Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yobu

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Obugolokofu bwa Yobu n’obugagga bwe (1-5)

    • Sitaani abuusabuusa obwesigwa bwa Yobu (6-12)

    • Yobu afiirwa ebintu bye n’abaana be (13-19)

    • Yobu tanenya Katonda (20-22)

  • 2

    • Sitaani addamu okubuusabuusa obwesigwa bwa Yobu (1-5)

    • Sitaani akkirizibwa okulwaza Yobu (6-8)

    • Muka Yobu: “Weegaane Katonda ofe!” (9, 10)

    • Mikwano gya Yobu abasatu batuuka (11-13)

  • 3

    • Yobu yeevuma olunaku lwe yazaalibwa (1-26)

      • Yeebuuza lwaki abonaabona (20, 21)

  • 4

    • Okwogera kwa Erifaazi okusooka (1-21)

      • Abuusabuusa obugolokofu bwa Yobu (7, 8)

      • Attottola obubaka obwava eri ekitonde eky’omwoyo (12-17)

      • ‘Katonda teyeesiga baweereza be’ (18)

  • 5

    • Erifaazi yeeyongera okwogera (1-27)

      • ‘Katonda akwasa abagezi mu bukujjukujju bwabwe’ (13)

      • ‘Yobu tasaanidde kugaana kukangavvulwa Katonda’ (17)

  • 6

    • Yobu addamu (1-30)

      • Agamba nti mutuufu okwemulugunya (2-6)

      • Abamubudaabuda bakuusa (15-18)

      • “Ebigambo eby’amazima tebireeta bulumi!” (25)

  • 7

    • Yobu ayongera okwogera (1-21)

      • Obulamu bw’omuntu bulinga obw’omupakasi (1, 2)

      • “Lwaki ombonereza?” (20)

  • 8

    • Okwogera kwa Birudaadi okusooka (1-22)

      • Agamba nti abaana ba Yobu baayonoona (4)

      • ‘Singa oli mulongoofu Katonda yandikukuumye’ (6)

      • Agamba nti Yobu tatya Katonda (13)

  • 9

    • Yobu addamu (1-35)

      • Omuntu tasobola kuwoza ne Katonda (2-4)

      • ‘Katonda akola ebintu ebitanoonyezeka’ (10)

      • Omuntu tasobola kuwakana ne Katonda (32)

  • 10

    • Yobu ayongera okwogera (1-22)

      • ‘Lwaki Katonda annwanyisa?’ (2)

      • Enjawulo wakati wa Katonda ne Yobu (4-12)

      • ‘Ka nfune ku buweerero’ (20)

  • 11

    • Okwogera kwa Zofali okusooka (1-20)

      • Agamba nti Yobu by’ayogera tebiriimu nsa (2, 3)

      • Agamba Yobu okulekera awo okukola ebibi (14)

  • 12

    • Yobu addamu (1-25)

      • “Temunsinga n’akatono” (3)

      • “Nfuuse eky’okusekererwa” (4)

      • ‘Katonda alina amagezi’ (13)

      • Katonda asinga abalamuzi ne bakabaka (17, 18)

  • 13

    • Yobu yeeyongera okuddamu (1-28)

      • ‘Nnandyagadde okwogera ne Katonda’ (3)

      • “Muli basawo abataliiko kye mugasa” (4)

      • “Mmanyi nga sirina musango” (18)

      • Yeebuuza ensonga lwaki Katonda amutwala ng’omulabe (24)

  • 14

    • Yobu ayongera okwogera (1-22)

      • Obulamu bw’omuntu bumpi era bujjudde ebizibu (1)

      • “Bwe batema omuti wabaawo essuubi nti guliroka” (7)

      • “Kale singa onkwese emagombe!” (13)

      • “Omuntu bw’afa, asobola okuddamu okuba omulamu?” (14)

      • Katonda alyagala nnyo omulimu gw’engalo ze (15)

  • 15

    • Okwogera kwa Erifaazi okw’okubiri (1-35)

      • Agamba nti Yobu tatya Katonda (4)

