Engero 15:1-33

  • Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi (1)

  • Amaaso ga Yakuwa galaba buli wamu (3)

  • Essaala z’abagolokofu zisanyusa Katonda (8)

  • Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka (22)

  • Fumiitiriza nga tonnaddamu (28)

15  Okuddamu n’eggonjebwa* kukkakkanya ekiruyi,+Naye ekigambo eky’ekkayu* kireeta obusungu.+   Olulimi lw’ab’amagezi lukozesa bulungi okumanya,+Naye akamwa k’abasirusiru koogera eby’obusirusiru.   Amaaso ga Yakuwa gaba buli wamu,Nga gatunuulira ababi n’abalungi.+   Olulimi olukkakkamu* muti gwa bulamu,+Naye ebigambo ebinyooleddwanyooleddwa bireetera omuntu okuggwaamu essuubi.   Omuntu omusirusiru anyooma ebyo kitaawe by’amubuulirira,+Naye omuntu ow’amagezi akkiriza okugololwa.*+   Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’omuwendo bingi,Naye ebyo omubi by’akola bimuleetera emitawaana.+   Emimwa gy’ab’amagezi gibunyisa okumanya,+Naye omutima gw’abasirusiru si bwe gukola.+   Yakuwa akyayira ddala ssaddaaka z’ababi,+Naye essaala z’abagolokofu zimusanyusa.+   Yakuwa akyawa ekkubo ly’omubi,+Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.+ 10  Okukangavvulwa tekusanyusa* oyo aleka ekkubo ettuufu,+Era buli atayagala kunenyezebwa ajja kufa.+ 11  Yakuwa alaba amagombe* n’ekifo eky’okuzikiririramu.*+ Kati ate olwo emitima gy’abantu?+ 12  Omukudaazi tayagala oyo amuwabula.*+ Era teyeebuuza ku ba magezi.+ 13  Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,Naye ennaku emenya omwoyo.+ 14  Omutima omutegeevu gunoonya okumanya,+Naye akamwa k’abasirusiru kalya* busirusiru.+ 15  Ennaku zonna ez’omuntu abonaabona ziba mbi,+Naye ow’omutima omusanyufu* aba ng’ali ku mbaga ebbanga lyonna.+ 16  Okuba n’ebitono ng’otya Yakuwa+Kisinga okuba n’eby’obugagga ebingi naye nga weeraliikirira.*+ 17  Okulya enva endiirwa awali okwagalana+Kisinga okulya ennyama y’ente ensava awali okukyawagana.+ 18  Omuntu asunguwala amangu asaanuula ennyombo,+Naye oyo alwawo okusunguwala amalawo ennyombo.+ 19  Ekkubo ly’omugayaavu liringa olukomera olw’amaggwa,+Naye ekkubo ly’abagolokofu liringa oluguudo olw’omuseetwe.+ 20  Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe,+Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.+ 21  Obusirusiru busanyusa atalina magezi,+Naye omuntu omutegeevu atambulira mu kkubo ettuufu.+ 22  Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka,Naye bwe wabaawo abawi b’amagezi* abangi wabaawo ekituukibwako.+ 23  Omuntu asanyuka bw’addamu ekituufu,+Era ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!+ 24  Eri omutegeevu ekkubo ly’obulamu lyambuka waggulu,+Okumuwonya okukka emagombe.*+ 25  Yakuwa ajja kumenya ennyumba z’ab’amalala,+Naye ajja kukuuma ensalosalo za nnamwandu.+ 26  Yakuwa akyawa enkwe z’omuntu omubi,+Naye ebigambo ebirungi biba birongoofu mu maaso ge.+ 27  Oyo afuna amagoba mu makubo amakyamu aleetera ab’omu nnyumba ye emitawaana,*+Naye oyo akyawa enguzi ajja kusigala nga mulamu.+ 28  Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza nga tannaba kwanukula,*+Naye akamwa k’ababi kafubutukamu ebintu ebibi. 29  Ababi Yakuwa ababeera wala,Naye awulira essaala z’abatuukirivu.+ 30  Amaaso amacamufu galeetera omutima okusanyuka;Amawulire amalungi gazzaamu amagumba amaanyi.*+ 31  Oyo awuliriza okubuulirira okuwa obulamuAb’amagezi abagyaamu bulungi.+ 32  Omuntu atayagala kukangavvulwa obulamu bwe tabutwala nga bwa muwendo,+Naye oyo awuliriza nga bamunenya afuna okutegeera.*+ 33  Okutya Yakuwa kuyigiriza omuntu okweyisa mu ngeri ey’amagezi,+Era obwetoowaze buvaamu ekitiibwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekiruma.”
Oba, “n’obukkakkamu.”
Oba, “Olulimi olw’okuwonya.”
Oba, “okunenyezebwa.”
Oba, “kulabika ng’okw’amaanyi ennyo eri.”
Laba Awanny.
Oba, “ne Abaddoni.”
Oba, “amunenya.”
Oba, “kanoonya.”
Oba, “omulungi.”
Oba, “awamu n’okutabukatabuka.”
Oba, “abawabuzi.”
Laba Awanny.
Oba, “okuswala.”
Oba, “gulowooza n’obwegendereza ku ngeri y’okuddamu; gusooka kulowooza nga tannayogera.”
Obut., “gagezza amagumba.”
Obut., “omutima.”