Engero 26:1-28

  • Enneeyisa y’abagayaavu (13-16)

  • Teweeyingiza mu luyombo lw’abalala (17)

  • Weewale okusaagasaaga (18, 19)

  • Awatali nku tewaba muliro (20, 21)

  • Ebigambo by’omuntu awaayiriza biringa emmere ewooma (22)

26  Ng’omuzira bwe gutasaana kugwa mu kiseera eky’omusana, era ng’enkuba bw’etasaana kutonnya mu kiseera eky’amakungula,N’ekitiibwa tekisaana kuweebwa musirusiru.+   Ng’ekinyonyi bwe kitaddukira bwereere, era ng’akataayi bwe katabuukira bwereere,N’ekikolimo tekibaawo awatali nsonga.*   Embalaasi eweweenyulwa kibooko, endogoyi esibibwa nkoba,+N’abasirusiru bakubibwa emiggo mu mugongo.+   Omusirusiru tomuddangamu ng’obusirusiru bwe bwe buli,Oleme okumufaanana.*   Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe bwe buli,Aleme okulowooza nti wa magezi.+   Akwasa omusirusiru ensonga zeAba ng’omuntu alemaza ebigere bye ne yeereetera emitawaana.   Engero eziva mu kamwa k’abasirusiruZiringa amagulu g’omulema agalebera.*+   Okuwa omusirusiru ekitiibwaKuba ng’okusibira ejjinja mu nvuumuulo.+   Engero eziva mu kamwa k’abasirusiruZiba ng’ekimera ekiriko amaggwa ekiri mu mukono gw’omutamiivu. 10  Akozesa omusirusiru oba abo ababa bayitawoAba ng’omulasi w’obusaale amala galasa buli ky’asanze.* 11  Omusirusiru akola eby’obusirusiru enfunda n’enfunda,Aba ng’embwa erya ebisesemye byayo.+ 12  Wali olabye omuntu alowooza nti wa magezi?+ Omusirusiru wandimusuubira okukyusaamu okusinga omuntu ng’oyo. 13  Omugayaavu agamba nti: “Mu kkubo mulimu empologoma,Mu luguudo mulimu empologoma!”+ 14  Omugayaavu yeekyusiza ku kitanda kye,Ng’oluggi bwe lwekyusiza ku ppata zaalwo.+ 15  Omugayaavu ateeka omukono gwe mu kibya,Naye n’abulwa amaanyi agaguzza ku mumwa.+ 16  Omugayaavu alowooza nti wa mageziOkusinga abantu omusanvu abaddamu mu ngeri ey’amagezi. 17  Omuntu aba ayitawo n’asunguwala olw’oluyombo* olutali lulweAba ng’omuntu asika amatu g’embwa.+ 18  Ng’omulalu akasuka eby’okulwanyisa eby’omuliro n’obusaale obutta, 19  Bw’atyo bw’ali omuntu alimba munne n’agamba nti, “Mbadde nsaaga!”+ 20  Bwe wataba nku, omuliro guzikira,Bwe watabaawo awaayiriza, okuyomba kuggwaawo.+ 21  Ng’amanda n’enku bwe bireetera omuliro okwaka,N’omuyombi bw’atyo akoleeza oluyombo.+ 22  Ebigambo by’omuntu awaayiriza biringa emmere ewooma;*Bimirwa ne bikka mu lubuto.+ 23  Ebigambo ebyoleka omukwano ebiva mu mutima omubiBiringa ffeeza asiigiddwa ku luggyo.+ 24  Atayagala balala akikweka n’emimwa gyeNaye nga mu mutima gwe mulimu obulimba. 25  Ne bw’ayogeza ekisa, tomwesiganga,Kubanga omutima gwe gulimu ebintu musanvu ebibi ennyo.* 26  Ne bw’alimbalimba n’akweka obukyayi bwe,Ebibi by’akola bijja kwanikibwa mu kibiina. 27  Asima ekinnya alikigwamu,N’oyo ayiringisa ejjinja, lirimuddira.+ 28  Olulimi olulimba terwagala abo be lulumya,N’akamwa akawaanawaana kaleeta emitawaana.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “N’ekikolimo ekitagwanira muntu tekituukirira.”
Oba, “Oleme okumwenkana.”
Oba, “agalengejja.”
Oba, “atuusa ebisago ku buli muntu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ne yeeyingiza mu luyombo.”
Oba, “biringa ebintu ebimiribwa n’amaddu.”
Oba, “Kubanga omutima gwe mubi nnyo.”