Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ezeekyeri

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Ezeekyeri ng’ali mu Babulooni, alaba okwolesebwa kwa Katonda (1-3)

    • Okwolesebwa okukwata ku ggaali lya Yakuwa (4-28)

      • Embuyaga, ekire, n’omuliro (4)

      • Ebiramu ebina (5-14)

      • Nnamuziga ennya (15-21)

      • Ekintu ekitangalijja nga bbalaafu (22-24)

      • Entebe ya Yakuwa (25-28)

  • 2

    • Ezeekyeri alondebwa okuba nnabbi (1-10)

      • “Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize” (5)

      • Alagibwa omuzingo oguliko ennyimba ez’okukungubaga (9, 10)

  • 3

    • Ezeekyeri agambibwa okulya omuzingo Katonda gwe yamuwa (1-15)

    • Ezeekyeri wa kuweereza ng’omukuumi (16-27)

      • Obulagajjavu buvaamu okuvunaanibwa omusaayi (18-21)

  • 4

    • Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi kulagibwa (1-17)

      • Ezeekyeri yeetikka ebibi okumala ennaku 390 era n’ennaku endala 40 (4-7)

  • 5

    • Okugwa kwa Yerusaalemi kulagibwa (1-17)

      • Enviiri nnabbi z’amwedde zigabanyizibwamu ebitundu bisatu (1-4)

      • Yerusaalemi kibi okusinga amawanga (7-9)

      • Abajeemu ba kufuna ebibonerezo bya mirundi esatu (12)

  • 6

    • Ebinaatuuka ku nsozi za Isirayiri (1-14)

      • Ebifaananyi ebyenyinyaza bya kusaanyizibwawo (4-6)

      • “Mujja kumanya nti nze Yakuwa” (7)

  • 7

    • Enkomerero etuuse (1-27)

      • Akabi akatali ka bulijjo (5)

      • Ssente zisuulibwa mu nguudo (19)

      • Yeekaalu ejja kwonoonebwa (22)

  • 8

    • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri atwalibwa mu Yerusaalemi (1-4)

    • Eby’omuzizo birabibwa mu yeekaalu (5-18)

      • Abakazi bakaabira Tammuzi (14)

      • Abasajja basinza enjuba (16)

  • 9

    • Abasajja abazikiriza mukaaga, n’omusajja akutte akacupa ka bwino (1-11)

      • Okusala omusango kwa kutandikira mu kifo ekitukuvu (6)

  • 10

    • Omuliro guggibwa wakati wa nnamuziga (1-8)

    • Endabika ya bakerubi ne nnamuziga ennyonnyolwa (9-17)

    • Ekitiibwa kya Katonda kiva mu yeekaalu (18-22)

  • 11

    • Abakulu b’abantu basalirwa omusango (1-13)

      • Ekibuga kigeraageranyizibwa ku ntamu (3-12)

    • Ekisuubizo eky’okubazzaayo (14-21)

      • Baweebwa “omwoyo omuggya” (19)

    • Ekitiibwa kya Yakuwa kiva mu Yerusaalemi (22, 23)

    • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri addayo e Bukaludaaya (24, 25)

  • 12

    • Ebikolwa ebiraga nti bajja kuwaŋŋangusibwa (1-20)

      • Omugugu gw’obuwaŋŋanguse (1-7)

      • Omwami wa kugendera mu nzikiza (8-16)

      • Emmere eriibwa mu kweraliikirira, amazzi ganywebwa mu kutya (17-20)

    • Ebigambo eby’obulimba byanikibwa (21-28)

      • “Tewali kigambo kyange na kimu kijja kulwa” (28)

  • 13

    • Ebinaatuuka ku bannabbi ab’obulimba (1-16)

      • Ebisenge ebyasiigibwa langi enjeru bya kugwa (10-12)

    • Ebinaatuuka ku bannabbi abakazi ab’obulimba (17-23)

  • 14

    • Abasinza ebifaananyi basalirwa omusango (1-11)

    • Omusango ogusaliddwa Yerusaalemi gulina okutuukirizibwa (12-23)

      • Nuuwa, Danyeri, ne Yobu abatuukirivu (14, 20)

  • 15

    • Yerusaalemi muzabbibu ogutalina mugaso (1-8)

  • 16

    • Okwagala Katonda kw’alina eri Yerusaalemi (1-63)

      • Yasangibwa ng’alinga omwana gwe basudde (1-7)

