Abakkolosaayi 4:1-18

  • Okubuulirira eri abo abalina abaddu (1)

  • “Munyiikirirenga okusaba” (2-4)

  • Mutambulirenga mu magezi nga mukolagana n’ab’ebweru (5, 6)

  • Okulamusa (7-18)

4  Mmwe abalina abaddu, muyisenga abaddu bammwe mu ngeri ey’obutuukirivu era ey’obwenkanya nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.+  Munyiikirenga okusaba awatali kuddirira+ era mwebazenga.+  Mu kiseera kye kimu, naffe mutusabire,+ Katonda asobole okutuggulirawo oluggi tusobole okubuulira ekigambo n’okwogera ku kyama ekitukuvu ekikwata ku Kristo, ekyanviirako okusibibwa mu kkomera,+  era nsobole okukibuulira obulungi nga bwe ŋŋwanidde.  Mweyisenga mu ngeri ey’amagezi nga mukolagana n’ab’ebweru, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.*+  Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo,+ musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.+    Byonna ebinkwatako, Tukiko+ muganda wange omwagalwa, omuweereza omwesigwa era muddu munnange mu Mukama waffe, ajja kubibategeeza.  Mmutuma gye muli musobole okumanya ebitukwatako era asobole okubudaabuda emitima gyammwe.  Ajja ne Onesimo+ muganda wange omwesigwa era omwagalwa ow’ewammwe; bajja kubabuulira byonna ebifa eno. 10  Alisutaluuko+ musibe munnange abalamusizza, era ne Makko+ alina oluganda ku Balunabba abalamusizza, (oyo gwe mwalagirwa okwaniriza+ ng’azze gye muli), 11  ne Yesu ayitibwa Yusito, nga bano be b’omu bakomole. Bano bokka be bakola nange omulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda era banzizaamu nnyo amaanyi. 12  Epafula+ ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, nga bulijjo afuba nnyo okubasabira, mu nkomerero ya byonna musobole okuba abatuukiridde* nga mukakasiza ddala byonna Katonda by’ayagala. 13  Mu butuufu, mmujulira nti afuba nnyo ku lwammwe ne ku lw’ab’omu Lawodikiya n’ab’e Kiyerapoli. 14  Lukka,+ omusawo omwagalwa abalamusizza, era ne Dema+ bw’atyo. 15  Munnamusize ab’oluganda ab’e Lawodikiya, era munnamusize ne Nunfa, n’ab’omu kibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba ye.+ 16  Era ebbaluwa eno bw’emala okusomebwa mu mmwe, muteeketeeke esomebwe+ ne mu kibiina ky’e Lawodikiya era nammwe musome eyo eva e Lawodikiya. 17  Ate era, mugambe Alukipo+ nti: “Ssaayo omwoyo ku buweereza bwe wakkiriza mu Mukama waffe, osobole okubutuukiriza.” 18  Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange.+ Mweyongere okulowooza ku kusibibwa kwange.+ Ekisa eky’ensusso kibeerenga nammwe.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “nga mwegulira ebiseera.”
Oba, “abakuze.”