      • Agamba nti Yobu yeetulinkiriza (7-9)

      • ‘Katonda teyeesiga batukuvu be’ (15)

      • ‘Omubi y’abonaabona’ (20-24)

  • 16

    • Yobu addamu (1-22)

      • “Mwongedde kunnakuwaza!” (2)

      • Agamba nti Katonda amulasa obusaale (12)

  • 17

    • Yobu yeeyongera okuddamu (1-16)

      • “Abakudaazi banneetoolodde” (2)

      • “Anfudde eky’okusekererwa” (6)

      • “Amagombe ge gajja okuba amaka gange” (13)

  • 18

    • Okwogera kwa Birudaadi okw’okubiri (1-21)

      • Ayogera ebituuka ku bakozi b’ebibi (5-20)

      • Agamba nti Yobu tamanyi Katonda (21)

  • 19

    • Yobu addamu (1-29)

      • Agaana okunenyezebwa “mikwano” gye (1-6)

      • Agamba nti bamwabulidde (13-19)

      • “Omununuzi wange mulamu” (25)

  • 20

    • Okwogera kwa Zofali okw’okubiri (1-29)

      • Agamba nti Yobu amunyiizizza (2, 3)

      • Agamba nti Yobu mukozi wa bibi (5)

      • Agamba nti Yobu anyumirwa okukola ebibi (12, 13)

  • 21

    • Yobu addamu (1-34)

      • ‘Lwaki ababi bagaggawala?’ (7-13)

      • Ayanika abazze “okumubudaabuda” (27-34)

  • 22

    • Okwogera kwa Erifaazi okw’okusatu (1-30)

      • ‘Omuntu asobola okugasa Katonda?’ (2, 3)

      • Agamba nti Yobu wa mululu era si mwenkanya (6-9)

      • ‘Dda eri Katonda obeere bulungi’ (23)

  • 23

    • Yobu addamu (1-17)

      • Ayagala okwanjula ensonga ze mu maaso ga Katonda (1-7)

      • Agamba nti tasobola kuzuula Katonda (8, 9)

      • “Sikyamye kuva mu kkubo lye” (11)

  • 24

    • Yobu ayongera okwogera (1-25)

      • ‘Lwaki Katonda tassaawo kiseera?’ (1)

      • Agamba nti Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo (12)

      • Ababi baagala ekizikiza (13-17)

  • 25

    • Okwogera kwa Birudaadi okw’okusatu (1-6)

      • ‘Omuntu ayinza atya obutabaako musango mu maaso ga Katonda?’ (4)

      • Agamba nti omuntu okukuuma obugolokofu tekigasa (5, 6)

  • 26

    • Yobu addamu (1-14)

      • “Ng’oyambye oyo atalina maanyi!” (1-4)

      • ‘Katonda awanika ensi awatali kigiwanirira’ (7)

      • ‘Ebyo bitono nnyo ku ebyo Katonda by’akola’ (14)

  • 27

    • Yobu mumalirivu okukuuma obugolokofu (1-23)

      • “Siryeggyako bugolokofu bwange” (5)

      • Abatatya Katonda tebalina ssuubi (8)

      • “Lwaki bye mwogera tebiriimu nsa?” (12)

      • Ababi tebafuna kintu kyonna (13-23)

  • 28

    • Yobu alaga enjawulo wakati w’eby’obugagga n’amagezi (1-28)

      • Omuntu afuba okusima eby’obugagga eby’omu ttaka (1-11)

      • Amagezi ga muwendo okusinga luulu (18)

      • Okutya Yakuwa ge magezi (28)

  • 29

    • Yobu ajjukira bwe yali nga tannafuna bizibu (1-25)

      • Yassibwangamu ekitiibwa ku mulyango gw’ekibuga (7-10)

      • Ebikolwa bye eby’obwenkanya (11-17)

      • Buli omu yawulirizanga amagezi ge (21-23)

  • 30

    • Yobu attottola engeri obulamu bwe gye bwakyukamu (1-31)

      • Abatalina mugaso bamusekerera (1-15)

