Engero 24:1-34

  • Tokwatirwanga bantu babi buggya (1)

  • Amagezi ge gazimba ennyumba (3)

  • Omutuukirivu ne bw’agwa ayimuka (16)

  • Teweesasuzanga (29)

  • Okwebaka kuleeta obwavu (33, 34)

24  Tokwatirwanga abantu ababi obuggya,Era teweegombanga kubeera nabo,+   Kubanga emitima gyabwe girowooza ku bikolwa bya bukambwe,N’emimwa gyabwe gibeera gyogera ku kukola bintu bya mutawaana.   Amagezi ge gazimba ennyumba,+Era okutegeera kwe kuginyweza.   Olw’okumanya, ebisenge byayo bijjulaEby’obugagga ebya buli ngeri eby’omuwendo era ebisanyusa.+   Omuntu ow’amagezi aba wa maanyi,+Era olw’okumanya, omuntu yeeyongera okuba n’obuyinza.   Okusobola okulwana olutalo kyetaagisa obulagirizi obulungi,*+Era bwe wabaawo abawi b’amagezi* abangi wabaawo obuwanguzi.*+   Eri omusirusiru amagezi* tegasobola kufunika;+Era taba na kya kwogera ku mulyango gw’ekibuga.   Ateekateeka okukola ebintu eby’akabiAjja kuyitibwa kalinkwe.+   Enteekateeka ez’ekisirusiru* ziba mbi,Era abantu tebaagalira ddala muntu mukudaazi.+ 10  Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,*Amaanyi go gajja kuba matono. 11  Nunula abo abatwalibwa okuttibwa,Era wonya abo abagenda okusanjagibwa.+ 12  Bw’ogamba nti, “Naye ekyo tetwakimanyaako,”Oyo akebera emitima* takitegeera?+ Mazima ddala, oyo akulaba ajja kukitegeeraEra ajja kusasula buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.+ 13  Mwana wange, lyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi;Omubisi oguva mu bisenge by’omubisi gw’enjuki guwoomerera. 14  Kale, kimanye nti n’amagezi ga muganyulo gy’oli.+ Bw’ogafuna, ebiseera byo eby’omu maaso bijja kuba birungiEra n’essuubi lyo teririggwaawo.+ 15  Toba ng’omuntu omubi n’oteega okumenya ennyumba y’omutuukirivu;Tosaanyaawo kifo ky’abeeramu. 16  Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka,+Naye omubi yeesittala ng’afunye ekizibu.+ 17  Omulabe wo bw’agwa, tosanyukanga,Era bwe yeesittala, omutima gwo tegujaganyanga;+ 18  Kubanga Yakuwa bw’akulaba ng’okola bw’otyo, anyiiga,N’alekera awo okumusunguwalira.*+ 19  Tokwatibwanga busungu olw’abantu abakola ebibi;Abantu ababi tobakwatirwanga buggya, 20  Kubanga ababi tebalina biseera bya mu maaso;+Ettaala y’ababi ejja kuzikizibwa.+ 21  Mwana wange, otyanga Yakuwa ne kabaka.+Era tokolagananga na bawakanyi,*+ 22  Kubanga emitawaana giribagwako mbagirawo.+Ani amanyi akabi abo bombi* ke balituusa ku bawakanyi?+ 23  Era na bino byayogerwa ba magezi: Okusaliriza mu kusala omusango si kirungi.+ 24  Buli agamba omuntu omubi nti, “Oli mutuukirivu,”+ Abantu bajja kumukolimira era amawanga gajja kumuvumirira. 25  Naye abo abamunenya bijja kubagendera bulungi;+Era bajja kufuna ebintu ebirungi.+ 26  Abantu bajja kunywegera emimwa gy’omuntu addamu mu bwesimbu.*+ 27  Teekateeka emirimu gyo egy’ebweru, era otereeze bulungi ennimiro yo,Oluvannyuma ozimbe ennyumba yo. 28  Tolumirizanga muntu munno awatali nsonga.+ Era tokozesanga mimwa gyo kulimba balala.+ 29  Togambanga nti: “Ky’ankoze nange nja kukimukola;Nja kumusasula ekyo kye yakola.”+ 30  Nnayita ku nnimiro y’omugayaavu,+Ku nnimiro y’emizabbibu ey’omuntu atalina magezi. 31  Nnalaba nga yonna ezise,Ng’ejjudde amaggwa,Nga n’ekikomera kyayo eky’amayinja kigudde.+ 32  Nnagyetegereza ne nfumiitiriza nnyo;Nnagitunuulira ne njiga essomo lino: 33  Bwe weebakamu katono, bw’osumagiramu katono,Era bw’ozinga emikono owummuleko, 34  Obwavu bujja kukuzinda ng’omuzigu,N’obwetaavu bukuzinde ng’omusajja akutte eby’okulwanyisa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “obulagirizi obw’amagezi.”
Oba, “abawabuzi.”
Oba, “obulokozi.”
Oba, “amagezi aga nnamaddala.”
Oba, “ez’omusirusiru.”
Oba, “mu kiseera ekizibu.”
Oba, “ebiruubirirwa.”
Wano boogera ku mulabe.
Oba, “abo abaagala enkyukakyuka.”
Wano boogera ku Yakuwa ne kabaka.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Okuddamu obutereevu kuba ng’okunywegera.”