Engero 10:1-32

  • Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe  (1)

  • Emikono emikozi gigaggawaza (4)

  • Mu bigambo ebingi temubula kusobya (19)

  • Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza (22)

  • Okutya Yakuwa kuwangaaza omuntu (27)

10  Engero za Sulemaani.+ Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe,+Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.   Eby’obugagga ebifunibwa mu makubo amakyamu tebigasa,Naye obutuukirivu buwonya omuntu okufa.+   Yakuwa taalekenga mutuukirivu kulumwa njala,+Naye ababi ajja kubamma bye beegomba.   Emikono emigayaavu gyavuwaza,+Naye emikono emikozi gigaggawaza.+   Omwana akola ebintu mu ngeri ey’amagezi akungula ebirime mu kiseera eky’omusana,Naye omwana akola ebiswaza yeebakira mu kiseera eky’amakungula.+   Omutwe gw’omutuukirivu gubaako emikisa,+Naye akamwa k’omubi kasirikira ebikolwa eby’obukambwe by’ayagala okukola.   Erinnya ly’omutuukirivu lijja kuweebwa omukisa,+Naye erinnya ly’omubi lijja kusaanawo.*+   Omuntu ow’omutima ogw’amagezi akkiriza obulagirizi,*+Naye oyo ayogera eby’obusirusiru ajja kulinnyirirwa.+   Oyo atambulira mu bugolokofu atambula mirembe,+Naye oyo akyamya amakubo ge ajja kumanyibwa.+ 10  Oyo atta ku liiso n’ekigendererwa ekibi aleeta ennaku,+N’oyo ayogera ebitali bya magezi wa kuzikirira.+ 11  Akamwa k’omutuukirivu nsulo ya bulamu,+Naye akamwa k’omubi kasirikira ebiruubirirwa eby’obukambwe.+ 12  Obukyayi bwe buvaako ennyombo,Naye okwagala kubikka ku bisobyo byonna.+ 13  Amagezi gaba ku mimwa gy’omutegeevu,+Naye omuggo gukuba omugongo gw’oyo atalina magezi.+ 14  Abantu ab’amagezi batereka okumanya ng’ekintu eky’omuwendo,+Naye akamwa k’omusirusiru kaleeta okuzikirira.+ 15  Ebintu by’omugagga* kye kibuga kye ekiriko bbugwe. Obwavu bwe buviirako omwavu okuzikirira.+ 16  Ebikolwa by’omutuukirivu bimuviiramu obulamu;Naye ebintu omubi by’afuna bimuleetera okwonoona.+ 17  Oyo akkiriza okubuulirirwa alaga abalala ekkubo ery’obulamu,*Naye oyo atayagala kunenyezebwa awabya abalala. 18  Oyo akweka obukyayi ayogera eby’obulimba,+N’oyo agenda ng’ayogera ebitali bituufu ku balala* aba musirusiru. 19  Mu bigambo ebingi temubula kusobya,+Naye oyo afuga emimwa gye aba wa magezi.+ 20  Olulimi lw’omutuukirivu lulinga ffeeza asingayo obulungi,+Naye omutima gw’omubi gugasa kitono. 21  Emimwa gy’omutuukirivu giriisa* bangi,+Naye abasirusiru bafa olw’obutaba na magezi.+ 22  Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza,+Era tagugattako bulumi.* 23  Eri abasirusiru, okukola eby’obuswavu kiringa omuzannyo,Naye omuntu omutegeevu aba n’amagezi.+ 24  Omubi ky’atya kijja kumutuukako;Naye abatuukirivu bajja kuweebwa ebyo bye baagala.+ 25  Kibuyaga bw’akunta, omubi ajja kusaanawo,+Naye omutuukirivu musingi gwa lubeerera.+ 26  Ng’omwenge omukaatuufu bwe gunyenyeeza amannyo era ng’omukka bwe gubalagala mu maaso,N’omugayaavu bw’atyo bw’aba eri oyo amutuma.* 27  Okutya Yakuwa kuwangaaza omuntu,+Naye emyaka gy’ababi gijja kusalibwako.+ 28  Abatuukirivu bye basuubira bibawa essanyu,+Naye essuubi ly’ababi lijja kusaanawo.+ 29  Ekkubo lya Yakuwa kigo eri abo abataliiko kya kunenyezebwa,+Naye litegeeza kuzikirira eri abo abakola ebibi.+ 30  Omutuukirivu talyesittala;+Naye ababi tebalisigala mu nsi.+ 31  Akamwa k’omutuukirivu kavaamu* eby’amagezi,Naye olulimi olwogera ebitasaana lujja kusirisibwa emirembe gyonna. 32  Emimwa gy’omutuukirivu gimanyi ebisanyusa,Naye akamwa k’ababi koogera ebitasaana.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “lijja kuvunda.”
Obut., “ebiragiro.”
Oba, “Ekintu eky’omuwendo eky’omugagga.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ali ku kkubo erigenda mu bulamu.”
Oba, “ng’abungeesa eŋŋambo.”
Oba, “giruŋŋamya.”
Oba, “nnaku; buzibu.”
Oba, “amukozesa.”
Oba, “kabala ebibala.”