Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olubereberye

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Okutondebwa kw’eggulu n’ensi (1, 2)

    • Ensi eteekebwateekebwa okumala ennaku mukaaga (3-31)

      • Olunaku olusooka: ekitangaala; emisana n’ekiro (3-5)

      • Olunaku olw’okubiri: ebbanga (6-8)

      • Olunaku olw’okusatu: olukalu n’ebimera ((9-13)

      • Olunaku olw’okuna: ebyaka eby’omu bbanga ((14-19)

      • Olunaku olw’okutaano: ebyennyanja n’ebinyonyi (20-23)

      • Olunaku olw’omukaaga: ebisolo eby’oku lukalu n’abantu (24-31)

  • 2

    • Katonda awummula ku lunaku olw’omusanvu (1-3)

    • Yakuwa Katonda Omutonzi w’eggulu n’ensi (4)

    • Omusajja n’omukazi mu lusuku Edeni (5-25)

      • Omusajja akolebwa okuva mu nfuufu (7)

      • Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi (15-17)

      • Omukazi atondebwa (18-25)

  • 3

    • Ensibuko y’ekibi ky’omuntu (1-13)

      • Obulimba obwasooka (4, 5)

    • Yakuwa asalira abajeemu omusango (14-24)

      • Ezzadde ly’omukazi (15)

      • Okugobwa mu Edeni (23, 24)

  • 4

    • Kayini ne Abbeeri (1-16)

    • Bazzukulu ba Kayini (17-24)

    • Seezi ne mutabani we Enosi (25, 26)

  • 5

    • Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa (1-32)

      • Adamu yazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala (4)

      • Enoka yatambula ne Katonda (21-24)

  • 6

    • Abaana ba Katonda bawasa abakazi ku nsi (1-3)

    • Abanefuli bazaalibwa (4)

    • Ebikolwa by’omuntu ebibi binakuwaza Yakuwa (5-8)

    • Nuuwa alagirwa okuzimba eryato (9-16)

    • Katonda alangirira okujja kw’Amataba (17-22)

  • 7

    • Okuyingira mu lyato (1-10)

    • Amataba ku nsi (11-24)

  • 8

    • Amazzi g’amataba gakalira (1-14)

      • Ejjiba lisindikibwa ebweru (8-12)

    • Okuva mu lyato (15-19)

    • Ekisuubizo kya Katonda eri ensi (20-22)

  • 9

    • Ebiragiro eri abantu bonna (1-7)

      • Etteeka erikwata ku musaayi (4-6)

    • Endagaano eya musoke (8-17)

    • Obunnabbi obukwata ku bazzukulu ba Nuuwa (18-29)

  • 10

    • Olukalala lw’amawanga (1-32)

      • Bazzukulu ba Yafeesi (2-5)

      • Bazzukulu ba Kaamu (6-20)

        • Nimuloodi aziyiza Yakuwa (8-12)

      • Bazzukulu ba Seemu (21-31)

  • 11

    • Omunaala gw’e Babeeri (1-4)

    • Yakuwa atabulatabula olulimi (5-9)

    • Okuva ku Seemu okutuuka ku Ibulaamu (10-32)

      • Ab’omu maka ga Teera (27)

      • Ibulaamu ava e Uli (31)

  • 12

    • Ibulaamu ava e Kalani n’agenda e Kanani (1-9)

      • Katonda asuubiza Ibulaamu (7)

    • Ibulaamu ne Salaayi e Misiri (10-20)

  • 13

    • Ibulaamu akomawo e Kanani (1-4)

    • Ibulaamu ne Lutti baawukana (5-13)

    • Katonda addamu okusuubiza Ibulaamu (14-18)

  • 14

    • Ibulaamu anunula Lutti (1-16)

    • Merukizeddeeki awa Ibulaamu omukisa (17-24)

  • 15

    • Katonda akola endagaano ne Ibulaamu (1-21)

