaaya babuusa amaaso ensonga eno enkulu. Wadde ng’abamu ku bawandiisi Abayudaaya baagaananga okwatula erinnya lya Katonda, erinnya eryo tebaaliggya mu Byawandiikibwa bye baakoppololanga. Mu mizingo egy’edda egyasangibwa mu Qumran, okumpi n’Ennyanja Enfu, erinnya lya Katonda lisangibwamu emirundi mingi. Abavvuunuzi ba Bayibuli abamu bwe baba bavvuunula Bayibuli, awaali erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’edda basalawo okuteekawo ekitiibwa “Mukama.” Naye ekyebuuzibwa kiri nti, Lwaki abavvuunuzi abo basalawo okuggya erinnya lya Katonda mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli ne bateekawo ebitiibwa ate nga bakimanyi bulungi nti erinnya eryo lisangibwa mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka emirundi nkumi na nkumi? Ani yabawa obuyinza okuliggyamu? Be bamanyi.

  • Abo abagamba nti erinnya lya Katonda teririna kukozesebwa olw’okuba tewali amanyidde ddala ngeri gye lyayatulwangamu basaanidde okukimanya nti n’erinnya lya Yesu tewali amanyidde ddala ngeri gye lyayatulwangamu. Engeri Abakristaayo abasinga obungi gye baatulamu erinnya Yesu ya njawulo ku ngeri abayigirizwa ba Yesu gye baalyatulangamu mu kyasa ekyasooka. Abakristaayo Abayudaaya erinnya Yesu bayinza okuba nga baalyatulanga nga Ye·shuʹa‛. Ate ekitiibwa kye “Kristo” nga bakyatula nga Ma·shiʹach, oba “Masiya.” Abakristaayo aboogera Oluyonaani Yesu Kristo baali bamuyita I·e·sousʹ Khri·stosʹ, ate Abakristaayo aboogera Olulattini baali bamuyita Ieʹsus Chriʹstus. Abo abaaluŋŋamizibwa okuwandiika Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani baakozesa erinnya lya Yesu eryali livvuunuddwa mu Luyonaani, ekiraga nti Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baayatulanga amannya mu ngeri etuukirawo mu lulimi lwabwe. Mu ngeri y’emu, abo abavvuunula Bayibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya baasalawo okukozesa erinnya “Yakuwa,” wadde ng’eyo si ye ngeri yennyini erinnya lya Katonda gye lyayatulwanga mu Lwebbulaniya olw’edda.

Lwaki Enkyusa ey’Ensi Empya ekozesa erinnya “Yakuwa”? Erinnya lya Katonda lyawandiikibwanga mu nnukuta nnya ez’Olwebbulaniya (יהוה) era mu Lungereza ennukuta ezo zikiikirirwa ennukuta ensirifu YHWH. Mu Lwebbulaniya olw’edda, ebigambo byawandiikibwanga nga temuli nnukuta njatuza, era n’erinnya lya Katonda bwe lityo bwe lyawandiikibwanga. Naye abantu bwe baabanga basoma ebigambo eby’Olwebbulaniya beeteerangamu ennukuta enjatuza ezituukirawo.

Nga wayise emyaka nga 1000 oluvannyuma lw’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okuwandiikibwa, abakugu mu lulimi Olwebbulaniya baayiiyaayo enkola ey’okuteeka obubonero ku bigambo okuyamba omuntu okumanya ennukuta enjatuza gy’alina okuteeka mu kigambo ng’akisoma. Kyokka mu kiseera ekyo, Abayudaaya bangi baali balowooza nti kikyamu okwatula erinnya lya Katonda, bwe kityo baakozesanga bitiibwa mu kifo ky’erinnya lye. Kirabika bwe baabanga bakoppolola ennukuta ennya ez’Olwebbulaniya ez’erinnya lya Katonda, baagattangamu enjatuza ezaabanga mu bitiibwa bye baakozesanga. N’olwekyo, ebiwandiiko ebirimu enjatuza ng’ezo tebisobola kutuyamba kutegeerera ddala ngeri ntuufu erinnya lya Katonda gye lyayatulwangamu mu Lwebbulaniya. Abamu bagamba nti erinnya eryo lyayatulwanga nga “Yahweh,” ate abalala bagamba nti lyayatulwanga mu ngeri ndala. Mu muzingo ogumu ogw’Ennyanja Enfu ogwalimu ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi nga bivvuunuddwa mu Luyonaani, erinnya lya Katonda lyawandiikibwanga nga Iao. Ng’oggyeko okuwandiika erinnya lya Katonda mu ngeri eyo, abawandiisi abamu Abayonaani ab’edda erinnya eryo baaliwandiikanga nga Iae, I·a·beʹ, oba I·a·ou·eʹ. Kyokka, tewali n’omu amanyi ngeri baweereza ba Katonda ab’edda gye baayatulangamu erinnya lya Katonda mu Lwebbulaniya. (Olubereberye 13:4; Okuva 3:15) Naye kye tumanyi kiri nti Katonda yakozesanga erinnya lye enfunda n’enfunda ng’ayogera n’abantu be. Abantu be nabo baakozesanga erinnya eryo nga boogera naye oba nga boogera n’abantu abalala.—Okuva 6:2; 1 Bassekabaka 8:23; Zabbuli 99:9.

