Olubereberye 19:1-38

  • Bamalayika bakyalira Lutti (1-11)

  • Lutti n’ab’omu maka ge bagambibwa okuva mu kibuga (12-22)

  • Sodomu ne Ggomola bizikirizibwa (23-29)

    • Muka Lutti afuuka empagi y’omunnyo (26)

  • Lutti ne bawala be (30-38)

    • Ensibuko ya Mowaabu ne Amoni (37, 38)

19  Awo bamalayika ababiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi, era Lutti yali atudde ku mulyango oguyingira mu Sodomu. Bwe yabalaba n’ayimuka okubasisinkana era n’avunnama wansi.+  N’abagamba nti: “Mbeegayiridde bakama bange, mukyame mu nnyumba y’omuweereza wammwe musule omwo n’ebigere byammwe binaazibwe, olwo mukeere ku makya mugende.” Ne bamugamba nti: “Nedda, tujja kusula mu kibangirizi ky’ekibuga.”  Naye Lutti n’abeegayirira nnyo, bwe batyo ne bagenda naye mu nnyumba ye. N’abategekera ekijjulo, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse ne balya.  Bwe baali tebanneebaka, abasajja b’omu kibuga—abasajja b’omu Sodomu bonna okuva ku mulenzi okutuuka ku musajja omukadde—ne beetooloola ennyumba ye nga bali mu kibinja kimu.  Ne bayita Lutti nga bwe bamugamba nti: “Abasajja abazze gy’oli ekiro kino baluwa? Bafulumye twegatte nabo.”+  Awo Lutti n’afuluma gye baali ku mulyango, n’aggalawo oluggi lw’ennyumba ye.  N’abagamba nti: “Mbeegayiridde baganda bange, temukola kintu kibi ekyenkanidde awo.  Laba, nnina bawala bange babiri abateegattangako na musajja. Ka mbafulumye mubakole kye mwagala, naye abasajja bano temubakolako kintu kyonna kubanga bazze wansi w’akasolya* kange okufuna obukuumi.”+  Ne bamuddamu nti: “Tuviire!” Era ne bagattako nti: “Omugwira ono ali obw’omu ati yajja kusenga wano kyokka kati yeefuula mulamuzi waffe. Kaakano kye tugenda okukukola kibi nnyo n’okusinga kye tugenda okubakola.” Awo ne beekuŋŋaanyiza* ku Lutti era ne basembera okumenya oluggi. 10  Abasajja ne bagolola emikono gyabwe ne basikayo Lutti ne bamuyingiza mu nju mwe baali, ne baggalawo oluggi. 11  Naye ne baziba amaaso g’abasajja abaali ku mulyango, okuva ku muto okutuuka ku mukulu, bwe batyo ne bategana nnyo nga bagezaako okunoonya omulyango. 12  Abasajja ne bagamba Lutti nti: “Wano olinawo abantu abalala? Bw’oba olina bakoddomi bo, batabani bo, bawala bo, oba abantu bo abalala bonna mu kibuga, baggye mu kifo kino! 13  Tugenda kukizikiriza kubanga okwemulugunya ku bantu abakirimu kweyongedde nnyo mu maaso ga Yakuwa,+ era Yakuwa atutumye tukizikirize.” 14  Awo Lutti n’agenda n’ayogera ne bakoddomi be abaali ab’okuwasa bawala be, n’abagamba nti: “Mwanguwe muve mu kifo kino, kubanga Yakuwa agenda kuzikiriza ekibuga kino!” Naye eri bakoddomi be yali ng’omuntu asaaga.+ 15  Emmambya bwe yali esala, bamalayika ne bakubiriza Lutti ayanguwe nga bagamba nti: “Yanguwa otwale mukazi wo ne bawala bo ababiri abali naawe, oleme okuzikirizibwa ng’ekibuga kizikirizibwa olw’okwonoona kwakyo.”+ 16  Olw’obusaasizi Yakuwa bwe yamulaga,+ Lutti bwe yali akyekunya, abasajja ne bamukwata ku mukono, ye ne mukazi we ne bawala be ababiri, ne babafulumya ebweru w’ekibuga.