Engero 17:1-28

  • Tosasula kibi olw’ekirungi (13)

  • Ovangawo ng’oluyombo terunnatandika (14)

  • Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna (17)

  • “Omutima omusanyufu ddagala ddungi” (22)

  • Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera (27)

17  Okulya emmere ennuma nga waliwo emirembe+Kisinga okulya embaga* mu nnyumba omuli okuyomba.+   Omuddu omutegeevu alifuga omwana akola ebiswaza;Alifuna obusika ng’omu ku baana.   Entamu eba ya kugezesa ffeeza, n’ekyoto kiba kya kugezesa zzaabu,+Naye Yakuwa y’akebera emitima.+   Omuntu omubi assaayo omwoyo ku bigambo ebirumya,N’omusajja omulimba awuliriza ebigambo eby’ettima.+   Akudaalira omwavu anyiiza eyamutonda,+N’oyo asanyuka ng’abalala bafunye emitawaana taaleme kubonerezebwa.+   Abazzukulu ye ngule y’abakaddiye,Era bataata* kye kitiibwa kya batabani* baabwe.   Okwogera ebituufu* tekigwanira musirusiru.+ Kati olwo omufuzi* y’agwanira okwogera eby’obulimba?+   Ekirabo kiringa ejjinja ery’omuwendo eri nnyini kyo;*+Yonna gy’alaga, kimutuusa ku buwanguzi.+   Asonyiwa akoze ekibi* aba anoonya okwagalibwa,+Naye ayogera ku nsonga olutatadde ayawukanya ab’omukwano ennyo.+ 10  Omuntu omutegeevu anenyezebwa lumu n’aganyulwa+Okusinga omusirusiru akubibwa emirundi kikumi.+ 11  Omuntu omubi aba ayagala kujeema bujeemi,Naye bajja kumutumira omubaka omukambwe amubonereze.+ 12  Waakiri osisinkana eddubu eriggiddwako abaana baalyoN’otosisinkana musirusiru mu busirusiru bwe.+ 13  Omuntu asasula ekibi olw’ekirungi,Emitawaana tegiriva mu nnyumba ye.+ 14  Okutandika olutalo kuba nga kuggulira mazzi. Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.+ 15  Omuntu eyejjeereza omubi, n’oyo asingisa omutuukirivu omusango+—Bombi Yakuwa abakyayira ddala. 16  Kigasa ki omusirusiru okuba n’obusobozi bw’okufuna amageziNg’ate talina mutima gwa kugafuna?*+ 17  Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna,+Era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.+ 18  Atalina magezi akola endagaano era n’akkirizaOkweyimirira omulala nga waliwo munne.+ 19  Ayagala ennyombo aba ayagala okwonoona.+ N’oyo akola omulyango omuwanvu yeereetera okugwa.+ 20  Ow’omutima omukyamu tajja kutuuka ku buwanguzi,*+N’oyo ayogera eby’obulimba ajja kugwa mu kabi. 21  Omuntu azaala omwana omusirusiru ajja kulaba ennaku;Era kitaawe w’omwana omusirusiru taba na ssanyu.+ 22  Omutima omusanyufu ddagala ddungi,*+Naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.*+ 23  Omuntu omubi alya enguzi mu nkukutu*N’atasala musango mu bwenkanya.+ 24  Amagezi gaba awo mu maaso g’omutegeevu,Naye amaaso g’abasirusiru gataayaaya okutuuka ku nkomerero y’ensi.+ 25  Omwana omusirusiru anakuwaza kitaaweEra yennyamiza* oyo eyamuzaala.+ 26  Si kirungi okubonereza* omutuukirivu,Era kiba kikyamu okukuba abantu ab’ebitiibwa. 27  Omuntu ow’amagezi yeefuga mu by’ayogera,+N’omutegeevu asigala mukkakkamu.*+ 28  Omusirusiru bw’asirika atwalibwa okuba ow’amagezi,N’oyo abunira atwalibwa okuba omutegeevu.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ssaddaaka.”
Oba, “abazadde.”
Oba, “ky’abaana.”
Oba, “ow’ekitiibwa.”
Oba, “ebirungi.”
Oba, “erireetera nnyini lyo okusiimibwa.”
Obut., “Abikka ku kibi.”
Oba, “Ng’ate tategeera?”
Obut., “birungi.”
Oba, “gukaza amagumba.”
Oba, “guwonya.”
Obut., “eva mu kifuba.”
Obut., “anyiiza.”
Oba, “okutanza.”
Obut., “aba n’omwoyo omuteefu.”