Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yeremiya

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Yeremiya alondebwa okuba nnabbi (1-10)

    • Okwolesebwa okukwata ku muloozi (11, 12)

    • Okwolesebwa okukwata ku ntamu (13-16)

    • Yeremiya azzibwamu amaanyi (17-19)

  • 2

    • Isirayiri ava ku Yakuwa n’asinza bakatonda abalala (1-37)

      • Isirayiri alinga omuzabbibu ogw’omu nsiko (21)

      • Engoye ze zijjudde omusaayi (34)

  • 3

    • Okwewaggula kwa Isirayiri (1-5)

    • Isirayiri ne Yuda baliko ekibi ky’obwenzi (6-11)

    • Bakoowoolwa beenenye (12-25)

  • 4

    • Okwenenya kuvaamu emikisa (1-4)

    • Akabi kajja kuva ebukiikakkono (5-18)

    • Obulumi Yeremiya bw’awulira olw’akabi akajja (19-31)

  • 5

    • Abantu bagaana okukangavvulwa Yakuwa (1-13)

    • Kuzikirizibwa naye si kusaanirawo ddala (14-19)

    • Yakuwa avunaana abantu be (20-31)

  • 6

    • Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi kuli kumpi (1-9)

    • Yakuwa asunguwalidde Yerusaalemi (10-21)

      • Bagamba nti ‘Mirembe!’ ng’ate tewali mirembe (14)

    • Okulumbibwa abava ebukiikakkono (22-26)

    • Yeremiya wa kuba ng’oyo aggya amasengere mu byuma (27-30)

  • 7

    • Okussa obwesige mu yeekaalu ya Yakuwa tekigasa (1-11)

    • Yeekaalu ya kufuuka nga Siiro (12-15)

    • Okusinza okutaliimu nsa kuvumirirwa (16-34)

      • “Nnaabakyala w’Eggulu” asinzibwa (18)

      • Okusaddaaka abaana mu Kinomu (31)

  • 8

    • Abantu bagoberera ekkubo ery’abangi (1-7)

    • Magezi ki awatali kigambo kya Yakuwa? (8-17)

    • Yeremiya munakuwavu olw’obuvune bwa Yuda (18-22)

      • “Teri basamu mu Gireyaadi?” (22)

  • 9

    • Ennaku ya Yeremiya (1-3a)

    • Yakuwa ayanika ebibi bya Yuda (3b-16)

    • Okukungubagira Yuda (17-22)

    • Okwenyumiriza olw’okumanya Yakuwa (23-26)

  • 10

    • Enjawulo eriwo wakati wa bakatonda b’amawanga ne Katonda omulamu (1-16)

    • Okuzikirizibwa n’okuwaŋŋangusibwa kuli kumpi (17, 18)

    • Yeremiya alojja ennaku ye (19-22)

    • Essaala ya Yeremiya (23-25)

      • Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye (23)

  • 11

    • Yuda emenya endagaano gye yakola ne Katonda (1-17)

      • Bakatonda bangi ng’ebibuga (13)

    • Yeremiya alinga omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa (18-20)

    • Yeremiya ayigganyizibwa ab’omu kibuga ky’ewaabwe (21-23)

  • 12

    • Yeremiya yeemulugunya (1-4)

    • Yakuwa amuddamu (5-17)

  • 13

    • Omusipi ogwa kitaani ogwonoonese (1-11)

    • Ensumbi z’omwenge za kwasibwa (12-14)

    • Ab’omu Yuda abakakanyavu ba kuwaŋŋangusibwa (15-27)

      • “Omukuusi asobola okukyusa langi y’olususu lwe?” (23)

  • 14

    • Ekyeya, enjala, n’ekitala (1-12)

    • Bannabbi ab’obulimba basalirwa omusango (13-18)

    • Yeremiya akkiriza nti abantu boonoonye (19-22)

  • 15

    • Yakuwa tajja kukyusa musango gw’asaze (1-9)

    • Yeremiya yeemulugunya (10)

    • Yakuwa amuddamu (11-14)

    • Essaala ya Yeremiya (15-18)

