Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 A2

By’Olina Okumanya ku Nkyusa Eno

Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ey’Olungereza yafulumizibwa mu 1950, ate Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza mu bulambalamba yafulumizibwa mu 1961. Okuva olwo Enkyusa ey’Ensi Empya evvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 120 era abantu bukadde na bukadde basobodde okuganyulwa mu nkyusa ya Bayibuli eyo evvuunuddwa mu ngeri entuufu era etegeerekeka obulungi.

Abavvuunuzi b’Enkyusa ey’Ensi Empya baakiraba nti kikulu nnyo okuvvuunula Bayibuli mu ngeri eneeganyula abantu abagisoma. Eyo ye nsonga lwaki ebintu bino wammanga byakolebwa mu nkyusa eno:

  • Okukozesa ebigambo abantu ab’omu kiseera kino bye bategeera. Ebigambo ebitakyakozesebwa nnyo mu lulimi Oluganda tetubikozesezza mu nzivuunula eno. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okukozesa ekigambo “akakumi” oba “obukumi,” mu nkyusa eno tukozesezza ekigambo “omutwalo” oba “emitwalo.” (Danyeri 7:10) Ate mu kifo ky’ekigambo “ettabaaza,” tukozesezza ekigambo “ettaala.”—Matayo 5:15.

    Enkyusa za Bayibuli ezimu ez’Oluganda zirina ebigambo bye zikozesa mu nnyiriri ezimu naye ng’ebigambo ebyo tebikyawa makulu ago leero mu nnyiriri ezo mwe bikozeseddwa. Eyo ye nsonga lwaki mu nkyusa eno tusazeewo okukozesa ebigambo ebiggyayo amakulu amatuufu mu nnyiriri ezo. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okukozesa ekigambo “kasiru,” tukozesezza ekigambo ‘atayogera’ (Matayo 9:32, 33); mu kifo ky’okukozesa ebigambo “eddalu,” ‘eby’ekyejo,’ oba “eby’amaanyi,” tukozesezza ebigambo “ebikolwa eby’obukambwe” oba “eby’ettemu” (Olubereberye 6:11; Ekyabalamuzi 9:24; Zabbuli 11:5); mu kifo ky’okukozesa ekigambo “okusanyusa,” tukozesezza ekigambo ‘okubudaabuda’ (Olubereberye 5:29; 2 Abakkolinso 1:3, 4); mu kifo ky’okukozesa ebigambo “okutuula mu nsi,” tukozesezza ebigambo ‘okubeera mu nsi’ (Olubereberye 47:27; Ekyamateeka 12:29); ate mu kifo ky’okukozesa ebigambo ‘okuyingira eri,’ tukozesezza ebigambo ‘okwegatta ne.’—Olubereberye 6:4; 16:2; Luusi 4:13.

  • Okutangaaza ku makulu g’ebigambo ebimu ebikozesebwa mu Bayibuli. Ebigambo ebimu ebikozesebwa mu Bayibuli z’Oluganda ebiseera ebimu biba byetaaga okunnyonnyolwa okusobola okutegeerekeka obulungi. Ng’ekyokulabirako, mu Bayibuli z’Oluganda ezimu, ekigambo ky’Olwebbulaniya neʹphesh n’eky’Oluyonaani psy·kheʹ byavvuunulwa nga “emmeeme.” Naye okusinziira ku lunyiriri ebigambo ebyo mwe biba bikozeseddwa, bisobola okutegeeza (1) omuntu, (2) obulamu bw’omuntu, (3) ebintu ebiramu, (4) ebintu omuntu bye yeegomba oba by’ayagala, oba (5) omuntu afudde. Okuva bwe kiri nti ekigambo “emmeeme” tekitera kukozesebwa nnyo mu Luganda, twasalawo okuvvuunula ebigambo ebyo eby’Olwebbulaniya n’Oluyonaani okusinziira ku makulu agali mu lunyiriri mwe kiri.—Olubereberye 1:20; 2:7; Eby’Abaleevi 19:28; Zabbuli 3:2; Engero 16:26; Matayo 6:25.

    Mu ngeri y’emu, mu Bayibuli mulimu ebigambo ebikozesebwa mu ngeri ey’akabonero. N’olwekyo, we kyali kyetaagisa, mu nkyusa eno twateekawo amakulu gaabyo. Ng’ekyokulabirako, ekigambo “ensigo” we kisangibwa nga kitegeeza nsigo yennyini, twakivvuunula nga “ensigo.” Naye ekigambo ekyo we kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero, gamba nga mu Zabbuli 7:9, mu Zabbuli 26:2, ne mu Okubikkulirwa 2:23, twateekawo amakulu ge kiwa mu nnyiriri ezo ate kyo ne tukiteeka mu bugambo obuli wansi. Mu nnyiriri ezo ekigambo “ensigo” kitegeeza “enneewulira ey’omunda ennyo” oba “ebirowoozo” by’omuntu.

    Ate era n’ekigambo “amasavu” kikozesebwa mu Bayibuli okutegeeza “amasavu” gennyini, naye ate oluusi kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero. Mu byawandiikibwa ebimu, gamba nga mu Ekyamateeka 32:14 ne mu Zabbuli 81:16, ekigambo ekyo kikozesebwa okutegeeza “ekyo ekisingayo obulungi.” N’olwekyo, mu nkyusa eno, twasalawo okuteekawo amakulu ge kiwa mu byawandiikibwa ng’ebyo.

