Ebikolwa 4:1-37

  • Peetero ne Yokaana bakwatibwa (1-4)

    • Abakkiriza kati bali abasajja 5,000 (4)

  • Bawozesebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu (5-22)

    • “Tetuyinza kulekera awo kwogera” (20)

  • Abayigirizwa basaba okufuna obuvumu (23-31)

  • Abayigirizwa bagabana ebintu byabwe (32-37)

4  Peetero ne Yokaana bwe baali bakyayogera eri abantu, bakabona, omukulu w’abakuumi ba yeekaalu, n’Abasaddukaayo+ ne bajja gye bali.  Baali banyiivu olw’okuba abatume baali bayigiriza abantu era nga balangirira okuzuukira kwa Yesu okuva mu bafu.+  Awo ne babakwata ne babaggalira+ okutuusa enkeera, kubanga obudde bwali buwungedde.  Naye bangi ku abo abaali bawulirizza ebyali byogeddwa bakkiriza, era abasajja baali nga 5,000.+  Olunaku olwaddako, abafuzi baabwe, abakadde, n’abawandiisi baakuŋŋaanira mu Yerusaalemi,  awamu ne Anaasi+ kabona omukulu, Kayaafa,+ Yokaana, Alekizanda, era n’abo bonna abaalina oluganda ku kabona omukulu.  Baayimiriza Peetero ne Yokaana wakati waabwe ne bababuuza nti: “Maanyi ki oba linnya ly’ani eribasobozesezza okukola kino?”  Awo Peetero ng’ajjudde omwoyo omutukuvu,+ n’abagamba nti: “Mmwe abafuzi n’abakadde,  bwe tuba nga leero tubuuzibwa ebikwata ku kikolwa ekirungi kye tukoledde omusajja ono abadde omulema,+ era nga mwagala okumanya awonyezza omusajja ono, 10  ka kimanyibwe eri mmwenna n’eri abantu ba Isirayiri bonna nti omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe nga mulamu bulungi, awonyezeddwa mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi,+ gwe mwakomerera ku muti+ naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu.+ 11  Lino ‘lye jjinja mmwe abazimbi lye mwanyooma erifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’*+ 12  Ate era tewali mulokozi mulala wabula ye, kubanga tewali linnya ddala+ wansi w’eggulu eriweereddwa abantu mwe tuyinza okufunira obulokozi.”+ 13  Awo bwe baalaba Peetero ne Yokaana nga boogera n’obuvumu, era ne bategeera nti tebaali bayigirize* era nti bantu ba bulijjo,+ ne beewuunya. Ne bakitegeera nti baabeeranga ne Yesu.+ 14  Bwe baatunuulira omusajja awonyezeddwa ng’ayimiridde nabo,+ ne babulwa eky’okwogera.+ 15  Awo ne babalagira okufuluma ekisenge Olukiiko Olukulu mwe lwatuulanga, ne batandika okuteesa, 16  nga bagamba nti: “Abantu bano tubakolere ki?+ Kubanga bakoze ekintu ekitali kya bulijjo ekirabiddwa abatuuze b’omu Yerusaalemi bonna,+ era tetuyinza kukiwakanya. 17  Naye okusobola okukiziyiza okweyongera okumanyika mu bantu, ka tubatiisetiise era tubagambe baleme kuddamu kwogera na muntu yenna mu linnya eryo.”+ 18  Awo ne babayita, ne babalagira obutaddamu kwogera kintu kyonna oba okuyigiriza mu linnya lya Yesu. 19  Naye Peetero ne Yokaana ne babagamba nti: “Bwe kiba nga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe mu kifo ky’okuwulira Katonda, mwesalirewo. 20  Naye ffe tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.”+ 21  Oluvannyuma lw’okweyongera okubatiisatiisa, baabata, olw’okuba tebaalina kye basinziirako kubabonereza, era baali batya abantu+ kubanga bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyali kibaddewo. 22  Omusajja oyo eyali awonyezeddwa mu ngeri ey’ekyamagero yali asussa emyaka 40. 23  Bwe baasumululwa, baagenda eri bakkiriza bannaabwe ne bababuulira ebintu bakabona abakulu n’abakadde bye baali babagambye. 24  Bwe baabiwulira, ne basabira wamu Katonda nga bagamba nti: “Mukama Afuga Byonna, ggwe wakola eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu,+ 25  era ng’oyitira mu mwoyo omutukuvu wayogerera mu jjajjaffe Dawudi+ omuweereza wo nti: ‘Lwaki amawanga geegugunga era abantu ne balowooza ebintu ebitaliimu nsa? 26  Bakabaka b’ensi beeteekateeka, n’abafuzi baakuŋŋaana wamu okulwanyisa Yakuwa* n’oyo gwe yafukako amafuta.’*+ 27  Mazima ddala Kerode ne Pontiyo Piraato+ nga bali wamu n’abantu ab’amawanga era n’ab’omu Isirayiri, baakuŋŋaana wamu mu kibuga kino okulwanyisa omuweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta.+ 28  Baakuŋŋaana wamu okukola ekyo kye wagamba nti kijja kubaawo,+ era wakituukiriza n’amaanyi go okusinziira ku kigendererwa kyo. 29  Kaakano Ai Yakuwa,* laba okutiisatiisa kwabwe, era sobozesa abaddu bo okweyongera okwogera ekigambo kyo n’obuvumu, 30  era weeyongere okugolola omukono gwo okuwonya n’okukola obubonero n’ebyamagero+ okuyitira mu linnya ly’omuweereza wo omutukuvu, Yesu.”+ 31  Bwe baamala okusaba,* ekifo kye baali bakuŋŋaaniddemu ne kikankana, bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu+ ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.+ 32  Waaliwo abantu bangi nnyo abakkiriza, era baali bassa kimu; tewaali n’omu ku bo eyagamba nti ebintu bye yalina byali bibye yekka, naye baagabananga buli kimu.+ 33  Ate era abayigirizwa beeyongera okuwa obujulirwa ku kuzuukira kwa Mukama waffe Yesu+ n’amaanyi mangi, era ekisa kya Katonda eky’ensusso kyali ku bonna. 34  Mu butuufu, tewali n’omu ku bo eyali mu bwetaavu,+ kubanga abo bonna abaabanga n’ebibanja oba ennyumba baabitundanga, ssente ezaavangamu ne bazireeta 35  ne bazikwasa abatume.+ Abatume ne bazigabira buli omu okusinziira ku bwetaavu bwe.+ 36  Yusufu Omuleevi eyazaalibwa e Kupulo, abatume gwe baatuuma erinnya Balunabba,+ (eritegeeza ‘oyo azzaamu abalala amaanyi’), 37  yalina ekibanja n’akitunda, era ssente ezaavaamu n’azikwasa abatume.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omutwe gw’ensonda.”
Kwe kugamba, tebaayigirizibwa mu masomero ga bya ddiini; tekitegeeza nti baali tebamanyi kusoma.
Oba, “ne Kristo we.”
Oba, “okwegayirira ennyo.”