Naye lwaki mu Nkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza erinnya lya Katonda liwandiikiddwa nga “Jehovah”? Kubanga erinnya Jehovah limaze ebbanga ddene nnyo nga likozesebwa mu Lungereza. Bwe kityo bwe kiri ne mu Luganda; erinnya “Yakuwa” limaze ebbanga ddene nga likozesebwa.

Erinnya lya Katonda mu Olubereberye 15:2 mu nkyusa ya William Tyndale ey’ebitabo bya Bayibuli ebitaano ebisooka, 1530

Erinnya lya Katonda mu lulimi Olungereza lyasooka kulabikira mu nkyusa ya William Tyndale mu 1530, bwe yavvuunula ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli. Erinnya lya Katonda yalivvuunula nga “Iehouah.” Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, olulimi Olungereza lwagenda lukyuka, era n’engeri gye baali bawandiikamu erinnya lya Katonda nayo yakyuka. Ng’ekyokulabirako, mu 1612, Henry Ainsworth bwe yali avvuunula ekitabo kya Zabbuli erinnya lya Katonda yaliwandiika nga “Iehovah.” Ate mu 1639, enzivuunula eyo bwe yaddamu okwekenneenyezebwa era n’ekubibwa mu kyapa awamu n’ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli, erinnya lya Katonda lyawandiikibwa nga “Jehovah.” Mu 1901, abo abavvuunula enkyusa ya Bayibuli eyitibwa American Standard Version baakozesa “Jehovah” wonna awaali erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.

Mu kitabo ekiyitibwa Studies in the Psalms kye yawandiika mu 1911, omwekenneenya wa Bayibuli ayitibwa Joseph Bryant Rotherham yannyonnyola ensonga lwaki erinnya lya Katonda yaliwandiika nga “Jehovah,” so si nga “Yahweh.” Yagamba nti yasalawo okuliwandiika “mu ngeri abantu bangi gye bamanyidde era gye bakkiriza.” Mu 1930, omwekenneenya wa Bayibuli omulala ayitibwa A. F. Kirkpatrick naye yawa ensonga efaananako ng’eyo. Yagamba nti: “Abakugu mu by’ennimi bagamba nti erinnya lya Katonda lyandibadde liwandiikibwa nga Yahveh oba Yahaveh; naye kirabika abantu bangi aboogera Olungereza bamanyidde kukozesa JEHOVAH, ate ng’ekisinga obukulu, si ye ngeri erinnya eryo gye lyatulwamu, naye kwe kulaga nti Katonda alina erinnya erirye ku bubwe, eryawukana ku bitiibwa gamba nga ‘Mukama.’”

Erinnya lya Katonda mu Lwebbulaniya: “Aleetera ebintu okubaawo”

Ekigambo ky’Olwebbulaniya omuva erinnya lya Katonda: “okuba”

Erinnya Yakuwa litegeeza ki? Erinnya Yakuwa liva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “okuba,” era abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti ekigambo ekyo kiwa amakulu ag’okuleetera ekintu okubaawo. N’olwekyo, okusinziira ku abo abavvuunula Enkyusa ey’Ensi Empya, erinnya lya Katonda litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Kyo kituufu nti abeekenneenya Bayibuli bangi balina endowooza za njawulo ku makulu g’erinnya lya Katonda. Wadde kiri kityo, amakulu ago gatuukana bulungi n’eky’okuba nti Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna era nti atuukiriza ebigendererwa bye. Ng’oggyeko okuba nti yatonda ebintu byonna, ebirina obulamu n’ebitalina bulamu, bulijjo yeeyongera okubaako ky’akolawo okutuukiriza by’ayagala n’ebigendererwa bye.

N’olwekyo, ebigambo ebiri mu Okuva 3:14, awagamba nti: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera” oba, “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaabeera” tebimalaayo makulu gonna agali mu linnya lya Katonda, Yakuwa. Mu kifo ky’ekyo, biraga agamu ku makulu agali mu linnya eryo. Biraga nti Yakuwa asobola okufuuka kyonna ekyetaagisa mu mbeera yonna okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Wadde ng’erinnya Yakuwa lizingiramu amakulu ago, amakulu agalirimu tegakoma ku ky’okuba nti asobola okuba ekyo kyonna ky’asalawo okubeera. Gazingiramu n’eky’okuba nti asobozesa ebitonde bye okukola kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.