Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

A7-A

Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza Bwe

Ebintu nga Bwe Byagenda Biddiriŋŋana mu Njiri Ennya

Ku buli kipande kuliko mmaapu eraga eŋŋendo za Yesu n’ebifo bye yatuukamu ng’abuulira. Obusaale obuli ku mmaapu tebulaga makubo gennyini mwe yayita wabula bulaga engeri gye yatambulamu. Ennukuta “a.” etegeeza “awo nga mu.”

Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza Bwe

EKISEERA

EKIFO

EKYALIWO

MATAYO

MAKKO

LUKKA

YOKAANA

3 E.E.T.

Yerusaalemi, yeekaalu

Malayika Gabulyeri abuulira Zekkaliya ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

   

1:5-25

 

a. 2 E.E.T.

Nazaaleesi; Buyudaaya

Malayika Gabulyeri abuulira Maliyamu ku kuzaalibwa kwa Yesu; Maliyamu akyalira Erizabeesi

   

1:26-56

 

2 E.E.T.

Ebitundu bya Buyudaaya eby’ensozi

Yokaana Omubatiza azaalibwa n’atuumibwa erinnya; Zekkaliya ayogera obunnabbi; Yokaana wa kubeera mu ddungu

   

1:57-80

 

2 E.E.T., a. Okit. 1

Besirekemu

Yesu azaalibwa; “Kigambo yafuuka omuntu”

1:1-25

 

2:1-7

1-14

Okumpi ne Besirekemu; Besirekemu

Malayika alangirira amawulire amalungi eri abasumba; bamalayika batendereza Katonda; abasumba bagenda okulaba omwana

   

2:8-20

 

Besirekemu; Yerusaalemi

Yesu akomolebwa (ku lunaku 8); bazadde be bamutwala mu yeekaalu (oluvannyuma lw’ennaku 40)

   

2:21-38

 

1 E.E.T. oba 1 E.E.

Yerusaalemi; Besirekemu; Misiri; Nazaaleesi

Abalaguzisa emmunyeenye; Yesu ne bazadde be baddukira e Misiri; Kerode atta abaana ab’obulenzi; bakomawo okuva e Misiri ne babeera e Nazaaleesi

2:1-23

 

2:39, 40

 

12 E.E., Okuyitako

Yerusaalemi

Yesu nga wa myaka 12 abuuza abayigiriza ebibuuzo mu yeekaalu

   

2:41-50

 
 

Nazaaleesi

Addayo e Nazaaleesi; yeeyongera okugondera bazadde be; ayiga okubajja; Maliyamu azaala abalenzi abalala bana, n’abawala (Mat 13:55, 56; Mak 6:3)

   

2:51, 52

 

29, ku ntandikwa

Eddungu, Omugga Yoludaani

Yokaana Omubatiza atandika obuweereza bwe

3:1-12

1:1-8

3:1-18

1:6-8