Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 11

Kiki Ekituuka ku Muntu ng’Afudde?

“Omukka gwe gumuvaamu, n’addayo mu ttaka; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bisaanawo.”

Zabbuli 146:4

“Abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi . . . Buli kintu omukono gwo kye gufuna okukola, okikolanga n’amaanyi go gonna, kubanga emagombe gy’ogenda teriiyo mulimu, wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.”

Omubuulizi 9:5, 10

“[Yesu] n’abagamba nti: ‘Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋendayo okumuzuukusa.’ Kyokka Yesu yali ayogera ku kufa kwe, naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. Awo Yesu n’abagamba kaati nti: ‘Laazaalo afudde.’ ”

Yokaana 11:11, 13, 14