Zabbuli 36:1-12
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi omuweereza wa Yakuwa.
36 Okwonoona kwogera n’omubi munda mu mutima gwe;Tatya Katonda.+
2 Olw’okuba yeetwala nti wa kitalo nnyo,Tasobola kulaba nsobi ze azikyawe.+
3 Ebigambo by’omu kamwa ke birumya era bya bulimba;Akiraga nti talina magezi ga kukola birungi.
4 Ne bw’aba ku kitanda kye abaako ebintu ebibi by’ateekateeka okukola.
Akwata ekkubo eritali ddungi;Teyeesamba bintu bibi.
5 Ai Yakuwa, okwagala kwo okutajjulukuka kutuuka ku ggulu,+Obwesigwa bwo butuuka ku bire.
6 Obutuukirivu bwo bulinga ensozi engulumivu;*+Ennamula yo eringa amazzi amangi amawanvu,+Ai Yakuwa, okuuma* abantu n’ensolo.+
7 Ai Katonda, okwagala kwo okutajjulukuka nga kwa muwendo nnyo!+
Abaana b’abantu baddukirawansi w’ebiwaawaatiro byo.+
8 Banywa ebintu ebisingayo obulungi eby’omu* nnyumba yo ne bamatira,+Era obanywesa ku bintu byo ebirungi ebikulukuta ng’omugga.+
9 Ggwe nsibuko y’obulamu;+Ekitangaala kyo kye kitusobozesa okulaba ekitangaala.+
10 Weeyongere okulaga okwagala kwo okutajjulukuka eri abo abakumanyi,+N’obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima omugolokofu.+
11 Ekigere ky’abo abeekulumbaza tokikkiriza kunninnyako,Wadde omukono gw’ababi okungoba we ndi.
12 Laba, aboonoonyi bagudde;Bameggeddwa era tebasobola kusituka.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ensozi za Katonda.”
^ Oba, “olokola.”
^ Obut., “Banywa obugevvu obw’omu.”