Engero 19:1-29

  • Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala (11)

  • Omukazi omuyombi alinga ennyumba etonnya (13)

  • Omukyala omutegeevu ava eri Yakuwa (14)

  • Gunjula omwana wo nga wakyaliwo essuubi (18)

  • Okuwuliriza okubuulirirwa kya magezi (20)

19  Okuba omwavu ng’otambulira mu bugolokofu+Kisinga okuba omusirusiru era ng’oyogera eby’obulimba.+   Omuntu atalina kumanya si mulungi,+N’oyo ayanguyiriza okukola ekintu* ayonoona.   Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona ekkubo lye,Kyokka omutima gwe ne gusunguwalira Yakuwa.   Omugagga aba n’emikwano mingi,Naye omwavu, ne mukwano gwe amwabulira.+   Awa obujulizi obw’obulimba taaleme kubonerezebwa,+N’oyo ayogera obulimba taabeeko w’awonera.+   Bangi baagala okuganja eri omuntu ow’ekitiibwa,*Era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.   Omwavu baganda be bonna bamukyawa;+Kati olwo mikwano gye gye gitaamwesambe?+ Abeegayirira bamuyambe, naye tewali amufaako.   Oyo afuna amagezi* aba ayagala obulamu bwe.+ N’oyo ayagala okutegeera, ebintu bijja kumugendera bulungi.*+   Awa obujulizi obw’obulimba taaleme kubonerezebwa,N’oyo ayogera obulimba ajja kuzikirizibwa.+ 10  Omusirusiru tasaanira kuba mu bulamu bwa kwejalabya;Olwo ate omuddu ayinza atya okufuga abalangira?+ 11  Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,+Era bw’abuusa amaaso ensobi* y’omulala* kimulungiya.+ 12  Obusungu bwa kabaka buba ng’okuwuluguma kw’empologoma,+Naye okusiima kwe kuba ng’omusulo ku muddo. 13  Omwana omusirusiru aleetera kitaawe ennaku,+N’omukazi omuyombi* alinga ennyumba etonnya olutata.+ 14  Ennyumba n’eby’obugagga abantu babisikira kuva ku bakitaabwe,Naye omukyala omutegeevu ava eri Yakuwa.+ 15  Obugayaavu buleeta otulo tungi,Era omuntu omugayaavu ajja kulumwa enjala.+ 16  Akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe;+Atafaayo ku makubo ge ajja kufa.+ 17  Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa,+Era ajja kumusasula* olw’ekyo ky’akola.+ 18  Gunjula omwana wo nga wakyaliwo essuubi,+Oleme kuvunaanyizibwa kufa kwe.+ 19  Omuntu ow’obusungu ajja kuliwa;Singa ogezaako okumutaasa, kijja kukwetaagisa okukikola enfunda n’enfunda.+ 20  Wulirizanga okubuulirirwa era okkirizenga okukangavvulwa,+Olyoke obe wa magezi gye bujja.+ 21  Omuntu aba n’enteekateeka nnyingi mu mutima gwe,Naye ekigendererwa kya Yakuwa kye kijja okutuukirira.+ 22  Ekintu ekyegombebwa mu muntu kwe kwagala kwe okutajjulukuka;+Era okuba omwavu kisinga okuba omulimba. 23  Okutya Yakuwa kutuusa omuntu mu bulamu;+Oyo amutya yeebaka bulungi era tatuukibwako kabi.+ 24  Omugayaavu ateeka omukono gwe mu kibya,Naye n’alemererwa okuguggyamu okuguzza ku mumwa.+ 25  Kuba omukudaazi,+ omuntu atalina bumanyirivu afuuke wa magezi,+Era nenya omuntu omutegeevu asobole okuba n’okumanya okusingawo.+ 26  Oyo ayisa obubi kitaawe era n’agoba nnyinaAba mwana aswaza era akwasa ensonyi.+ 27  Mwana wange, bw’onoolekera awo okuwuliriza ebikuyigirizibwa,Ojja kuwaba ove ku bigambo eby’amagezi. 28  Omujulizi atalina mugaso anyooma obwenkanya,+Era ababi banyumirwa okukola ebibi.+ 29  Abakudaazi bajja kusalirwa omusango,+N’abasirusiru bajja kukubibwa emiggo mu mugongo.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ayanguyiriza n’ebigere bye.”
Oba, “omuntu omugabi.”
Obut., “ajja kufuna ebirungi.”
Obut., “afuna omutima.”
Obut., “bw’ayita ku nsobi.”
Oba, “ekyonoono ky’omulala.”
Oba, “abeeba.”
Oba, “kumuwa empeera.”