Lukka 7:1-50

  • Okukkiriza kw’omusirikale (1-10)

  • Yesu azuukiza omwana wa nnamwandu mu Nayini (11-17)

  • Yesu atendereza Yokaana (18-30)

  • Omulembe omukakanyavu guvumirirwa (31-35)

  • Omukazi omwonoonyi asonyiyibwa (36-50)

    • Olugero lw’abantu abaalina amabanja (41-43)

7  Bwe yamaliriza okwogera bye yali ayagala okugamba abantu, n’ayingira e Kaperunawumu.  Waliwo omukulu w’ekibinja ky’abasirikale* eyalina omuddu gwe yali ayagala ennyo, era ng’omuddu oyo yali mulwadde nnyo ng’abulako katono okufa.+  Bwe yawulira ebikwata ku Yesu, n’atuma abamu ku bakadde mu Bayudaaya okugenda gy’ali bamusabe ajje awonye omuddu we.  Baagenda eri Yesu ne bamwegayirira nga bagamba nti: “Agwana omukolere kino,  kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe era ye yatuzimbira ekkuŋŋaaniro.”  Awo Yesu n’agenda nabo. Naye bwe yali anaatera okutuuka ku nju, omukulu w’ekibinja ky’abasirikale n’atuma mikwano gye okumugamba nti: “Ssebo, totawaana kujja mu nnyumba yange, kubanga sisaanira kukuyingiza mu nnyumba yange.+  Eyo ye nsonga lwaki nnalabye nga sisaanira kujja gy’oli. Naye yogera bwogezi kigambo, omuddu wange awone.  Kubanga nange ndi muntu aliko abantwala, era nnina abasirikale be nkulira. Bwe ŋŋamba omu nti ‘Genda!’ ng’agenda, bwe ŋŋamba omulala nti, ‘Jjangu!’ ng’ajja, era bwe ŋŋamba omuddu wange nti, ‘Kola kino!’ ng’akikola.”  Yesu bwe yawulira ebyo, n’amwewuunya era n’agamba ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera nti: “Mbagamba nti, ne mu Isirayiri sirabangako kukkiriza kwa maanyi nga kuno.”+ 10  Abo abaali batumiddwa bwe baddayo mu nju baasanga omuddu awonye.+ 11  Nga wayiseewo ekiseera kitono, yagenda mu kibuga ekiyitibwa Nayini, era abayigirizwa be n’ekibinja ky’abantu ekinene baali batambula naye. 12  Bwe yali anaatera okutuuka ku mulyango gw’ekibuga, n’asanga ng’omulambo gw’omuvubuka gufulumizibwa wabweru. Ye yali omwana yekka ow’omukazi+ eyali nnamwandu, era waaliwo abantu bangi ab’omu kibuga abaali ne nnamwandu oyo. 13  Yesu bwe yalaba nnamwandu oyo n’amusaasira,+ n’amugamba nti: “Lekera awo okukaaba.”+ 14  Awo n’asembera n’akwata ku katanda okwali omulambo, era abaali bakasitudde ne bayimirira. N’ayogera nti: “Muvubuka, nkugamba nti, situka!”+ 15  Oyo eyali afudde n’asituka n’atandika okwogera, era Yesu n’amuwa nnyina.+ 16  Bonna ne batya, ne batandika okugulumiza Katonda nga bagamba nti: “Nnabbi omukulu alabise mu ffe,”+ era “Katonda afuddeyo ku bantu be.”+ 17  Amawulire gano agamukwatako ne gabuna mu Buyudaaya yonna ne mu bitundu byonna ebiriraanyeewo. 18  Awo abayigirizwa ba Yokaana ne babuulira Yokaana ebintu ebyo byonna.+ 19  Awo Yokaana n’ayita babiri ku bayigirizwa be n’abatuma eri Mukama waffe bamubuuze nti: “Ye ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira,+ oba tulindirire mulala?” 20  Bwe bajja gy’ali ne bamugamba nti: “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, ‘Ye ggwe wuuyo gwe tubadde tulindirira, oba tulindirire mulala?’” 21  Mu kiseera ekyo n’awonya bangi abaalina endwadde eza buli kika,+ n’abaaliko emyoyo emibi, era ne bamuzibe bangi n’abazibula amaaso. 22  N’abaddamu nti: “Mugende mubuulire Yokaana bye mulabye ne bye muwulidde: abazibe b’amaaso balaba,+ abalema batambula, abagenge bawona ne balongooka, bakiggala bawulira,+ abafu bazuukizibwa, n’abaavu babuulirwa amawulire amalungi.+ 23  Alina essanyu oyo ateesittala ku lwange.”+ 24  Abo Yokaana be yali atumye bwe baagenda, Yesu n’atandika okutegeeza ekibiina ky’abantu ebikwata ku Yokaana, ng’agamba nti: “Mwagenda kulaba ki mu ddungu? Olumuli oluyuuyizibwa empewo?