Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yoswa

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Yakuwa agumya Yoswa (1-9)

      • Soma Amateeka ogafumiitirizeeko (8)

    • Okwetegeka okusomoka Yoludaani (10-18)

  • 2

    • Yoswa atuma abakessi babiri okuketta Yeriko (1-3)

    • Lakabu akweka abakessi (4-7)

    • Lakabu aweebwa ekisuubizo (8-21a)

      • Akaguwa akamyufu (18)

    • Abakessi bakomawo eri Yoswa (21b-24)

  • 3

    • Abayisirayiri basomoka Yoludaani (1-17)

  • 4

    • Amayinja ag’ekijjukizo (1-24)

  • 5

    • Okukomola abasajja e Girugaali (1-9)

    • Okukwata Okuyitako; emmaanu erekera awo okugwa (10-12)

    • Omulangira w’eggye lya Yakuwa (13-15)

  • 6

    • Bbugwe wa Yeriko agwa (1-21)

    • Lakabu n’ab’omu maka ge bawonawo (22-27)

  • 7

    • Abayisirayiri bawangulwa e Ayi (1-5)

    • Essaala ya Yoswa (6-9)

    • Okwonoona kuviirako Isirayiri okuwangulwa (10-15)

    • Akani bamwanika era akubwa amayinja (16-26)

  • 8

    • Yoswa alumba Ayi (1-13)

    • Ayi kiwambibwa (14-29)

    • Amateeka gasomebwa ku Lusozi Ebali (30-35)

  • 9

    • Abagibiyoni abagezigezi banoonya emirembe (1-15)

    • Kitegeerebwa nti Abagibiyoni baalimba (16-21)

    • Abagibiyoni ba kusennya nku n’okukima amazzi (22-27)

  • 10

    • Abayisirayiri balwanirira Abagibiyoni (1-7)

    • Yakuwa alwanirira Isirayiri (8-15)

      • Amayinja g’omuzira gakuba abalabe nga badduka (11)

      • Enjuba esigala mu kifo kimu (12-14)

    • Bakabaka abataano battibwa (16-28)

    • Ebibuga eby’omu bukiikaddyo biwambibwa (29-43)

  • 11

    • Ebibuga eby’omu bukiikakkono biwambibwa (1-15)

    • Obuwanguzi bwa Yoswa (16-23)

  • 12

    • Bakabaka abali ebuvanjuba wa Yoludaani bawangulwa (1-6)

    • Bakabaka abali ebukiikaddyo wa Yoludaani bawangulwa (7-24)

  • 13

    • Ebitundu by’ensi ebitannawambibwa (1-7)

    • Okugabanyaamu ensi ebuvanjuba wa Yoludaani (8-14)

    • Obusika bwa Lewubeeni (15-23)

    • Obusika bwa Gaadi (24-28)

    • Obusika bwa Manase ku luuyi olw’ebuvanjuba (29-32)

    • Yakuwa bwe busika bw’Abaleevi (33)

  • 14

    • Okugabanyaamu ensi ebugwanjuba wa Yoludaani (1-5)

    • Kalebu aweebwa Kebbulooni ng’obusika (6-15)

  • 15

    • Obusika bwa Yuda (1-12)

    • Muwala wa Kalebu aweebwa ekibanja (13-19)

    • Ebibuga bya Yuda (20-63)

  • 16

    • Obusika bw’abazzukulu ba Yusufu (1-4)

    • Obusika bwa Efulayimu (5-10)

  • 17

    • Obusika bwa Manase ku luuyi olw’ebugwanjuba (1-13)

    • Ebitundu ebirala ebiweebwa bazzukulu ba Yusufu (14-18)

  • 18

    • Ebitundu ebirala eby’ensi bigabanyizibwaamu e Siiro (1-10)

    • Obusika bwa Benyamini (11-28)

  • 19

    • Obusika bwa Simiyoni (1-9)

    • Obusika bwa Zebbulooni (10-16)

    • Obusika bwa Isakaali (17-23)

    • Obusika bwa Aseri (24-31)

    • Obusika bwa Nafutaali (32-39)

    • Obusika bwa Ddaani (40-48)

    • Obusika bwa Yoswa (49-51)

  • 20

    • Ebibuga eby’okuddukiramu (1-9)

  • 21

    • Ebibuga by’Abaleevi (1-42)

      • Ebya bazzukulu ba Alooni (9-19)

      • Eby’Abakokasi abaali basigalidde (20-26)

      • Eby’Abagerusoni (27-33)

      • Eby’Abamerali (34-40)

    • Ebisuubizo bya Yakuwa bituukirira (43-45)

  • 22

    • Ebika eby’ebuvanjuba biddayo eka (1-8)

    • Ekyoto kizimbibwa ku Yoludaani (9-12)

    • Bannyonnyola ensonga eyabazimbisa ekyoto (13-29)

    • Olutalo lwewalibwa (30-34)

  • 23

    • Yoswa by’asembayo okugamba abakulembeze mu Isirayiri (1-16)

      • Tewali na kimu ku bigambo bya Yakuwa ekitatuukiridde (14)

  • 24

    • Yoswa ayitaayita mu byafaayo bya Isirayiri (1-13)

    • Akubiriza abantu okuweereza Yakuwa (14-24)

      • “Nze n’ab’omu nnyumba yange tunaaweerezanga Yakuwa” (15)

    • Yoswa akola endagaano ne Isirayiri (25-28)

    • Yoswa afa era aziikibwa (29-31)

    • Amagumba ga Yusufu gaziikibwa e Sekemu (32)

    • Eriyazaali afa era aziikibwa (33)