      • Katonda amuwunda n’akola naye endagaano ey’obufumbo (8-14)

      • Afuuka atali mwesigwa (15-34)

      • Abonerezebwa olw’obwenzi bwe (35-43)

      • Alinga Samaliya ne Sodomu (44-58)

      • Katonda ajjukira endagaano ye (59-63)

  • 17

    • Olugero olw’empungu n’omuzabbibu (1-21)

    • Omutunsi gwa kufuuka omuti gw’entolokyo omuwanvu (22-24)

  • 18

    • Buli omu avunaanyizibwa olw’ebibi bye (1-32)

      • Oyo akola ebibi y’anaafa (4)

      • Omwana si wa kuvunaanibwa bibi bya kitaawe (19, 20)

      • Katonda tasanyukira kufa kw’ababi (23)

      • Okwenenya kuvaamu obulamu (27, 28)

  • 19

    • Oluyimba olw’okukungubaga olukwata ku baami ba Isirayiri (1-14)

  • 20

    • Ebyafaayo ebikwata ku bujeemu bwa Isirayiri (1-32)

    • Isirayiri esuubizibwa okukomezebwawo (33-44)

    • Obunnabbi obukwata ku bukiikaddyo ((45-49)

  • 21

    • Ekitala kya Katonda kisowoddwayo mu kiraato kyakyo (1-17)

    • Kabaka wa Babulooni wa kulumba Yerusaalemi (18-24)

    • Omwami wa Isirayiri omubi wa kuggibwawo (25-27)

      • “Ggya engule ku mutwe gwo” (26)

      • “Okutuusa nnyini yo lw’alijja” (27)

    • Ekitala kya kuzikiriza Abaamoni (28-32)

  • 22

    • Yerusaalemi, ekibuga ekiriko omusango gw’okuyiwa omusaayi (1-16)

    • Isirayiri alinga amasengere agatalina mugaso (17-22)

    • Abakulembeze n’abantu ba Isirayiri basalirwa omusango (23-31)

  • 23

    • Abakazi babiri ab’oluganda abatali beesigwa (1-49)

      • Okola ne Bwasuli (5-10)

      • Okoliba ne Babulooni, awamu ne Misiri (11-35)

      • Abakazi ababiri ab’oluganda ba kubonerezebwa (36-49)

  • 24

    • Yerusaalemi kiringa entamu eyatalagga (1-14)

    • Okufa kwa mukyala wa Ezeekyeri kabonero (15-27)

  • 25

    • Obunnabbi obukwata ku Amoni (1-7)

    • Obunnabbi obukwata ku Mowaabu (8-11)

    • Obunnabbi obukwata ku Edomu (12-14)

    • Obunnabbi obukwata ku Bufirisuuti (15-17)

  • 26

    • Obunnabbi obukwata ku Ttuulo (1-21)

      • “Ekifo we baanika obutimba” (5, 14)

      • Amayinja n’ettaka bya kusuulibwa mu nnyanja (12)

  • 27

    • Oluyimba olw’okukungubagira ekyombo ekibbira ekya Ttuulo (1-36)

  • 28

    • Obunnabbi obukwata ku kabaka wa Ttuulo (1-10)

      • “Ndi katonda” (2, 9)

    • Oluyimba olw’okukungubagira kabaka wa Ttuulo (11-19)

      • “Wali obeera mu Edeni” (13)

      • “Kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta” (14)

      • “Watandika okukola ebitali bya butuukirivu” (15)

    • Obunnabbi obukwata ku Sidoni (20-24)

    • Abayisirayiri ba kuzzibwa mu nsi yaabwe (25, 26)

  • 29

    • Obunnabbi obukwata ku Falaawo (1-16)

    • Misiri ya kuweebwayo eri Babulooni ng’empeera (17-21)

  • 30

    • Obunnabbi obukwata ku Misiri (1-19)

      • Nebukadduneeza y’ajja okugirumba (10)

    • Falaawo bamumala amaanyi (20-26)

  • 31

    • Okugwa kwa Misiri, omuti gw’entolokyo omuwanvu (1-18)

  • 32

    • Oluyimba olw’okukungubagira Falaawo ne Misiri (1-16)

    • Misiri ya kuziikibwa n’abatali bakomole (17-32)

  • 33

    • Obuvunaanyizibwa bw’omukuumi (1-20)

