Yokaana 8:12-59

  • Kitaawe amuwaako obujulirwa (12-30)

    • Yesu, ‘ekitangaala ky’ensi’ (12)

  • Abaana ba Ibulayimu (31-41)

    • “Amazima gajja kubafuula ba ddembe” (32)

  • Abaana b’Omulyolyomi (42-47)

  • Yesu ne Ibulayimu (48-59)

8  12  Awo Yesu n’addamu okugamba nti: “Nze kitangaala ky’ensi.+ Buli angoberera tajja kutambulira mu kizikiza, naye ajja kubeera n’ekitangaala+ eky’obulamu.” 13  Abafalisaayo ne bamugamba nti: “Ggwe weewaako obujulirwa; obujulirwa bwo si bwa mazima.” 14  Yesu n’abaddamu nti: “Wadde nga nneewaako obujulirwa, obujulirwa bwange bwa mazima, kubanga mmanyi gye nnava ne gye ŋŋenda.+ Naye mmwe gye nnava ne gye ŋŋenda temumanyiiyo. 15  Musala omusango nga musinziira ku ndabika ya kungulu;*+ nze sisalira muntu yenna musango. 16  Era ne bwe nsala omusango, omusango gwe mba nsaze guba gwa mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.+ 17  Kyawandiikibwa ne mu Mateeka gammwe nti: ‘Obujulirwa obw’abantu ababiri buba bwa mazima.’+ 18  Nze nneewaako obujulirwa, era ne Kitange eyantuma naye ampaako obujulirwa.”+ 19  Awo ne bamugamba nti: “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti: “Temummanyi era ne Kitange temumumanyi.+ Singa mubadde mummanyi ne Kitange mwandibadde mumumanyi.”+ 20  Ebyo yabyogera ali mu kifo awali eggwanika+ bwe yali ayigiriza mu yeekaalu. Naye tewali n’omu yamukwata kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.+ 21  Awo n’addamu n’abagamba nti: “Ŋŋenda era mujja kunnoonya, kyokka mujja kufiira mu bibi byammwe.+ Gye ŋŋenda temusobola kujjayo.”+ 22  Abayudaaya ne batandika okugamba nti: “Agenda kwetta? Kubanga agambye nti, ‘Gye ŋŋenda temusobola kujjayo.’” 23  N’abagamba nti: “Mmwe muva wansi; nze nva waggulu.+ Mmwe muli ba mu nsi muno, nze siri wa mu nsi muno. 24  Kyenvudde mbagamba nti, mujja kufiira mu bibi byammwe. Bwe muba nga temukkiriza nti ye nze, mujja kufiira mu bibi byammwe.” 25  Awo ne bamubuuza nti: “Ggwe ani?” Yesu n’abagamba nti: “Ye lwaki njogera nammwe? 26  Nnina ebintu bingi eby’okuboogerako, era nnina ensonga nnyingi ez’okulamula. Mu butuufu, Oyo eyantuma wa mazima, era ebintu bye nnawulira okuva gy’ali bye njogera mu nsi.”+ 27  Tebaakitegeera nti yali ayogera ku Kitaawe. 28  Awo Yesu n’agamba nti: “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’omuntu,+ awo mulimanya nti ye nze,+ era nti sirina kintu kyonna kye nkola ku bwange;+ naye ebintu bino mbyogera nga Kitange bwe yanjigiriza. 29  Oyo eyantuma ali nange; tanjabuliranga, kubanga bulijjo nkola ebintu ebimusanyusa.”+ 30  Bwe yali ayogera ebintu ebyo, bangi baamukkiririzaamu. 31  Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaali bamukkirizza nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, 32  era mujja kumanya amazima,+ era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”+ 33  Ne bamuddamu nti: “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu era tetubeerangako baddu ba muntu yenna. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mujja kufuuka ba ddembe’?” 