Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 10

Bisuubizo Ki Ebiri mu Bayibuli Ebikwata ku Biseera eby’Omu Maaso?

“Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”

Zabbuli 37:29

“Ensi ebeerawo emirembe n’emirembe.”

Omubuulizi 1:4

“Alimirira ddala okufa emirembe gyonna,era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alisangula amaziga mu maaso gonna.”

Isaaya 25:8

“Mu kiseera ekyo amaaso ga bamuzibe galizibuka, n’amatu ga bakiggala galiwulira. Mu kiseera ekyo omulema alibuuka ng’empeewo,n’olulimi lw’oyo atasobola kwogera lulireekaana olw’essanyu. Kubanga amazzi galifukumuka mu lukoola, n’emigga mu ddungu.”

Isaaya 35:5, 6

“Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”

Okubikkulirwa 21:4

“Balizimba ennyumba ne bazibeeramu,era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’abeeramu, era tebalisimba abalala ne balya. Kubanga ennaku z’abantu bange ziriba ng’ennaku z’omuti,era abalonde bange balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe.”

Isaaya 65:21, 22