Zabbuli 37:1-40

  • Abo abeesiga Yakuwa bajja kubeera bulungi

    • Tokwatibwanga busungu olw’ababi (1

    • “Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo” (4)

    • “Amakubo go gakwasenga Yakuwa” (5)

    • “Abawombeefu balisikira ensi” (11)

    • Omutuukirivu tajja kubulwa mmere (25)

    • Abatuukirivu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna (29)

Zabbuli ya Dawudi. א [Alefu] 37  Tokwatibwanga busungu olw’ababi,Oba okukwatirwa aboonoonyi ensaalwa.+   Kubanga baliwotoka mangu ng’omuddo,+Era balikala ng’omuddo ogwakamera. ב [Besu]   Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi;+Beera mu nsi, era beeranga mwesigwa mu by’okola.+   Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo,*Era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala. ג [Gimeri]   Amakubo go gakwasenga* Yakuwa;+Mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.+   Ajja kuleetera obutuukirivu bwo okwakaayakana ng’ekitangaala eky’oku makya ennyo,N’obwenkanya bwo okwakaayakana ng’omusana ogw’omu ttuntu. ד [Dalesi]   Sirika mu maaso ga Yakuwa+Era mulindirire n’obugumiikiriza. Tokwatibwa busungu olw’oyoAtuukiriza ebintu ebibi by’aba ateeseteese.+ ה [Ke]   Tosunguwalanga era toswakiiranga;+Tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.*   Kubanga ababi baliggibwawo,+Naye abo abatadde essuubi lyabwe mu Yakuwa balisikira ensi.+ ו [Wawu] 10  Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo;+Olitunula we baabeeranga,Naye tebalibaawo.+ 11  Naye abawombeefu balisikira ensi,+Era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.+ ז [Zayini] 12  Omubi asalira omutuukirivu enkwe;+Amulumira obugigi. 13  Naye Yakuwa amusekerera,Kubanga amanyi nti olunaku lwe lujja kutuuka.+ ח [Kesu] 14  Ababi basowolayo ebitala byabwe era baweta emitego gyabwe egy’obusaaleOkusuula abanyigirizibwa n’abaavu,Okutta abo abatambulira mu kkubo eggolokofu. 15  Naye ekitala kyabwe kijja kufumita emitima gyabwe;+Emitego gyabwe gijja kumenyeka. ט [Tesu] 16  Akatono omutuukirivu k’alinaKasinga ebingi ababi abangi bye balina.+ 17  Kubanga emikono gy’ababi gijja kumenyebwa,Naye Yakuwa ajja kuwanirira abatuukirivu. י [Yodi] 18  Yakuwa amanyi ebituuka ku abo* abataliiko kya kunenyezebwa,Era obusika bwabwe buliba bwa mirembe na mirembe.+ 19  Mu kiseera eky’akabi tebaliswala;Mu kiseera eky’enjala baliba na bingi. כ [Kafu] 20  Naye ababi balisaanawo;+Abalabe ba Yakuwa baliggwaawo ng’omuddo ogutinta;Baliggwaawo ng’omukka. ל [Lamedi] 21  Omubi yeewola naye tasasula,Naye omutuukirivu musaasizi era mugabi.+ 22  Abo Katonda b’awa omukisa balisikira ensi,Naye abo b’akolimira baliggibwawo.+ מ [Memu] 23  Yakuwa bw’asanyukira amakubo g’omuntu,+Amulaga bw’alina okutambula.+ 24  Ne bwe yeesittala tagwa wansi,+Kubanga Yakuwa amukwata ku mukono n’amuwanirira.*+ נ [Nuni] 25  Nnali muto, naye kati nkaddiye,Kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa,+Wadde abaana be nga basabiriza emmere.+ 26  Bulijjo alaga abalala ekisa n’abawola,+Era abaana be balifuna omukisa. ס [Sameki] 27  Leka ebibi okole ebirungi,+Obeerewo emirembe gyonna. 28  Kubanga Yakuwa ayagala obwenkanya,Era talyabulira abo abeesigwa gy’ali.+ ע [Ayini] Anaabakuumanga bulijjo;+Naye ezzadde ly’ababi liriggibwawo.+ 29  Abatuukirivu balisikira ensi,+Era baligibeeramu emirembe gyonna.+ פ [Pe] 30  Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,*Era olulimi lwe lwogera ku bwenkanya.+ 31  Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe;+Era bw’anaatambulanga taaseererenga.+ צ [Sade] 32  Omubi atunuulira omutuukirivu,Ng’ayagala okumutta. 33  Naye Yakuwa talimuleka kugwa mu mukono gw’omubi+Wadde okumusingisa omusango ng’alamulwa.+ ק [Kofu] 34  Essuubi lyo liteekenga mu Yakuwa era otambulire mu kkubo lye,Naye alikugulumiza n’osikira ensi. Ababi bwe baliggibwawo,+ olikiraba.+ ר [Lesu] 35  Nnalaba omuntu omukambwe era omubi ennyo,Ng’ayagaagadde ng’omuti ogulina ebikoola ebingi oguli ku ttaka lyagwo.+ 36  Naye mangu ddala yavaawo n’aba nga takyaliwo;+Nnamunoonya, naye saamuzuula.+ ש [Sini] 37  Weetegereze oyo ataliiko kya kunenyezebwa,*Era tunuulira omugolokofu,+Kubanga ebiseera bye eby’omu maaso biriba bya mirembe.+ 38  Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;Abantu ababi balizikirira.+ ת [Tawu] 39  Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Yakuwa;+Ye kye kigo kyabwe mu biseera eby’obuyinike.+ 40  Yakuwa ajja kubayamba era abanunule.+ Ajja kubanunula okuva mu mukono gw’ababi era abalokole. Kubanga baddukira gy’ali.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Funa essanyu erisingayo mu Yakuwa.”
Obut., “Amakubo go gayiringisizenga ku.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Tonyiiganga kubanga kijja kukuviiramu akabi.”
Obut., “amanyi ennaku z’abo.”
Oba, “amuwanirira n’omukono gwe.”
Oba, “koogera eby’amagezi mu kaama.”
Oba, “oyo akuuma obugolokofu.”