    • Amawulire agakwata ku kugwa kwa Yerusaalemi (21, 22)

    • Obubaka eri ababeera mu matongo (23-29)

    • Abantu tebakolera ku bibagambibwa (30-33)

      • Ezeekyeri alinga “oluyimba olw’omukwano” (32)

      • “Mu bo mubaddemu nnabbi” (33)

  • 34

    • Obunnabbi obukwata ku basumba ba Isirayiri (1-10)

    • Engeri Yakuwa gy’alabiriramu endiga ze (11-31)

      • “Omuweereza wange Dawudi” ajja kuzirunda (23)

      • “Endagaano ey’emirembe” (25)

  • 35

    • Obunnabbi obukwata ku nsozi za Seyiri (1-15)

  • 36

    • Obunnabbi obukwata ku nsozi za Isirayiri (1-15)

    • Abayisirayiri ba kuzzibwayo mu nsi yaabwe (16-38)

      • “Nja kutukuza erinnya lyange ekkulu” (23)

      • “Efaanana ng’olusuku Edeni” (35)

  • 37

    • Okwolesebwa okukwata ku kiwonvu eky’amagumba amakalu (1-14)

    • Emiggo ebiri gya kugattibwa wamu (15-28)

      • Eggwanga limu nga lifugibwa kabaka omu (22)

      • Endagaano y’emirembe ey’olubeerera (26)

  • 38

    • Googi alumba Isirayiri (1-16)

    • Yakuwa asunguwalira Googi (17-23)

      • ‘Amawanga galimanya nti nze Yakuwa’ (23)

  • 39

    • Googi n’eggye lye bazikirizibwa (1-10)

    • Baziikibwa mu Kiwonvu kya Kamoni-Googi (11-20)

    • Abayisirayiri ba kuzzibwayo mu nsi yaabwe (21-29)

      • Omwoyo gwa Katonda gufukibwa ku Isirayiri (29)

  • 40

    • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri atwalibwa mu Isirayiri (1, 2)

    • Mu kwolesebwa, Ezeekyeri alaba yeekaalu (3, 4)

    • Empya n’emiryango (5-47)

      • Omulyango ogw’ebuvanjuba ogw’ebweru (6-16)

      • Oluggya olw’ebweru; emiryango emirala (17-26)

      • Oluggya olw’omunda n’emiryango (27-37)

      • Ebisenge ebyakozesebwanga mu buweereza obw’omu yeekaalu (38-46)

      • Ekyoto (47)

    • Ekisasi kya yeekaalu (48, 49)

  • 41

    • Awatukuvu (1-4)

    • Ekisenge n’ebizimbe eby’oku bbali (5-11)

    • Ekizimbe ku luuyi olw’ebugwanjuba (12)

    • Ebizimbe bipimibwa (13-15a)

    • Munda mu yeekaalu (15b-26)

  • 42

    • Ebisenge ebiriirwamu (1-14)

    • Enjuyi ennya eza yeekaalu zipimibwa (15-20)

  • 43

    • Ekitiibwa kya Yakuwa kijjula mu yeekaalu (1-12)

    • Ekyoto (13-27)

  • 44

    • Omulyango ogw’ebuvanjuba gwa kusigala nga muggale (1-3)

    • Amateeka agakwata ku bagwira (4-9)

    • Amateeka agakwata ku Baleevi ne bakabona (10-31)

  • 45

    • Ekitundu ekitukuvu n’ekibuga (1-6)

    • Ettaka ly’omwami (7, 8)

    • Abaami balina okuba ab’amazima (9-12)

    • Abantu bye bawaayo; omwami (13-25)

  • 46

    • Eby’okuweebwayo ku nnaku ezimu (1-15)

    • Okusikira ebintu by’omwami (16-18)

    • Ebifo eby’okufumbiramu ebiweebwayo (19-24)

  • 47

    • Omugga ogukulukuta nga guva mu yeekaalu (1-12)

      • Amazzi gagenda geeyongera obuwanvu (2-5)

      • Amazzi g’omu Nnyanja Enfu galongooka (8-10)

      • Entobazi tezirongooka (11)

      • Emiti gya kuvaako ebibala n’eddagala (12)

    • Ensalo z’ensi (13-23)

  • 48

    • Ensi egabanyizibwamu (1-29)

    • Emiryango 12 egy’ekibuga (30-35)

      • Ekibuga kituumibwa “Yakuwa Ali Omwo” (35)