      • Alabika nga Katonda gw’atayamba (20, 21)

      • “Olususu lwange luddugadde” (30)

  • 31

    • Yobu ayogera ku bugolokofu bwe (1-40)

      • “Nnakola endagaano n’amaaso gange” (1)

      • Asaba Katonda amupime ku minzaani (6)

      • Si mwenzi (9-12)

      • Si mwagazi wa ssente (24, 25)

      • Tasinza bifaananyi (26-28)

  • 32

    • Eriku omuvubuka atandika okwogera (1-22)

      • Asunguwalira Yobu ne mikwano gye (2, 3)

      • Alindirira n’obugumiikiriza nga tannayogera (6, 7)

      • Okukula si kwe kwokka okugeziwaza omuntu (9)

      • Eriku alina bingi eby’okwogera (18-20)

  • 33

    • Eriku anenya Yobu olw’okweyita omutuukirivu (1-33)

      • Ekinunulo kizuuliddwa (24)

      • Okudda obuggya nga bwe yali mu buvubuka (25)

  • 34

    • Eriku ayogera ku bwenkanya bwa Katonda n’amakubo ge (1-37)

      • Yobu yagamba nti Katonda teyamulaga bwenkanya (5)

      • Katonda ow’amazima tayinza kukola kibi (10)

      • Yobu ayogeza butamanya (35)

  • 35

    • Eriku anokolayo ebitali bituufu Yobu bye yayogera (1-16)

      • Yobu yagamba nti mutuukirivu okusinga Katonda (2)

      • Katonda ali waggulu nnyo, tayinza kukosebwa kibi (5, 6)

      • Yobu alina okulindirira Katonda (14)

  • 36

    • Eriku agulumiza obukulu bwa Katonda obutanoonyezeka (1-33)

      • Abawulize baba bulungi; abatatya Katonda baabulirwa (11-13)

      • ‘Muyigiriza ki alinga Katonda?’ (22)

      • Yobu asaanidde okugulumiza Katonda (24)

      • “Katonda mukulu okusinga bwe tumanyi” (26)

      • Katonda y’afuga enkuba n’okumyansa kw’eggulu (27-33)

  • 37

    • Amaanyi g’obutonde gooleka obukulu bwa Katonda (1-24)

      • Katonda asobola okuyimiriza emirimu gy’abantu (7)

      • ‘Lowooza ku mirimu gya Katonda egy’ekitalo’ (14)

      • Abantu tebasobola kutegeera Katonda (23)

      • Tewali muntu asaanidde kulowooza nti mugezi (24)

  • 38

    • Yakuwa akiraga nti omuntu talina bw’ali (1-41)

      • ‘Wali ludda wa ng’ensi etondebwa?’ (4-6)

      • Abaana ba Katonda baaleekaana olw’essanyu (7)

      • Ebibuuzo ebikwata ku butonde (8-32)

      • “Amateeka agafuga eggulu” (33)

  • 39

    • Ensolo zikyoleka nti omuntu talina ky’amanyi (1-30)

      • Embuzi ez’omu nsozi n’empeewo (1-4)

      • Endogoyi ey’omu nsiko (5-8)

      • Sseddume ey’omu nsiko (9-12)

      • Maaya (13-18)

      • Embalaasi (19-25)

      • Magga n’empungu (26-30)

  • 40

    • Yakuwa yeeyongera okubuuza ebibuuzo (1-24)

      • Yobu akkiriza nti talina kya kwogera (3-5)

      • “Onoobuusabuusa obwenkanya bwange?” (8)

      • Katonda ayogera ku maanyi g’envubu (15-24)

  • 41

    • Katonda ayogera ku Leviyasani eyeewuunyisa (1-34)

  • 42

    • Yobu addamu Yakuwa (1-6)

    • Mikwano gya Yobu abasatu banenyezebwa (7-9)

    • Yakuwa addizzaawo Yobu eby’obugagga bye (10-17)

      • Abaana ba Yobu ab’obulenzi n’ab’obuwala (13-15)