+ 17  Olwali okutuuka ku njegoyego z’ekibuga, omu ku basajja n’agamba nti: “Dduka owonye obulamu bwo! Totunula mabega+ era toyimirira wantu wonna mu kitundu kino.+ Ddukira mu nsozi oleme kuzikirizibwa!” 18  Lutti n’abagamba nti: “Si eyo, nkwegayiridde Yakuwa!” 19  Kaakano omuweereza wo asiimiddwa mu maaso go. Ondaze ekisa* kingi nnyo n’omponyaawo,+ naye sisobola kuddukira mu nsozi kubanga ntya nti akabi kayinza okuntuukako ne nfa.+ 20  Laba, ekibuga kino kiri kumpi, nsobola okuddukira omwo; ate kifo kitono. Nkusaba onzikirize nzirukire omwo. Kifo kitono. Awo nja kusobola okuwonawo.” 21  N’amugamba nti: “Kale nja kukukolera ky’osabye.+ Sijja kuzikiriza kibuga ky’ogambye.+ 22  Yanguwa oddukire eyo kubanga siyinza kubaako kye nkola nga tonnatuukayo.”+ Eyo ye nsonga lwaki ekibuga ekyo yakituuma Zowaali.*+ 23  Enjuba yali evuddeyo Lutti we yatuukira mu Zowaali. 24  Awo Yakuwa n’atonnyesa amayinja agookya n’omuliro ku Sodomu ne ku Ggomola—byava eri Yakuwa; byava mu ggulu.+ 25  Bw’atyo n’azikiriza ebibuga ebyo n’ekitundu ekyo kyonna, n’abantu bonna abaali mu bibuga ebyo era n’ebimera byonna ebyali ku ttaka.+ 26  Mukazi wa Lutti eyali amuvaako ennyuma n’atunula emabega, n’afuuka empagi y’omunnyo.+ 27  Ibulayimu n’akeera ku makya ennyo n’agenda mu kifo we yayimiririra mu maaso ga Yakuwa.+ 28  Bwe yatunuulira Sodomu ne Ggomola n’ekitundu ekyo kyonna, n’alaba ng’ekikka kinyooka mu kitundu ekyo, nga kiringa ekikka ekiva mu kyokero.+ 29  Katonda bwe yazikiriza ebibuga by’omu kitundu ekyo, yalowooza ku Ibulayimu n’aggya Lutti mu bibuga ebyo bye yazikiriza, ebibuga Lutti mwe yali abeera.+ 30  Oluvannyuma Lutti yava mu Zowaali ne bawala be ababiri n’atandika okubeera mu nsozi,+ kubanga yali atya okubeera mu Zowaali.+ Bw’atyo n’atandika okubeera mu mpuku ne bawala be ababiri. 31  Omubereberye n’agamba omuto nti: “Kitaffe akaddiye ate tewali musajja mu nsi eno anaatuwasa ng’empisa bw’eri mu nsi. 32  Kale tuwe kitaffe omwenge anywe, twebake naye olunyiriri lwa kitaffe luleme kusaanawo.” 33  Awo ne bawa kitaabwe omwenge mungi ekiro ekyo; omubereberye n’agenda ne yeebaka ne kitaawe, naye kitaawe n’atamanya ddi omuwala oyo lwe yeebaka naye na ddi lwe yasitukawo. 34  Ku lunaku olwaddako omubereberye n’agamba omuto nti: “Ekiro nneebase ne kitaffe, n’ekiro kya leero tumuwe omwenge anywe, ogende weebake naye olunyiriri lwa kitaffe luleme kusaanawo.” 35  Era ekiro ekyo ne bawa kitaabwe omwenge; omuto n’agenda ne yeebaka ne kitaabwe, naye kitaabwe n’atamanya ddi omuwala oyo lwe yeebaka naye na ddi lwe yasitukawo. 36  Bawala ba Lutti bombi ne bafuna embuto mu kitaabwe. 37  Omubereberye n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Mowaabu.+ Oyo ye kitaawe w’abo leero abayitibwa Abamowaabu.+ 38  N’omuto n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Beni-ami. Oyo ye kitaawe w’abo leero abayitibwa Abaamoni.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “w’obukuumi.” Obut., “w’ekisiikirize.”
Oba, “ne banyigiriza nnyo.”
Oba, “okwagala okutajjulukuka.”
Litegeeza, “Obutono.”