      • Emyaka 400 egy’okubonyaabonyezebwa gyogerwako (13)

      • Katonda addamu okusuubiza Ibulaamu (18-21)

  • 16

    • Agali ne Isimayiri (1-16)

  • 17

    • Ibulayimu wa kufuuka kitaawe w’amawanga mangi (1-8)

      • Ibulaamu atuumibwa Ibulayimu (5)

    • Endagaano y’okukomolebwa (9-14)

    • Salaayi atuumibwa Saala (15-17)

    • Basuubizibwa okuzaala Isaaka (18-27)

  • 18

    • Bamalayika basatu bakyalira Ibulayimu (1-8)

    • Saala asuubizibwa okuzaala omwana ow’obulenzi; aseka (9-15)

    • Ibulayimu yeegayirira ku lwa Sodomu (16-33)

  • 19

    • Bamalayika bakyalira Lutti (1-11)

    • Lutti n’ab’omu maka ge bagambibwa okuva mu kibuga (12-22)

    • Sodomu ne Ggomola bizikirizibwa (23-29)

      • Muka Lutti afuuka empagi y’omunnyo (26)

    • Lutti ne bawala be (30-38)

      • Ensibuko ya Mowaabu ne Amoni (37, 38)

  • 20

    • Saala anunulibwa okuva ewa Abimereki (1-18)

  • 21

    • Isaaka azaalibwa (1-7)

    • Isimayiri akudaalira Isaaka (8, 9)

    • Agali ne Isimayiri bagobebwa (10-21)

    • Endagaano ya Ibulayimu ne Abimereki (22-34)

  • 22

    • Ibulayimu alagirwa okuwaayo Isaaka (1-19)

      • Okufuna emikisa okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu (15-18)

    • Ab’omu maka ga Lebbeeka (20-24)

  • 23

    • Okufa kwa Saala n’ekifo w’aziikibwa (1-20)

  • 24

    • Okufunira Isaaka omukazi (1-58)

    • Lebbeeka agenda okusisinkana Isaaka (59-67)

  • 25

    • Ibulayimu addamu okuwasa (1-6)

    • Ibulayimu afa (7-11)

    • Abaana ba Isimayiri (12-18)

    • Yakobo ne Esawu bazaalibwa (19-26)

    • Esawu atunda obusika bwe (27-34)

  • 26

    • Isaaka ne Lebbeeka e Gerali (1-11)

      • Katonda abuulira Isaaka ekyo kye yasuubiza (3-5)

    • Okukaayanira enzizi (12-25)

    • Isaaka akola endagaano ne Abimereki (26-33)

    • Bakazi ba Esawu ababiri Abakiiti (34, 35)

  • 27

    • Isaaka awa Yakobo emikisa (1-29)

    • Esawu ayagala okufuna emikisa naye teyeenenya (30-40)

    • Esawu akyawa Yakobo (41-46)

  • 28

    • Isaaka agamba Yakobo okugenda e Padanalaamu (1-9)

    • Ekirooto kya Yakobo ng’ali e Beseri (10-22)

      • Katonda abuulira Yakobo ekyo kye yasuubiza (13-15)

  • 29

    • Yakobo asisinkana Laakeeri (1-14)

    • Yakobo ayagala Laakeeri (15-20)

    • Yakobo awasa Leeya ne Laakeeri (21-29)

    • Batabani ba Yakobo abana be yazaala mu Leeya: Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, ne Yuda (30-35)

  • 30

    • Biruka azaala Ddaani ne Nafutaali (1-8)

    • Zirupa azaala Gaadi ne Aseri (9-13)

    • Leeya azaala Isakaali ne Zebbulooni (14-21)

    • Laakeeri azaala Yusufu (22-24)

    • Ebisibo bya Yakobo byeyongera (25-43)

  • 31

    • Yakobo asitula okugenda e Kanani (1-18)

    • Labbaani awondera Yakobo era amusanga (19-35)

