Yokaana 13:1-38

  • Yesu anaaza abayigirizwa be ebigere (1-20)

  • Alaga nti Yuda y’agenda okumulyamu olukwe (21-30)

  • Etteeka eriggya (31-35)

    • “Bwe munaayagalananga” (35)

  • Peetero wa kwegaana Yesu (36-38)

13  Olw’okuba Yesu yakimanya ng’embaga ey’Okuyitako tennatuuka nti ekiseera kye kyali kituuse+ okuva mu nsi agende eri Kitaawe,+ ababe abaali mu nsi be yali ayagadde, yabaagala okutuukira ddala ku nkomerero.+  Baali bali ku kya kiro, era Omulyolyomi yali amaze okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti,+ mutabani wa Simooni ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.+  Awo Yesu, ng’akimanyi nti Kitaawe yali amukwasizza ebintu byonna, era nti yava eri Katonda era nga gye yali agenda okudda,+  yasituka ku kijjulo n’aggyako ekyambalo kye eky’okungulu n’akissa ebbali. N’akwata ttawulo n’agyesiba mu kiwato,+  n’ateeka amazzi mu bbenseni n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere era n’abisiimuula ng’akozesa ttawulo gye yali yeesibye.  Awo n’atuuka ku Simooni Peetero. Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, ggwe onaaza nze ebigere?”  Yesu n’amuddamu nti: “Kye nkola toyinza kukitegeera kati, naye ojja kukitegeera oluvannyuma lw’ebintu bino.”  Peetero n’amugamba nti: “Tolinnaaza bigere n’omulundi n’ogumu.” Yesu n’amuddamu nti: “Okuggyako nga nkunaazizza,+ toyinza kuba na mugabo nange.”  Simooni Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka naye nnaaza n’emikono n’omutwe.” 10  Yesu n’amugamba nti: “Oyo aba anaabye aba muyonjo yenna, era aba yeetaaga kunaaba bigere byokka. Era nammwe muli bayonjo, naye si mmwenna.” 11  Yali amanyi omuntu eyali agenda okumulyamu olukwe.+ Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Muli bayonjo, naye si mmwenna.” 12  Bwe yamala okubanaaza ebigere n’okwambala ekyambalo kye eky’okungulu, yaddayo n’atuula era n’abagamba nti: “Mutegedde kye mbakoze? 13  Mumpita ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi.+ 14  Kale, oba nga nze, Mukama wammwe era Omuyigiriza, mbanaazizza ebigere,+ nammwe mugwanidde buli omu okunaazanga ebigere bya munne.+ 15  Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.+ 16  Mazima ddala mbagamba nti omuddu tasinga mukama we, n’oyo eyatumibwa tasinga oyo eyamutuma. 17  Bwe mumanya ebintu bino, muba basanyufu bwe mubikola.+ 18  Soogera ku mmwe mmwenna; mmanyi be nnalonda. Naye ekyawandiikibwa kirina okutuukirira ekigamba nti,+ ‘Oyo eyalyanga ku mmere yange anneefuulidde.’*+ 19  Okuva kati, kino nkibabuulira nga tekinnabaawo, bwe kinaamala okubaawo mulyoke mukkirize nti ye nze.+ 20  Mazima ddala mbagamba nti, oyo asembeza omuntu yenna gwe ntuma, nange aba ansembezza,+ era oyo ansembeza aba asembeza n’Oyo eyantuma.”+ 21  Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n’awulira ennaku ey’amaanyi, n’agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, omu ku mmwe ajja kundyamu olukwe.”+ 22  Abayigirizwa ne batandika buli omu okutunula ku munne nga tebamanyi gw’ayogerako.+ 23  Omu ku bayigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo,+ yali agalamidde kumpi naye.* 24  Simooni Peetero n’amuwenyaako n’amugamba nti: “Tubuulire gw’ayogerako.” 25  Omuyigirizwa oyo n’asembera okumpi ne Yesu n’amubuuza nti: “Mukama waffe, ani oyo?”+ 26  Yesu n’amugamba nti: “Y’oyo gwe ŋŋenda okuwa ekitundu ky’omugaati kye ŋŋenda okukoza.”+ Awo bwe yamala okukoza omugaati, n’aguwa Yuda mutabani wa Simooni Isukalyoti. 27  Bwe yamala okuweebwa omugaati, Sitaani n’amuyingiramu.+ Yesu n’amugamba nti: “Ky’okola kikole mu bwangu.” 28  Naye tewali n’omu ku abo abaali batudde ku mmeeza eyamanya ensonga lwaki yali amugambye bw’atyo. 29  Abamu baali balowooza nti okuva Yuda bwe yali abeera n’akasanduuko mwe baaterekanga ssente,+ Yesu yali amugamba nti, “Gula ebintu bye twetaaga ku mbaga,” oba nti abeeko ky’awa abaavu. 30  Bwe yamala okuweebwa omugaati, amangu ago n’afuluma ebweru. Obudde bwali buzibye.+ 31  Bwe yamala okufuluma, Yesu n’agamba nti: “Kaakano Omwana w’omuntu agulumiziddwa,+ era ne Katonda agulumiziddwa okuyitira mu ye. 32  Katonda kennyini ajja kumugulumiza,+ era ajja kumugulumiza mangu ddala. 33  Abaana abaagalwa, nkyali nammwe akaseera katono. Mujja kunnoonya; naye nga bwe nnagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda temuyinza kujjayo,’+ nammwe ekyo kye mbagamba kati. 34  Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala,+ nammwe bwe muba mwagalana.+ 35  Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.”+ 36  Simooni Peetero n’amugamba nti: “Mukama waffe, ogenda wa?” Yesu n’amuddamu nti: “Gye ŋŋenda toyinza kungoberera kati naye ojja kungoberera oluvannyuma.”+ 37  Peetero n’amugamba nti: “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kati? Nja kuwaayo obulamu bwange ku lulwo.”+ 38  Yesu n’amugamba nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneegenda okukookolima leero, ng’omaze okunneegaana emirundi esatu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “annyimusirizzaako ekisinziiro.”
Obut., “mu kifuba kye.”