34  Yesu n’abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti, buli akola ekibi aba muddu wa kibi.+ 35  Ate era omuddu tabeera mu maka mirembe gyonna; omwana abeeramu emirembe gyonna. 36  N’olwekyo, singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe. 37  Nkimanyi nti muli bazzukulu ba Ibulayimu. Naye mwagala kunzita, olw’okuba temukkiriza bye njigiriza. 38  Njogera ebintu bye nnalaba nga ndi ne Kitange,+ naye mmwe mukola ebintu bye mwawulira okuva eri kitammwe.” 39  Ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Ibulayimu,+ mwandibadde mukola ebyo bye yakolanga. 40  Naye kati mwagala kunzita, nze omuntu ababuulidde amazima ge nnawulira okuva eri Katonda.+ Kino Ibulayimu teyakikola. 41  Mukola ebyo kitammwe by’akola.” Ne bamugamba nti: “Tetwazaalibwa mu bwenzi;* tulina Kitaffe omu, Katonda.” 42  Yesu n’abagamba nti: “Singa Katonda ye Kitammwe mwandibadde munjagala,+ kubanga nnava eri Katonda era ndi wano. Sajja ku bwange, naye Oyo ye yantuma.+ 43  Temutegeera bye njogera olw’okuba temwagala kukkiriza kigambo kyange. 44  Omulyolyomi ye kitammwe, era mwagala okukola ebyo by’ayagala.+ Oyo okuva ku lubereberye mussi,+ era teyanywerera mu mazima kubanga amazima tegamuliimu. Bw’ayogera obulimba aba ayogera ekituukagana n’ekyo ky’ali, kubanga mulimba era ye kitaawe w’obulimba.+ 45  Ku luuyi olulala, olw’okuba nze njogera mazima, temunzikiriza. 46  Ani ku mmwe alina ekibi ky’annumiriza? Bwe mba nga njogera mazima, lwaki temunzikiriza? 47  Oyo ava eri Katonda, awuliriza Katonda by’agamba.+ Mmwe temuwuliriza olw’okuba temuva eri Katonda.”+ 48  Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetuba batuufu bwe tugamba nti, ‘Oli Musamaliya+ era nti oliko dayimooni’?”+ 49  Yesu n’abaddamu nti: “Siriiko dayimooni, wabula mpa Kitange ekitiibwa, kyokka mmwe temumpa kitiibwa. 50  Naye nze seenoonyeza kitiibwa;+ Oyo akinoonya era alamula waali. 51  Mazima ddala mbagamba nti omuntu yenna bw’akwata ekigambo kyange taliraba kufa n’akatono.”+ 52  Abayudaaya ne bamugamba nti: “Kati tutegedde nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi, naye ggwe ogamba nti, ‘Omuntu yenna bw’akwata ekigambo kyange talirega ku kufa n’akatono.’ 53  Osinga jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Ne bannabbi baafa. Ggwe weeyita ani?” 54  Yesu n’abaddamu nti: “Bwe mba nga nneegulumiza, ekitiibwa kyange tekigasa. Kitange y’angulumiza,+ oyo gwe mugamba nti ye Katonda wammwe. 55  Kyokka mmwe temumumanyi,+ naye nze mmumanyi.+ Era bwe ŋŋamba nti simumanyi, mba mulimba nga mmwe. Naye mmumanyi, era nkolera ku kigambo kye. 56  Ibulayimu kitammwe yasanyuka nnyo olw’essuubi ery’okulaba olunaku lwange era yalulaba n’asanyuka.”+ 57  Awo Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ggwe atannaweza myaka 50 n’ogamba nti walaba Ibulayimu?” 58  Yesu n’abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannabaawo, nze nnaliwo.”+ 59  Awo ne bakwata amayinja okumukuba, naye Yesu ne yeekweka n’afuluma mu yeekaalu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “nga musinziira ku mitindo gy’abantu.”
Mu Luyonaani por·neiʹa. Laba Awanny.