Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

2 Samwiri

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Dawudi awulira nti Sawulo afudde (1-16)

    • Oluyimba Dawudi lwe yayimba ng’akungubagira Sawulo ne Yonasaani (17-27)

  • 2

    • Dawudi, kabaka wa Yuda (1-7)

    • Isu-bosesi, kabaka wa Isirayiri (8-11)

    • Olutalo wakati w’ennyumba ya Dawudi n’eya Sawulo (12-32)

  • 3

    • Ennyumba ya Dawudi yeeyongera okuba ey’amaanyi (1)

    • Abaana ba Dawudi (2-5)

    • Abuneeri adda ku ludda lwa Dawudi (6-21)

    • Yowaabu atta Abuneeri (22-30)

    • Dawudi akungubagira Abuneeri (31-39)

  • 4

    • Isu-bosesi atemulwa (1-8)

    • Dawudi alagira abaatemula Isu-bosesi battibwe (9-12)

  • 5

    • Dawudi afuulibwa kabaka wa Isirayiri yonna (1-5)

    • Yerusaalemi kiwambibwa (6-16)

      • Sayuuni, Ekibuga kya Dawudi (7)

    • Dawudi awangula Abafirisuuti (17-25)

  • 6

    • Essanduuko etwalibwa e Yerusaalemi (1-23)

      • Uzza akwata ku Ssanduuko n’attibwa (6-8)

      • Mikali anyooma Dawudi (16, 20-23)

  • 7

    • Dawudi si y’ajja okuzimba yeekaalu (1-7)

    • Endagaano y’obwakabaka eyakolebwa ne Dawudi (8-17)

    • Essaala ya Dawudi ey’okwebaza (18-29)

  • 8

    • Obuwanguzi bwa Dawudi (1-14)

    • Gavumenti ya Dawudi (15-18)

  • 9

    • Dawudi alaga Mefibosesi okwagala okutajjulukuka (1-13)

  • 10

    • Amoni ne Busuuli biwangulwa (1-19)

  • 11

    • Dawudi ayenda ku Basuseba (1-13)

    • Dawudi akola olukwe Uliya attibwe (14-25)

    • Dawudi atwala Basuseba okuba mukazi we (26, 27)

  • 12

    • Nasani anenya Dawudi (1-15a)

    • Omwana wa Basuseba afa (15b-23)

    • Basuseba azaala Sulemaani (24, 25)

    • Labba ekibuga ky’Abaamoni kiwambibwa (26-31)

  • 13

    • Amunoni akwata Tamali (1-22)

    • Abusaalomu atta Amunoni (23-33)

    • Abusaalomu addukira e Gesuli (34-39)

  • 14

    • Yowaabu n’omukazi ow’e Tekowa (1-17)

    • Dawudi ategeera akakodyo ka Yowaabu (18-20)

    • Abusaalomu akkirizibwa okukomawo (21-33)

  • 15

    • Olukwe lwa Abusaalomu (1-12)

    • Dawudi adduka mu Yerusaalemi (13-30)

    • Akisoferi yeegatta ku Abusaalomu (31)

    • Kusaayi atumibwa okulemesa amagezi ga Akisoferi (32-37)

  • 16

    • Ziba awaayiriza Mefibosesi (1-4)

    • Simeeyi akolimira Dawudi (5-14)

    • Abusaalomu ayaniriza Kusaayi (15-19)

    • Amagezi Akisoferi ge yawa (20-23)

  • 17

    • Kusaayi alemesa amagezi ga Akisoferi (1-14)

    • Dawudi alabulwa; adduka Abusaalomu (15-29)

      • Baluzirayi n’abalala baleeta eby’okulya n’ebintu ebirala (27-29)

  • 18

    • Abusaalomu awangulwa era n’afa (1-18)

    • Dawudi ategeezebwa ku kufa kwa Abusaalomu (19-33)

  • 19

    • Dawudi akungubagira Abusaalomu (1-4)

    • Yowaabu anenya Dawudi (5-8a)

    • Dawudi addayo e Yerusaalemi (8b-15)

    • Simeeyi asaba ekisonyiwo (16-23)

    • Kizuulibwa nti Mefibosesi talina musango (24-30)

    • Baluzirayi asiimibwa (31-40)

    • Ebika bikaayana (41-43)

  • 20

    • Seba yeewaggula; Yowaabu atta Amasa (1-13)

    • Seba awonderwa era n’atemebwako omutwe (14-22)

    • Gavumenti ya Dawudi (23-26)

  • 21

    • Ennyumba ya Sawulo ewoolerwako eggwanga ku lw’Abagibiyoni (1-14)

    • Okulwana n’Abafirisuuti (15-22)

  • 22

    • Dawudi atendereza Katonda olw’okumulokola (1-51)

      • “Yakuwa lwe lwazi lwange” (2)

      • Yakuwa aba mwesigwa eri abeesigwa (26)

  • 23

    • Ebigambo bya Dawudi ebyasembayo (1-7)

    • Eby’obuzira abalwanyi ba Dawudi bye baakola (8-39)

  • 24

    • Dawudi abala abantu n’ayonoona (1-14)

    • Endwadde etta abantu 70,000 (15-17)

    • Dawudi azimba ekyoto (18-25)

      • Teri ssaddaaka eteebamu kwefiiriza (24)