Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engero

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Ekigendererwa ky’engero (1-7)

    • Akabi akali mu kukolagana n’abantu ababi (8-19)

    • Amagezi aga nnamaddala galeekaanira mu lujjudde (20-33)

  • 2

    • Omugaso gw’amagezi (1-22)

      • Noonya amagezi ng’eby’obugagga ebyakwekebwa (4)

      • Obusobozi bw’okulowooza obulungi, kya bukuumi (11)

      • Obugwenyufu buvaamu emitawaana (16-19)

  • 3

    • Beera wa magezi, weesige Yakuwa (1-12)

      • Ssangamu Yakuwa ekitiibwa ng’omuwa ebintu byo eby’omuwendo (9)

    • Amagezi galeeta essanyu (13-18)

    • Amagezi gawa obukuumi (19-26)

    • Okweyisa obulungi eri abalala (27-35)

      • Kolera abalala ebirungi bwe kiba kisoboka (27)

  • 4

    • Eby’amagezi taata by’ayigiriza abaana be (1-27)

      • Mu byonna by’ofuna, funa amagezi (7)

      • Weewale ekkubo ly’ababi (14, 15)

      • Ekkubo ly’abatuukirivu lyeyongera okutangaala (18)

      • “Kuumanga omutima gwo” (23)

  • 5

    • Okulabulwa ku bakazi abagwenyufu (1-14)

    • Sanyukanga ne mukazi wo (15-23)

  • 6

    • Weegendereze nga weeyimirira omuntu omulala (1-5)

    • “Ggwe omugayaavu, genda eri enkuyege” (6-11)

    • Omusajja omubi ataliiko ky’agasa (12-15)

    • Ebintu musanvu Yakuwa by’akyawa (16-19)

    • Weekuume abakazi ababi (20-35)

  • 7

    • Kwata amateeka ga Katonda obeere mulamu (1-5)

    • Omuvubuka atalina bumanyirivu asendebwasendebwa (6-27)

      • “Ng’ente gye batwala okusala” (22)

  • 8

    • Amagezi googera (1-36)

      • ‘Nze ow’olubereberye mu mirimu gya Katonda’ (22)

      • ‘Nnali ne Katonda ng’omukozi omukugu’ (30)

      • “Nnayagala nnyo abaana b’abantu” (31)

  • 9

    • Amagezi aga nnamaddala gakoowoola (1-12)

      • “Nja kusobozesa ennaku zo okuba ennyingi” (11)

    • Omukazi omusirusiru akoowoola (13-18)

      • “Amazzi amabbe gawooma” (17)

  • ENGERO ZA SULEMAANI (10:1–24:34)

    • 10

      • Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe  (1)

      • Emikono emikozi gigaggawaza (4)

      • Mu bigambo ebingi temubula kusobya (19)

      • Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza (22)

      • Okutya Yakuwa kuwangaaza omuntu (27)

    • 11

      • Abeetoowaze baba n’amagezi (2)

      • Kyewaggula aleetera abalala okuzikirira (9)

      • “Awali abawi b’amagezi abangi ebintu bitambula bulungi” (14)

      • Omugabi ajja kugaggawala (25)

      • Eyeesiga obugagga bwe ajja kugwa (28)

    • 12

      • Atayagala kunenyezebwa talina magezi (1)

      • “Ayogera nga tasoose kulowooza, ebigambo bye bifumita ng’ekitala” (18)

      • Abaleetawo emirembe baba basanyufu (20)

      • Yakuwa akyawa emimwa egyogera eby’obulimba (22)

      • Okweraliikirira kwennyamiza omutima (25)

    • 13

      • Abaagala okubuulirirwa baba ba magezi (10)

      • Ekisuubirwa ekirwawo kirwaza omutima (12)

      • Omubaka omwesigwa aleeta ebirungi (17)

      • Okutambula n’ab’amagezi kifuula omuntu ow’amagezi (20)

      • Okukangavvula kiraga okwagala (24)

    • 14

      • Omutima gumanyi ennaku yaagwo (10)

      • Ekkubo erirabika ng’eddungi litwala mu kufa (12)

      • Atalina bumanyirivu akkiriza buli kigambo (15)

      • Omugagga aba n’emikwano mingi (20)

      • Omutima omukkakkamu guwa omubiri obulamu (30)

    • 15

      • Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi (1)

      • Amaaso ga Yakuwa galaba buli wamu (3)

      • Essaala z’abagolokofu zisanyusa Katonda (8)

      • Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka (22)

      • Fumiitiriza nga tonnaddamu (28)

    • 16

      • Yakuwa yeekenneenya ebiruubirirwa (2)

      • Byonna by’okola bikwase Yakuwa (3)

      • Minzaani entuufu ziva eri Yakuwa (11)

      • Amalala gavaamu okugwa (18)

      • Envi ngule ya kitiibwa (31)

    • 17

      • Tosasula kibi olw’ekirungi (13)

      • Ovangawo ng’oluyombo terunnatandika (14)

      • Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna (17)

      • “Omutima omusanyufu ddagala ddungi” (22)

      • Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera (27)

    • 18

      • Eyeeyawula yeefaako yekka era taba wa magezi (1)

      • Erinnya lya Yakuwa kigo kya maanyi (10)

      • Obugagga bukuumi bwa bulimba (11)

      • Kya magezi okuwuliriza enjuyi zombi (17)

      • Ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda (24)

    • 19

      • Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala (11)

      • Omukazi omuyombi alinga ennyumba etonnya (13)

      • Omukyala omutegeevu ava eri Yakuwa (14)

      • Gunjula omwana wo nga wakyaliwo essuubi (18)

      • Okuwuliriza okubuulirirwa kya magezi (20)

    • 20

      • Omwenge mukudaazi (1)

      • Abagayaavu tebalima mu budde obunnyogovu (4)

      • Ebirowoozo by’omuntu biringa amazzi ag’ebuziba (5)

      • Okulabulwa ku kwanguyiriza okweyama (25)

      • Ekitiibwa ky’abavubuka ge maanyi gaabwe (29)

    • 21

      • Yakuwa aluŋŋamya omutima gwa kabaka (1)

      • Obwenkanya businga ssaddaaka (3)

      • Obunyiikivu buvaamu ebirungi (5)

      • Oyo atawuliriza munaku naye taddibwamu (13)

      • Si kya magezi okuwakanya Yakuwa (30)

    • 22

      • Erinnya eddungi lisinga eby’obugagga (1)

      • Ayigirizibwa ng’akyali muto aganyulwa obulamu bwe bwonna (6)

      • Omugayaavu atya empologoma eri ebweru (13)

      • Okukangavvula kumalawo obusirusiru (15)

      • Omukozi omulungi akolera bakabaka (29)

    • 23

      • Kozesa amagezi ng’oyitiddwa ku kijjulo (2)

      • Tonoonya bya bugagga (4)

      • Eby’obugagga bisobola okubuuka ne bigenda (5)

      • Tobanga mu abo abeekamirira omwenge (20)

      • Omwenge gubojja ng’omusota (32)

    • 24

      • Tokwatirwanga bantu babi buggya (1)

      • Amagezi ge gazimba ennyumba (3)

      • Omutuukirivu ne bw’agwa ayimuka (16)

      • Teweesasuzanga (29)

      • Okwebaka kuleeta obwavu (33, 34)

  • ENGERO ZA SULEMAANI EZAAKOPPOLOLWA ABASAJJA BA KABAKA KEEZEEKIYA (25:1–29:27)

    • 25

      • Obutaasanguza byama (9)

      • Ebigambo ebyogerwa mu kiseera ekituufu (11)

      • Obutakyalakyala (17)

      • Okutuuma amanda ku mutwe gw’omulabe wo (21, 22)

      • Amawulire amalungi gaba ng’amazzi agannyogoga (25)

    • 26

      • Enneeyisa y’abagayaavu (13-16)

      • Teweeyingiza mu luyombo lw’abalala (17)

      • Weewale okusaagasaaga (18, 19)

      • Awatali nku tewaba muliro (20, 21)

      • Ebigambo by’omuntu awaayiriza biringa emmere ewooma (22)

    • 27

      • Okuwabulwa ow’omukwano kiganyula (5, 6)

      • Mwana wange, sanyusa omutima gwange (11)

      • Ekyuma kiwagala ekyuma (17)

      • Manya ekisibo kyo (23)

      • Obugagga tebuba bwa lubeerera (24)

    • 28

      • Okusaba kw’abatagondera mateeka kwa muzizo (9)

      • Eyeenenya asaasirwa (13)

      • Ayagala okugaggawala amangu tabulako kya kunenyezebwa (20)

      • Okunenyezebwa kusinga okuwaanibwawaanibwa (23)

      • Ow’omutima omugabi taabenga na ky’ajula (27)

    • 29

      • Omwana atagambwako aswaza (15)

      • Awatali kuluŋŋamizibwa Katonda, abantu bakola nga bwe baagala (18)

      • Omuntu ow’obusungu awakula ennyombo (22)

      • Omwetoowaze afuna ekitiibwa (23)

      • Okutya abantu kyambika (25)

  • 30

    • EBIGAMBO BYA AGULI (1-33)

      • Tompa bwavu wadde obugagga (8)

      • Ebintu ebitamatira (15, 16)

      • Ebintu ebizibu okutegeera (18, 19)

      • Omukazi omwenzi (20)

      • Ebisolo ebirina amagezi agaabitonderwamu (24)

  • 31

    • EBIGAMBO BYA KABAKA LEMWERI (1-31)

      • Ani ayinza okuzuula omukyala omulungi? (10)

      • Mutetenkanya era mukozi (17)

      • Ebigambo bye bya kisa (26)

      • Omwami n’abaana bamutendereza(28)

      • Okusikiriza n’obulungi biggwaawo mangu (30)