Yobu 1:1-22

  • Obugolokofu bwa Yobu n’obugagga bwe (1-5)

  • Sitaani abuusabuusa obwesigwa bwa Yobu (6-12)

  • Yobu afiirwa ebintu bye n’abaana be (13-19)

  • Yobu tanenya Katonda (20-22)

1  Waaliwo omusajja mu nsi ya Uzzi eyali ayitibwa Yobu.*+ Yali musajja mwesigwa era nga mugolokofu;*+ yali atya Katonda, era nga yeewala okukola ebibi.+  Yalina abaana ab’obulenzi musanvu n’ab’obuwala basatu.  Yalina endiga 7,000, eŋŋamira 3,000, ente 1,000,* endogoyi* 500, n’abaweereza bangi nnyo, era ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab’Ebuvanjuba.  Batabani be baakolanga embaga buli omu mu nnyumba ye era ku lunaku lwe.* Baayitanga bannyinaabwe abasatu okunywa n’okuliira awamu nabo.  Ennaku z’embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga abatukuze. Yagolokokanga ku makya n’aweerayo buli omu ku bo ebiweebwayo ebyokebwa,+ kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baayonoonye, ne bavvoola Katonda mu mitima gyabwe.” Bw’atyo Yobu bwe yakolanga.+  Awo olunaku ne lutuuka, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani+ naye n’agendera mu bo.+  Yakuwa n’abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n’okugitambulatambulamu.”+  Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza* ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye mu nsi. Musajja mwesigwa era mugolokofu,*+ atya Katonda, era yeewala ebibi.”  Awo Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Yobu atiira bwereere Katonda?+ 10  Tomutaddeeko lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye,+ ne byonna by’alina? Omulimu gw’emikono gye oguwadde omukisa,+ era n’ebisolo bye byaze mu nsi. 11  Kale golola omukono gwo omuggyeko byonna by’alina, olabe obanga taakwegaanire mu maaso go.” 12  Awo Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Byonna by’alina biri mu mukono gwo.* Kyokka ye tomukwatako!” Awo Sitaani n’ava mu maaso ga Yakuwa.+ 13  Awo ku lunaku batabani be ne bawala be lwe baali nga balya era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,+ 14  omubaka yagenda eri Yobu n’amugamba nti: “Ente bwe zibadde zirima era nga n’endogoyi ziriira okumpi nazo, 15  Abaseba bazze ne bazitwala, era ne batta abaweereza bo n’ekitala. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.” 16  Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Omuliro gwa Katonda* guvudde mu ggulu ne gwokya endiga n’abaweereza bo! Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.” 17  Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Abakaludaaya+ bazze nga bali mu bibinja bisatu, ne banyaga eŋŋamira ne bazitwala, era ne batta abaweereza bo n’ekitala. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.” 18  Yali akyayogera, omulala n’ajja n’agamba Yobu nti: “Batabani bo ne bawala bo bwe babadde balya era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, 19  embuyaga ey’amaanyi evudde mu ddungu n’ekuba ensonda ennya ez’ennyumba, ennyumba n’egwira abaana bo ne bafa. Nze mponyeewo nzekka, ne nzija okukubuulira.” 20  Awo Yobu n’ayimuka n’ayuza ebyambalo bye, n’asalako enviiri ze, n’akka ku maviivi n’avunnama ku ttaka 21  n’agamba nti: “Nnava mu lubuto lwa mmange nga ndi bwereere,Era ndiddayo nga sirina kantu.+ Yakuwa ye yampa+ era Yakuwa y’anzigyeeko. Erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.” 22  Mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyayonoona wadde okunenya Katonda.*

Obugambo Obuli Wansi

Liyinza okuba litegeeza, “Ekintu ekikyayibwa.”
Oba, “ataliiko kya kunenyezebwa era omugolokofu.”
Obut., “emigogo gy’ente 500.”
Obut., “endogoyi enkazi.”
Oba, “buli omu mu nnyumba ye ng’oluwalo lwe lutuuse.”
Oba, “bamalayika.”
Obut., “Omutima gwo ogutadde.”
Oba, “ataliiko kya kunenyezebwa era omugolokofu.”
Oba, “biri mu buyinza bwo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Laddu.”
Oba, “talina kintu kibi kye yayogera ku Katonda.”