Isaaya 61:1-11

  • Afukibwako amafuta okubuulira amawulire amalungi (1-11)

    • “Omwaka ogw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa” (2)

    • “Emiti eminene egy’obutuukirivu” (3)

    • Bannaggwanga ba kuyambako (5)

    • “Bakabona ba Yakuwa” (6)

61  Omwoyo gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna gundiko,+Kubanga Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi.+ Yantuma okusiba ebiwundu by’abo abalina emitima egimenyese,Okulangirira nti abawambe bajja kuteebwaEra nti n’amaaso g’abasibe gajja kuzibulirwa ddala,+   Okulangirira omwaka gw’okulagirwamu ekisa kya YakuwaN’olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwoolerako eggwanga,+Okubudaabuda abo bonna abakungubaga,+   Okuwa abo abakungubagira Sayuuni bye beetaaga,Okubawa eky’oku mutwe mu kifo ky’evvu,Amafuta ag’okusanyuka mu kifo ky’okukungubaga,Ekyambalo eky’okutendereza mu kifo ky’omutima omunakuwavu. Era baliyitibwa emiti eminene egy’obutuukirivu,Yakuwa gye yasimba, asobole okugulumizibwa.*+   Baliddamu okuzimba ebyayonooneka eby’edda;Balizzaawo ebifo eby’edda ebyafuulibwa amatongo,+Era balizzaawo ebibuga ebyayonoonebwa,+Ebifo ebyasigala amatongo emyaka n’emyaka.+   “Bannaggwanga balijja ne balunda ebisibo byammwe,Era abagwira+ balibalimira era balikola mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.+   Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Yakuwa;+Balibayita baweereza ba Katonda waffe. Mulirya eby’obugagga by’amawanga,+Era mulyenyumiririza mu kitiibwa kyago.*   Mu kifo ky’okukwatibwa ensonyi mulifuna emigabo gya mirundi ebiri,Era mu kifo ky’okuswala balyogerera waggulu n’essanyu olw’omugabo gwabwe. Balifuna emigabo gya mirundi ebiri mu nsi yaabwe.+ Essanyu lyabwe liriba lya lubeerera.+   Nze Yakuwa njagala obwenkanya;+Nkyawa obunyazi n’obutali butuukirivu.+ Ndibeera mwenkanya ne mbawa empeera yaabwe,Era ndikola nabo endagaano ey’olubeerera.+   Ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga+Era bazzukulu baabwe balimanyibwa mu bantu. Abo bonna abalibalaba balitegeeraNti lye zzadde Yakuwa lye yawa omukisa.”+ 10  Ndisanyukira nnyo mu Yakuwa. Obulamu bwange bwonna bulijaganyiza mu Katonda wange.+ Kubanga annyambazza ebyambalo eby’obulokozi;+Annyambazza ekyambalo* eky’obutuukirivu,Ng’omugole omusajja asiba ku mutwe ekiremba ekiringa ekya kabona,+Era ng’omugole omukazi eyeetonaatona amajolobero ge. 11  Ng’ettaka bwe limeza ebimera,Era ng’ennimiro bw’emeza ebigisigiddwamu,Bw’atyo Yakuwa Mukama Afuga ByonnaBw’alimeza+ obutuukirivu+ n’ettendo mu maaso g’amawanga gonna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okulungiyizibwa.”
Oba, “mu by’obugagga byago.”
Oba, “ekizibaawo ekitaliiko mikono.”