    Ate era n’ekigambo “ejjembe” kikozesebwa mu Bayibuli okutegeeza “ejjembe” lyennyini, naye mu byawandiikibwa ebimu, gamba nga Yobu 16:15, ekigambo “ejjembe” kikozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza “amaanyi” oba “ekitiibwa.” Bwe kityo, mu nkyusa eno twasalawo okuteekawo amakulu g’ekigambo ekyo mu byawandiikibwa ebyo, era ekigambo “ejjembe” ne tukissa mu bugambo obuli wansi.

    Ebigambo by’Olwebbulaniya ebisobola okuvvuunulwa obutereevu nga “okuva mu kiwato” mu nkyusa eno bivvuunuddwa nga “okuva mu ggwe” oba ‘okuzaalirwa.’—Olubereberye 35:11; 1 Bassekabaka 8:19.

    Ebigambo ebimu ebikozesebwa mu nkyusa za Bayibuli ez’Oluganda ezimu, mu nkyusa eno, bitangaaziddwako. Ng’ekyokulabirako, enkyusa za Bayibuli ezimu zikozesa ebigambo “alina omukisa” oba “balina omukisa,” naddala mu Zabbuli, mu Engero, ne mu kuyigiriza kwa Yesu okw’oku Lusozi. Kyokka, ekigambo “essanyu” kye kiggyayo obulungi amakulu agali mu kigambo ky’Olwebbulaniya ba·rakhʹ n’ekigambo ky’Oluyonaani eu·lo·geʹo, ennimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa. Ate era, ebigambo “alina omukisa” oba “balina omukisa” essira birissa ku kuweebwa emikisa naye ng’ate ebigambo ‘alina essanyu’ essira birissa ku ebyo ebiva mu kufuna emikisa okuva eri Katonda. N’olwekyo, enkyusa eno ekozesa ebigambo “alina essanyu” oba “balina essanyu” okusobola okuggyayo obulungi amakulu agali mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa.—Zabbuli 2:12; Engero 8:32; Matayo 5:3.

  • Okuwandiika ebigambo nga bitandika n’ennukuta ennene oba entono. Okuva bwe kiri nti Bayibuli eraga nti omwoyo omutukuvu si muntu naye nti ge maanyi Katonda g’akozesa, mu nkyusa eno, ebigambo “omwoyo omutukuvu” tetubiwandiise nga tutandisa nnukuta nnene, ng’enkyusa za Bayibuli ezimu bwe zikola. (Matayo 3:16; 28: 19) Ate era okusobola okwawula amateeka Katonda ge yawa okuyitira mu Musa ku mateeka amalala agoogerwako mu Bayibuli, mu nkyusa eno, amateeka agaba googerwako bwe gaba ago Katonda ge yawa ng’ayitira mu Musa, ekigambo amateeka tukiwandiise nga kitandika n’ennukuta ennene.—Matayo 23:23; Abaruumi 10:4.

Ebirala by’olina okumanya ku nkyusa eno:

Mu nkyusa eno mulimu obugambo obuli wansi obugwa mu biti bino wammanga:

  • “Oba” Akagambo ako kaba kalaga engeri endala ebigambo by’Olwebbulaniya, Olulamayiki, oba Oluyonaani gye biyinza okuvvuunulwamu okusobola okuggyayo amakulu ge gamu.—Olubereberye 1:2, obugambo obuli wansi ku kigambo “omwoyo”; Yoswa 5:4, “abasajja bonna abalwanyi.”

  • “Era kiyinza okuvvuunulwa” Obugambo obwo buba bulaga engeri endala ekigambo oba ebigambo gye biyinza okuvvuunulwamu kyokka ng’engeri eyo nayo esobola okuba entuufu.—Olubereberye 21:6, “anaasekera wamu nange”; Zekkaliya 14:21, “Mukanani.”

  • “Obut.” Okulaga engeri ekigambo oba ebigambo by’Olwebbulaniya, Olulamayiki, oba Oluyonaani gye biyinza okuvvuunulwa obutereevu.—Olubereberye 30:22, “olubuto”; Okuva 32:9, “bakakanyavu.”

  • Okulaga amakulu n’okunnyonnyola ebisingawo Okulaga amakulu g’amannya (Olubereberye 3:17, “Adamu”; Okuva 15:23, “Mala”); okunnyonnyola ebikwata ku bipimo (Olubereberye 6:15, “emikono”); ebintu ebirala eby’omugaso ebiri mu Ebyongerezeddwako n’Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu.—Olubereberye 37:35, “Emagombe”; Matayo 5:22, “Ggeyeena.”

Ekitundu ekiri ku ntandikwa ekirina omutwe “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda,” kirimu enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Oluvannyuma lw’ekitabo ky’Okubikkulirwa waliwo “Olukalala lw’Ebitabo bya Bayibuli,” “Olukalala lw’Ebigambo Ebimu Ebiri mu Bayibuli,” ne “Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu.” Awannyonnyolerwa Ebigambo wayamba omuntu okutegeera amakulu g’ebimu ku bigambo ebikozesebwa mu Bayibuli. Mu Ebyongerezeddwako A mulimu ebitundu bino: “Obulagirizi Abavvuunula Bayibuli Bwe Baagoberera,” “ By’Olina Okumanya ku Nkyusa Eno,” “Engeri Bayibuli Gye Yatutuukako,” “Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya,” “Erinnya lya Katonda mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani,” “Ekipande: Bannabbi ne Bakabaka ba Yuda ne Isirayiri,” ne “Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi.” Mu Ebyongerezeddwako B mulimu mmaapu, ebipande, n’ebintu ebirala eby’omugaso.

Ku ntandikwa ya buli kitabo kuliko ekitundu ekiraga ebiri mu kitabo ekyo mu bufunze. Ate ku buli lupapula lw’ekitabo kya Bayibuli kuliko ebyawandiikibwa ebiri mu muwaatwa.