      • Afuna essanyu mu kulya ebigambo bya Katonda (16)

    • Yakuwa agumya Yeremiya (19-21)

  • 16

    • Yeremiya si wa kuwasa, oba kukungubaga, oba kugenda ku bijjulo (1-9)

    • Ekibonerezo; okukomezebwawo (10-21)

  • 17

    • Ekibi kya Yuda kyasimba amakanda (1-4)

    • Emikisa egiva mu kwesiga Yakuwa (5-8)

    • Omutima omulimba (9-11)

    • Yakuwa, essuubi lya Isirayiri (12, 13)

    • Essaala ya Yeremiya (14-18)

    • Okutwala Ssabbiiti ng’olunaku olutukuvu (19-27)

  • 18

    • Ebbumba mu mikono gy’omubumbi (1-12)

    • Yakuwa akuba Isirayiri amabega (13-17)

    • Bakolera Yeremiya olukwe; awanjaga (18-23)

  • 19

    • Yeremiya agambibwa okumenya ensumbi ey’ebbumba (1-15)

      • Okusaddaakira Bbaali abaana (5)

  • 20

    • Pasukuli akuba Yeremiya (1-6)

    • Yeremiya tasobola kulekera awo kubuulira (7-13)

      • Ekigambo kya Katonda kiringa omuliro ogubuubuuka (9)

      • Yakuwa alinga omulwanyi ow’entiisa (11)

    • Yeremiya yeemulugunya (14-18)

  • 21

    • Yakuwa agaana okukola Zeddeekiya ky’asaba (1-7)

    • Abantu ba kulondawo obulamu oba okufa (8-14)

  • 22

    • Obubaka eri bakabaka ababi (1-30)

  • 23

    • Abasumba abalungi n’ababi (1-4)

    • Emirembe mu bufuzi ‘bw’omusika omutuukirivu’ (5-8)

    • Bannabbi ab’obulimba basalirwa omusango (9-32)

    • “Omugugu” gwa Yakuwa (33-40)

  • 24

    • Ebibala by’ettiini ebirungi n’ebibi (1-10)

  • 25

    • Yakuwa alina ky’avunaana amawanga (1-38)

      • Amawanga ga kuweereza Babulooni emyaka 70 (11)

      • Ekikopo ky’omwenge gw’obusungu bwa Yakuwa (15)

      • Akabi kava ku ggwanga erimu okudda ku ddala (32)

      • Abo abattibwa Yakuwa (33)

  • 26

    • Baagala okutta Yeremiya (1-15)

    • Yeremiya tattibwa (16-19)

      • Bajuliza obunnabbi bwa Mikka (18)

    • Nnabbi Uliya (20-24)

  • 27

    • Ekikoligo kya Babulooni (1-11)

    • Zeddeekiya agambibwa okugondera Abababulooni (12-22)

  • 28

    • Yeremiya ne nnabbi ow’obulimba Kananiya (1-17)

  • 29

    • Ebbaluwa ya Yeremiya eri abali mu buwaŋŋanguse e Babulooni (1-23)

      • Abayisirayiri ba kukomawo oluvannyuma lw’emyaka 70 (10)

    • Obubaka eri Semaaya (24-32)

  • 30

    • Ebisuubizo ebikwata ku kukomezebwawo n’okuwonyezebwa (1-24)

  • 31

    • Abayisirayiri abalisigalawo ba kudda mu nsi yaabwe (1-30)

      • Laakeeri akaabira abaana be (15)

    • Endagaano empya (31-40)

  • 32

    • Yeremiya agula ekibanja (1-15)

    • Essaala ya Yeremiya (16-25)

    • Yakuwa bye yamuddamu (26-44)

  • 33

    • Ekisuubizo ky’okuzzaawo ebintu nga bwe byali (1-13)

    • Emirembe wansi w’obufuzi ‘bw’omusika omutuukirivu’ (14-16)

    • Endagaano eyakolebwa ne Dawudi era ne bakabona (17-26)

      • Endagaano ekwata ku kiro n’emisana (20)