    • Yakobo ne Labbaani bakola endagaano (36-55)

  • 32

    • Bamalayika basisinkana Yakobo (1, 2)

    • Yakobo ateekateeka okusisinkana Esawu (3-23)

    • Yakobo ameggana ne malayika (24-32)

      • Yakobo atuumibwa Isirayiri (28)

  • 33

    • Yakobo asisinkana Esawu (1-16)

    • Yakobo agenda e Sekemu (17-20)

  • 34

    • Dina akwatibwa (1-12)

    • Batabani ba Yakobo batta abantu (13-31)

  • 35

    • Yakobo yeggyako bakatonda abalala (1-4)

    • Yakobo akomawo e Beseri (5-15)

    • Benyamini azaalibwa; Laakeeri afa (16-20)

    • Batabani ba Isirayiri 12 (21-26)

    • Isaaka afa (27-29)

  • 36

    • Bazzukulu ba Esawu (1-30)

    • Bakabaka n’abaami ba Edomu (31-43)

  • 37

    • Ebirooto bya Yusufu (1-11)

    • Yusufu ne baganda be ab’obuggya (12-24)

    • Yusufu atundibwa mu buddu (25-36)

  • 38

    • Yuda ne Tamali (1-30)

  • 39

    • Yusufu mu nnyumba ya Potifaali (1-6)

    • Yusufu agaana okwebaka ne muka Potifaali (7-20)

    • Yusufu mu kkomera (21-23)

  • 40

    • Yusufu annyonnyola amakulu g’ebirooto (1-19)

      • ‘Okutegeeza amakulu kwa Katonda’ (8)

    • Embaga y’amazaalibwa ga Falaawo (20-23)

  • 41

    • Yusufu abuulira Falaawo amakulu g’ebirooto (1-36)

    • Falaawo akuza Yusufu (37-46a)

    • Yusufu aguza abantu emmere (46b-57)

  • 42

    • Baganda ba Yusufu bagenda e Misiri (1-4)

    • Yusufu agezesa baganda be (5-25)

    • Baganda ba Yusufu baddayo eka eri Yakobo (26-38)

  • 43

    • Baganda ba Yusufu baddayo e Misiri nga bali ne Benyamini (1-14)

    • Yusufu addamu okusisinkana baganda be (15-23)

    • Yusufu alya ne baganda be ekijjulo (24-34)

  • 44

    • Ekikopo kya Yusufu ekya ffeeza mu nsawo ya Benyamini (1-17)

    • Yuda yeegayirira ku lwa Benyamini (18-34)

  • 45

    • Yusufu yeeyoleka eri baganda be (1-15)

    • Baganda ba Yusufu bakomawo okunona Yakobo (16-28)

  • 46

    • Yakobo n’ab’omu nnyumba ye bagenda e Misiri (1-7)

    • Amannya g’abo abaagenda e Misiri (8-27)

    • Yusufu asisinkana Yakobo e Goseni (28-34)

  • 47

    • Yakobo agenda eri Falaawo (1-12)

    • Abantu baguza Yusufu ebyabwe byonna bafune emmere (13-26)

    • Abayisirayiri bakkalira e Goseni (27-31)

  • 48

    • Yakobo awa abaana ba Yusufu ababiri omukisa (1-12)

    • Efulayimu aweebwa omukisa ogusinga ku gwa Manase (13-22)

  • 49

    • Obunnabbi bwa Yakobo ng’anaatera okufa (1-28)

      • Siiro wa kuva mu Yuda (10)

    • Yakobo awa ebiragiro ebikwata ku kuziikibwa kwe (29-32)

    • Yakobo afa (33)

  • 50

    • Yusufu aziika Yakobo mu Kanani (1-14)

    • Yusufu addamu okugamba baganda be nti yabasonyiwa (15-21)

    • Ennaku za Yusufu ezaasembayo n’okufa kwe (22-26)

      • Yusufu awa ebiragiro ebikwata ku magumba ge (25)