Zabbuli 46:1-11
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Mu ngeri ya Alamosi.* Oluyimba.
46 Katonda kye kiddukiro kyaffe era ge maanyi gaffe,+Bulijjo abaawo okutuyamba nga tuli mu buzibu.+
2 Eyo ye nsonga lwaki tetujja kutya, ensi ne bw’eneekyuka,Ensozi ne bwe zinaagwa mu buziba bw’ennyanja,+
3 Amazzi gaayo ne bwe ganaayira ne gabimba,+Ensozi ne bwe zinaayuuguuma olw’okwesiikuula kwayo. (Seera)
4 Waliwo omugga ogulina emikutu egisanyusa abantu b’omu kibuga kya Katonda,+Weema ey’ekitiibwa entukuvu ey’oyo Asingayo Okuba Waggulu.
5 Katonda ali mu kibuga;+ tekiyinza kuwambibwa.
Katonda ajja kujja akiyambe ng’obudde busaasaana.+
6 Amawanga gaali mu luyoogaano, obwakabaka bwawangulwa;Yayogera mu ddoboozi erya waggulu ensi n’esaanuuka.+
7 Yakuwa ow’eggye ali naffe;+Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
8 Mujje mulabe ebikolwa bya Yakuwa,Mulabe engeri gy’akoze ebyewuunyisa mu nsi.
9 Amalawo entalo mu nsi yonna.+
Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu;Ayokya amagaali ag’olutalo.*
10 “Mujeemulukuke mumanye nti nze Katonda.
Nja kugulumizibwa mu mawanga;+Nja kugulumizibwa mu nsi.”+
11 Yakuwa ow’eggye ali naffe;+Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe.+ (Seera)