  • 34

    • Obubaka eri Zeddeekiya obw’okusalirwa omusango (1-7)

    • Endagaano ey’okuwa abaddu eddembe emenyebwa (8-22)

  • 35

    • Abalekabu booleka obuwulize obw’ekitalo (1-19)

  • 36

    • Yeremiya ayogera nga Baluki bw’awandiika mu muzingo (1-7)

    • Baluki asoma ebiri mu muzingo mu ddoboozi ery’omwanguka (8-19)

    • Yekoyakimu ayokya omuzingo (20-26)

    • Obubaka buwandiikibwa mu muzingo omulala (27-32)

  • 37

    • Abakaludaaya bagumbulukuka (1-10)

    • Yeremiya asibibwa mu kkomera (11-16)

    • Zeddeekiya asisinkana Yeremiya (17-21)

      • Yeremiya aweebwa emmere (21)

  • 38

    • Yeremiya asuulibwa mu luzzi (1-6)

    • Ebedumereki aggyayo Yeremiya (7-13)

    • Yeremiya akubiriza Zeddeekiya okwewaayo (14-28)

  • 39

    • Okugwa kwa Yerusaalemi (1-10)

      • Zeddeekiya adduka era akwatibwa (4-7)

    • Yeremiya si wa kutuukibwako kabi (11-14)

    • Ebedumereki wa kuwonawo (15-18)

  • 40

    • Nebuzaladaani ata Yeremiya (1-6)

    • Gedaliya alondebwa okufuga Yuda (7-12)

    • Olukwe lw’okutta Gedaliya (13-16)

  • 41

    • Isimayiri atta Gedaliya (1-10)

    • Isimayiri adduka ku Yokanani (11-18)

  • 42

    • Abantu bagamba Yeremiya asabe Katonda bafune obulagirizi (1-6)

    • Yakuwa abaddamu nti: “Temugenda Misiri” (7-22)

  • 43

    • Abantu bajeema ne bagenda e Misiri (1-7)

    • Yakuwa ayogera ne Yeremiya ng’ali e Misiri (8-13)

  • 44

    • Kiragulwa nti Abayudaaya bajja kufuna emitawaana mu Misiri (1-14)

    • Abantu tebakolera ku kulabula kwa Yakuwa (15-30)

      • “Nnaabakyala w’Eggulu” asinzibwa (17-19)

  • 45

    • Obubaka bwa Yakuwa eri Baluki (1-5)

  • 46

    • Obunnabbi obukwata ku Misiri (1-26)

      • Nebukadduneeza wa kulumba Misiri (13, 26)

    • Ebisuubizo eri Isirayiri (27, 28)

  • 47

    • Obunnabbi obukwata ku Bafirisuuti (1-7)

  • 48

    • Obunnabbi obukwata ku Mowaabu (1-47)

  • 49

    • Obunnabbi obukwata ku Amoni (1-6)

    • Obunnabbi obukwata ku Edomu (7-22)

      • Eggwanga lya Edomu lijja kusaanawo (17, 18)

    • Obunnabbi obukwata ku Ddamasiko (23-27)

    • Obunnabbi obukwata ku Kedali ne Kazoli (28-33)

    • Obunnabbi obukwata ku Eramu (34-39)

  • 50

    • Obunnabbi obukwata ku Babulooni (1-46)

      • Mudduke mu Babulooni (8)

      • Abayisirayiri bajja kukomezebwawo (17-19)

      • Amazzi ga Babulooni ga kukalira (38)

      • Babulooni kya kufuuka matongo (39, 40)

  • 51

    • Obunnabbi obukwata ku Babulooni (1-64)

      • Babulooni kya kuwambibwa Abameedi (8-12)

      • Ekitabo kisuulibwa mu Mugga Fulaati (59-64)

  • 52

    • Zeddeekiya ajeemera Babulooni (1-3)

    • Nebukadduneeza azingiza Yerusaalemi (4-11)

    • Ekibuga ne yeekaalu bizikirizibwa (12-23)

    • Abantu batwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni (24-30)

    • Yekoyakini ateebwa okuva mu kkomera (31-34)