Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubikkulirwa

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Okubikkulirwa okuva eri Katonda, okuyitira mu Yesu (1-3)

    • Okulamusa eri ebibiina omusanvu (4-8)

      • “Nze Alufa era nze Omega” (8)

    • Yokaana mu lunaku lwa Mukama waffe (9-11)

    • Alaba Yesu mu kwolesebwa (12-20)

  • 2

    • Obubaka eri Efeso (1-7), eri Sumuna (8-11), eri Perugamo (12-17), eri Suwatira (18-29)

  • 3

    • Obubaka eri Saadi (1-6), eri Firaderufiya (7-13), eri Lawodikiya (14-22)

  • 4

    • Alaba Yakuwa mu kwolesebwa (1-11)

      • Yakuwa ng’atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka (2)

      • Abakadde 24 nga bali ku ntebe z’obwakabaka (4)

      • Ebiramu ebina (6)

  • 5

    • Omuzingo oguliko obubonero omusanvu (1-5)

    • Omwana gw’endiga akwata omuzingo (6-8)

    • Omwana gw’endiga agwanidde okubembula obubonero (9-14)

  • 6

    • Omwana gw’endiga abembula obubonero omukaaga obusooka (1-17)

      • Omuwanguzi ali ku mbalaasi enjeru (1, 2)

      • Eyeebagadde embalaasi emmyufu aggyawo emirembe (3, 4)

      • Eyeebagadde embalaasi enzirugavu aleeta enjala (5, 6)

      • Eyeebagadde embalaasi ensiiwuufu ayitibwa Kufa (7, 8)

      • Abattibwa abali wansi w’ekyoto (9-11)

      • Musisi ow’amaanyi (12-17)

  • 7

    • Bamalayika bana abakutte empewo ennya (1-3)

    • 144,000 bassibwako akabonero (4-8)

    • Ab’ekibiina ekinene abambadde engoye enjeru (9-17)

  • 8

    • Akabonero ak’omusanvu kabembulwa (1-6)

    • Okufuuwa amakondeere omusanvu (7-12)

    • Ebibonyoobonyo bisatu birangirirwa (13)

  • 9

    • Ekkondeere ery’okutaano (1-11)

    • Ekibonyoobonyo ekimu kiggwaako, ebirala bibiri bijja (12)

    • Ekkondeere ery’omukaaga (13-21)

  • 10

    • Malayika ow’amaanyi ng’akutte omuzingo omutono (1-7)

      • “Tewajja kubaawo kulwa nate” (6)

      • Ekyama ekitukuvu kya kukomekkerezebwa (7)

    • Yokaana alya omuzingo omutono (8-11)

  • 11

    • Abajulirwa ababiri (1-13)

      • Abajulirwa ababiri boogera eby’obunnabbi okumala ennaku 1,260 nga bambadde ebibukutu (3)

      • Battibwa; tebaziikibwa (7-10)

      • Balamuka oluvannyuma lw’ennaku ssatu n’ekitundu (11, 12)

    • Ekibonyoobonyo eky’okubiri kiggwaako, eky’okusatu kijja (14)

    • Ekkondeere ery’omusanvu (15-19)

      • Obwakabaka bwa Mukama waffe n’obwa Kristo we (15)

      • Abo aboonoona ensi ba kuzikirizibwa (18)

  • 12

    • Omukazi, omwana ow’obulenzi, n’ogusota (1-6)

    • Mikayiri alwana n’ogusota (7-12)

      • Ogusota gusuulibwa ku nsi (9)

      • Omulyolyomi amanyi nti alina akaseera katono (12)

    • Ogusota guyigganya omukazi (13-17)

  • 13

    • Ensolo ey’emitwe omusanvu eva mu nnyanja (1-10)

    • Ensolo ey’amayembe abiri eva mu ttaka (11-13)

    • Ekifaananyi ky’ensolo ey’emitwe omusanvu (14, 15)

    • Akabonero k’ensolo n’ennamba yaayo (16-18)

  • 14

    • Omwana gw’endiga ne 144,000 (1-5)

    • Obubaka okuva eri bamalayika basatu (6-12)

      • Malayika alangirira amawulire amalungi (6, 7)

    • Balina omukisa abo abafiira mu Kristo (13)

    • Amakungula g’ensi ag’emirundi ebiri (14-20)

  • 15

    • Bamalayika musanvu n’ebibonyoobonyo musanvu (1-8)

      • Oluyimba lwa Musa n’olw’Omwana gw’Endiga (3, 4)

  • 16

    • Ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda (1-21)

      • Biyiibwa ku nsi (2), ku nnyanja (3), ku migga ne ku nsulo z’amazzi (4-7), ku njuba (8, 9), ku ntebe y’obwakabaka ey’ensolo (10, 11), ku Mugga Fulaati (12-16), ne ku mpewo (17-21)

      • Olutalo lwa Katonda ku Amagedoni (14, 16)

  • 17

    • “Babulooni Ekinene” kisalirwa omusango (1-18)

      • Malaaya omukulu atuula ku nsolo emmyufu (1-3)

      • Ensolo ‘yaliwo, tekyaliwo, naye ya kuva mu bunnya’ (8)

      • Amayembe ekkumi ga kulwanyisa Omwana gw’Endiga (12-14)

      • Amayembe ekkumi gakyawa malaaya (16, 17)

  • 18

    • Okugwa kwa “Babulooni Ekinene” (1-8)

      • “Mukifulumemu abantu bange” (4)

    • Okukungubaga olw’okugwa kwa Babulooni (9-19)

    • Eggulu lisanyuka olw’okugwa kwa Babulooni (20)

    • Babulooni kya kusuulibwa mu nnyanja ng’ejjinja (21-24)

  • 19

    • Mutendereze Yakuwa olw’emisango gy’asaze (1-10)

      • Embaga y’Omwana gw’Endiga (7-9)

    • Omwebagazi w’embalaasi enjeru (11-16)

    • Ekijjulo kya Katonda ekinene (17, 18)

    • Ensolo ewangulwa (19-21)

  • 20

    • Sitaani asibibwa emyaka 1,000 (1-3)

    • Abanaafuga ne Kristo emyaka 1,000 (4-6)

    • Sitaani asumululwa, oluvannyuma n’azikirizibwa (7-10)

    • Abafu balamulwa mu maaso g’entebe enjeru (11-15)

  • 21

    • Eggulu eriggya n’ensi empya (1-8)

      • Tewalibaawo kufa (4)

      • Ebintu byonna bizziddwa buggya (5)

    • Endabika ya Yerusaalemi ekiggya (9-27)

  • 22

    • Omugga gw’amazzi ag’obulamu (1-5)

    • Okufundikira (6-21)

      • ‘Jjangu! Nywa amazzi ag’obulamu ku bwereere’ (17)

      • “Jjangu, Mukama waffe Yesu” (20)