+ 25  Kati olwo mwagenda kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ennungi?+ Abo abambala engoye ennungi era ababa mu bulamu obw’okwejalabya babeera mu nnyumba za bakabaka. 26  Ddala mwagenda kulaba ki? Mwagenda kulaba nnabbi? Mazima mbagamba nti, oyo gwe mwagenda okulaba mukulu nnyo okusinga nnabbi.+ 27  Oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Laba! Ntuma omubaka wange akukulemberemu;* oyo ajja kukuteekerateekera ekkubo.’+ 28  Mazima mbagamba nti, mu abo abazaalibwa abakazi, tewali asinga Yokaana; naye oyo asembayo okuba owa wansi mu Bwakabaka bwa Katonda amusinga.”+ 29  (Abantu bonna n’abasolooza omusolo bwe baawulira kino ne balangirira nti Katonda mutuukirivu, olw’okuba baali babatiziddwa Yokaana.+ 30  Naye Abafalisaayo n’abo abakenkufu mu Mateeka baasuula muguluka obulagirizi Katonda bwe yabawa,+ kubanga baali tebabatiziddwa Yokaana.) 31  “Kati olwo abantu b’omulembe guno mbageraageranye ku ani, era balinga ani?+ 32  Balinga abaana abato abatuula mu katale ne bakoowoola bannaabwe nga babagamba nti, ‘Twabafuuyira endere ne mutazina; twakuba ebiwoobe ne mutakaaba.’ 33  Mu ngeri y’emu, Yokaana Omubatiza yajja nga talya mmere era nga tanywa mwenge,+ naye ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 34  Omwana w’omuntu yajja ng’alya era ng’anywa, ne mugamba nti: ‘Laba! Omusajja ow’omululu era omutamiivu, mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi!’+ 35  Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.”+ 36  Waaliwo omu ku Bafalisaayo eyamuyita enfunda n’enfunda okulyako naye. Bw’atyo n’agenda mu nnyumba y’Omufalisaayo oyo n’atuula naye ku kijjulo. 37  Awo omukazi eyali amanyiddwa mu kibuga nti mwonoonyi n’ategeera nti Yesu yali ali mu nnyumba y’Omufalisaayo ng’alya,* era n’ajja n’eccupa y’amafuta ag’akaloosa.+ 38  N’agenda okumpi n’ebigere bya Yesu, n’akaaba, n’atonnyesa amaziga ku bigere bya Yesu era n’agasiimuulako ng’akozesa enviiri ze. Ate era n’abinywegera, n’abifukako amafuta ag’akaloosa. 39  Omufalisaayo eyali akyazizza Yesu bwe yakiraba, n’agamba mu mutima gwe nti: “Singa omuntu ono ddala abadde nnabbi yandibadde amanya omukazi amukwatako ky’ali, nti muntu mwonoonyi.”+ 40  Naye Yesu n’amugamba nti: “Simooni, nnina kye njagala okukugamba.” N’amuddamu nti: “Omuyigiriza, kiŋŋambe!” 41  “Waliwo omuntu eyali abanja abantu babiri; omu yali amubanja eddinaali* 500 ate ng’omulala amubanja 50. 42  Bwe baalemererwa okumusasula n’abasonyiwa bombi. Kati olwo ani ku bombi anaasinga okumwagala?” 43  Simooni n’amuddamu nti: “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ekisinga obunene.” N’amugamba nti: “Ozzeemu bulungi.” 44  Awo n’akyuka n’atunula eri omukazi, n’agamba Simooni nti: “Omukazi ono omulaba? Nnayingidde mu nnyumba yo naye tewampadde mazzi ga kunaaba bigere. Naye omukazi ono anaazizza ebigere byange n’amaziga ge era n’agasiimulako ng’akozesa enviiri ze. 45  Tewannywegedde, naye okuva lwe nnayingidde wano, omukazi ono tannalekera awo kunywegera bigere byange. 46  Tewanfuseeko mafuta ku mutwe, naye omukazi ono afuse ku bigere byange amafuta ag’akaloosa. 47  N’olw’ensonga eyo, nkugamba nti asonyiyiddwa ebibi bye wadde nga bingi,+ kubanga alaze okwagala kungi. Naye oyo asonyiyibwa ebitono alaga okwagala kutono.” 48  Awo n’agamba omukazi nti: “Osonyiyiddwa ebibi byo.”+ 49  Abo abaali batudde naye ku mmeeza ne batandika okwogera bokka na bokka nti: “Ono y’ani asonyiwa n’ebibi?”+ 50  Naye n’agamba omukazi nti: “Okukkiriza kwo kukuwonyezza;+ genda mirembe.”

Obugambo Obuli Wansi

Ono yali akulira abasirikale 100.
Obut., “mu maaso go.”
Oba, “atudde ku mmeeza.”