Engero 22:1-29

  • Erinnya eddungi lisinga eby’obugagga (1)

  • Ayigirizibwa ng’akyali muto aganyulwa obulamu bwe bwonna (6)

  • Omugayaavu atya empologoma eri ebweru (13)

  • Okukangavvula kumalawo obusirusiru (15)

  • Omukozi omulungi akolera bakabaka (29)

22  Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi;+Okussibwamu ekitiibwa* kisinga ffeeza ne zzaabu.   Abagagga n’abaavu kino kye bafaananya:* Bonna Yakuwa ye yabatonda.+   Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka,Naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.   Obwetoowaze n’okutya YakuwaBivaamu obugagga n’ekitiibwa n’obulamu.+   Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’abatali bagolokofu,Naye oyo ayagala obulamu bwe abyewala.+   Yigiriza omwana* ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu;+Ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.+   Omugagga y’afuga omwavu,Era oyo eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.+   Oyo asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,+Era omuggo gw’obusungu bwe gujja kuggwaawo.+   Omuntu omugabi* ajja kuweebwa emikisa,Kubanga abaavu abawa ku mmere ye.+ 10  Gobawo omunyoomi,Ennyombo zijja kuggwaawo,Era enkaayana* n’okuvuma bijja kukoma. 11  Omuntu ayagala omutima omulongoofu era ayogeza ekisaAjja kufuuka mukwano gwa kabaka.+ 12  Amaaso ga Yakuwa gakuuma okumanya,Naye asaanyaawo ebigambo by’ab’enkwe.+ 13  Omugayaavu agamba nti: “Ebweru eriyo empologoma! Ejja kunzitira mu luguudo!”+ 14  Akamwa k’omukazi omwenzi kinnya kiwanvu.+ Oyo Yakuwa gw’asalidde omusango alikigwamu. 15  Obusirusiru buba mu mutima gw’omwana,*+Naye omuggo gubuggyamu.+ 16  Oyo akumpanya omwavu ye yeegaggawaze,+N’oyo agabira abagagga ebirabo,Bajja kwavuwala. 17  Tega okutu owulire ebigambo ab’amagezi bye boogera,+Osobole okumanya bye nkuyigiriza,+ 18  Kubanga kiba kirungi okubikuumira mu mutima gwo,+Osobole okubyogerangako.+ 19  Nkunnyonnyodde ebintu leeroOsobole okussa obwesige mu Yakuwa. 20  NkuwandiikiddeOkukubuulirira n’okubaako bye nkuyigiriza, 21  Okukuyigiriza ebigambo ebituufu era ebyesigika,Osobole okuddayo n’obubaka obutuufu eri oyo eyakutuma. 22  Tonyaganga mwavu olw’okuba mwavu,+Era tonyigiririzanga munaku mu mulyango gw’ekibuga,+ 23  Kubanga Yakuwa ajja kukakasa nti balamulwa mu bwenkanya,+Era ajja kuzikiriza abo ababanyaga. 24  Tokolagananga na muntu wa busungu,Oba oyo ow’ekiruyi, 25  Sikulwa ng’oyiga emize gyeN’ogwa mu kyambika.+ 26  Tobanga mu abo abakwatagana mu ngalo okukakasa endagaano,Abeeyimirira abo ababa beewoze amabanja.+ 27  Bw’oliremwa okusasula,Balitwala ekitanda kyo kw’osula! 28  Tojjululanga kabonero ak’edda akalamba olusalosaloBajjajjaabo ke bassaawo.+ 29  Olabye omusajja eyakuguka mu mulimu gwe? Ajja kuyimirira mu maaso ga bakabaka;+Tajja kuyimirira mu maaso g’abantu aba bulijjo.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Okusiimibwa.”
Obut., “basisinkana.”
Oba, “omuvubuka.”
Obut., “Ow’eriiso eddungi.”
Oba, “emisango.”
Oba, “gw’omuvubuka.”